Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 46

Abaakafumbiriganwa—Mukulembeze Okuweereza Yakuwa

Abaakafumbiriganwa—Mukulembeze Okuweereza Yakuwa

“Yakuwa ge maanyi gange . . . omutima gwange gwesiga ye.”​—ZAB. 28:7.

OLUYIMBA 131 “Katonda ky’Agasse Awamu”

OMULAMWA *

1-2. (a) Lwaki abo abaakafumbiriganwa basaanidde okwesiga Yakuwa? (Zabbuli 37:3, 4) (b) Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

ONAATERA okuyingira obufumbo, oba waakabuyingira? Bwe kiba bwe kityo, oteekwa okuba nga weesunga okunyumirwa obulamu n’omuntu gw’oyagala ennyo. Kya lwatu nti obufumbo bubaamu ebisoomooza, era wabaawo ebintu ebikulu bye mulina okusalawo. Engeri gye mukwatamu okusoomooza okwo n’engeri gye musalawo, bijja kukwata nnyo ku bulamu bwammwe ng’abafumbo. Bwe muneesiga Yakuwa, mujja kusalawo mu ngeri ey’amagezi, obufumbo bwammwe bujja kuba bunywevu, era mujja kuba basanyufu. Ku luuyi olulala, bwe mutakolera ku magezi Katonda g’abawa, mujja kufuna ebizibu mu bufumbo bwammwe era temujja kuba basanyufu.​—Soma Zabbuli 37:3, 4.

2 Wadde ng’ekitundu kino okusinga kikwata ku abo abaakafumbiriganwa, kigenda kwogera ku kusoomooza abafumbo bonna kwe bayinza okwolekagana nakwo. Kigenda kwogera ku ebyo bye tuyigira ku bamu ku basajja n’abakazi abeesigwa aboogerwako mu Bayibuli. Ebyo bye tubayigirako bisobola okutuyamba mu mbeera ezitali zimu ez’obulamu bwaffe, nga mw’otwalidde ne mu bufumbo. Ate era tugenda kulaba bye tusobola okuyigira ku bamu ku bafumbo ab’omu kiseera kyaffe.

KUSOOMOOZA KI ABO ABAAKAFUMBIRIGANWA KWE BAYINZA OKWOLEKAGANA NAKWO?

Biki ebisobola okulemesa abo abaakafumbiriganwa okugaziya ku buweereza bwabwe eri Yakuwa? (Laba akatundu 3-4)

3-4. Kusoomooza ki abo abaakafumbiriganwa kwe bayinza okwolekagana nakwo?

3 Abantu abamu bayinza okukubiriza abo abaakafumbiriganwa okukola ebyo abantu abalala bonna bye bakola. Ng’ekyokulabirako, bazadde baabwe n’ab’eŋŋanda zaabwe bayinza okubapikiriza okuzaala abaana amangu ddala nga baakafumbiriganwa. Oba mikwano gyabwe n’ab’eŋŋanda zaabwe bayinza okubakubiriza okugula ennyumba era bagiguliremu buli kimu kye baagala.

4 Abafumbo bwe baba tebeegenderezza, bayinza okusalawo mu ngeri eyinza okubaviirako okugwa mu mabanja. Ekyo kiyinza okubaviirako okukola ennyo okusobola okusasula amabanja ago. Era omulimu guyinza okubatwalako ebiseera bye bandikozesezza okusoma Bayibuli, okuba n’okusinza kw’amaka, n’okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira. Ate era olw’okuba kiba kibeetaagisa okukola ekiseera ekiwanvu okusobola okufuna ssente ezimala oba okukuuma emirimu gyabwe, bayinza okutandika okwosa enkuŋŋaana. N’ekivaamu, bayinza okufiirwa emikisa gy’okugaziya ku buweereza bwabwe eri Yakuwa.

5. Kiki ky’oyigira ku Klaus ne Marisa?

5 Waliwo ebyokulabirako bingi ebiraga nti okwemalira ku kunoonya ebintu tekireeta ssanyu lya nnamaddala. Lowooza ku ekyo Klaus ne mukyala we Marisa kye baayiga ku nsonga eyo. * Bwe baali baakafumbiriganwa, bombi baafuna emirimu egy’ekiseera kyonna basobole okubeera obulungi. Kyokka muli baawuliranga nga si bamativu. Klaus agamba nti: “Twalina buli kimu kye twali twagala, naye nga tetulina biruubirirwa bya mwoyo. Ekituufu kiri nti, tetwali basanyufu n’akamu.” Oyinza okuba nga naawe okirabye nti okwemalira ku kunoonya ebintu tekikuleetedde ssanyu lya nnamaddala. Bwe kiba bwe kityo, toggwaamu maanyi. Waliwo abataddewo ekyokulabirako ekirungi mu nsonga eno b’osobola okuyigirako. Okusooka, ka tulabe ebyo abaami bye basobola okuyigira ku Kabaka Yekosafaati.

WEESIGE YAKUWA NGA KABAKA YEKOSAFAATI BWE YAKOLA

6. Yekosafaati bwe yali ayolekaganye n’ekizibu eky’amaanyi, yakolera atya ku kubuulirira okuli mu Engero 3:5, 6?

6 Abaami, oluusi muwulira ng’obuvunaanyizibwa bubayitiriddeko? Bwe kiba bwe kityo, waliwo bye muyinza okuyigira ku Kabaka Yekosafaati. Olw’okuba Yekosafaati ye yali kabaka, yalina obuvunaanyizibwa ku bantu bonna be yali afuga! Obuvunaanyizibwa obwo obw’amaanyi yabutuukiriza atya? Yekosafaati yakola kyonna kye yali asobola okukuuma abantu abaali mu bwakabaka bwe. Yazimba ebigo okwetooloola ebibuga bya Yuda byonna, era n’akuŋŋaanya eggye eryalimu abalwanyi abasukka mu 1,160,000. (2 Byom. 17:12-19) Oluvannyuma Yekosafaati yayolekagana n’ekizibu eky’amaanyi. Eggye eddene eryalimu Abaamoni, Abamowaabu, n’abantu abaali babeera mu kitundu kya Seyiri eky’ensozi lyajja okumulwanyisa. (2 Byom. 20:1, 2) Kiki Yekosafaati kye yakola? Yasaba Yakuwa okumuyamba. Ekyo kituukagana n’ebigambo ebiri mu Engero 3:5, 6. (Soma.) Essaala ya Yekosafaati eri mu 2 Ebyomumirembe 20:5-12, eraga nti yali yeesiga nnyo Kitaawe ow’omu ggulu. Yakuwa yaddamu atya essaala ya Yekosafaati?

7. Yakuwa yaddamu atya essaala ya Yekosafaati?

7 Yakuwa yayogera ne Yekosafaati ng’ayitira mu Muleevi eyali ayitibwa Yakaziyeeri. Yagamba nti: “Mubeere mu bifo byammwe; muyimirire butengerera mulabe Yakuwa bw’abalokola.” (2 Byom. 20:13-17) Eyo si ye yali engeri eya bulijjo ey’okulwanamu olutalo! Naye obulagirizi obwo bwali tebuvudde eri muntu; bwali buvudde eri Yakuwa. Yekosafaati yeesiga Yakuwa n’akola nga bwe yali amugambye. Ye n’abantu be bwe baagenda okulwanyisa abalabe, teyakulembezaamu balwanyi be abaali abakugu, wabula yakulembezaamu bayimbi abataalina kyakulwanyisa kyonna. Yakuwa yatuukiriza ekyo kye yali asuubizza Yekosafaati; yawangula abalabe be.​—2 Byom. 20:18-23.

Abo abaakafumbiriganwa basobola okukulembeza okuweereza Yakuwa mu bulamu bwabwe nga bamusaba era nga basoma Ekigambo kye (Laba akatundu 8, 10)

8. Kiki abaami kye bayinza okuyigira ku Yekosafaati?

8 Abaami, waliwo bye muyinza okuyigira ku Yekosafaati. Olw’okuba mulina obuvunaanyizibwa obw’okulabirira ab’omu maka gammwe, mukola nnyo okusobola okubalabira n’okubakuuma. Bw’oyolekagana n’ekizibu, oyinza okulowooza nti olina buli kimu kye weetaaga okusobola okugonjoola ekizibu ekyo ku lulwo. Kyokka osaanidde okwewala okwesigama ku busobozi bwo. Mu kifo ky’ekyo, saba Yakuwa akuyambe, era sabira wamu ne mukyala wo. Noonya obulagirizi obuva eri Yakuwa ng’osoma Bayibuli n’ebitabo ebikubibwa ekibiina kye era obukolereko. Abalala bayinza obutakkiriziganya n’ebyo by’oba osazeewo era bayinza okugamba nti tosazeewo mu ngeri ya magezi. Bayinza okukugamba nti okufuna ssente ennyingi n’ebintu kijja kuwa ab’omu maka go obukuumi bwe beetaaga. Naye jjukira ekyokulabirako kya Yekosafaati. Yeesiga Yakuwa, era ekyo yakiraga mu bikolwa. Yakuwa teyayabulira muweereza we oyo eyali omwesigwa era naawe tajja kukwabulira. (Zab. 37:28; Beb. 13:5) Biki abafumbo bye bayinza okukola okusobola okufuna essanyu mu bufumbo bwabwe?

MUKULEMBEZE OKUWEEREZA YAKUWA NGA NNABBI ISAAYA NE MUKAZI WE BWE BAAKOLA

9. Kiki kye tuyinza okwogera ku nnabbi Isaaya ne mukyala we?

9 Nnabbi Isaaya ne mukyala we baakulembeza okuweereza Yakuwa mu bulamu bwabwe. Isaaya yali aweereza nga nnabbi, era Bayibuli eraga nti ne mukyala we yali nnabbi. (Is. 8:1-4) Awatali kubuusabuusa Isaaya ne mukyala we beemalira ku kuweereza Yakuwa. Baateerawo abafumbo ekyokulabirako ekirungi!

10. Okusoma obunnabbi obuli mu Bayibuli kiyinza kitya okuyamba abafumbo okuba abamalirivu okukola kyonna kye basobola okuweereza Yakuwa?

10 Abafumbo basobola okukoppa Isaaya ne mukyala we nga bakola kyonna kye basobola okuweereza Yakuwa. Basobola okukola ebinaabayamba okweyongera okwesiga Yakuwa, gamba ng’okusomera awamu obunnabbi obuli mu Bayibuli n’okulaba engeri gye butuukirizibwamu. * (Tit. 1:2) Bayinza okulowooza ku ngeri gye bayinza okwenyigira mu kutuukiriza obumu ku bunnabbi obuli mu Bayibuli. Ng’ekyokulabirako, basobola okwenyigira mu kutuukiriza obunnabbi bwa Yesu obugamba nti amawulire amalungi gandibuuliddwa mu nsi yonna ng’enkomerero tennajja. (Mat. 24:14) Abafumbo gye bakoma okuba abakakafu nti obunnabbi obuli mu Bayibuli butuukirira, gye bakoma okuba abamalirivu okukola kyonna kye basobola mu buweereza bwabwe eri Yakuwa.

MUKULEMBEZE OBWAKABAKA NGA PULISIKIRA NE AKULA BWE BAAKOLA

11. Kiki Pulisikira ne Akula kye baasobola okukola, era lwaki?

11 Abo abaakafumbiriganwa balina kye basobola okuyigira ku Pulisikira ne Akula, abafumbo Abayudaaya abaali babeera mu Rooma. Baali baawulira amawulire amalungi agakwata ku Yesu era nga bafuuse Abakristaayo. Awatali kubuusabuusa, baali bamativu n’embeera gye baalimu. Kyokka embeera yakyuka mbagirawo Empula Kulawudiyo bwe yalagira Abayudaaya bonna okuva mu Rooma. Lowooza ku ngeri ekyo gye kyakosaamu Akula ne Pulisikira. Baalina okuva mu kitundu kye baali bamanyidde, okufuna awalala aw’okubeera, n’okutandikawo omulimu gwabwe ogw’okukola weema mu kitundu ekirala. Enkyukakyuka eyo eyajjawo yabaleetera okuddirira mu buweereza bwabwe? Oteekwa okuba ng’omanyi eky’okuddamu mu kibuuzo ekyo. Mu maka gaabwe amapya ag’omu Kkolinso, baatandikirawo okuyamba ekibiina ekyali mu kitundu ekyo. Era baakolera wamu n’omutume Pawulo okuzzaamu bakkiriza bannaabwe ab’omu kibiina ekyo amaanyi. Oluvannyuma baagenda mu bitundu ebirala awaali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako. (Bik. 18:18-21; Bar. 16:3-5) Bateekwa okuba nga baafuna essanyu lingi mu buweereza bwabwe!

12. Lwaki abafumbo basaanidde okweteerawo ebiruubirirwa eby’omwoyo?

12 Abafumbo basobola okukoppa Pulisikira ne Akula nga bakulembeza Obwakabaka mu bulamu bwabwe. Ekiseera ekisingayo obulungi eky’okwogera ku biruubirirwa byabwe, kyekyo nga bakyayogerezeganya. Bombi bwe beeteerawo ebiruubirirwa eby’omwoyo era ne bafuba okubituukako, kibasobozesa okulaba engeri Yakuwa gy’abayambamu. (Mub. 4:9, 12) Lowooza ku Russell ne Elizabeth. Russell agamba nti, “Bwe twali tukyayogerezeganya, twayogera ku biruubirirwa byaffe eby’omwoyo.” Elizabeth agamba nti, “Twayogera ku biruubirirwa byaffe eby’omwoyo kibe nti oluvannyuma bwe twandibaddeko ne bye tusalawo, kyonna kye twandisazeewo tekyanditulemesezza kutuuka ku biruubirirwa byaffe eby’omwoyo.” Russell ne Elizabeth baasobola okugenda mu Micronesia okuweereza awali obwetaavu bw’ababuulizi okusingako.

Abo abaakafumbiriganwa basobola okukulembeza okuweereza Yakuwa mu bulamu bwabwe nga beeteerawo ebiruubirirwa eby’omwoyo (Laba akatundu 13)

13. Okusinziira ku Zabbuli 28:7, bwe twesiga Yakuwa, biki ebivaamu?

13 Okufaananako Russell ne Elizabeth, abafumbo bangi baasalawo obutaba na buvunaanyizibwa bungi basobole okwongera ku biseera bye bamala nga beenyigira mu mulimu gw’okubuulira. Abafumbo bwe beeteerawo ebiruubirirwa eby’omwoyo era ne bafuba okubituukako, ebivaamu biba birungi. Balaba engeri Yakuwa gy’abalabiriramu, beeyongera okumwesiga, era bafuna essanyu erya nnamaddala.​—Soma Zabbuli 28:7.

WEESIGE EBISUUBIZO BYA YAKUWA, NG’OMUTUME PEETERO NE MUKYALA WE BWE BAAKOLA

14. Peetero ne mukyala we baakiraga batya nti baali beesiga ekisuubizo ekiri mu Matayo 6:25, 31-34?

14 Abafumbo era balina bye basobola okuyigira ku mutume Peetero ne mukyala we. Nga waakayita emyezi nga mukaaga okuva Peetero lwe yasooka okusisinkana Yesu, Peetero yalina ekintu ekikulu eky’okusalawo. Yali akola omulimu gw’okuvuba okusobola okuyimirizaawo ab’omu maka ge. N’olwekyo Yesu bwe yayita Peetero okutambulanga naye ekiseera kyonna, Peetero yalina okulowooza ku b’omu maka ge nga tannasalawo. (Luk. 5:1-11) Peetero yasalawo okugoberera Yesu, era awatali kubuusabuusa yasalawo bulungi! Tulina ensonga kwe tusinziira okugamba nti mukyala we yawagira ekyo kye yasalawo. Bayibuli eraga nti oluvannyuma lw’okuzuukira kwa Yesu, mukyala wa Peetero yatambula ne Peetero mu mulimu gw’okubuulira okumala ekiseera. (1 Kol. 9:5) Awatali kubuusabuusa, ekyokulabirako ekirungi kye yassaawo ng’omukyala Omukristaayo kyayamba Peetero okuwa abafumbo amagezi nga taliimu kutya kwonna. (1 Peet. 3:1-7) Peetero ne mukyala we beesiga Yakuwa nti yandibalabiridde singa bakulembeza Obwakabaka.​—Soma Matayo 6:25, 31-34.

15. Kiki kye tuyigira ku Tiago ne Esther?

15 Bwe muba nga mumaze emyaka egiwerako nga muli bafumbo, kiki ekinaabayamba okwagala okugaziya ku buweereza bwammwe? Ekintu ekimu ekinaabayamba kwe kusoma ku byokulabirako by’abafumbo abalala. Ng’ekyokulabirako, muyinza okusoma ku bitundu ebirina omutwe, “Beewaayo Kyeyagalire.” Ebitundu ebyo byayamba ow’oluganda Tiago ne mukyala we Esther ababeera mu Brazil, okwagala okugenda okuweereza mu kitundu awali obwetaavu obusingako. Tiago agamba nti: “Bwe twasoma ku ngeri Yakuwa gy’ayambamu abaweereza be mu kiseera kino, naffe twayagala okulaba engeri gy’atuyambamu era gy’atulabiriramu.” Oluvannyuma baasengukira mu Paraguay mu kitundu gye boogera Olupotugo, era babadde baweerereza eyo okuva 2014. Esther agamba nti: “Ekyawandiikibwa ffembi kye twagala ennyo kyekyo kiri mu Abeefeso 3:20. Emirundi mingi tulabye ng’ebigambo ebiri mu kyawandiikibwa ekyo bituukirira mu bulamu bwaffe.” Mu bbaluwa Pawulo gye yawandiikira Abeefeso, yagamba nti Yakuwa atuwa ebisinga ku ebyo bye tuba tumusabye. Mazima ddala bangi balabye ng’ekisuubizo ekyo kituukirira mu bulamu bwabwe!

Abo abaakafumbiriganwa basobola okukulembeza okuweereza Yakuwa mu bulamu bwabwe nga beebuuza ku bakkiriza bannaabwe abakulu mu by’omwoyo (Laba akatundu 16)

16. Baani abo abaakafumbiriganwa be basobola okwebuuzaako nga beeteerawo ebiruubirirwa eby’omwoyo?

16 Abo abaakafumbiriganwa balina bye basobola okuyigira ku bafumbo abakiraze nti beesiga Yakuwa. Abafumbo abamu bamaze emyaka mingi mu buweereza obw’ekiseera kyonna. Muyinza okubeebuuzaako ne babawa ku magezi ku biruubirirwa bye musobola okweteerawo. Eyo ye ngeri endala gye muyinza okulagamu nti mwesiga Yakuwa. (Nge. 22:17, 19) Abakadde nabo basobola okuyamba abo abaakafumbiriganwa okweteerawo ebiruubirirwa eby’omwoyo era n’okubituukako.

17. Kiki ekyatuuka ku Klaus ne Marisa, era kiki kye tubayigirako?

17 Kyokka ebiseera ebimu bwe tusalawo okugaziya ku buweereza bwaffe eri Yakuwa, ebintu biyinza obutagenda nga bwe tubadde tusuubira. Lowooza ku Klaus ne Marisa be twayogeddeko. Nga baakamala emyaka esatu mu bufumbo, baasalawo okuva mu maka gaabwe ne bagenda ku ttabi ly’e Finland okuyambako mu mulimu gw’okuzimba. Kyokka oluvannyuma baategeezebwa nti baali tebajja kukkirizibwa kubeera mu nsi eyo kumala bbanga lisukka mu myezi mukaaga. Mu kusooka baawulira nga baweddemu amaanyi. Naye oluvannyuma lw’ekiseera kitono, baayitibwa okugenda okuyigirizibwa olulimi Oluwalabu. Kati baweerereza mu nsi gye boogera Oluwalabu era basanyufu nnyo mu buweereza bwabwe. Ng’alowooza ku ebyo byaliwo, Marisa agamba nti: “Nnawulira nga ntidde okukola ekintu kye nnali sikolangako, nga kinneetaagisa okwesigira ddala Yakuwa. Naye ndabye engeri Yakuwa gy’azze atuyambamu ne mu ngeri gye tutasuubira. Kati nneeyongedde okwesiga Yakuwa.” Ng’ekyokulabirako ekyo bwe kiraze, osobola okuba omukakafu nti Yakuwa ajja kukuyamba bw’onoomwesigira ddala.

18. Biki abafumbo bye bayinza okukola okusobola okweyongera okwesiga Yakuwa?

18 Obufumbo kirabo okuva eri Yakuwa. (Mat. 19:5, 6) Ayagala abafumbo banyumirwe ekirabo ekyo. (Nge. 5:18) Mmwe abaakafumbiriganwa, mulowooze ku ngeri gye mukozesaamu obulamu bwammwe. Mukola kyonna kye musobola okulaga Yakuwa nti musiima ebyo by’abakoledde? Musabe Yakuwa era mukolere ku magezi g’abawa. Mube bakakafu nti mujja kufuna essanyu lingi bwe munaakulembeza okuweereza Yakuwa mu bufumbo bwammwe!

OLUYIMBA 132 Tufuuse Muntu Omu

^ lup. 5 Ebintu ebimu bye tusalawo biyinza okutumalako obudde n’amaanyi bye twandikozesezza okuweereza Yakuwa. Nnaddala abo abaakafumbiriganwa baba n’eby’okusalawo ebiyinza okukwata ku bulamu bwabwe bwonna. Ekitundu kino kigenda kulaga engeri gye bayinza okusalawo mu ngeri ey’amagezi era eneebayamba okuba abasanyufu.

^ lup. 5 Amannya agamu gakyusiddwa.

^ lup. 10 Ng’ekyokulabirako, muyinza okusoma essuula 6, 7, ne 19 ez’ekitabo Yakuwa Azzaawo Okusinza Okulongoofu!