Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDKU EKY’OKUSOMA 45

Mweyongere Okulagaŋŋana Okwagala Okutajjulukuka

Mweyongere Okulagaŋŋana Okwagala Okutajjulukuka

“Buli omu alage munne okwagala okutajjulukuka era amusaasire.”​—ZEK. 7:9.

OLUYIMBA 107 Ekyokulabirako kya Katonda eky’Okwagala

OMULAMWA *

1-2. Nsonga ki kwe twandisinzidde okulaga abalala okwagala okutajjulukuka?

WALIWO ensonga lwaki tusaanidde okulaga abalala okwagala okutajjulukuka. Ezimu ku zo ze ziruwa? Weetegereze engeri ebyawandiikibwa bino gye biddamu ekibuuzo ekyo: “Obwesigwa n’okwagala okutajjulukuka tobiganyanga kukuvaako. . . . Olwo lw’ojja okusiimibwa era omanyibwe ng’omuntu omutegeevu mu maaso ga Katonda n’abantu.” “Omuntu bw’aba n’okwagala okutajjulukuka kimuganyula.” “Buli afuba okunoonya obutuukirivu n’okwagala okutajjulukuka ajja kufuna obulamu.”​—Nge. 3:3, 4; 11:17, obugambo obuli wansi; 21:21.

2 Ebyawandiikibwa ebyo biraga ensonga ssatu lwaki tusaanidde okulaga abalala okwagala okutajjulukuka. Esooka, bwe tulaga abalala okwagala okutajjulukuka tusiimibwa mu maaso ga Katonda. Ey’okubiri, bwe tulaga abalala okwagala okutajjulukuka ffe kennyini tuganyulwa. Ng’ekyokulabirako, tufuna emikwano. Ey’okusatu, bwe tulaga abalala okwagala okutajjulukuka tujja kufuna emikisa mu biseera eby’omu maaso, nga mwe muli n’obulamu obutaggwaawo. Mazima ddala tusaanidde okugondera ebigambo bya Yakuwa bino: “Buli omu alage munne okwagala okutajjulukuka era amusaasire.”​—Zek. 7:9.

3. Bibuuzo ki ebigenda okuddibwamu mu kitundu kino?

3 Mu kitundu kino tugenda kuddamu ebibuuzo bino bina. Baani be tusaanidde okulaga okwagala okutajjulukuka? Biki bye tuyiga mu kitabo kya Luusi ebikwata ku kulaga abalala okwagala okutajjulukuka? Tuyinza tutya okulaga abalala okwagala okutajjulukuka leero? Miganyulo ki abo abalaga okwagala okutajjulukuka gye bafuna?

BAANI BE TUSAANIDDE OKULAGA OKWAGALA OKUTAJJULUKUKA

4. Tuyinza tutya okukoppa Yakuwa mu kulaga abalala okwagala okutajjulukuka? (Mak. 10:29, 30)

4 Nga gwe twalaba mu kitundu ekyayita, okwagala okutajjulukuka Yakuwa akulaga abo bokka abamwagala era abamuweereza. (Dan. 9:4) Twagala ‘okukoppa Katonda ng’abaana abaagalwa.’ (Bef. 5:1) N’olwekyo, tusaanidde okulaga bakkiriza bannaffe okwagala okutajjulukuka.​—Soma Makko 10:29, 30.

5-6. Makulu ki abantu ge batera okufuna bwe bawulira ekigambo “obwesigwa”?

5 Bwe tutegeera obulungi okwagala okutajjulukuka kye kutegeeza, awo kitubeerera kyangu okukulaga bakkiriza bannaffe. Okusobola okweyongera okutegeera obulungi okwagala okutajjulukuka kye kutegeeza, ka tulabe engeri gye kwawukana ku bwesigwa. Lowooza ku kyokulabirako kino.

 6 Leero omuntu bw’aba ng’akoledde kampuni okumala emyaka mingi, abantu bayinza okugamba nti omuntu oyo mwesigwa eri kampuni eyo. Kyokka mu myaka egyo gyonna, ayinza okuba nga talabaganangako n’omu ku bannannyini kampuni eyo. Ayinza okuba ng’oluusi takkiriziganya n’ebyo bannannyini kampuni eyo bye baba basazeewo. Tayagala kampuni eyo, naye musanyufu olw’okuba alina omulimu ogumusobozesa okweyimirizaawo. Okuggyako ng’afunye omulimu awalala ogusingako obulungi, ajja kweyongera okukola mu kampuni eyo okutuusa lw’anaatuuka mu myaka egy’okuwummuzibwa.

7-8. (a) Kiki ekireetera omuntu okulaga okwagala okutajjulukuka? (b) Lwaki tugenda kwekenneenya ebimu ku ebyo ebyogerwako mu kitabo kya Luusi?

7 Nga bwe tulabye mu  katundu 6, enjawulo eriwo wakati w’okwagala okutajjulukuka n’obwesigwa, kye kigendererwa omuntu ky’aba nakyo. Lwaki abaweereza ba Katonda aboogerwako mu Bayibuli baalaga abalala okwagala okutajjulukuka? Abo abaalaga abalala okwagala okutajjulukuka tebaakikola lwa kuwalirizibwa, wabula baakikola lwa kwagala. Lowooza ku Dawudi. Okwagala kwe kwamuleetera okulaga mukwano gwe Yonasaani okwagala okutajjulukuka, wadde nga kitaawe wa Yonasaani yali ayagala kutta Dawudi. Ne bwe waali wayise emyaka nga Yonasaani amaze okufa, Dawudi yeeyongera okulaga Mefibosesi, mutabani wa Yonasaani, okwagala okutajjulukuka.​—1 Sam. 20:9, 14, 15; 2 Sam. 4:4; 8:15; 9:1, 6, 7.

8 Waliwo bingi bye tusobola okuyiga ku kwagala okutajjulukuka bwe twekenneenya ebimu ku ebyo ebyogerwako mu kitabo kya Luusi. Biki bye tuyiga ku kwagala okutajjulukuka bwe twekenneenya ebikwata ku bamu ku bantu aboogerwako mu kitabo ekyo? Ebyo bye tuyiga tuyinza tutya okubikolerako mu kibiina kyaffe? *

BIKI BYE TUYIGA MU KITABO KYA LUUSI EBIKWATA KU KULAGA ABALALA OKWAGALA OKUTAJJULUKUKA

9. Lwaki Nawomi yalowooza nti Yakuwa ye yali amuleetedde ebizibu bye yali afunye?

9 Mu kitabo kya Luusi, tusoma ku Nawomi, ku Luusi muka mwana we, ne ku Bowaazi omusajja eyali atya Katonda era eyalina oluganda ku bba wa Nawomi. Olw’enjala eyagwa mu Isirayiri, Nawomi, omwami we, ne batabani baabwe ababiri baasengukira mu Mowaabu. Bwe baali eyo, bba wa Nawomi yafa. Batabani ba Nawomi baawasa abakazi, naye eky’ennaku abavubuka abo nabo baafa. (Luus. 1:3-5; 2:1) Ekyo kyaleetera Nawomi ennaku ey’amaanyi. Ennaku yamuyitirirako n’atuuka n’okulowooza nti Yakuwa ye yali amuleetedde ebizibu ebyo. Weetegereze bwe yayogera ku Yakuwa: “Omukono gwa Yakuwa gunzitooweredde.” “Omuyinza w’Ebintu Byonna azibuwazza nnyo obulamu bwange.” Ate era yagamba nti: “Yakuwa yannwanyisa, . . . Omuyinza w’Ebintu Byonna yandabya ennaku.”​—Luus. 1:13, 20, 21.

10. Yakuwa yakola ki nga Nawomi ayogedde ebigambo ebitaali birungi?

10 Kiki Yakuwa kye yakola nga Nawomi ayogedde ebigambo ebyo? Teyalekayo kuyamba Nawomi. Mu kifo ky’ekyo, yamusaasira. Yakuwa akimanyi nti “okunyigirizibwa kuyinza okulalusa ow’amagezi.” (Mub. 7:7) Naye Nawomi yali yeetaaga okuyambibwa okusobola okukiraba nti Yakuwa yali tamwabulidde. Katonda yamuyamba atya? (1 Sam. 2:8) Yaleetera Luusi okulaga Nawomi okwagala okutajjulukuka. Luusi yayamba Nawomi obutennyamira nnyo n’okukimanya nti Yakuwa yali akyamwagala. Kiki kye tuyigira ku Luusi?

11. Lwaki baganda baffe ne bannyinaffe ab’ekisa bayamba abo ababa mu nnaku?

11 Okwagala okutajjulukuka kutuleetera okuyamba abo ababa mu nnaku. Nga Luusi bwe yanywerera ku Nawomi, ab’oluganda ne bannyinaffe ab’ekisa banywerera ku bakkiriza bannaabwe ababa mu nnaku oba ababa bennyamidde. Baagala nnyo bakkiriza bannaabwe, era beetegefu okukola kyonna kye basobola okubayamba. (Nge. 12:25; 24:10) Ekyo kituukagana n’okubuulirira kwa Pawulo kuno: ‘Mubudaabude abennyamivu, muyambe abanafu, era mugumiikirize bonna.’​—1 Bas. 5:1.

Bwe tuwuliriza obulungi, tusobola okuyamba mukkiriza munnaffe aba mu nnaku (Laba akatundu 12)

12. Emu ku ngeri ezisingayo obulungi ey’okuyambamu mukkiriza munnaffe aba yennyamidde y’eruwa?

12 Emu ku ngeri ezisingayo obulungi gye tuyinza okuyambamu mukkiriza munnaffe aba yennyamidde kwe kumuwuliriza n’okumukakasa nti tumwagala nnyo. Bw’ofaayo ku emu ku ndiga za Yakuwa ez’omuwendo, Katonda waffe akiraba. (Zab. 41:1) Engero 19:17 wagamba nti: “Alaga omunaku ekisa aba awola Yakuwa, era ajja kumusasula olw’ekyo ky’akola.”

Luusi anywerera ku nnyazaala we, Nawomi, ate ye Olupa addayo e Mowaabu. Luusi agamba Nawomi nti: “Gy’onoogendanga gye nnaagendanga” (Laba akatundu 13))

13. Luusi yayawukana atya ku Olupa, era lwaki tugamba nti Luusi yayoleka okwagala okutajjulukuka? (Laba ekifaananyi ku ddiba.)

13 Tusobola okweyongera okutegeera engeri y’okulagamu abalala okwagala okutajjulukuka bwe twetegereza ekyo ekyaliwo nga Nawomi amaze okufiirwa omwami we ne batabani be ababiri. Nawomi bwe yakitegeera nti “Yakuwa yali ajjukidde abantu be n’abawa emmere,” yasalawo okuddayo ewaabwe. (Luus. 1:6) Baka batabani be baasalawo okugenda naye. Kyokka bwe baali mu kkubo nga bagenda, emirundi esatu, Nawomi yakubiriza abakazi abo okuddayo ewaabwe mu Mowaabu. Kiki kye baakola? Bayibuli egamba nti: “Olupa n’anywegera nnyazaala we n’agenda, naye ye Luusi n’amunywererako.” (Luus. 1:7-14) Olupa okusalawo okuddayo ewaabwe, yali akola ekyo Nawomi kye yamugamba, kwe kugamba, yakola ekyo ekyali kimusuubirwamu. Kyokka ye Luusi yakola ekisingawo. Naye yali wa ddembe okugenda ewaabwe. Kyokka olw’okuba yali ayagala nnyo nnyazaala we eyali mu bwetaavu, yasalawo okusigala naye. (Luus. 1:16, 17) Luusi yasalawo okunywerera ku Nawomi, si lwa kuba nti yali ateekeddwa okumunywererako, wabula lwa kuba nti ekyo yali akyagala. Luusi yayoleka okwagala okutajjulukuka. Kiki kye tuyigira ku ekyo Luusi kye yakola?

14. (a) Baganda baffe ne bannyinaffe bangi bakoppye batya Luusi? (b) Okusinziira ku Abebbulaniya 13:16, ssaddaaka ki ezisanyusa Katonda?

14 Bwe tuba n’okwagala okutajjulukuka, tukola ekisingawo ku ekyo ekitusuubirwamu. Nga bwe kyali mu biseera eby’edda, leero baganda baffe ne bannyinaffe bangi balaze bakkiriza bannaabwe okwagala okutajjulukuka, nga mwe muli n’abo be batalabangako. Ng’ekyokulabirako, bwe wagwawo akatyabaga, mangu ddala baba baagala okumanya engeri gye bayinza okuyambamu. Mukkiriza munnaabwe mu kibiina bw’ayolekagana n’ebizibu, tebalonzalonza kubaako kye bakolawo okumuyamba. Okufaananako Abakristaayo ab’omu Masedoniya abaaliwo mu kyasa ekyasooka, bakola ekisingawo ku ekyo ekibasuubirwamu. Babaako bye beefiiriza ne bawaayo ‘ekisukka ku busobozi bwabwe’ okusobola okuyamba baganda baabwe ababa bafunye ebizibu. (2 Kol. 8:3) Mazima ddala Yakuwa asanyuka nnyo bw’alaba nga balaga abalala okwagala okutajjulukuka!​—Soma Abebbulaniya 13:16.

TUYINZA TUTYA OKWOLEKA OKWAGALA OKUTAJJULUKUKA LEERO?

15-16. Luusi yakiraga atya nti yali mumalirivu okuyamba Nawomi?

15 Waliwo bingi bye tusobola okuyiga bwe twekenneenya engeri Luusi gye yayambamu Nawomi. Ka tulabe ebimu ku byo.

16 Kola kyonna ky’osobola okuyamba. Luusi bwe yagamba Nawomi nti yali agenda naye mu Yuda, mu kusooka Nawomi yagaana. Naye luusi teyaggwaamu maanyi. Biki ebyavaamu? “Nawomi bwe yalaba nga Luusi akalambidde ku ky’okugenda naye, n’alekera awo okumwegayirira okuddayo ewaabwe.”​—Luus. 1:15-18.

17. Kiki ekinaatuyamba obutanguwa kulekayo kuyamba muntu aba mu bwetaavu?

17 Kye tuyiga: Kyetaagisa obugumiikiriza okusobola okuyamba abo ababa bennyamidde, naye tusaanidde okweyongera okugezaako okubayamba. Mwannyinaffe aba mu bwetaavu mu kusooka ayinza okugaana obuyambi bwe tuba twagala okumuwa. * Naye bwe tuba n’okwagala okutajjulukuka, tetujja kumuleka. (Bag. 6:2) Tusuubira nti oluvannyuma ajja kukkiriza obuyambi bwe tumuwa asobole okubudaabudibwa.

18. Kintu ki ekiyinza okuba nga kyaluma Luusi?

18 Tonyiiga. Nawomi ne Luusi bwe baatuuka mu Besirekemu, Nawomi yasisinkana abaali baliraanwa be. Yabagamba nti: “Nnalina bingi we nnagendera, naye Yakuwa ankomezzaawo ngalo nsa.” (Luus. 1:21) Lowooza ku ngeri ebigambo bya Nawomi ebyo gye byakwata ku Luusi! Luusi yali alina bingi by’akoze okuyamba Nawomi. Yali akaabidde wamu naye, yali afubye okumubudaabuda, era yali atindizze naye olugendo oluwanvu okumala ennaku nnyingi. Wadde nga Luusi yakola ebyo byonna, Nawomi yagamba nti: “Yakuwa ankomezzaawo ngalo nsa.” Wadde nga Luusi yali ayimiridde wamu ne Nawomi mu kiseera ekyo, ebigambo Nawomi bye yayogera byali ng’ebiraga nti yali tasiimye ebyo Luusi bye yali amukoledde. Ekyo nga kiteekwa okuba nga kyaluma nnyo Luusi. Wadde kyali kityo, Luusi yanywerera ku Nawomi.

19. Kiki ekiyinza okutuyamba okunywerera ku mukkiriza munnaffe aba ayolekagana n’ebizibu?

19 Kye tuyiga: Leero mwannyinaffe aba ayolekagana n’ebizibu, mu kusooka ayinza okwogera naffe mu ngeri etulumya, wadde nga tuba tufubye nnyo okumuyamba. Wadde kiri kityo, tusaanidde okufuba okulaba nti tetunyiiga. Tusaanidde okunywerera ku muganda waffe oyo era ne tusaba Yakuwa atuyambe okulaba engeri gye tusobola okumubudaabudamu.​—Nge. 17:17.

Abakadde bayinza batya okukoppa Bowaazi? (Laba akatundu 20-21)

20. Kiki ekyayamba Luusi okuddamu amaanyi ge yali yeetaaga?

20 Bw’olaba omuntu eyeetaaga okuzzibwamu amaanyi, fuba okumuzzaamu amaanyi. Luusi yali alaze Nawomi okwagala okutajjulukuka, kyokka naye yali yeetaaga okuzzibwamu amaanyi. Yakuwa yaleetera Bowaazi okumuzzaamu amaanyi. Bowaazi yagamba Luusi nti: “Yakuwa akusasule olw’ebyo bye wakola, era Yakuwa Katonda wa Isirayiri akuwe empeera enzijuvu, kubanga oddukidde wansi w’ebiwaawaatiro bye okufuna obukuumi.” Ebigambo ebyo ebizzaamu amaanyi byakwata nnyo ku Luusi. Luusi yagamba Bowaazi nti: “Oŋŋumizza era oyogedde ebigambo ebizzaamu omuweereza wo amaanyi.” (Luus. 2:12, 13) Ebigambo bya Bowaazi byazzaamu nnyo Luusi amaanyi.

21. Nga bwe kiragibwa mu Isaaya 32:1, 2, kiki abakadde abafaayo kye bakola?

21 Kye tuyiga: Abo abalaga abalala okwagala okutajjulukuka oluusi nabo baba beetaaga okuzzibwamu amaanyi. Nga Bowaazi bwe yagamba Luusi nti ebintu eby’ekisa bye yali akola abalala baali babiraba, ne leero abakadde basaanidde okukiraga nti basiima bakkiriza bannaabwe abafuba okuyamba abo ababa mu bwetaavu. Ekyo kiyamba nnyo bakkiriza bannaabwe abo okuddamu amaanyi.​—Soma Isaaya 32:1, 2.

ABO ABALAGA ABALALA OKWAGALA OKUTAJJULUKUKA BAGANYULWA BATYA?

22-23. Endowooza ya Nawomi yakyuka etya, era lwaki? (Zabbuli 136:23, 26)

22 Oluvannyuma Bowaazi yawa Luusi ne Nawomi emmere. (Luus. 2:14-18) Ekyo kyakwata kitya ku Nawomi? Yagamba nti: “Yakuwa ataleseeyo kulaga abalamu n’abafu okwagala okutajjulukuka, amuwe omukisa.” (Luus. 2:20a) Kati endowooza ya Nawomi yali ekyuse. Emabegako yali agambye nti: “Yakuwa yannwanyisa.” Kyokka kati agamba nti: “Yakuwa ataleseeyo kulaga . . . okwagala okutajjulukuka.” Kiki ekiyinza okuba nga kye kyaleetera Nawomi okukyusa endowooza ye?

23 Nawomi yamala n’akiraba nti Yakuwa yali amuyamba. Yakuwa yali akozesezza Luusi okuyamba Nawomi ng’atindigga olugendo okukomawo mu Yuda. (Luus. 1:16) Ate era Nawomi yakiraba nti Yakuwa yali amuyamba, Bowaazi omu ku “banunuzi” baabwe bwe yabawa emmere. * (Luus. 2:19, 20b) Nawomi ayinza okuba nga muli yagamba nti, ‘Kati nkitegedde nti Yakuwa tandekanga. Abadde nange ekiseera kino kyonna!’ (Soma Zabbuli 136:23, 26.) Nawomi ateekwa okuba nga yasiima nnyo okuba nti Luusi ne Bowaazi baali bamuyambye. Bonna bateekwa okuba nga baasanyuka nnyo okukiraba nti Nawomi yaddamu okufuna essanyu n’amaanyi n’asobola okweyongera okuweereza Yakuwa.

24. Lwaki tusaanidde okweyongera okulaga bakkiriza bannaffe okwagala okutajjulukuka?

24 Biki bye tuyize mu kitabo kya Luusi ebikwata ku kwagala okutajjulukuka? Okwagala okutajjulukuka kutuyamba obutayanguwa kulekayo kuyamba bakkiriza bannaffe ababeera mu nnaku. Ate era kutuleetera okubaako bye twefiiriza okusobola okubayamba. Abakadde basaanidde okuzzaamu amaanyi abo abalaga abalala okwagala okutajjulukuka. Bwe tulaba ng’abo abali mu nnaku bazzeemu amaanyi ne beeyongera okuweereza Yakuwa, tufuna essanyu lingi. (Bik. 20:35) Naye ensonga esingira ddala okutuleetera okweyongera okulaga abalala okwagala okutajjulukuka kwe kuba nti twagala okukoppa n’okusanyusa Yakuwa, alina ‘okwagala okungi okutajjulukuka.’​—Kuv. 34:6; Zab. 33:22.

OLUYIMBA 130 Sonyiwanga

^ lup. 5 Yakuwa ayagala tulage baganda baffe ne bannyinaffe mu kibiina okwagala okutajjulukuka. Tusobola okweyongera okutegeera obulungi okwagala okutajjulukuka bwe twekenneenya engeri abamu ku baweereza ba Katonda mu biseera eby’edda gye baakwolekamu. Mu kitundu kino tugenda kulaba bye tuyinza okuyigira ku Luusi, Nawomi, ne Bowaazi.

^ lup. 8 Okusobola okuganyulwa mu bujjuvu mu kitundu kino, tukukubiriza okusoma Luusi essuula 1 ne 2.

^ lup. 17 Olw’okuba twekenneenya kyakulabirako kya Nawomi, mu kitundu kino twogedde ku bannyinaffe, naye ensonga ezikirimu zikwata ne ku b’oluganda.

^ lup. 23 Okusobola okumanya ebisingawo ku kifo Bowaazi kye yalina ng’omununuzi, laba ekitundu “Koppa Okukkiriza Kwabwe​—‘Omukazi Omwegendereza,’” mu Watchtower eya Okitobba 1, 2012, lup. 20.