Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 47

Okukkiriza Kwo Kunaaba kwa Maanyi Kwenkana Wa?

Okukkiriza Kwo Kunaaba kwa Maanyi Kwenkana Wa?

‘Emitima gyammwe ka gireme kweraliikiriranga. Mube n’okukkiriza.’​—YOK. 14:1.

OLUYIMBA 119 Tulina Okuba n’Okukkiriza

OMULAMWA *

1. Kibuuzo ki kye tuyinza okwebuuza?

OLUUSI owulira nga weeraliikiridde bw’olowooza ku bintu ebijja mu maaso awo, gamba ng’okuzikirizibwa kw’amadiini ag’obulimba, obulumbaganyi bwa Googi ow’e Magoogi, n’olutalo Amagedoni? Oluusi weebuuza nti, ‘Ekiseera ekyo bwe kinaatuuka, nnaasobola okukiyitamu ne nsigala nga ndi mwesigwa eri Yakuwa?’ Bwe kiba bwe kityo, ojja kuganyulwa nnyo mu kwetegereza ebigambo bya Yesu ebiri mu kyawandiikibwa ekyesigamiziddwako ekitundu kino. Yesu yagamba abayigirizwa be nti: ‘Emitima gyammwe ka gireme kweraliikiriranga. Mube n’okukkiriza.’ (Yok. 14:1) Okukkiriza okw’amaanyi kujja kutusobozesa okuyita mu kiseera ekyo nga tuli bavumu ka kibe ki ekinaabaawo.

2. Tuyinza tutya okunyweza okukkiriza kwaffe, era kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

2 Bwe tulowooza ku ngeri gye tweyisaamu kati nga twolekaganye n’ebintu ebigezesa okukkiriza kwaffe, kijja kutuyamba okulaba engeri gye tuyinza okunywezaamu okukkiriza kwaffe, kitusobozese okwaŋŋanga ebigezo ebijja mu maaso. Buli lwe tuyita mu kigezo, okukkiriza kwaffe kweyongera okunywera. Era ekyo kijja kutuyamba okugumira ebigezo ebijja mu maaso. Mu kitundu kino tugenda kulaba ebigezo bya mirundi ena abayigirizwa ba Yesu bye baayolekagana nabyo ebyalaga nti baali beetaaga okweyongera okunyweza okukkiriza kwabwe. Oluvannyuma tugenda kulaba engeri gye tuyinza okwaŋŋangamu ebigezo bye bimu leero, era n’engeri ekyo gye kijja okututeekateeka tusobole okwaŋŋanga ebigezo ebijja mu maaso.

TWETAAGA OKUBA N’OKUKKIRIZA NTI KATONDA AJJA KUKOLA KU BYETAAGO BYAFFE EBY’OMUBIRI

Bwe tuba twolekagana n’ebizibu eby’eby’enfuna, okukkiriza kujja kutuyamba okukulembeza Obwakabaka (Laba akatundu 3-6)

3. Okusinziira ku Matayo 6:30, 33, kiki Yesu kye yatukakasa singa tuba n’okukkiriza?

3 Kya bulijjo omutwe gw’amaka okwagala okufunira ab’omu maka ge emmere, eby’okwambala, n’aw’okusula. Obuvunaanyizibwa obwo si bwangu bwa kutuukiriza mu kiseera kino ekizibu. Bakkiriza bannaffe abamu baafiirwa emirimu gyabwe, era wadde nga bafubye okunoonya emirala tebagifunye. Ate abalala baalina okugaana emirimu egikontana n’emisingi gya Bayibuli. Mu mbeera ng’ezo tuba twetaaga okuba n’okukkiriza nti Yakuwa ajja kutuyamba okukola ku byetaago by’ab’omu maka gaffe. Ekyo Yesu yakikakasa abayigirizwa be mu kuyigiriza kwe okw’oku lusozi. (Soma Matayo 6:30, 33.) Bwe tuba abakakafu nti Yakuwa tayinza kutwabulira, kijja kutusobozesa okumalira ebirowoozo byaffe ku kumuweereza. Bwe tulaba engeri Yakuwa gy’akola ku byetaago byaffe eby’omubiri, ajja kufuuka wa ddala gye tuli era okukkiriza kwaffe kujja kweyongera okunywera.

4-5. Biki ebyayamba ab’omu maka agamu bwe baali beeraliikirira engeri y’okufunamu ebyetaago byabwe eby’omubiri?

4 Lowooza ku ngeri ab’omu maka agamu mu Venezuela gye bakirabyemu nti Yakuwa akola ku byetaago byabwe eby’omubiri. Mu kusooka, ab’omu maka g’ow’oluganda Miguel Castro baalina faamu eyali ebayamba okweyimirizaawo era nga bali bulungi. Kyokka lumu abasajja ab’emmundu bajja ne babatwalako faamu yaabwe era ne babagoba. Ow’oluganda Miguel agamba nti: “Kati tweyimirizaawo nga tulimira ku kataka akatono ke tweyazika. Buli lunaku ndutandika nga nsaba Yakuwa okutuwa ebyetaago byaffe eby’olunaku olwo.” Obulamu si bwangu eri ab’omu maka ago, naye olw’okuba beesiga Kitaabwe ow’omu ggulu okukola ku byetaago byabwe ebya buli lunaku, teboosa nkuŋŋaana era beenyigira mu mulimu gw’okubuulira obutayosa. Bakulembeza Obwakabaka, era Yakuwa abawa bye beetaaga.

5 Mu bizibu byonna bye boolekaganye nabyo, Miguel ne mukyala we Yurai ebirowoozo babitadde ku ngeri Yakuwa gy’abalabiriramu. Ebiseera ebimu Yakuwa akozesezza bakkiriza bannaabwe okukola ku bimu ku byetaago byabwe eby’omubiri, oba okunoonyeza ow’oluganda Miguel omulimu. Ate ebiseera ebirala Yakuwa akozesezza ofiisi y’ettabi okukola ku bimu ku byetaago byabwe eby’omubiri. Yakuwa tabalekeredde. N’ekivuddemu, bakirabye nti okukkiriza kw’ab’omu maka gaabwe kweyongedde okunywera. Oluvannyuma lw’okwogera ku ngeri emu Yakuwa gye yabalabiriramu, muwala waabwe omukulu ayitibwa Yoselin agamba nti: “Nkwatibwako nnyo bwe ndaba engeri Yakuwa gy’atuyambamu. Kati mmutwala nga mukwano gwange gwe nsobola okwesigira ddala.” Agattako nti: “Ebizibu bye tuyiseemu ng’amaka bituteeseteese okugumira ebizibu ebirala ebijja mu maaso.”

6. Oyinza otya okunyweza okukkiriza kwo ng’oyolekagana n’ebizibu by’eby’enfuna?

6 Oyolekagana n’ebizibu by’eby’enfuna? Bwe kiba bwe kityo, embeera eyo eteekwa okuba nga nzibu nnyo gy’oli. Kyokka embeera gy’olimu ne bw’eba nga nzibu etya, osobola okukozesa ekiseera kino okunyweza okukkiriza kwo. Saba Yakuwa, oluvannyuma osome era ofumiitirize ku bigambo ebiri mu Matayo 6:25-34. Lowooza ku byokulabirako eby’omu kiseera kino ebiraga nti Yakuwa alabirira abo abeemalidde ku kumuweereza. (1 Kol. 15:58) Bw’onookola bw’otyo, ojja kweyongera okuba omukakafu nti Kitaawo ow’omu ggulu ajja kukulabirira nga bw’alabiridde abo abali mu mbeera efaananako eyiyo. Amanyi bye weetaaga, era asobola okukuyamba okubifuna. Bw’olaba engeri Yakuwa gy’akuyambamu, okukkiriza kwo kujja kweyongera okunywera kikusobozese okugumira ebigezo ebisingako obunene ebijja mu maaso.​—Kaab. 3:17, 18.

TWETAAGA OKUBA N’OKUKKIRIZA OKUSOBOLA OKUGUMIRA “OMUYAGA OGW’AMAANYI”

Okukkiriza okw’amaanyi kusobola okutuyamba okugumira ekizibu kyonna (Laba akatundu 7-11)

7. Okusinziira ku Matayo 8:23-26, “omuyaga ogw’amaanyi” gwagezesa gutya okukkiriza kw’abatume?

7 Abayigirizwa ba Yesu bwe baali batidde nnyo olw’omuyaga ogw’amaanyi ogwali ku nnyanja, Yesu yakozesa akakisa ako okubalaga nti baali beetaaga okweyongera okunyweza okukkiriza kwabwe. (Soma Matayo 8:23-26.) Omuyaga ogw’amaanyi bwe gwali gukuba eryato, Yesu ye yali yeebase. Abayigirizwa be abaali batidde ennyo bwe baamuzuukusa ne bamugamba abawonye, Yesu yabaddamu mu bukkakkamu nti: “Lwaki mutidde nnyo mmwe abalina okukkiriza okutono?” Abayigirizwa abo abaali batidde bandibadde bakitegeera nti Yakuwa yali asobola okukuuma Yesu n’abo be yali nabo. Ekyo kituyigiriza ki? Bwe tuba n’okukkiriza okw’amaanyi, tusobola okwaŋŋanga ekizibu kyonna kye tuba twolekaganye nakyo, ka kibe kya maanyi ng’omuyaga.

8-9. Okukkiriza kwa Anel kwagezesebwa kutya, era kiki ekyamuyamba?

8 Lowooza ku Anel, mwannyinaffe ali obwannamunigina abeera mu Puerto Rico, eyayolekagana n’ekizibu eky’amaanyi ekyagezesa okukkiriza kwe. Omuyaga oguyitibwa Maria ogwayita mu nsi eyo mu 2017 gwasaanyaawo ennyumba ye, era gwamuviirako n’okufiirwa omulimu gwe. Agamba nti: “Mu biseera ebyo ebyali ebizibu ennyo, nnawulira nga ndi mweraliikirivu nnyo. Naye nnasaba Yakuwa, era sakkiriza mbeera eyo kummalamu maanyi.”

9 Anel agamba nti ekintu ekirala ekyamuyamba okugumira ebizibu ebyo bwe buwulize. Agamba nti: “Okukolera ku bulagirizi obwatuweebwa ekibiina kya Yakuwa kyannyamba okusigala nga ndi mukkakkamu. Yakuwa yakozesa ab’oluganda okunzizaamu amaanyi mu by’omwoyo n’okukola ku byetaago byange eby’omubiri.” Agattako nti: “Yakuwa yampa n’ebisinga ku ebyo bye nnali nneetaaga, era okukkiriza kwange kweyongera okunywera.”

10. Kiki ky’oyinza okukola ng’oyolekagana n’ekizibu eky’amaanyi?

10 Waliwo ‘omuyaga’ ogw’amaanyi gw’oyolekagana nagwo mu bulamu. Oboolyawo oyinza okuba ng’obonaabona olw’akatyabaga akaagwawo, oba ng’olina obulwadde obw’amaanyi obukumazeeko emirembe. Oluusi oyinza okuwulira ng’oli mweraliikirivu, naye tokkiriza ebyo ebikweraliikiriza kukuleetera kulekera awo kwesiga Yakuwa. Musabenga era nnyweza okukkiriza kwo ng’ofumiitiriza ku ngeri gy’azze akuyambamu. (Zab. 77:11, 12) Beera mukakafu nti tayinza kukwabulira.

11. Lwaki tusaanidde okugondera abo abatwala obukulembeze?

11 Kiki ekirala ekisobola okukuyamba okugumira ebizibu? Nga Anel ayogeddwako waggulu bw’agambye, bwe buwulize. Weesige abo Yakuwa ne Yesu be beesiga. Oluusi abo abatwala obukulembeze bayinza okutuwa obulagirizi obulabika ng’obutakola mu ndaba yaffe. Kyokka abawulize Yakuwa abawa omukisa. Ebyokulabirako ebiri mu Kigambo kye n’eby’abaweereza be abeesigwa abaliwo leero, biraga nti okuba abawulize kiwonyaawo obulamu. (Kuv. 14:1-4; 2 Byom. 20:17) Fumiitiriza ku byokulabirako ng’ebyo. Bw’onookola bw’otyo, kijja kukuyamba okuba omumalirivu okukoleranga ku bulagirizi obutuweebwa ekibiina kya Yakuwa. (Beb. 13:17) Era tojja kutya muyaga ogusingayo okuba ogw’amaanyi ogunaatera okujja.​—Nge. 3:25.

TWETAAGA OKUKKIRIZA OKUSOBOLA OKUGUMIRA OBUTALI BWENKANYA

Bwe tunyiikira okusaba, okukkiriza kwaffe kujja kuba kunywevu (Laba akatundu 12)

12. Okusinziira Lukka 18:1-8, kakwate ki akaliwo wakati w’okukkiriza n’okugumira obutali bwenkanya?

12 Yesu yali akimanyi nti obutali bwenkanya bwandigezesezza okukkiriza kw’abagoberezi be. Okusobola okubayamba okugumira embeera eyo, alina olugero lwe yagera oluli mu kitabo kya Lukka. Olugero olwo lukwata ku nnamwandu eyagendanga eri omulamuzi ataali mutuukirivu ng’amwegayirira abe mwenkanya ng’akola ku nsonga ze. Nnamwandu oyo yali mukakafu nti bw’atandikooye kugenda eri omulamuzi oyo, ensonga ze zandikoleddwako. Oluvannyuma omulamuzi yakola ku nsonga ze. Ekyo kituyigiriza ki? Yakuwa Katonda mwenkanya. Yesu yagamba nti: “Mazima ddala, Katonda talifaayo okulaba nti obwenkanya bubaawo eri abalonde be abamukaabirira emisana n’ekiro?” (Soma Lukka 18:1-8.) Ate era yagattako nti: “Omwana w’omuntu bw’alijja, ddala alisanga okukkiriza okw’engeri eno ku nsi?” Bwe tuyisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya, tusaanidde okukiraga nti tulina okukkiriza ng’okwa nnamwandu oyo nga tuba bagumiikiriza era nga tetukoowa kusaba Yakuwa. Okukkiriza ng’okwo kujja kutuyamba okuba abakakafu nti Yakuwa ajja kubaako ky’akolawo okutuyamba. Ate era tusaanidde okukijjukira nti okusaba kukulu nnyo. Oluusi essaala zaffe ziyinza okuddibwamu mu ngeri gye tutasuubira.

13. Okusaba kwayamba kutya ab’omu maka agamu?

13 Lowooza ku mwannyinaffe Vero abeera mu Congo. Vero, omwami we atali Mujulirwa wa Yakuwa, ne muwala waabwe ow’emyaka 15 bwe baali badduka okuva ku kyalo kyabwe ekyali kirumbiddwa abayeekera, baasanga akabinja akalala ak’abayeekera mu kkubo. Abayeekera abo baabayimiriza era ne bagamba nti baali bagenda kubatta. Vero bwe yatandika okukaaba, muwala we yamusirisa era n’asaba mu ddoboozi eriwulikika ng’akozesa erinnya lya Yakuwa. Bwe yamala okusaba, omuduumizi w’akabinja k’abayeekera ako yamubuuza nti, “Muwala, ani yakuyigiriza okusaba?” Yamuddamu nti, “Maama wange ye yanjigiriza okusaba ng’akozesa essaala ey’okulabirako eri mu Matayo 6:9-13.” Omuduumizi w’abayeekera yamugamba nti, “Genda ne bazadde bo, era Yakuwa Katonda wammwe abakuume.”

14. Kiki ekiyinza okugezesa okukkiriza kwaffe, era kiki ekijja okutuyamba okugumiikiriza?

14 Ebyokulabirako ng’ebyo bituyigiriza nti okusaba kukulu nnyo. Naye watya singa essaala zo teziddibwamu mangu? Okufaananako nnamwandu ayogerwako mu lugero lwa Yesu, weeyongere okusaba ng’oli mukakafu nti Yakuwa tasobola kukwabulira, era nti ajja kuddamu essaala zo mu kiseera ekituufu. Weeyongere okwegayirira Yakuwa akuwe omwoyo gwe omutukuvu. (Baf. 4:13) Kijjukire nti mu kiseera ekitali kya wala, Yakuwa ajja kukuwa emikisa mingi gikwerabize n’okubonaabona kwonna kw’oyitamu kati. Bwe weeyongera okugumira ebizibu mu kiseera kino, okukkiriza kwo kujja kweyongera okunywera kikusobozese okugumira ebizibu ebijja mu maaso.​—1 Peet. 1:6, 7.

TWETAAGA OKUBA N’OKUKKIRIZA OKUSOBOLA OKUGUMIRA EBIZIBU

15. Okusinziira ku Matayo 17:19, 20, kizibu ki abayigirizwa ba Yesu kye baayolekagana nakyo?

15 Yesu yayigiriza abagoberezi nti okukkiriza kwandibayambye okugumira ebizibu. (Soma Matayo 17:19, 20.) Lumu baalemererwa okugoba dayimooni wadde ng’ekyo baali bakikoze ku mirundi emirala. Lwaki tebaasobola kugoba dayimooni eyo? Yesu yabagamba nti baali beetaaga okuba n’okukkiriza okw’amaanyi. Yabagamba nti singa baalina okukkiriza okw’amaanyi, bandisobodde okwaŋŋanga ebizibu ebiri ng’olusozi! Leero naffe tuyinza okwolekagana n’ebizibu eby’amaanyi ennyo.

Tuyinza okuba nga tuwulira obulumi bungi ku mutima, naye okukkiriza kujja kutuyamba okweyongera okuweereza Yakuwa (Laba akatundu 16)

16. Okukkiriza kuyambye kutya mwannyinaffe Geydi okugumira ekizibu eky’amaanyi kye yafuna?

16 Lowooza ku mwannyinaffe ayitibwa Geydi abeera mu Guatemala. Omwami we Edi yatemulwa bwe baali baddayo eka nga bava mu nkuŋŋaana. Okukkiriza kuyambye kutya mwannyinaffe Geydi okugumira obulumi obwo? Agamba nti: “Okusaba kunnyamba okutikka Yakuwa omugugu gwange, era ekyo kindeetera okuwulira emirembe mu mutima. Ndaba engeri Yakuwa gy’annyambamu ng’ayitira mu b’omu maka gange, mu mikwano gyange, n’ab’oluganda mu kibiina. Okuba n’eby’okukola ebingi mu buweereza bwange eri Yakuwa nakyo kinnyamba obutawulira nnyo bulumi n’obuteeraliikirira bya nkya. Oluvannyuma lw’okuyita mu kizibu ekyo ky’amaanyi, nkirabye nti Yakuwa, Yesu, n’ab’oluganda mu kibiina, basobola okunnyamba okuyita mu kigezo kyonna kye nnyinza okwolekagana nakyo mu maaso.”

17. Kiki kye tusaanidde okukola nga twolekagana n’ekizibu eky’amaanyi?

17 Owulira obulumi olw’okufiirwa omuntu wo? Nyweza okukkiriza kwo ng’osoma ebyawandiikibwa ebyogera ku kuzuukira. Olina omu ku b’eŋŋanda zo eyagobebwa mu kibiina? Weesomese osobole okukakasa nti engeri Yakuwa gy’akangavvulamu y’esingayo obulungi. K’obe ng’oyolekagana na kizibu ki, kitwale ng’akakisa k’ofunye okweyongera okunyweza okukkiriza kwo. Weeyabize Yakuwa. Teweeyawula ku balala; mu kifo kyekyo, weeyongere okubeera awamu ne bakkiriza banno. (Nge. 18:1) Weenyigire mu bintu ebinaakuyamba okugumiikiriza, wadde ng’okukola ebintu ebyo kiyinza okukuleetera okujjukira ebyaliwo. (Zab. 126:5, 6) Weeyongere okugendanga mu nkuŋŋaana obutayosa, okubuulira, n’okusoma Bayibuli. Ate era ebirowoozo byo bimalire ku bintu ebirungi Yakuwa by’asuubiza okutukolera mu biseera eby’omu maaso. Bw’olaba engeri Yakuwa gy’akuyambamu, okukkiriza kwo kujja kweyongera okunywera.

“TWONGERE OKUKKIRIZA”

18. Bw’okiraba nti weetaaga okwongera okunyweza okukkiriza kwo, kiki ky’osaanidde okukola?

18 Bwe wabaawo ekizibu kyonna kye wafuna ekyakulaga nti weetaaga okweyongera okunyweza okukkiriza kwo, toggwaamu maanyi. Ako katwale ng’akakisa okweyongera okunyweza okukkiriza kwo. Naawe saba okukkiriza kwo kweyongereko ng’abatume ba Yesu bwe baakola. (Luk. 17:5) Ate era lowooza ku byokulabirako bye tulabye mu kitundu kino. Okufaananako Miguel ne Yurai, teweerabira ngeri Yakuwa gy’azze akuyambamu. Okufaananako muwala wa Vero ne Anel, saba nnyo Yakuwa naddala ng’oyolekagana n’ekizibu eky’amaanyi. Era okufaananako Geydi, kijjukire nti Yakuwa asobola okukuyamba ng’ayitira mu b’eŋŋanda zo oba mikwano gyo. Bw’olaba engeri Yakuwa gy’akuyambamu okugumira ebizibu by’ofuna kati, ojja kuba mukakafu nti ajja kukuyamba okugumira n’ebyo by’onoofuna mu biseera eby’omu maaso.

19. Yesu yali mukakafu ku ki, era naffe tuyinza kuba bakakafu ku ki?

19 Yesu yayamba abayigirizwa be okukiraba nti baali beetaaga okwongera okunyweza okukkiriza kwabwe, naye teyaliimu kubuusabuusa kwonna nti Yakuwa yandibayambye okwaŋŋanga ebigezo bye bandifunye mu biseera eby’omu maaso. (Yok. 14:1; 16:33) Yali mukakafu nti okukkiriza okw’amaanyi kujja kusobozesa ab’ekibiina ekinene okuyita mu kibonyoobonyo ekinene ekijja. (Kub. 7:9, 14) Onoobeera omu ku bo? Yakuwa ajja kukuyamba okuyita mu kibonyoobonyo ekinene singa okozesa buli kakisa k’ofuna kati okunyweza okukkiriza kwo!​—Beb. 10:39.

OLUYIMBA 118 “Twongere Okukkiriza”

^ lup. 5 Twesunga ekiseera enkomerero y’enteekateeka eno ey’ebintu lw’enejja. Naye oluusi tuyinza okwebuuza obanga tunaaba n’okukkiriza okunaatusobozesa okuyita mu kiseera ekyo. Mu kitundu kino tugenda kulaba ebyokulabirako n’ebintu ebirala ebinaatuyamba okunyweza okukkiriza kwaffe.