Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 44

Yakuwa Akulaga Okwagala Okutajjulukuka

Yakuwa Akulaga Okwagala Okutajjulukuka

“Okwagala [kwa Yakuwa] okutajjulukuka kwa mirembe na mirembe.”​—ZAB. 136:1.

OLUYIMBA 108 Okwagala kwa Katonda Okutajjulukuka

OMULAMWA *

1. Kiki Yakuwa ky’atukubiriza okukola?

YAKUWA akitwala nga kikulu nnyo okulaga okwagala okutajjulukuka. (Kos. 6:6) Akubiriza abaweereza be nabo okulaga okwagala okutajjulukuka. Okuyitira mu nnabbi Mikka, Katonda waffe yatukubiriza nti ‘twagale okwagala okutajjulukuka.’ (Mi. 6:8, obugambo obuli wansi.) Ekyo okusobola okukikola tulina okusooka okumanya okwagala okutajjulukuka kye kutegeeza.

2. Okwagala okutajjulukuka kye ki?

2 Okwagala okutajjulukuka kye ki? Ebigambo “okwagala okutajjulukuka” birabika emirundi nga 230 mu Enkyusa ey’Ensi Empya. Okwagala okwo kye ki? Okusinziira ku “Awannyonnyolerwa Ebigambo Ebimu” mu Ekyusa ey’Ensi Empya, ‘Okwagala kuno kuva mu kuba omumalirivu okunywerera ku muntu, okuba omwesigwa gy’ali, n’obutamwabulira. Ebigambo ebyo bisinga kukozesebwa ku kwagala Katonda kw’alina eri abantu, naye era bisobola n’okukozesebwa ku kwagala okubaawo wakati w’abantu.’ Yakuwa y’ataddewo ekyokulabirako ekisingayo obulungi mu kwoleka okwagala okutajjulukuka. Mu kitundu kino tugenda kulaba engeri Yakuwa gy’alagamu abantu okwagala okutajjulukuka. Mu kitundu ekiddako tujja kulaba engeri gye tuyinza okukoppamu Yakuwa mu kulaga abalala okwagala okwo.

YAKUWA ALINA “OKWAGALA KUNGI OKUTAJJULUKUKA”

3. Yakuwa bwe yali ayogera ne Musa, yeeyogerako atya?

3 Bwe waali waakayita ekiseera kitono ng’Abayisirayiri bavudde e Misiri, Yakuwa alina ekintu kye yagamba Musa ekikwata ku linnya lye ne ku ngeri ze. Yamugamba nti: “Yakuwa, Yakuwa, Katonda omusaasizi era ow’ekisa, alwawo okusunguwala era alina okwagala kungi okutajjulukuka n’amazima amangi, alaga okwagala okutajjulukuka eri enkumi n’enkumi, asonyiwa ensobi, okwonoona, n’ebibi.” (Kuv. 34:6, 7) Mu bigambo ebyo ebyoleka ezimu ku ngeri za Yakuwa, Yakuwa alina ekintu eky’enjawulo kye yagamba Musa ekikwata ku kwagala kwe okutajjulukuka. Kintu ki ekyo?

4-5. (a) Yakuwa yeeyogerako atya? (b) Bibuuzo ki bye tugenda okuddamu?

4 Yakuwa teyagamba bugambi nti alina okwagala okutajjulukuka, wabula yagamba nti alina “okwagala kungi okutajjulukuka.” Ebigambo “okwagala kungi okutajjulukuka” birabika emirundi emirala mukaaga mu Bayibuli. (Kubal. 14:18; Nek. 9:17; Zab. 86:15; 103:8; Yow. 2:13; Yon. 4:2) Emirundi egyo gyonna byogera ku Yakuwa so si ku bantu. Tekituzzaamu nnyo amanyi okukimanya nti Yakuwa yeeyogerako emirundi mingi mu Bayibuli nti alina okwagala kungi okutajjulukuka? Mazima ddala Yakuwa akitwala nga kikulu nnyo okulaga okwagala okutajjulukuka. * Tekyewuunyisa nti Kabaka Dawudi yagamba nti: “Ai Yakuwa, okwagala kwo okutajjulukuka kutuuka ku ggulu, . . . Ai Katonda, okwagala kwo okutajjulukuka nga kwa muwendo nnyo! Abaana b’abantu baddukira wansi w’ebiwaawaatiro byo.” (Zab. 36:5, 7) Naffe tusiima okwagala kwa Yakuwa okutajjulukuka?

5 Okusobola okweyongera okutegeera obulungi okwagala okutajjulukuka kye kutegeeza, tugenda kuddamu ebibuuzo bino bibiri: Baani Yakuwa b’alaga okwagala okutajjulukuka? Tuyinza tutya okuganyulwa mu bikolwa bya Yakuwa ebyoleka okwagala okutajjulukuka?

BAANI YAKUWA B’ALAGA OKWAGALA OKUTAJJULUKUKA?

6. Baani Yakuwa b’alaga okwagala okutajjulukuka?

6 Baani Yakuwa b’alaga okwagala okutajjulukuka? Bayibuli eraga nti tusobola okwagala ebintu ebitali bimu, gamba nga “eby’obulimi,” “omwenge n’amafuta,” “okubuulirirwa,” “okumanya,” “amagezi,” n’ebirala. (2 Byom. 26:10; Nge. 12:1; 21:17; 29:3) Kyokka kwo okwagala okutajjulukuka tekulagibwa bintu wabula kulagibwa bantu bokka. Naye okwagala okutajjulukuka Yakuwa takulaga buli muntu. Akulaga abo abalina enkolagana ey’oku lusegere naye. Katonda waffe mwesigwa eri mikwano gye. Abasuubiza ebintu ebirungi mu biseera eby’omu maaso, era tasobola kubaabulira.

Yakuwa awa abantu bonna ebintu ebirungi, nga mwe muli n’abo abatamusinza (Laba akatundu 7) *

7. Yakuwa alaze atya abantu bonna okwagala?

7 Yakuwa alaga abantu bonna okwagala. Yesu yagamba Nikodemu nti: “Katonda yayagala nnyo [abantu] n’awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka, buli muntu yenna amukkiririzaamu aleme okuzikirira, wabula afune obulamu obutaggwaawo.”​—Yok. 3:1, 16; Mat. 5:44, 45.

Okusinziira ku bigambo ebyayogerwa Kabaka Dawudi ne nnabbi Danyeri, Yakuwa alaga okwagala okutajjulukuka abo abamumanyi, abamutya, abamwagala, era abakwata ebiragiro bye (Laba akatundu 8-9)

8-9. (a) Lwaki Yakuwa alaga abaweereza be okwagala okutajjulukuka? (b) Kiki kye tugenda okulaba?

8 Nga bwe kyogeddwako waggulu, Yakuwa alaga okwagala okutajjulukuka abo bokka abalina enkolagana ey’oku lusegere naye, kwe kugamba, abaweereza be. Kino kiragibwa mu bigambo ebyayogerwa Kabaka Dawudi ne nnabbi Danyeri. Ng’ekyokulabirako, Dawudi yagamba nti: “Weeyongere okulaga okwagala kwo okutajjulukuka eri abo abakumanyi.” “Emirembe n’emirembe Yakuwa alaga okwagala kwe okutajjulukuka eri abo abamutya.” Ate Danyeri yagamba nti: “Ai Yakuwa Katonda ow’amazima, . . . alaga okwagala okutajjulukuka eri abo abamwagala era abakwata ebiragiro bye.” (Zab. 36:10; 103:17; Dan. 9:4) Okusinziira ku bigambo ebyo ebyaluŋŋamizibwa, Yakuwa alaga abaweereza be okwagala okutajjulukuka olw’okuba bamumanyi, bamutya, bamwagala, era bakwata ebiragiro bye. Okwagala okutajjulukuka Yakuwa akulaga abo bokka abamusinza mu ngeri entuufu.

9 Bwe twali tetunnaba kutandika kuweereza Yakuwa, Yakuwa yali atulaga okwagala kw’alaga abantu bonna. (Zab. 104:14) Kyokka kati olw’okuba tuli baweereza be, atulaga n’okwagala okutajjulukuka. Mu butuufu, Yakuwa agamba abaweereza be nti: ‘Okwagala kwange okutajjulukuka tekulibaggibwako.’ (Is. 54:10) Mazima ddala nga Dawudi bwe yakiraba mu bulamu bwe, “Yakuwa ayisa mu ngeri ya njawulo oyo omwesigwa gy’ali.” (Zab. 4:3) Ekyo kyandituleetedde kukola ki? Omuwandiisi wa zabbuli yagamba nti: “Buli alina amagezi ajja kubissaako omwoyo, era ajja kufumiitiriza ku bikolwa bya Yakuwa ebiraga okwagala kwe okutajjulukuka.” (Zab. 107:43) Nga tulowooza ku bigambo ebyo ebyaluŋŋamizibwa, ka tulabeyo engeri ssatu abaweereza ba Yakuwa gye baganyulwa mu bikolwa bye ebyoleka okwagala okutajjulukuka.

TUYINZA TUTYA OKUGANYULWA MU BIKOLWA BYA YAKUWA EBYOLEKA OKWAGALA OKUTAJJULUKUKA?

Abo abasinza Yakuwa, Yakuwa abakolera ebisingawo (Laba akatundu 10-16) *

10. Tuganyulwa tutya mu kukimanya nti okwagala kwa Yakuwa okutajjulukuka tekuggwaawo? (Zabbuli 31:7)

10 Okwagala kwa Katonda okutajjulukuka tekuggwaawo. Ekintu ekyo ekikulu ekikwata ku kwagala okutajjulukuka kyogerwako emirundi 26 mu Zabbuli 136. Olunyiriri olusooka mu Zabbuli eyo lugamba nti: “Mwebaze Yakuwa, kubanga mulungi; okwagala kwe okutajjulukuka kwa mirembe na mirembe.” (Zab. 136:1) Ebigambo “kubanga okwagala kwe okutajjulukuka kwa mirembe na mirembe” bigenda biddibwamu okuva ku lunyiriri 2 okutuuka ku 26. Bwe tusoma ennyiriri ezo, tukwatibwako nnyo okukimanya nti Yakuwa alaze okwagala kwe okutajjulukuka mu ngeri nnyingi nnyo era ng’akulaze awatali kuddirira. Ate era ebigambo ebyo bitukakasa nti okwagala Yakuwa kw’alaga abantu be tekukyukakyuka. Mazima ddala kizzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti Yakuwa tayanguwa kuleka baweereza be! Anywerera ku abo abamuweereza nnaddala nga boolekagana n’ebizibu. Engeri gye tuganyulwa: Okukimanya nti Yakuwa atunywererako kitusobozesa okuba abasanyufu, era kituyamba okufuna amaanyi ge twetaaga okwaŋŋanga ebizibu n’okweyongera okutambulira mu kkubo erigenda mu bulamu.​—Soma Zabbuli 31:7.

11. Okusinziira ku Zabbuli 86:5, kiki ekireetera Yakuwa okutusonyiwa ebibi byaffe?

11 Okwagala kwa Yakuwa okutajjulukuka kumuleetera okutusonyiwa ensobi zaffe. Yakuwa bw’alaba omwonoonyi eyeenenyezza era n’aleka ebikolwa bye ebibi, okwagala okutajjulukuka kumuleetera okusonyiwa omuntu oyo. Dawudi yayogera bw’ati ku Yakuwa: “Tatubonerezza nga bwe tugwanidde okubonerezebwa olw’ebibi byaffe, era tatusasudde ekyo kye tugwanira olw’ensobi zaffe.” (Zab. 103:8-11) Dawudi yali amanyi bulungi obulumi obuva mu kulumirizibwa omuntu ow’omunda. Kyokka era yali akimanyi nti Yakuwa “mwetegefu okusonyiwa.” Kiki ekireetera Yakuwa okutusonyiwa ensobi zaffe? Eky’okuddamu kisangibwa mu Zabbuli 86:5. (Soma.) Nga Dawudi bwe yakiraga, Yakuwa alaga okwagala okutajjulukuka abo bonna abamusaba okubasonyiwa.

12-13. Omuntu ow’omunda bw’aba ng’atulumiriza olw’ensobi ze twakola emabega, kiki ekiyinza okutuyamba?

12 Bwe tukola ekibi omutima ne gutulumiriza olw’ekibi ekyo, kiba kirungi. Ekyo kituyamba okusaba Yakuwa okutusonyiwa n’okukyusa enneeyisa yaffe. Kyokka abamu ku baweereza ba Katonda omuntu waabwe ow’omunda abalumiriza ekisukkiridde olw’ensobi ze baakola emabega. Omutima gwabwe gubaleetera okulowooza nti Yakuwa talibasonyiwa wadde nga baamusaba abasonyiwe era nga baalekayo ebintu ebibi bye baali bakola. Bw’oba ng’olina enneewulira ng’eyo, okukimanya nti Yakuwa alaga abaweereza be okwagala okutajjulukuka kijja kukuyamba.

13 Engeri gye tuganyulwa: Wadde nga tetutuukiridde, tusobola okuweereza Yakuwa nga tuli basanyufu, olw’okuba tuba n’omuntu ow’omunda omulungi. Ekyo kiri bwe kityo kubanga “omusaayi gw’Omwana we Yesu gutunaazaako ebibi byonna.” (1 Yok. 1:7) Bw’oba ng’owulira nti oweddemu amaanyi olw’ekibi kye wakola, kijjukire nti Yakuwa mwetegefu era ayagala nnyo okusonyiwa omwonoonyi eyeenenyezza. Weetegereze nti Dawudi yakiraga nti waliwo akakwate wakati w’okwagala okutajjulukuka n’okusonyiwa. Yagamba nti: “Ng’eggulu bwe liri ewala ennyo okuva ku nsi, bwe kutyo n’okwagala kwe okutajjulukuka bwe kuli okungi ennyo eri abo abamutya. Ng’ebuvanjuba bwe wali ewala ennyo okuva ebugwanjuba, bw’atyo bw’atadde ebibi byaffe ewala ennyo okuva we tuli.” (Zab. 103:11, 12) Mazima ddala Yakuwa mwetegefu ‘okusonyiyira ddala.’​—Is. 55:7.

14. Dawudi yalaga atya engeri okwagala kwa Yakuwa okutajjulukuka gye kutukuumamu?

14 Okwagala kwa Katonda okutajjulukuka kutuwa obukuumi mu by’omwoyo. Dawudi yasaba Yakuwa n’amugamba nti: “Oli kifo kyange eky’okwekwekamu; ojja kunkuuma nneme kulaba nnaku. Ojja kunneetoolooza amaloboozi ag’essanyu ag’okulokolebwa. . . . Oyo eyeesiga Yakuwa okwagala kwe okutajjulukuka kumwetooloola.” (Zab. 32:7, 10) Nga bbugwe w’ekibuga bwe yawanga abantu abaakibeerangamu obukuumi, n’okwagala kwa Yakuwa okutajjulukuka nakwo kutukuuma ne tusobola okusigala nga tulina enkolagana ey’oku lusegere naye ne bwe tuba nga twolekaganye n’ebintu ebiyinza okugyonoona. Ate era okwagala kwa Yakuwa okutajjulukuka kumuleetera okutusembeza gy’ali.​—Yer. 31:3.

15. Lwaki okwagala kwa Yakuwa okutajjulukuka kusobola okugeraageranyizibwa ku ekigo oba ku kiddukiro?

15 Obukuumi Yakuwa bw’awa abantu be Dawudi alina ekintu ekirala kye yabugeraageranyaako. Yagamba nti: “Katonda kye kiddukiro kyange, Katonda andaga okwagala okutajjulukuka.” Dawudi era yayogera bw’ati ku Yakuwa: “Ye kwe kwagala kwange okutajjulukuka era kye kigo kyange, kye kiddukiro kyange era ye mununuzi wange, ye ngabo yange era y’Oyo gwe nneekweseemu.” (Zab. 59:17; 144:2) Lwaki Dawudi yageraageranya okwagala kwa Yakuwa okutajjulukuka ku kiddukiro ne ku kigo? Ka wabe wa we tubeera ku nsi, kasita tuba nga tuweereza Yakuwa, Yakuwa atuwa obukuumi bwe twetaaga okusobola okusigala nga tulina enkolagana ennungi naye. Ekyo era kiragibwa ne mu Zabbuli 91. Omuwandiisi wa Zabbuli eyo yagamba nti: “Ndigamba Yakuwa nti: ‘Ggwe kiddukiro kyange era ekigo kyange.’”(Zab. 91:1-3, 9, 14) Musa naye yageraageranya obukuumi bwa Yakuwa ku kiddukiro. (Zab. 90:1, obugambo obuli wansi.) Bwe yali anaatera okufa, yayogera ebigambo bino ebizzaamu amaanyi. Yagamba nti: “Okuva edda n’edda Katonda abadde kiddukiro, emikono gye egy’emirembe n’emirembe gikuwanirira.” (Ma. 33:27) Ebigambo “emikono gye egy’emirembe n’emirembe gikuwanirira,” bitulaga ki ku Yakuwa?

16. Yakuwa atuyamba atya? (Zabbuli 136:23)

16 Yakuwa bw’aba Ekiddukiro kyaffe, tuwulira nga tulina obukuumi. Wadde kiri kityo, waliwo ebiseera lwe tuwulira nga tuweddemu amaanyi nga tulinga abatalina bukuumi. Mu biseera ng’ebyo, kiki Yakuwa ky’akola okutuyamba? (Soma Zabbuli 136:23.) Atusitula n’emikono gye n’atuwanirira, n’atuyamba okuddamu okufuna amaanyi. (Zab. 28:9; 94:18) Engeri gye tuganyulwa: Okukimanya nti bulijjo Yakuwa waali okutuyamba, kituyamba okujjukira ebintu bibiri ebikulu. Ekisooka, ka wabe wa we tubeera, tulina ekifo eky’okuddukiramu. Eky’okubiri, Kitaffe ow’omu ggulu atwagala era atufaako nnyo.

TUSOBOLA OKUBA ABAKAKAFU NTI KATONDA AJJA KWEYONGERA OKUTULAGA OKWAGALA OKUTAJJULUKUKA

17. Bukakafu ki bwe tulina ku kwagala kwa Katonda okutajjulukuka? (Zabbuli 33:18-22)

17 Nga bwe tulabye, bwe tuba nga twolekagana n’ebizibu, tusobola okuba abakakafu nti Yakuwa ajja kubaako ky’akolawo atuwe obuyambi bwe twetaaga okusobola okusigala nga tuli beesigwa gy’ali. (2 Kol. 4:7-9) Nnabbi Yeremiya yagamba nti: “Tetusaanyeewo olw’okwagala kwa Yakuwa okutajjulukuka, kubanga okusaasira kwe tekuggwaawo.” (Kung. 3:22) Tusobola okuba abakakafu nti Yakuwa tasobola kulekera awo kutulaga kwagala kwe okutajjulukuka, kubanga omuwandiisi ya Zabbuli yagamba nti, “Eriiso lya Yakuwa liri ku abo abamutya, abo abalindirira okwagala kwe okutajjulukuka.”​—Soma Zabbuli 33:18-22.

18-19. (a) Kiki kye tusaanidde okujjukira? (b) Kiki kye tujja okulaba mu kitundu ekiddako?

18 Kiki kye tusaanidde okujjukira? Bwe twali tetunnaba kutandika kuweereza Yakuwa, Yakuwa yali atulaga okwagala kw’alaga abantu bonna, naye bwe twafuuka abaweereza be, kati atulaga n’okwagala okutajjulukuka. Okwagala okwo kumuleetera okutukuuma. Bulijjo ajja kutuyamba okusigala nga tulina enkolagana ennungi naye, era ajja kutuukiriza ebyo bye yatusuubiza. Ayagala tube mikwano gye emirembe gyonna! (Zab. 46:1, 2, 7) N’olwekyo, ka tube nga twolekagana na kizibu ki, Yakuwa ajja kutuwa amaanyi ge twetaaga okusobola okusigala nga tuli beesigwa gy’ali.

19 Tulabye engeri Yakuwa gy’alagamu abaweereza be okwagala okutajjulukuka. Kyokka naffe atusuubira okulaga abalala okwagala okutajjulukuka. Ekyo tuyinza kukikola tutya? Ekibuuzo ekyo kijja kuddibwamu kitundu ekiddako.

OLUYIMBA 136 ‘Empeera Enzijuvu’ Yakuwa gy’Awa

^ lup. 5 Okwagala okutajjulukuka kye ki? Baani Yakuwa b’alaga okwagala okutajjulukuka, era abo b’akulaga baganyulwa batya? Ebibuuzo ebyo bigenda kuddibwamu mu kitundu kino n’ekiddako.

^ lup. 4 Okwagala kwa Yakuwa okungi okutajjulukuka kwogerwako ne mu Byawandiikibwa ebirala.​—Laba Nekkemiya 13:22; Zabbuli 69:13; 106:7; ne Okukungubaga 3:32.

^ lup. 54 EBIFAANANYI: Yakuwa alaga abantu bonna okwagala nga mwe muli n’abaweereza be. Obufaananyi obuli waggulu w’abantu bulaga ebimu ku bintu by’akoze ebiraga nti ayagala abantu. Ekisinga obukulu mu byonna kye ky’okuwaayo Omwana we okufiirira abantu aboonoonyi.

^ lup. 62 EBIFAANANYI: Abo abafuuka abaweereza ba Yakuwa era abakkiririza mu kinunulo, Yakuwa abalaga n’okwagala okw’engeri endala. Abalaga n’okwagala okutajjulukula. Engeri emu gy’abalagamu okwagala okwo eragiddwa mu bufaananyi.