EKITUNDU EKY’OKUSOMA 46
Engeri Yakuwa gy’Atuyamba Okugumiikiriza n’Essanyu
“Yakuwa alindirira n’obugumiikiriza okubalaga ekisa, era aliyimuka okubasaasira.”—IS. 30:18.
OLUYIMBA 3 Amaanyi Gaffe, Essuubi Lyaffe, Obwesige Bwaffe
OMULAMWA a
1-2. (a) Kibuuzo ki ekigenda okuddibwamu mu kitundu kino? (b) Kiki ekiraga nti bulijjo Yakuwa aba mwetegefu okutuyamba?
YAKUWA asobola okutuyamba okwaŋŋanga ebizibu bye twolekagana nabyo mu bulamu, ne tusigala nga tumuweereza n’essanyu. Yakuwa atuyamba atya, era tuyinza tutya okuganyulwa mu bujjuvu mu buyambi bw’atuwa? Ekibuuzo ekyo kigenda kuddibwamu mu kitundu kino. Naye nga tetunnaddamu kibuuzo ekyo, ka tusooke tuddemu ekibuuzo kino: Ddala Yakuwa ayagala okutuyamba?
2 Ekigambo omutume Pawulo kye yakozesa mu bbaluwa gye wandiikira Abebbulaniya kisobola okutuyamba okufuna eky’okuddamu. Yawandiika nti: “Yakuwa ye muyambi wange; Siityenga. Omuntu ayinza kunkola ki?” (Beb. 13:6) Ebitabo ebitali bimu ebinnyonnyola ebigambo ebiri mu Bayibuli bigamba nti ekigambo “omuyambi” ekyakozesebwa mu lunyiriri olwo, kiwa amakulu ag’omuntu asitukiramu okuyamba oyo ali mu bwetaavu. Kuba akafaananyi nga Yakuwa asitukiddemu okuyamba oyo ali mu nnaku. Awatali kubuusabuusa, Yakuwa bulijjo aba mwetegefu okutuyamba era ayagala nnyo okutuyamba. Olw’okuba Yakuwa atuyamba, tusobola okugumira ebizibu bye twolekagana nabyo ne tusigala nga tuli basanyufu.
3. Ngeri ki essatu Yakuwa z’akozesa okutuyamba okugumira ebizibu bye twolekagana nabyo, ne tusigala nga tuli basanyufu?
3 Ezimu ku ngeri Yakuwa z’atuyambamu okugumira ebizibu bye twolekagana nabyo ze ziruwa? Okusobola okuddamu ekibuuzo ekyo, ka twekenneenye ebimu ku ebyo ebiri mu kitabo kya Isaaya. Lwaki? Bungi ku bunnabbi Isaaya bwe yaluŋŋamizibwa okuwandiika bukwata ku baweereza ba Katonda ab’omu kiseera kino. Ate era nnabbi Isaaya bwe yali ayogera ku Yakuwa, yakozesa ebigambo bye tusobola okutegeera obulungi. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ebyo ebiri mu Isaaya essuula 30. Mu ssuula eyo, Isaaya atuyamba okukuba akafaananyi ku ngeri Yakuwa (1) gy’awulirizaamu okusaba kw’abaweereza be era n’abaddamu, (2) gy’abawaamu obulagirizi, (3) gy’abawaamu emikisa kati era n’engeri gy’ajja okubawaamu emikisa mu biseera eby’omu maaso. Kati ka twekkenneenye ebintu ebyo ebisatu ebiraga engeri Yakuwa gy’atuyambamu.
YAKUWA AWULIRIZA OKUSABA KWAFFE
4. (a) Yakuwa yayogera atya ku Bayudaaya abaaliwo mu kiseera kya Isaaya, era oluvannyuma kiki kye yakkiriza okubatuukako? (b) Kiki Yakuwa kye yasuubiza Abayudaaya abaali abeesigwa? (Isaaya 30:18, 19)
4 Mu bigambo ebisooka mu Isaaya essuula 30, Yakuwa yayogera ku Bayudaaya ‘ng’abaana abajeemu, abongera ekibi ku kibi.’ Era yagattako nti ‘baali bantu bajeemu, . . . abatayagala kuwuliriza mateeka ga Yakuwa.’ (Is. 30:1, 9) Olw’okuba abantu baagaana okuwuliriza, Isaaya yagamba nti Yakuwa yandibalese okubonaabona. (Is. 30:5, 17; Yer. 25:8-11) Era ekyo kyennyini kye kyabatuukako, Abababulooni bwe baabatwala mu buwaŋŋanguse. Kyokka waaliwo Abayudaaya abaali abeesigwa era nnabbi Isaaya alina obubaka obuwa essuubi bwe yababuulira. Yabagamba nti lumu Yakuwa yandibanunudde n’abazzaayo mu nsi yaabwe. (Soma Isaaya 30:18, 19.) Ekyo kyennyini kye kyaliwo. Yakuwa yabanunula n’abaggya mu buwambe. Kyokka ekyo teyakikolerawo. Ebigambo “Yakuwa alindirira n’obugumiikiriza okubalaga ekisa,” biraga nti wandiyiseewo ekiseera Abayudaaya abeesigwa ne balyoka banunulibwa. Mu butuufu, baamala emyaka 70 mu buwaŋŋanguse e Babulooni, abaali basigaddewo ku bo ne balyoka banunulibwa ne baddayo e Yerusaalemi. (Is. 10:21; Yer. 29:10) Bwe baddayo mu nsi yaabwe baasanyuka nnyo olw’okuba baali bavudde mu nnaku gye baalimu mu buwaŋŋanguse.
5. Ebigambo ebiri mu Isaaya 30:19 bitukakasa ki?
5 Leero ebigambo ebiri mu Isaaya 30:19 bisobola okutuzzaamu amaanyi. Wagamba nti: “Alikukwatirwa ekisa ng’awulidde okuwanjaga kwo.” Isaaya atukakasa nti Yakuwa ajja kutuwuliriza bwe tunaamukoowoola atuyambe, era nti ajja kuddamu mu bwangu okusaba kwaffe. Agattako nti: “Alikwanukula amangu ddala nga yaakakuwulira.” Ebigambo ebyo ebizzaamu amaanyi bitukakasa nti bulijjo Yakuwa aba mwetegefu okuyamba abo abamusaba. Ekyo okukimanya kituyamba okugumiikiriza n’okusigala nga tuli basanyufu.
6. Ebyo Isaaya bye yawandiika biraga bitya nti Yakuwa awuliriza okusaba kwa buli omu ku baweereza be?
6 Kiki ekirala kye tuyiga mu lunyiriri olwo ekikwata ku ssaala zaffe? Ekirala kye tuyigamu kiri nti Yakuwa awuliriza okusaba kwa buli omu ku ffe. Lwaki tugamba bwe tutyo? Mu kitundu ekisooka ekya Isaaya essuula 30, Yakuwa ayogera n’abantu be bonna awamu ng’eggwanga. Kyokka mu lunyiriri 19, nnabbi Isaaya yakozesa ebigambo ebiraga nti Yakuwa ayogera na buli muntu kinoomu. Yawandiika nti: “Tolikaaba”; “alikukwatirwa ekisa”; “alikwanukula.” Nga Kitaffe atwagala ennyo, Yakuwa tagamba mwana we aba aweddemu amaanyi nti, “Naawe osaanidde okuguma nga muganda wo oba mwannyoko.” Mu kifo ky’ekyo, afaayo ku buli omu ku ffe kinnoomu era awuliriza okusaba kwa buli omu ku ffe.—Zab. 116:1; Is. 57:15.
7. Isaaya ne Yesu baalaga batya nti kikulu nnyo okunyiikirira okusaba?
7 Bwe tutuukirira Yakuwa mu kusaba ne tumubuulira ekizibu kyaffe, ayinza okusooka okutuwa amaanyi ge twetaaga okusobola okukigumira. Era ekizibu ekyo bwe kitavaawo mangu nga bwe tubadde tusuubira, kiyinza okutwetaagisa okusaba Yakuwa enfunda n’enfunda atuwe amaanyi ge twetaaga okusobola okukigumira. Ekyo Yakuwa ky’atukubiriza okukola era kiragibwa mu bigambo bino Isaaya bye yawandiika. Yagamba nti: “Temumuganya kuwummula.” (Is. 62:7) Ekyo kitegeeza ki? Tusaanidde okusaba Yakuwa enfunda n’enfunda ne tuba ng’abatamuganyizza kuwummula. Ebigambo ebyo bitujjukiza ekyokulabirako Yesu kye yakozesa ekiri mu Lukka 11:8-10, 13. Mu nnyiriri ezo, Yesu atukubiriza ‘obutakoowa kusaba’ era ‘n’okusabanga’ Yakuwa atuwe omwoyo gwe omutukuvu. Ate era tusobola okwegayirira Yakuwa atuwe amagezi aganaatuyamba okusalawo obulungi.
YAKUWA ATUWA OBULAGIRIZI
8. Ebigambo ebiri mu Isaaya 30:20, 21 byatuukirira bitya mu biseera eby’edda?
8 Soma Isaaya 30:20, 21. Abababulooni bwe baazingiza Yerusaalemi okumala omwaka mulamba n’ekitundu, okubonaabona Abayudaaya kwe baayitamu kwali kungi nnyo ne kufuuka kwa bulijjo gye bali ng’emmere n’amazzi. Naye okusinziira ku lunyiriri 20 ne 21, Yakuwa yabasuubiza nti bwe bandyenenyezza ne bakyusa enneeyisa yaabwe, yandibanunudde. Ng’ayogera ku Yakuwa ‘ng’Omuyigiriza waabwe Asingiridde,’ Isaaya yagamba abantu nti Yakuwa yandibayigirizza engeri entuufu ey’okumusinzaamu. Ebigambo ebyo byatuukirira Abayudaaya bwe baava mu buwaŋŋanguse. Yakuwa yakiraga nti ye yali Omuyigiriza waabwe Asingiridde, era yabawa obulagirizi ne basobola okuzzaawo okusinza okulongoofu. Tuli basanyufu nnyo okuba nti ne leero Yakuwa ye Muyigiriza waffe Asingiridde.
9. Engeri emu Yakuwa gy’atuwaamu obulagirizi leero y’eruwa?
9 Isaaya era yatugeraageranya ku bayizi abayigirizibwa Yakuwa mu ngeri za mirundi ebiri. Engeri esooka, Isaaya agamba nti: “Amaaso go galiraba Omuyigiriza wo Asingiridde.” Mu bigambo ebyo, Isaaya yalaga nti Omuyigiriza waffe ali ng’ayimiridde mu maaso gaffe ng’atuyigiriza. Tulina enkizo okuganyulwa mu ebyo Yakuwa by’atuyigiriza leero. Yakuwa atuyigiriza atya? Ekyo akikola okuyitira mu kibiina kye. Tusiima nnyo obulagirizi obutegeerekeka obulungi obutuweebwa ekibiina kya Yakuwa! Obulagirizi bwe tufuna mu nkuŋŋaana z’ekibiina, mu nkuŋŋaana ennene, mu vidiyo ne mu ngeri endala, butuyamba okugumira ebizibu bye twolekagana nabyo ne tusigala nga tuli basanyufu.
10. Mu ngeri ki gye tuwulira “ekigambo ekituvaako emabega”?
10 Isaaya atubuulira engeri endala Yakuwa gy’atuwaamu obulagirizi. Agamba nti: “Amatu go ganaawuliranga ekigambo ekikuvaako emabega.” Wano Isaaya alaga nti Yakuwa ali ng’omusomesa afaayo ku bayizi be, era atambula ng’abavaako emabega nga bw’abalagirira ekkubo ery’okukwata era nga bw’abawa obulagirizi. Leero tuwulira ekigambo kya Yakuwa nga kituvaako emabega. Mu ngeri ki? Ebigambo bya Yakuwa ebyaluŋŋamizibwa byawandiikibwa mu Bayibuli emyaka mingi nnyo emabega. N’olwekyo, bwe tusoma Bayibuli tuba ng’abawulira eddoboozi lya Yakuwa nga lituvaako emabega.—Is. 51:4.
11. Okusobola okweyongera okugumiikiriza n’essanyu, biki bye tulina okukola era lwaki?
11 Tuyinza tutya okuganyulwa mu bujjuvu mu bulagirizi Yakuwa by’atuwa okuyitira mu kibiina kye ne mu Kigambo kye? Weetegereze nti Isaaya agamba nti: “Lino lye kkubo.” Era nti: “Mulitambuliremu.” (Is. 30:21) Okumanya obumanya “ekkubo” tekimala, tulina ‘n’okulitambuliramu.’ Ekigambo kya Yakuwa n’obulagirizi obutuweebwa ekibiina kye, bituyamba okumanya ebyo Yakuwa by’ayagala tukole. Ate era tuyigirizibwa engeri y’okukolera ku ebyo bye tuyiga. Okusobola okweyongera okuweereza Yakuwa era n’okugumiikiriza nga tuli basanyufu, tulina okumanya ekkubo era n’okulitambuliramu. Bwe tunaakola bwe tutyo, Yakuwa ajja kutuwa emikisa.
YAKUWA ATUWA EMIKISA
12. Okusinziira ku Isaaya 30:23-26, Yakuwa yawa atya abantu be emikisa?
12 Soma Isaaya 30:23-26. Obunnabbi obwo bwatuukirizibwa butya ku Bayudaaya abaakomawo mu Isirayiri okuva mu buwaŋŋanguse e Babulooni? Baafuna emikisa mingi nnyo mu by’omubiri ne mu by’omwoyo. Yakuwa yawa abantu be emmere nnyingi nnyo. Naye ekisinga obukulu, yabawa emmere nnyingi ey’eby’omwoyo, okusinza okulongoofu bwe kwagenda kuzzibwawo mpolampola. Emikisa Yakuwa gye yawa abantu be mu kiseera ekyo gyali mingi nnyo era baali tebagifunangako. Nga bwe kiragibwa mu lunyiriri 26, Yakuwa yasobozesa ekitangaala eky’eby’omwoyo okweyongera okubaakira. (Is. 60:2) Emikisa Yakuwa gye yawa abantu be gyabasobozesa okweyongera okumuweereza nga basanyufu, ‘olw’essanyu eryali mu mitima gyabwe.’—Is. 65:14.
13. Obunnabbi obukwata ku kuva mu buwambe butuukiriziddwa butya mu kiseera kyaffe?
13 Obunnabbi obukwata ku kuzzaawo okusinza okulongoofu butukwatako butya leero? Okuviira ddala mu 1919 E.E., abantu bukadde na bukadde bazze bava mu buwambe bwa Babulooni ekinene, nga ge madiini gonna ag’obulimba. Bazze mu kifo ekisingira ewala Ensi Yakuwa gye yasuubiza Abayisirayiri, nga lwe lusuku olw’eby’omwoyo. (Is. 51:3; 66:8) Olusuku olwo olw’eby’omwoyo kye ki?
14. Olusuku olw’eby’omwoyo kye ki era baani abalulimu leero? (Laba Ebigambo Ebinnyonnyolwa.)
14 Okuva mu 1919 E.E., Abakristaayo abaafukibwako amafuta babadde mu lusuku olw’eby’omwoyo. b Ekiseera bwe kigenze kiyitawo, ‘ab’endiga endala,’ kwe kugamba, abo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi emirembe gyonna, nabo bazze mu lusuku olw’eby’omwoyo era Yakuwa abawa emikisa mingi.—Yok. 10:16; Is. 25:6; 65:13.
15. Olusuku olw’eby’omwoyo luli ludda wa leero?
15 Olusuku olw’eby’omwoyo luli ludda wa leero? Abo abasinza Yakuwa bali mu bitundu byonna eby’ensi. Ekyo kitegeeza nti olusuku olw’eby’omwoyo lwe tulimu luli mu nsi yonna. N’olw’ensonga eyo, ka tube nga tuli mu kitundu ki eky’ensi, tusobola okubeera mu lusuku olw’eby’omwoyo kasita tuba nga tuwagira okusinza okw’amazima.
16. Kiki ekisobola okutuyamba okweyongera okulaba obulungi bw’olusuku olw’eby’omwoyo lwe tulimu?
16 Okusobola okusigala mu lusuku luno olw’eby’omwoyo, tulina okweyongera okusiima ekibiina Ekikristaayo. Ekyo tuyinza kukikola tutya? Ebirowoozo byaffe tusaanidde tubissa ku bulungi bw’ekibiina, so si ku butali butuukirivu bwa baganda baffe ne bannyinaffe abakirimu. (Yok. 17:20, 21) Lwaki ekyo kikulu nnyo? Lowooza ku kyokulabirako kino: Ekibira ekirabika obulungi kibaamu emiti egy’enjawulo. Mu ngeri y’emu, olusuku olw’eby’omwoyo lwe tulimu leero lulimu abantu ab’enjawulo be tuyinza okugeraageranya ku miti egy’enjawulo egikola ekibira. (Is. 44:4; ) Ebirowoozo byaffe tusaanidde kubissa ku bulungi “bw’ekibira” so si ku ngeri “emiti” egy’enjawulo egituliraanye gye gyakulamu. Tetusaanidde kukkiriza butali butuukirivu bw’abalala mu kibiina, kutulemesa kulaba bulungi bwa kibiina kya Yakuwa kyonna okutwalira awamu. 61:3
17. Kiki buli omu ku ffe ky’ayinza okukola okusobola okukuuma obumu mu kibiina?
17 Kiki buli omu ku ffe ky’ayinza okukola okusobola okukuuma obumu bwe tulina? Kwe kubeera abantu abaleetawo emirembe. (Mat. 5:9; Bar. 12:18) Buli lwe tufuba okuba n’enkolagana ennungi n’abalala mu kibiina, twongera ku bulungi bw’olusuku olw’eby’omwoyo lwe tulimu. Tusaanidde okukijjukira nti buli omu ku bakkiriza bannaffe Yakuwa ye yamuleeta mu lusuku olw’eby’omwoyo. (Yok. 6:44) Kisanyusa nnyo Yakuwa bw’alaba nga tufuba okubeera obumu era nga tuli mu mirembe n’abaweereza be b’atwala nga ba muwendo!—Is. 26:3; Kag. 2:7.
18. Biki bye tusaanidde okufumiitirizangako, era lwaki?
18 Tuyinza tutya okuganyulwa mu bujjuvu mu ebyo Yakuwa by’atukolera? Tusaanidde okufumiitirizanga ku ebyo bye tusoma mu Kigambo kya Katonda ne mu bitabo byaffe. Bwe twesomesa era ne tufumiitiriza, kituyamba okukulaakulanya engeri ezituyamba ‘okwagalana ng’ab’oluganda.’ (Bar. 12:10) Bwe tufumiitiriza ku mikisa Yakuwa gy’atuwa, enkolagana yaffe naye yeeyongera okunywera. Ate era bwe tufumiitiriza ku birungi Yakuwa by’asuubiza okutukolera mu biseera eby’omu maaso, essuubi lye tulina ery’okumuweereza emirembe gyonna lyeyongera okunywera. Ebyo byonna bijja kutuyamba okweyongera okuweereza Yakuwa nga tuli basanyufu.
WEEYONGERE OKUGUMIIKIRIZA
19. (a) Okusinziira ku Isaaya 30:18, tuyinza kuba bakakafu ku ki? (b) Kiki ekinaatuyamba okugumiikiriza n’essanyu?
19 Yakuwa “aliyimirira” ku lwaffe bw’alizikiriza ensi eno embi. (Is. 30:18) Tuli bakakafu nti Yakuwa ‘Katonda mwenkanya,’ era tajja kuleka nsi ya Sitaani kweyongera kubaawo. (Is. 25:9) Okufaananako Yakuwa, naffe tulindirira n’obugumiikiriza okutuusa olunaku olwo lwe lulituuka. Mu kiseera kino ka tweyongere okusabanga Yakuwa, okusoma Ekigambo kye n’okukikolerako, era n’okufumiitirizanga ku mikisa Yakuwa gy’atuwa. Bwe tunaakola bwe tutyo, Yakuwa ajja kutuyamba okweyongera okumuweereza era n’okugumiikiriza n’essanyu.
OLUYIMBA 142 Okunywereza Ddala Essuubi Lyaffe
a Ekitundu kino kyogera ku ngeri ssatu Yakuwa z’ayambamu abaweereza be okugumira ebizibu bye boolekagana nabyo mu bulamu, ne basigala nga basanyufu. Tujja kuyiga engeri ezo Yakuwa z’atuyambamu nga twekeneenya Isaaya essuula 30. Bwe tunaaba twetegereza ebiri mu ssuula eyo, tujja kujjukizibwa obukulu bw’okusaba Yakuwa, okwesomesa Ekigambo kye, era n’okufumiitiriza ku mikisa gy’atuwa kati, n’egyo gy’asuubiza okutuwa mu biseera eby’omu maaso.
b EBIGAMBO EBINNYONNYOLWA: “Olusuku olw’eby’omwoyo” ye mbeera ennungi ey’eby’omwoyo mwe tusinziza Yakuwa nga tuli bumu. Mu lusuku luno tufuna emmere nnyingi ey’eby’omwoyo etaliimu bulimba bwa madiini bwonna, era tulina omulimu ogutuleetera essanyu ogw’okubuulira amawulire amalungi agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda. Era tuli mu mirembe ne bakkiriza bannaffe abatwagala era abatuyamba okugumira ebizibu ne tusigala nga tuli basanyufu. Tuyingira mu lusuku luno olw’eby’omwoyo bwe tutandika okusinza Yakuwa mu ngeri gy’asiima era ne tufuba okumukoppa.