EKITUNDU EKY’OKUSOMA 45
Engeri Yakuwa gy’Atuyamba Okutuukiriza Obuweereza Bwaffe
“Bajja kumanya nti waaliwo nnabbi mu bo.”—EZK. 2:5.
OLUYIMBA 67 “Buulira Ekigambo”
OMULAMWA a
1. Kiki kye tusuubira era tuyinza kuba bakakafu ku ki?
TUSUUBIRA nti tujja kuyigganyizibwa nga tukola omulimu gwaffe ogw’okubuulira. Okuyigganyizibwa okwo kuyinza n’okweyongera mu biseera eby’omu maaso. (Dan. 11:44; 2 Tim. 3:12; Kub. 16:21) Wadde kiri kityo, tuli bakakafu nti Yakuwa ajja kutuwa obuyambi bwe twetaaga. Lwaki tugamba bwe tutyo? Bulijjo Yakuwa ayamba abaweereza be okutuukiriza obuvunaanyizibwa bw’aba abawadde, ka bube nga buzibu butya. Ng’ekyokulabirako, ka twetegereze ebimu ku ebyo ebyaliwo mu bulamu bwa nnabbi Ezeekyeri, eyabuulira Abayudaaya abaali mu buwaŋŋanguse e Babulooni.
2. Yakuwa yayogera ki ku bantu Ezeekyeri be yalina okubuulira era biki bye tugenda okulaba mu kitundu kino? (Ezeekyeri 2:3-6)
2 Bantu ba ngeri ki Ezeekyeri be yalina okubuulira? Yakuwa yaboogerako ng’abantu “abajeemu era ab’emitima emikakanyavu.” Baali ba bulabe ng’amaggwa era ng’enjaba. Eyo ye nsonga lwaki Yakuwa yagamba Ezeekyeri enfunda n’enfunda nti: “Totya”! (Soma Ezeekyeri 2:3-6.) Ezeekyeri yasobola okutuukiriza omulimu gwe ogw’okubuulira kubanga (1) Yakuwa ye yamutuma, (2) omwoyo gwa Katonda gwamuwa amaanyi, ne (3) Ekigambo kya Katonda kyanyweza okukkiriza kwe. Ebintu ebyo ebisatu byayamba bitya Ezeekyeri, era bituyamba bitya leero?
EZEEKYERI YATUMIBWA YAKUWA
3. Kigambo ki ekiteekwa okuba nga kyazzaamu nnyo ezeekyeri amaanyi era Yakuwa yamukakasa atya nti yandimuyambye?
3 Yakuwa yagamba Ezeekyeri nti: “Nkutuma.” (Ezk. 2:3, 4) Ekigambo ekyo kiteekwa okuba nga kyazzaamu nnyo Ezeekyeri amaanyi. Lwaki? Ezeekyeri ateekwa okuba nga yajjukira nti Yakuwa yakozesa ekigambo kye kimu bwe yali alonda Musa ne Isaaya okubeera ba nnabbi be. (Kuv. 3:10; Is. 6:8) Ezeekyeri era yali amanyi engeri Yakuwa gye yayambamu Musa ne Isaaya okutuukiriza obuvunaanyizibwa obw’amaanyi bwe yabawa. N’olwekyo, Yakuwa bwe yagamba Ezeekyeri emirungi ebiri nti: “Nkutuma,” Ezeekyeri yali mukakafu nti Yakuwa yandimuyambye. Ate era mu kitabo kya Ezeekyeri, ebigambo “Yakuwa n’aŋŋamba nti” bikozesebwa emirundi mingi. (Ezk. 3:16) N’ebigambo “Yakuwa era n’ayogera nange n’aŋŋamba nti,” bikozesebwa emirundi mingi mu kitabo kya Ezeekyeri. (Ezk. 6:1) Awatali kubuusabuusa, Ezeekyeri yali mukakafu nti Yakuwa ye yali amutumye. Ate era, olw’okuba Ezeekyeri yali mwana wa kabona, kitaawe ayinza okuba nga yamuyigiriza nti Yakuwa azze ayamba abaweereza be. Yakuwa bwe yali atuma Isaaka, Yakobo, ne Yeremiya, yagamba buli omu ku bo nti: “Ndi wamu naawe.”—Lub. 26:24; 28:15; Yer. 1:8.
4. Bigambo ki ebiteekwa okuba nga byazzaamu nnyo Ezeekyeri amaanyi?
4 Abayisirayiri okutwalira awamu banditutte batya obubaka Ezeekyeri bwe yandibabuulidde? Yakuwa yagamba Ezeekyeri nti: “Ab’ennyumba ya Isirayiri bajja kugaana okukuwuliriza, kubanga tebaagala kumpuliriza.” (Ezk. 3:7) Abantu okugaana okuwuliriza Ezeekyeri, bandibadde bagaanye okuwuliriza Yakuwa. Ebigambo ebyo byakakasa Ezeekyeri nti abantu okugaana okumuwuliriza, kyandibadde tekitegeeza nti alemereddwa okutuukiriza obuweereza bwe nga nnabbi. Obubaka Ezeekyeri bwe yali agenda okulangirira bwe bwandituukiridde, abantu ‘banditegedde nti waaliwo nnabbi mu bo.’ (Ezk. 2:5; 33:33) Ebigambo ebyo biteekwa okuba nga byazzaamu nnyo Ezeekyeri amaanyi n’asobola okutuukiriza obuweereza bwe.
NE LEERO YAKUWA Y’ATUTUMA
5. Okusinziira ku Isaaya 44:8, kiki ekituyamba okuba abavumu?
5 Okukimanya nti Yakuwa y’atutuma, naffe kituzzaamu nnyo amaanyi. Olw’okuba atuyita “bajulirwa” be, ekyo kiraga nti atuwa ekitiibwa. (Is. 43:10) Eyo nga nkizo ya maanyi nnyo! Nga Yakuwa bwe yagamba Ezeekyeri nti “totya,” naffe Yakuwa atugamba nti, “temutya.” Lwaki tetusaanidde kutya abo abatuyigganya? Okufaananako Ezeekyeri, naffe Yakuwa y’atutuma era atuyamba.—Soma Isaaya 44:8.
6. (a) Yakuwa atukakasa atya nti ajja kutuyamba? (b) Kiki ekituzzaamu amaanyi?
6 Yakuwa atukakasa nti ajja kutuyamba. Ng’ekyokulabirako, Yakuwa bwe yali tannagamba nti: “Muli bajulirwa bange,” yasooka kugamba nti: “Bw’oliyita mu mazzi, ndibeera wamu naawe, era bw’oliyita mu migga, tegirikusaanyaawo. Bw’oliyita mu muliro, tegulikwokya, wadde ennimi zaagwo okukubabula.” (Is. 43:2) Bwe tuba tukola omulimu ogw’okubuulira, oluusi twolekagana n’ebizibu ebiyinza okugeraageranyizibwa ku mataba oba ku muliro. Wadde kiri kityo, Yakuwa atuyamba ne tweyongera okubuulira. (Is. 41:13) Okufaananako abantu abaaliwo mu kiseera kya Ezeekyeri, abantu abasinga obungi leero tebaagala kutuwuliriza. Kyokka okuba nti abantu tebaagala kutuwuliriza, tekitegeeza nti tulemereddwa okutuukiriza omulimu Yakuwa gwe yatuwa. Ate era okukimanya nti Yakuwa asanyuka bwe tweyongera okubuulira amawulire amalungi, kituzzaamu nnyo amaanyi. Omutume Pawulo yagamba nti: “Buli muntu ajja kufuna empeera ye okusinziira ku mulimu gwe.” (1 Kol. 3:8; 4:1, 2) Mwannyinaffe omu amaze ekiseera ekiwanvu ng’aweereza nga payoniya yagamba nti: “Kinzizaamu nnyo amaanyi okukimanya nti Yakuwa asiima ebyo bye tukola.”
OMWOYO GWA YAKUWA GWAWA EZEEKYERI AMAANYI
7. Buli Ezeekyeri lwe yafumiitirizanga ku kwolesebwa kwe yafuna, kyamukwatangako kitya? (Laba ekifaananyi ekiri ku ddiba.)
7 Ezeekyeri yakiraba nti omwoyo gwa Katonda gwa maanyi nnyo. Mu kwolesebwa kwe yafuna, yalaba engeri omwoyo omutukuvu gye gwali gukolera mu bitonde eby’omwoyo eby’amaanyi, era n’engeri gye gwali gukolera ku nnamuziga ennene ezaali ku ggaali lya Yakuwa. (Ezk. 1:20, 21) Ebyo Ezeekyeri bye yalaba mu kwolesebwa okwo byamukwatako bitya? Bwe yali awandiika ku ekyo kye yalaba, yagamba nti: “Bwe nnakiraba, ne nvunnama wansi.” Ekyo Ezeekyeri kye yalaba kyamwewuunyisa nnyo. (Ezk. 1:28) Buli Ezeekyeri lwe yafumiitirizanga ku kwolesebwa okwo, ateekwa okuba nga yaddangamu amaanyi nga mukakafu nti omwoyo gwa Yakuwa gwandimuyambye okutuukiriza obuweereza bwe.
8-9. (a) Kiki ekyatuuka ku Ezeekyeri Yakuwa bwe yamugamba okuyimirira? (b) Buyambi ki obulala Yakuwa bwe yawa Ezeekyeri okusobola okutandika okubuulirira?
8 Yakuwa yagamba Ezeekyeri nti: “Omwana w’omuntu, yimirira njogere naawe.” Ebigambo ebyo awamu nʼomwoyo gwa Katonda, byazzaamu Ezeekyeri amaanyi ge yali yeetaaga okusobola okuyimirira. Ezeekyeri yagamba nti: “Omwoyo ne gunnyingiramu ne gunnyimiriza.” (Ezk. 2:1, 2) Oluvannyuma “omukono” gwa Katonda, kwe kugamba, omwoyo gwa Katonda omutukuvu, gwayamba Ezeekyeri mu buweereza bwe bwonna. (Ezk. 3:22; 8:1; 33:22; 37:1; 40:1) Omwoyo omutukuvu gwamuyamba n’asobola okubuulira abantu ‘ab’emputtu era ab’emitima emikakanyavu.’ (Ezk. 3:7) Yakuwa yagamba Ezeekyeri nti: “Amaaso go ngafudde magumu ng’amaaso gaabwe, n’ekyenyi kyo nkikalubizza ng’ebyenyi byabwe. Ekyenyi kyo nkifudde ng’ejjinja erisingayo obugumu, era nkifudde kigumu okusinga ejjinja ery’embaalebaale. Tobatya era totiisibwatiisibwa maaso gaabwe.” (Ezk. 3:8, 9) Yakuwa yalinga agamba Ezeekyeri nti: ‘Eky’abantu obutakuwuliriza tokikkiriza kukumalamu maanyi. Nja kukuyamba.’
9 Oluvannyuma, omwoyo gwa Yakuwa gwayamba Ezeekyeri mu mulimu gw’okubuulira. Ezeekyeri yawandiika nti: “Omukono gwa Yakuwa ne gumbaako.” Kyatwalira Ezeekyeri ebbanga lya wiiki emu okutegeera obubaka bwe yali agenda okubuulira abantu n’okubufumiitirizaako, asobole okububuulira n’obuvumu. (Ezk. 3:14, 15) Oluvannyuma Yakuwa yagamba Ezeekyeri agende mu lusenyi era eyo ‘omwoyo gwa Yakuwa gye gwamuyingiriramu.’ (Ezk. 3:23, 24) Awo Ezeekyeri yali mwetegefu okutandika okubuulira.
NE LEERO OMWOYO GWA YAKUWA GUTUWA AMAANYI
10. Buyambi ki bwe twetaaga okusobola okukola omulimu gw’okubuulira, era lwaki tubwetaaga?
10 Buyambi ki bwe twetaaga okusobola okukola omulimu gw’okubuulira? Okusobola okuddamu ekibuuzo ekyo, lowooza ku Ezeekyeri. Bwe yali tannatandika kubuulira, omwoyo gwa Yakuwa gwamuwa amaanyi ge yali yeetaaga. Okufaananako Ezeekyeri, naffe omwoyo gwa Yakuwa gwe gusobola okutuwa amaanyi ge twetaaga okusobola okubuulira. Lwaki tugamba bwe tutyo? Kubanga Sitaani ayagala tulekere awo okukola omulimu gw’okubuulira. (Kub. 12:17) Tetusobola kuwangula Sitaani mu maanyi gaffe. Naye okuyitira mu mulimu gw’okubuulira, tumuwangula! (Kub. 12:9-11) Mu ngeri ki? Bwe twenyigira mu mulimu gw’okubuulira, tuba tukiraga nti tetutya Sitaani. N’olwekyo buli lwe twenyigira mu mulimu gw’okubuulira, tuba tuwangudde Sitaani. Okuba nti tweyongera okukola omulimu gw’okubuulira wadde nga tuyigganyizibwa, kiraga ki? Kiraga nti omwoyo gwa Yakuwa gutuwa amaanyi era nti Yakuwa atusiima.—Mat. 5:10-12; 1 Peet. 4:14.
11. Omwoyo omutukuvu gunaatuyamba gutya, era kiki kye tusaanidde okukola okusobola okweyongera okugufuna?
11 Kiki ekirala kye tuyigira ku ky’okuba nti Yakuwa yawa Ezeekyeri obuyambi bwe yali yeetaaga okusobola okubuulira? Kye tuyiga kiri nti omwoyo gwa Katonda gusobola okutuyamba okwaŋŋanga okusoomooza kwonna kwe tusanga mu buweereza. (2 Kol. 4:7-9) Kati olwo, kiki kye tulina okukola okusobola okufuna omwoyo omutukuvu? Tulina okweyongera okusaba Yakuwa agutuwe, nga tuli bakakafu nti ajja kuwulira okusaba kwaffe. Yesu yatukubiriza ‘okusabanga, . . . okunoonyanga, . . . n’okukonkonanga.’ Ate era yatukakasa nti Yakuwa ajja ‘kuwa omwoyo omutukuvu abo abamusaba!’—Luk. 11:9, 13; Bik. 1:14; 2:4.
EKIGAMBO KYA KATONDA KYANYWEZA OKUKKIRIZA KWA EZEEKYERI
12. Okusinziira ku Ezeekyeri 2:9–3:3, omuzingo gwava wa era biki ebyagulimu?
12 Ng’oggyeeko okuba nti omwoyo gwa Katonda gwawa Ezeekyeri amaanyi, Ekigambo kya Katonda nakyo kyanyweza okukkiriza kwe. Mu kwolesebwa, Ezeekyeri yalaba omukono nga gukutte omuzingo. (Soma Ezeekyeri 2:9–3:3.) Omuzingo ogwo gwava wa? Biki ebyagulimu? Ebyagulimu byanyweza bitya okukkiriza kwa Ezeekyeri? Omuzingo ogwo gwava eri entebe ya Katonda ey’Obwakabaka. Kirabika Yakuwa yakozesa omu ku bamalayika abana Ezeekyeri be yali alabye mu kwolesebwa, okukwasa Ezeekyeri omuzingo ogwo. (Ezk. 1:8; 10:7, 20) Omuzingo ogwo gwalimu ebigambo bya Katonda, kwe kugamba, obubaka obw’omusango Ezeekyeri bwe yalina okubuulira Abayudaaya abajeemu abaali mu buwaŋŋanguse. (Ezk. 2:7) Ebigambo ebyali mu bubaka obwo byali bingi ddala, kubanga omuzingo gwali guwandiikiddwako munda ne kungulu.
13. Kiki Yakuwa kye yagamba Ezeekyeri okukola, era lwaki omuzingo gwali guwoomerera?
13 Yakuwa yagamba Ezeekyeri alye omuzingo ogwo ‘agujjuze mu lubuto lwe.’ Ezeekyeri yayoleka obuwulize n’alya omuzingo ogwo gwonna. Ekyo kyali kitegeeza ki? Ezeekyeri yali yeetaaga okutegeera obulungi obubaka bwe yali agenda okubuulira abantu. Yalina okukkiriza obubaka obwo asobole okububuulira n’obuvumu. Ezeekyeri bwe yamala okulya omuzingo ogwo, waliwo ekintu ekyewuunyisa ekyabaawo. Ezeekyeri yagamba nti: “Gwali guwoomerera ng’omubisi gw’enjuki.” (Ezk. 3:3) Lwaki? Enkizo ey’okukiikirira Yakuwa, Ezeekyeri yagitwala nga ya muwendo nnyo. (Zab. 19:8-11) Yasiima nnyo enkizo Yakuwa gye yamuwa ey’okumuweereza nga nnabbi we.
14. Kiki ekyayamba Ezeekyeri okuba omwetegefu okutuukiriza obuvunaanyizibwa obwamuweebwa?
14 Oluvannyuma Yakuwa yagamba Ezeekyeri nti: “Ssaayo omwoyo era wuliriza byonna bye nkugamba.” (Ezk. 3:10) Mu ngeri eyo Yakuwa yagamba Ezeekyeri okufuba okujjukira ebigambo ebyali mu muzingo era n’okubifumiitirizaako. Ezeekyeri bwe yakola bw’atyo, kyanyweza okukkiriza kwe. Ate era kyamuyamba okukiraba nti obubaka bwe yali agenda okubuulira abantu bwali bukulu nnyo. (Ezk. 3:11) Ezeekyeri bwe yafumiitiriza ku bubaka Katonda bwe yali amuwadde era n’abutegeera bulungi, kyamuyamba okuba omwetegefu okububuulira abantu.—Geraageranya Zabbuli 19:14.
EKIGAMBO KYA KATONDA KINYWEZA OKUKKIRIZA KWAFFE LEERO
15. Kiki kye tusaanidde okukola okusobola okunyweza okukkiriza kwaffe?
15 Okusobola okweyongera okukola omulimu gw’okubuulira, twetaaga okweyongera okwesomesa Ekigambo kya Katonda. Twetaaga okussaayo “omwoyo” eri ebyo byonna Yakuwa by’atubuulira. Leero Yakuwa ayogera naffe okuyitira mu Kigambo kye Bayibuli. Kiki kye tusaanidde okukola Ekigambo kya Katonda okusobola okweyongera okukwata ku mitima gyaffe?
16. Kiki kye tusaanidde okukola okusobola okweyongera okutegeera Ekigambo kya Katonda?
16 Ng’emmere bw’erina okugaayibwa obulungi okusobola okugifunamu ekiriisa, n’okukkiriza kwaffe kweyongera okunywera bwe tusoma Ekigambo kya Katonda ne tukifumiitirizaako. Yakuwa ayagala tulye Ekigambo kye era ‘tukijjuze embuto zaffe,’ kwe kugamba, ayagala tukitegeere bulungi. Ekyo tusobola okukikola nga tumusaba atuwe omwoyo gwe, nga tusoma Ekigambo kye era nga tukifumiitirizaako. Okusookera ddala, tumusaba atuyambe okuteekateeka emitima gyaffe tusobole okutegeera ebyo bye tusoma mu Kigambo kye. Ate era bwe tumala okusoma, tusiriikiriramu ne tufumiitiriza ku ebyo bye tuba tusomye. Bwe tukola tutyo kiki ekivaamu? Tujja kutegeera bulungi Ekigambo kya Katonda, era n’okukkiriza kwaffe kujja kweyongera okunywera.
17. Lwaki kikulu nnyo okufumiitiriza ku ebyo bye tusoma mu Bayibuli?
17 Lwaki kikulu nnyo okusoma Bayibuli n’okugifumiitirizaako? Bwe tukola tutyo, kijja kutuyamba okufuna obuvumu bwe twetaaga okusobola okubuulira ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda mu kiseera kino, era n’okulangirira obubaka obw’omusango mu kiseera ekitali kya wala. Ate era, bwe tufumiitiriza ku ngeri ennungi Yakuwa z’alina, enkolagana yaffe naye yeeyongera okunywera. N’ekinaavaamu, tujja kuba n’emirembe mu mutima era tube bamativu.—Zab. 119:103.
YAKUWA ATUYAMBA OKUGUMIIKIRIZA
18. Kiki abantu b’omu kitundu kye tubuuliramu kye bajja okutegeera, era lwaki?
18 Obutafaananako Ezeekyeri, ffe Yakuwa tatuluŋŋamya kwogera bunnabbi eri abantu. Kyokka, tuli bamalirivu okweyongera okubuulira abantu obubaka obuli mu Kigambo kya Yakuwa ekyaluŋŋamizibwa, okutuusa Yakuwa lw’aliraba nti omulimu ogwo tugukoze ku kigero ky’ayagala. Ekiseera eky’okusala omusango bwe kinaatuuka, abantu b’omu kitundu kyaffe tebajja kwekwasa nti tebaalabulwa. (Ezk. 3:19; 18:23) Mu kifo ky’ekyo, bajja kukiraba nti obubaka bwe twali tubabuulira bwali buva eri Katonda.
19. Kiki ekinaatuyamba okutuukiriza obuweereza bwaffe?
19 Kiki ekinaatuyamba okutuukiriza obuweereza bwaffe? Ekinaatuyamba, bye bintu byennyini ebisatu ebyayamba Ezeekyeri. Tweyongera okubuulira olw’okuba tukimanyi nti Yakuwa y’atutuma, omwoyo gwe omutukuvu gutuwa amaanyi, era Ekigambo kye kinyweza okukkiriza kwaffe. Olw’okuba Yakuwa atuyamba, tuli bamalirivu okweyongera okubuulira era n’okugumiikiriza okutuuka “ku nkomerero.”—Mat. 24:13.
OLUYIMBA 65 Weeyongere mu Maaso!
a Mu kitundu kino, tugenda kulaba ebintu bisatu ebyayamba nnabbi Ezeekyeri okutuukiriza omulimu gwe ogw’okubuulira. Tugenda kwetegereza engeri Yakuwa gye yamuyambamu, era ekyo kijja kutuleetera okuba abakakafu nti Yakuwa ajja kutuyamba okutuukiriza obuweereza bwaffe.