EBYAFAAYO
“Nnali Njagala Kukolera Yakuwa”
TWASIIBULA abantu abatonotono be twali tukyalidde okumpi n’ekyalo ekiyitibwa Granbori, ekyali wakati mu kibira ky’e Suriname. Oluvannyuma twatuula mu kaato akatono ne tusaabalira ku mugga oguyitibwa Tapanahoni. Bwe twali tuyita mu kitundu amazzi we gaali gadduka ennyo, ekiwujjo kya yingini y’akaato mwe twali kyakoona olwazi. Amangu ago ekitundu ky’akaato eky’omu maaso kyayingira mu mazzi ne tugagwamu. Nnatya nnyo! Wadde nga nnali mmaze emyaka mingi nga ntambulira ku mazzi bwe nnali mpeereza ng’omulabirizi akyalira ebibiina, nnali simanyi kuwuga!
Nga sinnababuulira ebyaddirira, ka nsooke mbabuulire engeri gye nnayingira obuweereza obw’ekiseera kyonna.
Nnazaalibwa mu 1942 ku kizinga ky’omu Caribbean ekiyitibwa Curaçao. Taata wange yazaalibwa mu Suriname, naye yagenda ku kizinga ekyo okunoonya omulimu. Bwe nnali sinnazaalibwa, taata wange yali omu ku bantu abaasooka okufuuka Abajulirwa ba Yakuwa mu Curaçao. a Ffe abaana be yatuyigirizanga Bayibuli buli wiiki, wadde ng’ebiseera ebimu tetwayagalanga kuyiga. Bwe nnaweza emyaka 14, taata waffe yaddayo naffe mu Suriname asobole okulabirira maama we eyali akaddiye.
OKUFUNA EMIKWANO EMIRUNGI KYANNYAMBA NNYO
Bwe twatuuka mu Suriname, nnakola omukwano n’abavubuka mu kibiina abaali baweereza Yakuwa n’obunyiikivu. Baali bansingako emyaka mitono, era baali baweereza nga bapayoniya aba bulijjo. Bwe baabanga banyumya ku birungi bye baabanga bafunye mu buweereza, baabanga basanyufu nnyo. Oluvannyuma lw’enkuŋŋaana z’ekibiina, nze ne mikwano gyange abo twateranga okwogera ku bintu ebikwata ku Katonda era ekyo oluusi twakikolanga nga tutudde wabweru mu budde obw’ekiro nga tutunuulidde emmunyeenye. Mikwano gyange abo bannyamba okumanya kye nnali njagala okukola mu bulamu; nnali njagala kukolera Katonda. Bwe kityo nnabatizibwa nga nnina emyaka 16, era oluvannyuma nga nnina emyaka 18, nnatandika okuweereza nga payoniya owa bulijjo.
NJIGA EBINTU EBIKULU ENNYO
Waliwo ebintu ebikulu ennyo bye nnayiga nga mpeereza nga payoniya, era binnyambye nnyo mu kiseera kyonna kye mmaze mu buweereza obw’ekiseera kyonna. Ng’ekyokulabirako, ekimu ku bintu bye nnasooka okuyiga bwe bukulu bw’okutendeka abalala. Bwe nnatandika okuweereza nga payoniya, omuminsani ayitibwa Willem van Seijl yanfuula mukwano gwe. b Yanjigiriza ebintu bingi ku ngeri y’okutuukirizaamu obuvunaanyizibwa mu kibiina. Mu kiseera ekyo nnali simanyi nti okutendekebwa okwo nnali nkwetaaga nnyo. Omwaka ogwaddako, nnalondebwa okuweereza nga payoniya ow’enjawulo era ne ntandika okulabirira ebibiina ebyali mu bitundu eby’ewala ennyo mu kibira ky’e Suriname. Nnasiima nnyo okutendekebwa okwo ab’oluganda kwe baali bampadde, kubanga nnali nkwetaaga nnyo! Okuva mu kiseera ekyo, nfuba okubakoppa nga ntendeka abalala.
Ekintu eky’okubiri kye nnayiga, gwe muganyulo oguli mu butaba na bintu bingi era n’okukola ebintu mu ngeri entegeke obulungi. Ku ntandikwa ya buli mwezi, nze n’ow’oluganda gwe nnali mpeereza naye twateekateekanga okugula emmere n’ebintu ebirala bye twetaaga ebyanditumazizzaako omwezi ogwo. Oluvannyuma, omu ku ffe yatindigganga olugendo oluwanvu okugenda mu kibuga ekikulu okugula bye twabanga twetaaga. Twakozesanga bulungi ssente ze twabanga tufunye, era n’eby’okukozesa twabikekkerezanga bisobole okutumazaako omwezi. Ekintu kyonna bwe kyandituweddeko nga tuli eyo mu kibira, tewandibaddewo muntu yenna atuyamba. Ndi mukakafu nti okuyiga obutaba na bintu bingi nga nkyali muvubuka era n’okukola ebintu mu ngeri entegeke obulungi, kinnyambye nnyo okumalira ebirowoozo byange ku kuweereza Yakuwa obulamu bwange bwonna.
Ekintu eky’okusatu kye nnayiga, gwe muganyulo oguli mu kuyigiriza abantu amazima mu lulimi lwabwe oluzaaliranwa. Nnakula njogera Oludaaki, Olungereza, Olupapiamento, n’olulimi oluyitibwa Sranantongo (era olumanyiddwa nga Sranan), ezisinga okukozesebwa mu Suriname. Naye twakiraba nti abantu be twali tubuulira mu bitundu eby’omu kibira bassangayo nnyo omwoyo ku mawulire amalungi bwe twayogeranga nabo mu lulimi lwabwe oluzaaliranwa. Ezimu ku nnimi ezo zanzibuwalira nnyo okuyiga, gamba ng’olulimi oluyitibwa Saramaccan, naye okufuba okuziyiga kivuddemu ebirungi. Okumala emyaka, nsobodde okuyamba abantu bangi okuyiga amazima, olw’okuba nsobola okwogera ennimi zaabwe.
Kyo kituufu nti oluusi nnakolanga ensobi nga njogera ennimi ezo. Ng’ekyokulabirako, lumu nnali njagala okubuuza omukyala omu eyali omuyizi wa Bayibuli era eyali ayogera olulimi oluyitibwa Saramaccan, engeri gye yali awuliramu olw’okuba emabegako yali atugambye nti olubuto lwali lumuluma. Kyokka mu kifo ky’ekyo, nnamubuuza obanga yali lubuto. Awatali kubuusabuusa, ekibuuzo kye nnamubuuza tekyamuyisa bulungi. Wadde nga nnakolanga ensobi ng’ezo, nnafubanga nnyo okwogera n’abantu b’omu kitundu kye nnali mbuuliramu nga nkozesa olulimi lwabwe.
MPEEBWA OBUVUNAANYIZIBWA OBULALA
Mu 1970, nnalondebwa okuba omulabirizi akyali ebibiina. Mu mwaka ogwo, nnakyalira ab’oluganda abaali mu bitundu eby’ewala mu kibira, ne mbalaga ebifaananyi ebyali byakwatibwa ku katambi akaalina omutwe ogugamba nti, “Visiting the World Headquarters of Jehovah’s Witnesses” [“Okukyala ku Kitebe Ekikulu eky’Abajulirwa ba Yakuwa”]. Okusobola okutuuka mu bitundu ebyo, nze n’ab’oluganda abalala twayitanga ku migga nga tukozesa akaato akatono ak’embaawo. Akaato ako twakatikkanga kabindo. Twakateekangamu jenereeta, ttanka y’amafuta, amataala, ne projekita gye twakozesanga okulaga ebifaananyi. Bwe twatuukanga ku lukalu, twetikkanga ebintu ebyo byonna ne tubitwala mu kifo we twabanga tugenda okulagira ebifaananyi. Naye kye nsinga okujjukira, y’engeri
abantu b’omu bitundu ebyo gye baanyumirwangamu ebyo bye twabalaganga. Kyansanyusanga nnyo okuyamba abalala okumanya ebikwata ku Yakuwa ne ku kibiina kye. Wadde nga twakolanga nnyo, kyandeeteranga essanyu lingi okulaba ng’abalala bafunye enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa.OKULUKA OMUGUWA OGW’EMIYONDO ESATU
Wadde nga nnali nkiraba nti okuweereza Yakuwa nga siri mufumbo kyali kya muganyulo, nnali njagala okufuna munnange gwe nnandiweerezza naye obulamu bwange bwonna. Bwe ntyo nnatandika okusaba Yakuwa annyambe okufuna omukyala eyandigumidde embeera enzibu, era n’aweerereza wamu nange nga musanyufu. Oluvannyuma lw’omwaka gumu, nnatandika okwogereza mwannyinaffe ayitibwa Ethel, eyali aweereza nga payoniya ow’enjawulo era eyali omunyiikivu, wadde ng’embeera gye yali aweererezaamu teyali nnyangu. Okuva mu buto, Ethel yali ayagala okubeera ng’omutume Pawulo eyakola kyonna kye yali asobola okuweereza Yakuwa. Twafumbiriganwa mu Ssebutemba 1971 ne tutandika okukyalira ebibiina ffembi.
Amaka Ethel mwe yakulira tegaali bulungi mu bya nfuna. Bwe kityo kyamwanguyira okumanyiira embeera enzibu gye twali tuweererezaamu. Ng’ekyokulabirako, bwe twabanga tweteekateeka okukyalira ebibiina ebyali ewala mu bitundu eby’omu kibira, twagendanga n’ebintu bitono nnyo. Engoye twazoolezanga mu migga, era mwe twanaabiranga. Ate era twemanyiiza okulya ekyo kyonna oyo eyabanga atukyazizza kye yabanga atuwadde, gamba ng’ekika ky’ekkonkome eriyitibwa iguanas, oba ekyennyanja ekiyitibwa piranhas, oba ekintu kyonna kye baabanga bayizze mu kibira oba kye baabanga bavubye mu mugga. Bwe wataabangawo masowaani, twaliiranga ku ndagala. Ate bwe wataabangawo bujiiko oba wuma, twaliisanga ngalo. Nze ne mukyala wange Ethel tukirabye nti okwefiiriza n’okuweerereza awamu Yakuwa kinywezezza nnyo obufumbo bwaffe, okufaananako omuguwa ogw’emiyondo esatu. (Mub. 4:12) Tetusobola kukkiriza kintu kyonna kutulemesa kuweereza Yakuwa!
Lumu bwe twali tukomawo nga tuva okukyalira ab’oluganda mu kitundu ekyesudde mu kibira, we
twafunira ekizibu kye nnayogeddeko ku ntandikwa. Eryato bwe lyatuuka awaali amazzi agaali gadduka ennyo, ekitundu kyalyo eky’omu maaso kyayingira mu mazzi ne tugagwamu. Ekirungi kiri nti twali twambadde jaketi ezaatuyamba obutabbira. Naye eryato lyajjula amazzi. Emmere gye talina mu bbaketi twagiyuwa mu mazzi ne tukozesa bbaketi ezo okusena amazzi mu lyato.Olw’okuba twali tusuddeyo emmere yaffe, twatandika okuloba mu mugga nga bwe tweyongerayo, naye twali tetukwasa kintu kyonna. Bwe kityo twasaba Yakuwa atuwe emmere ey’olunaku olwo. Oluvannyuma lw’okusaba, omu ku b’oluganda be twali nabo yasuula eddobo mu mazzi n’akwasa ekyennyanja ekinene ekyatumala ffenna abataano ku lunaku olwo.
OKUBA OMWAMI, TAATA, ERA OMULABIRIZI AKYALIRA EBIBIINA
Oluvannyuma lw’okukyalira ebibiina okumala emyaka etaano, nze ne Ethel twafuna omukisa gwe twali tutasuubira; twali tugenda kufuuka bazadde. Nnali musanyufu, naye nnali simanyi ngeri ekyo gye kyandikutte ku bulamu bwaffe. Twali twagala nnyo okweyongera okuweereza mu buweereza obw’ekiseera kyonna. Mu 1976, mutabani waffe ayitibwa Ethniël yazaalibwa. Oluvannyuma lw’emyaka ebiri n’ekitundu, mutabani waffe omulala ayitibwa Giovanni, naye yazaalibwa.
Olw’okuba mu kiseera ekyo mu Suriname mwalimu obwetaavu bungi, ofiisi y’ettabi yakola enteekateeka nneeyongere okukola ng’omulabirizi akyalira ebibiina, nga bwe tukuza abaana baffe. Batabani baffe bwe baali bakyali bato, nnakyaliranga ebitundu ebitaalimu bibiina bingi. Ekyo kyansobozesanga okumala wiiki ezimu mu mwezi nga nkyalira ebibiina, ate wiiki endala ne nzimala nga mpeereza nga payoniya mu kibiina mwe twali. Ethel ne batabani baffe bamperekerangako nga ŋŋenda okukyalira ebibiina ebyali okumpi ne we twali tubeera. Naye bwe nnabanga ŋŋenda okukyalira ebibiina oba okukubiriza enkuŋŋaana ennene mu bitundu ebyali ewala mu kibira, nnagendanga nzekka.
Nnalina okuba n’enteekateeka ennungi okusobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwonna bwe nnalina. Nnakakasanga nti tubeera n’okusinza kw’amaka buli wiiki. Bwe nnabanga ŋŋenze okukyalira ebibiina ebyali mu kibira, Ethel yabanga n’okusinza kw’amaka ne batabani baffe. Kyokka twafubanga nnyo okulaba nti ebintu tubikolera wamu ng’amaka. Ate era nze ne Ethel twesanyusangamu ng’amaka, nga tuzannya emizannyo oba nga tugenda okutambulako mu bifo ebyali okumpi ne we twabeeranga. Oluusi nnabanga n’eby’okutegeka bingi era nnalwangawo okwebaka. Olw’okuba Ethel ali ng’omukyala omulungi ayogerwako mu Engero 31:15, yazuukukanga ng’obudde tebunnasaasaana n’ateekateeka eky’enkya tusobole okusoma ekyawandiikibwa eky’olunaku ffenna ng’amaka, n’okuliira awamu eky’enkya ng’abaana tebannagenda ku ssomero. Nneebaza nnyo Yakuwa okumpa omukyala omulungi annyambye ennyo okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwange.
Ng’abazadde, twafuba nnyo okuyamba abaana baffe okwagala Yakuwa n’omulimu gw’okubuulira. Twayagala abaana baffe bayingire obuweereza obw’ekiseera kyonna, naye ng’ekyo bakyesaliddewo ku lwabwe. Twababuuliranga nti obuweereza obw’ekiseera kyonna bwandibayambye okuba abasanyufu. Wadde nga twayogeranga nabo ku kusoomooza kwe twayolekagana nakwo, okusingira ddala twaggumizanga engeri Yakuwa gye yatuyambangamu ng’amaka era n’emikisa gye yatuwa. Ate era twafuba nnyo okulaba nti batabani baffe bakola emikwano ne bakkiriza bannaabwe abakulembeza okuweereza Yakuwa mu bulamu bwabwe.
Yakuwa yakolanga ku byetaago byaffe ng’amaka. Kyo kituufu nti nange nnakolanga kyonna kye nsobola okulabirira ab’omu maka gange. Bwe nnali nkyaweereza nga payoniya owa bulijjo nga sinnawasa, nnayiga okukola embalirira y’ebintu bye twabanga twetaaga. Naye era ne bwe twafubanga ennyo, oluusi tetwabanga na buli kimu kye twetaaga. Mu biseera ng’ebyo, nnali mukakafu nti Yakuwa yatuyambanga. Ng’ekyokulabirako, ku nkomerero y’emyaka gya 1980 ne ku ntandika y’emyaka gya 1990, waaliwo olutalo mu Suriname. Mu kiseera ekyo, oluusi kyabanga kizibu okufuna ebyetaago eby’olunaku. Naye era Yakuwa yatulabiriranga.—Mat. 6:32.
BWE NZIJUKIRA GYE NVUDDE
Mu bulamu bwaffe bwonna Yakuwa atulabiridde, era atuyambye okuba abasanyufu era abamativu. Abaana baffe batuleetedde essanyu lingi, era tuli basanyufu nnyo okuba nti baasalawo okuweereza Yakuwa. Ate era tuli basanyufu nnyo okuba nti nabo baasalawo okuweereza Yakuwa ekiseera kyonna. Ethniël ne Giovanni baatendekebwa mu masomero agatali gamu ag’ekibiina, era bombi ne bakyala baabwe baweerereza ku ttabi ly’Abajulirwa ba Yakuwa ery’omu Suriname.
Nze ne mukyala wange Ethel kati tukaddiye, naye tukyaweereza Yakuwa n’obunyiikivu nga bapayoniya ab’enjawulo. Mu butuufu tulina eby’okukola bingi nnyo ne kiba nti sinnafuna budde bwa kuyiga kuwuga. Naye sirina kye nnejjusa. Bwe nzijukira gye nvudde, nkiraba nti okusalawo okuyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna nga nkyali muvubuka, kye kimu ku bintu ebisingayo obulungi bye nnali nsazeewo mu bulamu.
a Laba akatabo Yearbook of Jehovah’s Witnesses aka 2002, lup. 70.
b Ebyafaayo bya Willem van Seijl biri mu kitundu ekirina omutwe, “Reality Has Exceeded My Expectations,” ekiri mu magazini ya Awake! eya Okitobba 8, 1999.