Obadde Okimanyi?
Ddala Moluddekaayi yaliyo?
OMUYUDAAYA eyali ayitibwa Moluddekaayi alina kinene kye yakola ku ebyo ebyogerwako mu kitabo kya Bayibuli ekiyitibwa Eseza. Moluddekaayi yali omu ku Bayudaaya abaali mu buwaŋŋanguse e Babulooni, era yali akolera mu lubiri lwa kabaka wa Buperusi ku ntandikwa y’ekyasa eky’okutaano E.E.T., “mu kiseera kya [Kabaka] Akaswero.” (Kabaka oyo, leero bangi gwe bamanyi nga Zakisiisi I.) Moluddekaayi yalemesa abo abaali bakoze olukwe okutta kabaka. Kabaka yasiima nnyo ekyo Moluddekaayi kye yakola, era n’alagira nti Moluddekaayi aweebwe ekitiibwa mu lujjudde. Kamani, eyali omulabe wa Moluddekaayi era omulabe w’Abayudaaya abalala bwe yafa, kabaka yafuula Moluddekaayi katikkiro. Ekifo ekyo Moluddekaayi kye yafuna kyamusobozesa okuyisa ekiragiro ekyayamba Abayudaaya bonna abaali mu ttwale lya Buperusi obutattibwa.—Eseza 1:1; 2:5, 21-23; 8:1, 2; 9:16.
Bannabyafaayo abamu abaaliwo ku ntandikwa y’ekyasa ekya 20 baagamba nti ebyo ebiri mu kitabo kya Eseza lugero bugero, era nti ne Moluddekaayi teyaliiyo. Kyokka mu 1941, abanoonyereza ku bintu eby’edda baazuula obukakafu obulaga nti ebyo Bayibuli by’eyogera ku Moluddekaayi bituufu. Kiki kye baazuula?
Baazuula ekiwandiiko ekyali kyogera ku musajja ayitibwa Marduka (Moluddekaayi mu Luganda). Omusajja oyo yali mukungu era oboolyawo yali akola ng’omuwanika mu Susani. Omuwandiisi omu ayitibwa Arthur Ungnad, omukugu mu kunoonyereza ku byafaayo eby’edda yagamba nti “ng’oggyeeko Bayibuli, ekiwandiiko ekyo kyokka kye kyali kyogera ku Moluddekaayi” mu kiseera ekyo.
Okuva mu kiseera Ungnad lwe yawandiika ebigambo ebyo, abeekenneenya bangi bavvuunudde ebiwandiiko nkumi na nkumi eby’Abaperusi ab’edda. Ebimu ku byo bye biwandiiko ebyali ku bipande eby’amayinja ebyazuulibwa okumpi n’awaali ekibuga Persepolis eky’edda, era nga byazuulibwa okumpi ne we baaterekanga ssente. Ebipande ebyo eby’amayinja byakolebwa mu kiseera kya Kabaka Zakisiisi I. Ebigambo ebyali ku bipande ebyo byali mu lulimi olwakozesebwanga mu kiseera ekyo, era byaliko amannya agawerako agasangibwa ne mu kitabo kya Eseza. a
Ebimu ku bipande eby’amayinja ebyazuulibwa e Persepolis byaliko erinnya Marduka, eyakolanga ng’omuwandiisi mu lubiri lw’e Susani mu kiseera ky’obufuzi bwa Zakisiisi I. Ekimu ku bipande ebyo kyayogera ku Marduka ng’eyali omuvvuunuzi. Ekyo kikwatagana n’ebyo Bayibuli by’eyogera ku Moluddekaayi. Yali mukungu mu lubiri lwa Kabaka Akaswero (Zakisiisi I) era Bayibuli eraga nti yali amanyi waakiri ennimi bbiri. Moluddekaayi yateranga okutuula ku mulyango gwa kabaka mu lubiri lw’e Susani. (Eseza 2:19, 21; 3:3) Ekifo ekyo kyali kinene ddala, era abakungu b’omu lubiri we baakoleranga emirimu gyabwe.
Waliwo bingi ebikwata ku Marduka ayogerwako mu bipande by’amayinja ebyazuulibwa ebifaanagana n’ebyo ebikwata ku Moluddekaayi ayogerwako mu Bayibuli. Baaliwo mu kiseera kye kimu, mu kitundu kye kimu, era bombi baali bakungu nga bakolera mu kifo kye kimu. Okufaanagana okwo kwonna kulaga nti ebyo abanoonyereza ku bintu eby’edda bye baazuula biyinza okuba nga bikwata ku Moluddekaayi ayogerwako mu kitabo kya Eseza.
a Mu 1992, Profesa Edwin M. Yamauchi yafulumya ekiwandiiko ekyalimu amannya kkumi agali ku bipande ebyazuulibwa e Persepolis era ng’amannya ago gasangibwa ne mu kitabo kya Eseza.