Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 48

Sigala ng’Olina Endowooza Ennuŋŋamu ng’Obwesigwa Bwo Bugezeseddwa

Sigala ng’Olina Endowooza Ennuŋŋamu ng’Obwesigwa Bwo Bugezeseddwa

“Beera ng’otegeera bulungi mu bintu byonna.”​—2 TIM. 4:5.

OLUYIMBA 123 Okugoberera Enteekateeka Katonda gy’Ataddewo

OMULAMWA a

1. Kitegeeza ki ‘okusigala nga tutegeera bulungi’? (2 Timoseewo 4:5)

 BWE tufuna ekizibu, obwesige bwe tulina mu Yakuwa ne mu kibiina kye buyinza okugezesebwa. Tuyinza tutya okwaŋŋanga ebizibu ebyo? Tulina okusigala nga tutegeera bulungi mu bintu byonna, nga tutunula mu by’omwoyo era ‘nga tunyweredde mu kukkiriza.’ (Soma 2 Timoseewo 4:5.) Ekyo tukikola nga tusigala tuli bakkakkamu, era nga tufuba okutunuulira ebintu nga Yakuwa bw’abitunuulira. Bwe tukola tutyo, tetujja kukkiriza nneewulira yaffe kutuleetera kusalawo bubi.

2. Biki bye tugenda okulaba mu kitundu kino?

2 Mu kitundu ekyayita, twalaba ebizibu bya mirundi esatu bye tuyinza okwolekagana nabyo, nga biva wabweru wa kibiina. Mu kitundu kino tugenda kulaba ebizibu bya mirundi esatu ebiyinza okugezesa obwesigwa bwaffe eri Yakuwa, nga biva mu kibiina. Ebizibu ebyo bye bino: (1) bwe tuba nga tuwulira nti mukkiriza munnaffe atuyisizza bubi, (2) bwe tukangavvulwa, ne (3) bwe kiba nga kituzibuwalira okutuukana n’enkyukakyuka eziba zikoleddwa mu kibiina. Kiki ekinaatuyamba okusigala nga tunyweredde ku Yakuwa ne ku kibiina kye nga twolekagana n’ebizibu ng’ebyo?

BWE TUBA NGA TUWULIRA NTI MUKKIRIZA MUNNAFFE ATUYISIZZA BUBI

3. Tuyinza kuwulira tutya, singa mukkiriza munnaffe akola ekintu ekitunyiiza?

3 Waliwo mukkiriza munno eyali akozeeko ekintu ekyakunyiiza, naddala ng’ali mu kifo eky’obuvunaanyizibwa? Oboolyawo teyagenderera kukunyiiza. (Bar. 3:23; Yak. 3:2) Naye era ekintu kye yakola kiyinza okuba nga kyakunyiiza. Oboolyawo walowooza nnyo ku ekyo kye yakola oba kye yayogera, n’obulwa n’otulo. Oyinza okuba nga weebuuza nti, ‘Bwe kiba nti ow’oluganda asobola okweyisa bw’atyo, ddala kino kye kibiina Katonda ky’akozesa?’ Bw’atyo Sitaani bw’ayagala tulowooze. (2 Kol. 2:11) Endowooza ng’eyo eyinza n’okutuleetera okuva ku Yakuwa ne ku kibiina kye. N’olwekyo, bwe tuwulira nti mukkiriza munnaffe atuyisizza bubi, tuyinza tutya okusigala nga tulina endowooza ennuŋŋamu?

4. Yusufu yeeyisa atya ng’abalala bamuyisizza bubi, era kiki kye tumuyigirako? (Olubereberye 50:19-21)

4 Weewale okusiba ekiruyi. Yusufu bwe yali akyali muvubuka, baganda be baamuyisa bubi. Baamukyawa era abamu ku bo baali baagala na kumutta. (Lub. 37:4, 18-22) Oluvannyuma baamutunda mu buddu. N’ekyavaamu, Yusufu yayolekagana n’ebizibu eby’amaanyi okumala emyaka nga 13. Yusufu yandirowoozezza nti Yakuwa tamwagala. Era yandyebuuzizza obanga Yakuwa yali amwabulidde. Naye Yusufu teyasiba kiruyi. Mu kifo ky’ekyo, yasigala mukkakkamu. Bwe yafuna akakisa okwesasuza baganda be, ekyo teyakikola, wabula yabalaga okwagala era n’abasonyiwa. (Lub. 45:4, 5) Ekyo Yusufu yasobola okukikola kubanga yasigala ng’alina endowooza ennuŋŋamu. Mu kifo ky’okumalira ebirowoozo bye ku bizibu bye yalina, yeeyongera okulowooza ku ebyo Yakuwa by’ayagala. (Soma Olubereberye 50:19-21.) Kiki kye tumuyigirako? Abalala bwe bakuyisa obubi, tonyiigira Yakuwa era tolowooza nti takyakwagala. Mu kifo ky’ekyo, fumiitiriza ku ngeri gy’akuyambamu okugumira embeera eyo. Ate era abalala bwe bakuyisa obubi, fuba okubalaga okwagala kikusobozese okubuusa amaaso obutali butuukirivu bwabwe.​—1 Peet. 4:8.

5. Kiki ekyayamba Miqueas okusigala ng’alina endowooza ennuŋŋamu bwe yali awulira nti abalala bamuyisizza bubi?

5 Lowooza ku w’oluganda aweereza ng’omukadde ayitibwa Miqueas, b abeera mu South America. Ajjukira ekiseera lwe yawulira nti ab’oluganda abaali batwala obukulembeze mu kibiina baali bamuyisizza bubi. Agamba nti: “Nnali siwulirangako bwe ntyo. Nnatya nnyo. Seebakanga kiro, era nnakaabanga nga ndaba nti tewali yali ayinza kunnyamba.” Wadde kyali kityo, Miqueas teyakkiriza nneewulira ye kumuleetera kusalawo bubi. Yasaba Yakuwa emirundi mingi amuwe omwoyo omutukuvu gumusobozese okugumiikiriza. Ate era yanoonyereza mu bitabo byaffe n’afuna obulagirizi obwamuyamba. Kiki kye tuyinza okumuyigirako? Mukkiriza munno bw’akuyisa obubi, sigala ng’oli mukkakkamu era fuba okweggyamu endowooza embi gy’oyinza okuba nayo. Oyinza okuba nga tomanyi kyamuviiriddeko kwogera oba kweyisa mu ngeri eyo. N’olwekyo, saba Yakuwa akuyambe okwessa mu bigere bya mukkiriza munno. Bw’okola bw’otyo, kikusobozesa okulaba nti mukkiriza munno oyo teyakigenderera kukunyiiza era kikuyamba okubuusa amaaso ensobi ye. (Nge. 19:11) Kijjukire nti Yakuwa amanyi byonna by’oyitamu, era ajja kukuwa amaanyi ge weetaaga osobole okugumiikiriza.​—2 Byom. 16:9; Mub. 5:8.

BWE TUKANGAVVULWA

6. Lwaki kikulu okutunuulira okukangavvulwa ng’ekikolwa ekiraga nti Yakuwa atwagala? (Abebbulaniya 12:5, 6, 11)

6 Bwe tukangavvulwa, tuyinza okuwulira obulumi. Kyokka ebirowoozo bwe tubimalira ku bulimi obwo, tuyinza okutandika okuwulira nti okukangavvulwa okwo kwali tekusaana oba nti tekwakolebwa mu ngeri ntuufu. N’ekivaamu, tuyinza okulemererwa okukiraba nti okukangavvulwa okwo kulaga nti Yakuwa atwagala. (Soma Abebbulaniya 12:5, 6, 11.) Ate era bwe tukkiriza enneewulira yaffe okutufuga, tuba tuwa Sitaani akakisa okutulumba. Ayagala tugaane okukangavvulwa okuba kutuweereddwa, era tuve ku Yakuwa ne ku kibiina kye. Bw’oba nga wakangavvulwa, kiki ekinaakuyamba okusigala ng’olina endowooza ennuŋŋamu?

Olw’okuba Peetero yali mwetoowaze, yakkiriza okukangavvulwa okwamuweebwa era Yakuwa ne yeeyongera okumukozesa (Laba akatundu 7)

7. (a) Nga bwe kiragiddwa mu kifaananyi, Peetero bwe yakkiriza okukangavvulwa okwamuweebwa, Yakuwa yeeyongera atya okumukozesa? (b) Kiki ky’oyigidde ku Peetero?

7 Kkiriza okukangavvulwa, era okole enkyukakyuka ezeetaagisa. Emirundi egisukka mu gumu, Yesu yanenya Peetero mu maaso g’abatume abalala. (Mak. 8:33; Luk. 22:31-34) Peetero ayinza okuba nga yawulira obuswavu. Wadde kyali kityo, yanywerera ku Yesu. Yakkiriza okukangavvulwa okwamuweebwa, era n’ayigira ku nsobi ze. N’ekyavaamu, Yakuwa yawa Peetero emikisa olw’okusigala nga mwesigwa era n’amuwa obuvunaanyizibwa obw’amaanyi mu kibiina. (Yok. 21:15-17; Bik. 10:24-33; 1 Peet. 1:1) Kiki kye tuyinza okuyigira ku Peetero? Tuganyulwa nnyo era kiganyula n’abalala bwe tutamalira birowoozo byaffe ku buswavu bwe tuyinza okuba nga tuwulira olw’okukangavvulwa okuba kutuweereddwa, wabula ne tukukkiriza era ne tukola enkyukakyuka ezeetaagisa. Bwe tukola tutyo, tweyongera okuba ab’omugaso eri Yakuwa n’eri bakkiriza bannaffe.

8-9. Bernardo bwe yakangavvulwa, mu kusooka yawulira atya, naye kiki ekyamuyamba okutereeza endowooza ye?

8 Lowooza ku w’Oluganda Bernardo abeera mu Mozambique. Yaggibwako enkizo ey’okuweereza ng’omukadde. Yawulira atya mu kusooka? Agamba nti, “Nnanyiiga nnyo kubanga okukangavvulwa okwampeebwa saakwagala.” Ebirowoozo yabimalira ku ngeri abalala mu kibiina gye bandimututtemu. Agamba nti, “Kyantwalira emyezi egiwera okusobola okutunuulira ensonga mu ngeri entuufu, era n’okuddamu okwesiga Yakuwa n’ekibiina kye.” Kiki ekyamuyamba?

9 Bernardo yatereeza endowooza ye. Yagamba nti: “Bwe nnali nkyaweereza ng’omukadde, nnateranga okukozesa Abebbulaniya 12:7 okuyamba abalala okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku kukangavvula Yakuwa kw’atuwa. Nneebuuza nti, ‘Baani abalina okukolera ku kyawandiikibwa ekyo?’ Abaweereza ba Yakuwa bonna balina okukikolerako, nga nange mwendi.” Bernardo yakola enkyukakyuka ezaali zeetaagisa era n’addamu okwesiga Yakuwa n’ekibiina kye. Ate era yeeyongera okwesomesa n’okufumiitiriza. Wadde nga yali akyebuuza engeri bakkiriza banne mu kibiina gye bayinza okuba nga baali bamutwalamu, yakolanga nabo mu buweereza era yabeerangawo mu nkuŋŋaana. Oluvannyuma lw’ekiseera, yaddamu n’alondebwa okubeera omukadde. Bwe kiba nti naawe wakangavvulwa, fuba obutalowooza nnyo ku ngeri abalala gye bayinza okuba nga bakutwalamu, kkiriza okukangavvulwa okwakuweebwa, era kola enkyukakyuka ezeetaagisa. c (Nge. 8:33; 22:4) Bw’onookola bw’otyo, Yakuwa ajja kukuwa emikisa olw’okumunywererako era n’okunywerera ku kibiina kye.

BWE TUBA NGA TUZIBUWALIRWA OKUTUUKANA N’ENKYUKAKYUKA EZIBA ZIKOLEDDWA MU KIBIINA

10. Nkyukakyuka ki eyinza okuba nga yagezesa obwesigwa bw’abamu ku basajja Abayisirayiri?

10 Ekyukakyuka eziba zikoleddwa mu kibiina ziyinza okugezesa obwesigwa bwaffe eri Yakuwa. Bwe tuteegendereza, ziyinza n’okutuleetera okuva ku Yakuwa. Lowooza ku ngeri enkyukakyuka emu Yakuwa gye yakola gy’eyinza okuba nga yakwata ku Bayisirayiri abamu. Yakuwa bwe yali tannabawa mateeka, emitwe gy’amaka be baakolanga emirimu bakabona gye baakolanga oluvannyuma. Baazimbanga ebyoto eby’okuweerako ssaddaaka era baawangayo ssaddaaka eri Yakuwa ku lw’ab’omu maka gaabwe. (Lub. 8:20, 21; 12:7; 26:25; 35:1, 6, 7; Yob. 1:5) Naye Yakuwa bwe yabawa amateeka, emitwe gy’amaka baalina okulekera awo okukola ebintu ebyo. Yakuwa yalonda bakabona ab’omu luggya lwa Alooni okuwangayo ssaddaaka gy’ali. Enkyukakyuka eyo bwe yamala okukolebwa, omutwe gw’amaka yenna ataali kabona ow’omu luggya lwa Alooni bwe yawangayo ssaddaaka, yalinanga okuttibwa. d (Leev. 17:3-6, 8, 9) Kyandiba nti ekyukakyuka eyo y’emu ku nsonga lwaki Koola, Dasani, Abiraamu, n’abasajja abalala 250 baawakanya Musa ne Alooni? (Kubal. 16:1-3) Oboolyawo. K’ebe nga yali nsonga ki, Koola ne banne baalemererwa okusigala nga beesigwa eri Yakuwa. Singa enkyukakyuka eziba zikoleddwa zigezesa obwesigwa bwo eri Yakuwa, kiki ky’osaanidde okukola?

Obuvunaanyizibwa Abakokasi bwe baalina bwe bwakyuka, bakkiriza okuweereza ng’abayimbi, abakuumi b’oku miryango, oba okukola mu materekero (Laba akatundu 11)

11. Kiki kye tuyigira ku Baleevi abamu Abakokasi?

11 Wagira mu bujjuvu enkyukakyuka eziba zikoleddwa mu kibiina. Abayisirayiri bwe baali mu ddungu, Abakokasi balina omulimu omukulu ennyo gwe baakolanga. Buli Abayisirayiri lwe baabanga bava mu kifo ekimu okugenda mu kirala, Abakokasi be baasitulanga Essanduuko y’Endagaano okukulemberamu abantu. (Kubal. 3:29, 31; 10:33; Yos. 3:2-4) Eyo nga yali nkizo ya maanyi nnyo! Kyokka ebintu byakyuka Abayisirayiri bwe baatebenkera mu Nsi Ensuubize. Essanduuko y’Endagaano yali tekyetaagisa kutambuza kuva mu kifo kimu kugenda mu kirala. Bwe kityo, mu kiseera Sulemaani lwe yali nga y’afuga nga kabaka, Abakokasi abamu baalondebwa okuba abayimbi, abalala baali bakuumi ba ku miryango, ate abalala baalabiriranga materekero. (1 Byom. 6:31-33; 26:1, 24) Kyokka, tetulina wonna we tusoma nti Abakokasi beemulugunya nga baagala baweebwe enkizo endala ezibateeka ku mwanjo, olw’enkizo gye baalina mu biseera eby’emabega. Kiki kye tuyinza okubayigirako? Wagira mu bujjuvu enkyukakyuka eziba zikoleddwa, nga mw’otwalidde n’ezo eziyinza okukuviirako okufiirwa enkizo yo. Funa essanyu mu buvunaanyizibwa obulala bwonna obuba bukuweereddwa. Kijjukire nti enkizo gy’olina si y’ekuleetera okuba ow’omuwendo eri Yakuwa. Obuwulize bwo Yakuwa abutwala nga bwa muwendo nnyo okusinga enkizo yonna gy’oyinza okuba nayo.​—1 Sam. 15:22.

12. Zaina yawulira atya bwe yafiirwa enkizo ey’okuweereza ku Beseri?

12 Lowooza ku mwannyinaffe ayitibwa Zaina eyali aweerereza ku Beseri. Enkyukakyuka bwe zaakolebwa, yalina okuva ku Beseri kwe yali aweererezza okumala emyaka egisukka mu 23. Agamba nti: “Okuva ku Beseri kyampisa bubi nnyo. Nnawuliranga nga sirina mugaso, era nneebuuzanga nti, ‘Nsobi ki gye nnakola?’” Eky’ennaku, ab’oluganda ne bannyinaffe mu kibiina kye baayongera ku bulumi bwe yalina. Baamugambanga nti: “Singa obadde okola bulungi, tebandikuggyeeko nkizo yo.” Okumala ekiseera, Zaina yawulira ng’aweddemu amaanyi era yakaabanga buli lunaku. Naye agamba nti: “Sakkiriza mbeera eyo kundeetera kubuusabuusa kibiina kya Yakuwa oba okulowooza nti Yakuwa tanjagala.” Kiki ekyamuyamba okusigala ng’alina endowooza ennuŋŋamu?

13. Kiki Zaina kye yakola okusobola okweggyamu endowooza enkyamu gye yali afunye?

13 Kiki ekyayamba Zaina okweggyamu endowooza enkyamu gye yali afunye? Yasoma ebitundu ebyafulumira mu bitabo byaffe ebyali byogera ku mbeera gye yalimu. Ekitundu ekirina omutwe ogugamba nti, You Can Cope With Discouragement! (Osobola Okuvvuunuka Ebikumalamu Amaanyi) ekyafulumira mu Watchtower ya Febwali 1, 2001, kyamuyamba nnyo. Ekitundu ekyo kyalaga nti omuyigirizwa Makko naye ayinza okuba nga yafuna enneewulira y’emu, bwe yafuna enkyukakyuka mu buweereza bwe. Zaina agamba nti, “Ekyokulabirako kya Makko kyanzizzaamu nnyo amaanyi.” Ate era Zaina teyeeyawula ku kibiina. Teyalekera awo kugenda mu nkuŋŋaana n’okubuulira ne bakkiriza banne. Yakijjukira nti omwoyo gwa Yakuwa gwe guwa obulagirizi ku buli kimu ekisalibwawo mu kibiina, era nti ab’oluganda abatwala obukulembeze baali bamufaako nnyo. Ate era yakijjukira nti ekibiina kya Yakuwa kikola ekisingayo obulungi okulaba nti omulimu gwa Yakuwa gukolebwa.

14. Nkyukakyuka ki eyazibuwalira Vlado okutuukana nayo, era kiki ekyamuyamba?

14 Ow’oluganda ayitibwa Vlado ow’emyaka 73, abeera mu Slovenia era aweereza ng’omukadde, kyamuzibuwalira okuwagira enkyukakyuka eyakolebwa, ekibiina kye yalimu bwe kyagattibwa n’ekibiina ekirala era n’Ekizimbe ky’Obwakabaka mwe yali akuŋŋaanira ne kiggalwawo. Yagamba nti: “Nnali sitegeera nsonga lwaki Ekizimbe ky’Obwakabaka ekirungi bwe kityo kyaggalwawo. Nnawulira bubi kubanga twali twakakiddaabiriza. Ndi mubazzi, era nnina n’ebintu ebipya bye nnali nkoze mu Kizimbe ky’Obwakabaka. Ate era waliwo enkyukakyuka nnyingi ezaali zeetaagisa okukolebwa, ekintu ekitaali kyangu eri ffe ababuulizi abakuze mu myaka.” Kiki ekyayamba Vlado okuwagira enkyukakyuka eyo? Agamba nti: “Okutuukana n’enkyukakyuka eziba zikoleddwa mu kibiina bulijjo kivaamu ebirungi. Ekyukakyuka ezo zituyamba okweteekerateekera enkyukakyuka ez’amaanyi ezijja mu maaso.” Naawe ekibiina ky’olimu kyagattibwa n’ekirala, oba waliwo enkyukakyuka eyakolebwa ekuzibuwalira okutuukana nayo? Beera mukakafu nti Yakuwa ategeera engeri gy’owuliramu. Bw’owagira enkyukakyuka ezo era n’onywerera ku Yakuwa ne ku kibiina kye, beera mukakafu nti ajja kukuwa emikisa.​—Zab. 18:25.

SIGALA NG’OLINA ENDOWOOZA ENNUŊŊAMU MU BINTU BYONNA

15. Tuyinza tutya okusigala nga tulina endowooza ennuŋŋamu bwe twolekagana n’ebizibu ebiva mu kibiina?

15 Ng’enkomerero egenda esembera, tusuubira nti tujja kufuna okusoomooza okutali kumu mu kibiina. Okusoomooza okwo kuyinza okugezesa obwesigwa bwaffe eri Yakuwa. N’olwekyo kikulu okusigala nga tulina endowooza ennuŋŋamu. Singa owulira nti mukkiriza munno akuyisizza bubi, tokkiriza nneewulira eyo kukuleetera kusiba kiruyi. Bw’okangavvulwa, ebirowoozo byo tobimalira ku buswavu bw’oyinza okuwulira mu kusooka. Kkiriza okukangavvulwa okuba kukuweereddwa, era kola enkyukakyuka ezeetaagisa. Ate ekibiina kya Yakuwa bwe kikola enkyukakyuka ekukwatako, wagira enkyukakyuka eyo era ogoberere obulagirizi obuba buweereddwa.

16. Kiki ekinaakuyamba okweyongera okwesiga Yakuwa n’ekibiina kye?

16 Osobola okweyongera okwesiga Yakuwa n’ekibiina kye. Naye ekyo okusobola okukikola, oba olina okusigala ng’olina endowooza ennuŋŋamu, kwe kugamba, okusigala ng’oli mukkakkamu era n’okutunuulira ensonga nga Yakuwa bw’azitunuulira. Weeyongere okusoma ku bantu aboogerwako mu Bayibuli abaayolekagana n’embeera ezifanaanako n’ezizo, era ofumiitirize ku kyokulabirako kye bassaawo. Saba Yakuwa akuyambe, era teweeyawulanga ku kibiina. Bw’onookola bw’otyo, Sitaani tajja kusobola kukuggya ku Yakuwa oba ku kibiina kye.​—Yak. 4:7.

OLUYIMBA 126 Tunula, Beeranga wa Maanyi

a Obwesige bwe tulina mu Yakuwa ne mu kibiina kye buyinza okugezesebwa, naddala ng’ekizibu kye twolekagana nakyo kivudde mu kibiina Ekikristaayo. Mu kitundu kino tugenda kulaba ebizibu bya mirundi esatu ebisobola okugezesa obwesigwa bwaffe, era n’ekisobola okutuyamba okusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa n’eri ekibiina kye.

b Amannya agamu gakyusiddwa.

c Osobola okufuna amagezi aganaakuyamba mu kitundu ekirina omutwe ogugamba nti, “Wali Obaddeko n’Enkizo? Wandyagadde Okuddamu Okugifuna?” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Agusito 15, 2009, lup. 30.

d Amateeka gaali galagira emitwe gy’amaka abaayagalanga okutta ekisolo eky’okulya awaka, okukitwalanga ku weema entukuvu. Naye bwe baabeeranga ewala okuva awaali weema entukuvu, bakkirizibwanga okwettira ebisolo eby’okulya.​—Ma. 12:21.