Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 47

Tokkiriza Kintu Kyonna Kukwawukanya ku Yakuwa

Tokkiriza Kintu Kyonna Kukwawukanya ku Yakuwa

“Nneesiga ggwe, Ai Yakuwa.”​—ZAB. 31:14.

OLUYIMBA 122 Ba Munywevu, Tosagaasagana!

OMULAMWA a

1. Tumanya tutya nti Yakuwa ayagala okuba n’enkolagana ey’oku lusegere naffe?

 YAKUWA ayagala tube n’enkolagana ey’oku lusegere naye. (Yak. 4:8) Ayagala abeere Katonda waffe, Kitaffe, era Mukwano gwaffe. Addamu okusaba kwaffe, era atuyamba mu biseera ebizibu. Ate era akozesa ekibiina kye okutuyigiriza n’okutukuuma. Naye kiki kye tulina okukola okusobola okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa?

2. Kiki ekinaatuyamba okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa?

2 Tusobola okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa nga tumusaba, nga tusoma Ekigambo kye, era nga tukifumiitirizaako. Bwe tukola tutyo, tweyongera okumwagala era n’okusiima by’atukolera. Ate era kituyamba okweyongera okumugondera n’okumuwa ekitiibwa n’ettendo ebimugwanira. (Kub. 4:11) Gye tunaakoma okumanya Yakuwa, gye tujja okukoma okumwesiga era n’okwesiga ekibiina kye.

3. Sitaani agezaako atya okutuleetera okuva ku Yakuwa, naye kiki ekinaatuyamba okunywerera ku Yakuwa ne ku kibiina kye? (Zabbuli 31:13, 14)

3 Sitaani agezaako okutuleetera okuva ku Yakuwa, naddala bwe tuba twolekagana n’ebizibu. Ekyo akikola atya? Agezaako mpolampola okutuleetera okulekera awo okwesiga Yakuwa n’ekibiina kye. Naye tusobola okwewala okugwa mu mitego gye. Okukkiriza kwaffe bwe kuba okunywevu era bwe tuba nga twesigira ddala Yakuwa, tetujja kumuvaako era tetujja kuva ku kibiina kye.​—Soma Zabbuli 31:13, 14.

4. Biki bye tugenda okulaba mu kitundu kino?

4 Mu kitundu kino, tugenda kulaba ebizibu bya mirundi esatu ebiva wabweru w’ekibiina, ebiyinza okutuleetera okulekera awo okwesiga Yakuwa n’ekibiina kye. Ebizibu ebyo biyinza bitya okutuleetera okuva ku Yakuwa, era biki bye tuyinza okukola okuziyiza Sitaani?

BWE TUBA NGA TWOLEKAGANA N’EBIZIBU

5. Ebizibu bye twolekagana nabyo biyinza bitya okutuleetera okulekera awo okwesiga Yakuwa n’ekibiina kye?

5 Oluusi twolekagana n’ebizibu, gamba ng’okuyigganyizibwa ab’eŋŋanda zaffe oba okufiirwa omulimu gwaffe. Ebizibu ng’ebyo biyinza bitya okutuleetera okulekera awo okwesiga ekibiina kya Yakuwa oba okuva ku Yakuwa? Bwe tuba n’ebizibu okumala ekiseera kiwanvu, tuyinza okuggwaamu amaanyi n’essuubi. Sitaani akozesa embeera ng’ezo okutuleetera okulowooza nti Yakuwa tatufaako. Ayagala tulowooze nti ebizibu bye tufuna Yakuwa y’abituleetera, oba nti tubifuna olw’okuba tuli mu kibiina kya Yakuwa. Ekyo kye kyatuuka ku bamu ku Bayisirayiri abaali e Misiri. Mu kusooka baali bakkiriza nti Yakuwa ye yalonda Musa ne Alooni okubanunula okuva mu buddu. (Kuv. 4:29-31) Naye oluvannyuma Falaawo bwe yeeyongera okubabonyaabonya, baanenya Musa ne Alooni nti be baali babaleetedde ebizibu. Baabagamba nti: “Muleetedde Falaawo n’abaweereza be okutunyooma, era mutadde ekitala mu mukono gwabwe batutte.” (Kuv. 5:19-21) Abayisirayiri abo baanenya abaweereza ba Katonda abaali abeesigwa. Ekyo nga kyali kya nnaku nnyo! Bw’oba ng’obadde oyolekagana n’ebizibu okumala ekiseera kiwanvu, oyinza otya okweyongera okwesiga Yakuwa n’ekibiina kye?

6. Kiki kye tuyigira ku nnabbi Kaabakuuku bwe kituuka ku ngeri y’okugumira ebizibu? (Kaabakuuku 3:17-19)

6 Saba Yakuwa era mwesige nti ajja kukuyamba. Nnabbi Kaabakuuku yayolekagana n’ebizibu bingi. Lumu yeebuuza obanga ddala Yakuwa yali amufaako. Bwe kityo yasaba Yakuwa n’amutegeeza byonna ebyamuli ku mutima. Yagamba nti: “Ai Yakuwa, ndituusa wa okukukoowoola onnyambe, naye n’otowuliriza? . . . Lwaki ogumiikiriza ebikolwa eby’okubonyaabonya abalala?” (Kaab. 1:2, 3) Yakuwa yaddamu okusaba kw’omuweereza we oyo okwaviira ddala ku mutima. (Kaab. 2:2, 3) Kaabakuuku bwe yafumiitiriza ku ngeri Yakuwa gye yanunulamu abantu be, yaddamu okuba omusanyufu. Yali mukakafu nti Yakuwa yali amufaako era nti yandimuyambye okugumira ekizibu kyonna. (Soma Kaabakuuku 3:17-19.) Kiki kye tuyigamu? Bw’oba ng’oyolekagana n’ebizibu, saba Yakuwa omutegeeze engeri gy’owuliramu, era mwesige nti ajja kukuyamba. Bw’onookola bw’otyo, ojja kuba mukakafu nti Yakuwa ajja kukuwa amaanyi ge weetaaga okusobola okugumiikiriza. Ate era bw’onoolaba engeri Yakuwa gy’akuyambamu, okukkiriza kwo kujja kweyongera okunywera.

7. Kiki omu ku b’eŋŋanda za Shirley kye yagezaako okumuleetera okukola, era kiki ekyayamba Shirley okunywerera ku Yakuwa?

7 Nywerera ku nteekateeka yo ey’eby’omwoyo. Lowooza ku ngeri ekyo gye kyayambamu mwannyinaffe ayitibwa Shirley, abeera mu Papua New Guinea. b Amaka Shirley mwe yali abeera gaali maavu nnyo, era oluusi baalemererwanga okufuna emmere ebamala. Omu ku b’eŋŋanda ze yagezaako okumuleetera okulekera awo okwesiga Yakuwa. Yamugamba nti: “Ogamba nti omwoyo gwa Katonda omutukuvu gukuyamba, naye obuyambi obwo buli ludda wa? Muli baavu nnyo, kyokka ebiseera byo obyonoonera mu kubuulira.” Shirley agamba nti: “Nneebuuza nti, ‘Ddala Katonda atufaako?’ Naye amangu ddala nnasaba Yakuwa ne mmutegeeza ebyo byonna ebyandi ku mu mutima. Nneeyongera okusoma Bayibuli n’ebitabo byaffe, okubuulira, n’okugenda mu nkuŋŋaana.” Oluvannyuma lw’ekiseera kitono, yatandika okukiraba nti Yakuwa yali abalabirira. Ab’awaka tebaabulwanga kya kulya, era bonna baali basanyufu. Shirley agamba nti: “Nnakiraba nti Yakuwa yali addamu okusaba kwange.” (1 Tim. 6:6-8) Naawe bw’onoonywerera ku nteekateeka yo ey’eby’omwoyo, tojja kukkiriza bizibu kukuleetera kuva ku Yakuwa.

AB’OLUGANDA ABATWALA OBUKULEMBEZE BWE BABA NGA BAYIGGANYIZIBWA

8. Kiki ekiyinza okutuuka ku b’oluganda abatwala obukulembeze mu kibiina kya Yakuwa?

8 Abalabe baffe oluusi bakozesa emikutu gy’empuliziganya okusaasaanya eby’obulimba ku b’oluganda abatwala obukulembeze mu kibiina kya Yakuwa. (Zab. 31:13) Ab’oluganda abamu bakwatibwa era ne bavunaanibwa ng’abamenyi b’amateeka. Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka baayolekagana n’embeera y’emu, omutume Pawulo bwe yayogerwako eby’obulimba era n’akwatibwa. Kiki kye baakola?

9. Abakristaayo abamu baakola ki, omutume Pawulo bwe yasibibwa mu kkomera?

9 Omutume Pawulo bwe yali ng’asibiddwa mu Rooma, Abakristaayo abamu baamwabulira. (2 Tim. 1:8, 15) Lwaki? Kyandiba nti baali batya okukolagana ne Pawulo olw’okuba abantu baali bamutwala ng’omumenyi w’amateeka? (2 Tim. 2:8, 9) Oba baali batya nti nabo bandiyigganyziddwa? K’ebe nsonga ki gye baalina, lowooza ku ngeri Pawulo gye yawuliramu. Yali ayise mu bizibu bingi, era ng’atadde n’obulamu bwe mu kabi ku lwabwe. (Bik. 20:18-21; 2 Kol. 1:8) Ka tuleme kuba ng’abo abaayabulira Pawulo mu kiseera we yali asinga okwetaagira obuyambi. Kiki kye tusaanidde okukola, ab’oluganda abatwala obukulembeze bwe baba nga bayigganyizibwa?

10. Kiki kye tusaanidde okujjukiranga ng’ab’oluganda abatwala obukulembeze bayigganyizibwa, era lwaki?

10 Jjukiranga ensonga lwaki tuyigganyizibwa, era n’oyo atuleetera okuyigganyizibwa. Timoseewo ekyʼOkubiri 3:12 wagamba nti: “Abo bonna abaagala okutambulira mu bulamu obw’okwemalira ku Katonda ng’abagoberezi ba Kristo Yesu, bajja kuyigganyizibwanga.” N’olwekyo, tekisaanidde kutwewuunyisa nti Sitaani alumba ab’oluganda abatwala obukulembeze mu kibiina. Ayagala ab’oluganda abo balekera awo okuba abeesigwa eri Yakuwa, era naffe ayagala tutye.​—1 Peet. 5:8.

Wadde nga Pawulo yali musibe, Onesifolo yayoleka obuvumu n’amuyamba. Leero baganda baffe ne bannyinaffe bawagira bakkiriza bannaabwe abaasibibwa mu makomera olw’okukkiriza kwabwe, nga bwe kiragiddwa mu kifaananyi kino (Laba akatundu 11-12)

11. Kiki kye tuyigira ku Onesifolo? (2 Timoseewo 1:16-18)

11 Weeyongere okuwagira baganda bo n’okubanywererako. (Soma 2 Timoseewo 1:16-18.) Omukristaayo ayitibwa Onesifolo ye yeeyisa mu ngeri ya njawulo nga Pawulo asibiddwa mu kkomera. ‘Teyakwatirwa [Pawulo] nsonyi ng’ali mu njegere.’ Mu kifo ky’ekyo, yanoonya Pawulo era bwe yamuzuula yabaako ky’akolawo okumuyamba. Onesifolo bwe yakola bw’atyo, yassa obulamu bwe mu kabi. Kiki kye tumuyigirako? Tetusaanidde kukkiriza kutya bantu kutulemesa kuyamba baganda baffe abayigganyizibwa. Mu kifo ky’ekyo, ka tukolenga kyonna kye tusobola okubayamba. (Nge. 17:17) Beetaaga okubalaga okwagala n’okubayamba.

12. Kiki kye tuyigira ku baganda baffe ne bannyinaffe ab’omu Russia?

12 Lowooza ku ngeri ab’oluganda mu Russia gye bayambyemu bakkiriza bannaabwe abali mu makomera. Abamu ku bo bwe batwalibwa mu kkooti okuwozesebwa, baganda baffe ne bannyinaffe bagenda okubalaga obuwagizi. Kiki kye tubayigirako? Ab’oluganda abatwala obukulembeze bwe boogerwako eby’obulimba, bwe bakwatibwa, oba bwe baba nga bayigganyizibwa, totya. Basabire, faayo ku b’omu maka gaabwe, era lowooza ku ngeri endala gy’oyinza okubayambamu.​—Bik. 12:5; 2 Kol. 1:10, 11.

BWE TUBA NGA TUSEKERERWA

13. Abo abatusekerera bayinza batya okutuleetera okulekera awo okwesiga Yakuwa n’ekibiina kye?

13 Ab’eŋŋanda zaffe abatali Bajulirwa ba Yakuwa, bakozi bannaffe, oba be tusoma nabo bayinza okutusekerera olw’okuba tukola omulimu gw’okubuulira oba olw’okuba tukolera ku mitindo gya Yakuwa egy’empisa. (1 Peet. 4:4) Bayinza okukugamba nti: “Nkwagala ng’omuntu, naye eddiini yo ekugira nnyo era by’egoberera byava dda ku mulembe.” Abamu bayinza okutuvumirira olw’engeri gye tutwalamu abo abaagobebwa mu kibiina ne batugamba nti, “Muyinza mutya okugamba nti mulina okwagala?” Ebigambo ng’ebyo biyinza okutuleetera okutandika okubuusabuusa obanga kituufu okukolera ku mitindo gya Yakuwa. Oyinza okutandika okwebuuza nti, ‘Ddala nsobola okutuukiriza ebyo Yakuwa by’ayagala? Ekibiina kye tekikugira nnyo?’ Bw’oba ng’oyolekagana n’embeera ng’eyo, kiki ekinaakuyamba okunywerera ku Yakuwa ne ku kibiina kye?

Yobu teyakkiriza bigambo eby’obulimba abo abaali beeyita mikwano gye bye baamwogerako. Mu kifo ky’ekyo, yali mumalirivu okweyongera okuba omwesigwa eri Yakuwa (Laba akatundu 14)

14. Kiki kye tusaanidde okukola, abalala bwe baba nga batusekerera olw’okuba tukolera ku mitindo gya Yakuwa egy’empisa? (Zabbuli 119:50-52)

14 Beera mumalirivu okunywerera ku mitindo gya Yakuwa. Yobu yanywerera ku mitindo gya Yakuwa, wadde nga yavumirirwa olw’okuginywererako. Omu ku abo abaali beeyita mikwano gya Yobu yatuuka n’okumugamba nti tekigasa kukola bisanyusa Katonda. (Yob. 4:17, 18; 22:3) Yobu teyakkiriza bulimba obwo. Yali akimanyi nti emitindo gya Yakuwa egikwata ku kituufu n’ekikyamu mituufu, era yali mumalirivu okuginywererako. Teyakkiriza balala kumuleetera butaba mwesigwa eri Yakuwa. (Yob. 27:5, 6) Kiki kye tumuyigirako? Tokkiriza kusekererwa kukuleetera kubuusabuusa mitindo gya Yakuwa. Lowooza ku by’oyiseemu mu bulamu. Oyinza okuba nga naawe okirabye emirundi mingi nti oganyulwa buli lw’okola ekituufu mu maaso ga Yakuwa. N’olwekyo, beera mumalirivu okunywerera ku kibiina kya Yakuwa ekikuyamba okukolera ku mitindo gye. Bw’onookola bw’otyo, tewali kusekererwa kwonna kujja kukuleetera kuva ku Yakuwa.​—Soma Zabbuli 119:50-52.

15. Lwaki Brizit yayigganyizibwa?

15 Lowooza ku mwannyinaffe ayitibwa Brizit, abeera mu Buyindi. Ab’eŋŋanda ze baamuyigganyanga olw’okuba yali ayiga Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa. Bwe yali yaakamala okubatizibwa, mu 1997, omwami we ataali Mujulirwa wa Yakuwa yafiirwa omulimu gwe. Bwe kityo yasalawo nti ye, Brizit, ne bawala baabwe, bagende batandike okubeera ne bazadde be abaali babeera mu kibuga ekirala. Naye bwe baali eyo, Brizit yayolekagana n’ebizibu ebirala eby’amaanyi. Olw’okuba omwami we teyalina mulimu, yalina okukola ennyo okusobola okuyimirizaawo ab’omu maka ge. Okugatta ku ekyo, ekibiina ekyali okumpi kyali kyesudde mayiro nga 220 okuva we baali. Ate era n’ab’eŋŋanda z’omwami we baamuyigganyanga olw’okuba yali afuuse Omujulirwa wa Yakuwa. Embeera yayonooneka nnyo ne kiba nti Brizit n’ab’omu maka ge baalina okusengukira mu kitundu ekirala. Eky’ennaku, waayitawo ekiseera kitono omwami we n’afa, era ne muwala waabwe eyali ow’emyaka 12 n’afa obulwadde bwa kookolo. Kyokka wadde nga Brizit yali mu nnaku ey’amaanyi, ab’eŋŋanda ze baamunenya olw’ebizibu ebyo. Baamugambanga nti singa teyafuuka Mujulirwa wa Yakuwa, ebizibu ebyo byonna tebyandibaddewo. Wadde kyali kityo, Brizit yeeyongera okwesiga Yakuwa n’okunywerera ku kibiina kye.

16. Mikisa ki Mwannyinaffe Brizit gye yafuna olw’okunywerera ku Yakuwa ne ku kibiina kye?

16 Olw’okuba Brizit yali wala nnyo okuva ekibiina kye we kyali, omulabirizi w’ekitundu yamukubiriza okubuulira mu kitundu kye, era n’okutandikawo enkuŋŋaana mu maka ge. Mu kusooka yawulira nti ekyo kyali kizibu nnyo, naye yakolera ku bulagirizi obwo. Yabuuliranga abalala amawulire amalungi, yabanga n’enkuŋŋaana mu maka ge, era yabanga n’okusinza kw’amaka awamu ne bawala be. Biki ebyavaamu? Brizit yasobola okuyigiriza abantu abawerako Bayibuli era abamu ku bo baabatizibwa. Mu 2005 yatandika okuweereza nga payoniya owa bulijjo. Olw’okuba yeesiga Yakuwa era n’anywerera ku kibiina kye, yafuna emikisa mingi. Bawala be baweereza Yakuwa n’obwesigwa, era kati ekitundu ekyo kirimu ebibiina bibiri. Brizit mukakafu nti Yakuwa ye yamuwa amaanyi okusobola okugumira okuyigganyizibwa era n’ebizibu bye yayolekagana nabyo.

SIGALA NG’OLI MWESIGWA ERI YAKUWA N’ERI EKIBIINA KYE

17. Kiki kye tusaanidde okuba abamalirivu okukola?

17 Sitaani ayagala tulowooze nti Yakuwa ajja kutwabulira nga tulina ebizibu, era nti bwe tunaanywerera ku kibiina kye, tujja kweyongera kufuna bizibu. Ayagala tutye ng’ab’oluganda abatwala obukulembeze mu kibiina boogerwako bubi, nga bayigganyizibwa oba nga basibiddwa mu makomera. Ate era aleetera abantu abamu okutusekerera n’okutuyigganya, ng’alowooza nti ekyo kijja kutuleetera okulekera awo okukolera ku mitindo gya Yakuwa, era n’okulekera awo okwesiga ekibiina kye. Kyokka tumanyi bulungi enkwe za Sitaani era tetuyinza kubuzaabuzibwa. (2 Kol. 2:11) Tokkiriza kutwalirizibwa bulimba bwa Sitaani, era beera mumalirivu okunywerera ku Yakuwa ne ku kibiina kye. Kijjukire nti Yakuwa tayinza kukwabulira. (Zab. 28:7) N’olwekyo, tokkiriza kintu kyonna kukwawukanya ku Yakuwa!​—Bar. 8:35-39.

18. Kiki kye tujja okwogerako mu kitundu ekiddako?

18 Mu kitundu kino, tulabye ebizibu bye tuyinza okwolekagana nabyo nga biva wabweru wa kibiina. Naye waliwo ebizibu ebiva mu kibiina mwennyini ebiyinza okutuleetera okulekera awo okwesiga Yakuwa n’ekibiina kye. Tuyinza tutya okwaŋŋanga ebizibu ebyo? Ekyo kye tujja okwogerako mu kitundu ekiddako.

OLUYIMBA 118 “Twongere Okukkiriza”

a Okusobola okugumiikiriza mu nnaku zino ez’enkomerero, tulina okweyongera okwesiga Yakuwa n’ekibiina kye. Sitaani agezaako okukozesa ebizibu bye twolekagana nabyo okutuleetera obuteesiga Yakuwa n’ekibiina kye. Mu kitundu kino tugenda kulaba ebintu bisatu Sitaani by’akozesa, ne bye tuyinza okukola okusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa n’eri ekibiina kye.

b Amannya agamu gakyusiddwa.