Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ebinaakuyamba mu Kwesomesa

Ebinaakuyamba mu Kwesomesa

Kwata Ennyimba Zaffe mu Mutwe

“Bwe mba nnennyamidde, Yakuwa anzizaamu amaanyi ng’akozesa ennyimba eziri ku JW Broadcasting®.”​—Lorraine, U.S.A.

Abakristaayo bulijjo babaddenga bayimba ennyimba ezitendereza Katonda. (Bak. 3:16) Bw’onookwata ennyimba zino mu mutwe, kijja kukuyamba ne bw’onooba tolina katabo ka nnyimba oba essimu yo. Gezaako amagezi gano wammanga.

  • Soma ebigambo ebiri mu luyimba osobole okutegeera amakulu gaabyo. Bw’otegeera obulungi amakulu g’ebigambo, oba osobola okutegeera obulungi oluyimba kye lutegeeza. Ebigambo ebiri mu nnyimba zaffe zonna, nga mw’otwalidde ez’abaana n’ennyimba endala, kwebiri ku mukutu gwaffe jw.org. Genda ku Layibulale, onyige ku Ennyimba.

  • Wandiika ebigambo by’oluyimba olwo. Ekyo kijja kukuyamba nnyo okubijjukira.​—Ma. 17:18.

  • Wegezeemu mu ddoboozi eriwulikika. Oluyimba luyimbe enfunda n’enfunda.

  • Laba obanga ojjukira ebigambo by’oluyimba. Gezaako okuyimba oluyimba olwo nga totunuulira bigambo by’owandiise, olabe byenkana wa by’ojjukira.