Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 46

OLUYIMBA 49 Okusanyusa Omutima gwa Yakuwa

Ab’Oluganda​—⁠Muluubirira Okufuuka Abaweereza mu Kibiina?

Ab’Oluganda​—⁠Muluubirira Okufuuka Abaweereza mu Kibiina?

“Okugaba kulimu essanyu okusinga okuweebwa.”BIK. 20:35.

EKIGENDERERWA

Okuyamba ab’oluganda ababatize okuluubirira enkizo ey’okukola ng’abaweereza mu kibiina.

1. Omutume Pawulo yali atwala atya abaweereza?

 ABAWEEREZA bakola emirimu egy’omugaso ennyo mu kibiina. Omutume Pawulo yasiima nnyo abasajja abo abeesigwa. Ng’ekyokulabirako, bwe yali awandiikira Abakristaayo ab’omu kibiina ky’e Firipi, yaweereza okulamusa kwe eri abaweereza n’abakadde.—Baf. 1:1.

2. Ow’oluganda ayitibwa Luis alina ndowooza ki ku kukola ng’omuweereza mu kibiina?

2 Ab’oluganda bangi ababatize, abato n’abakulu, bafuna essanyu lingi mu kukola ng’abaweereza mu kibiina. Ng’ekyokulabirako, Devan yalondebwa okukola ng’omuweereza mu kibiina ng’alina emyaka 18. Ate ow’oluganda Luis yalondebwa okukola ng’omuweereza ng’asussiza emyaka 50. Bangi bakkiriziganya n’ebyo bye yayogera ku buweereza obwo. Yagamba nti: “Ngitwala nga nkizo ya maanyi nnyo okukola ng’omuweereza mu kibiina, naddala bwe ndowooza ku kwagala ekibiina kwe kindaze!”

3. Bibuuzo ki ebigenda okuddibwamu mu kitundu kino?

3 Bw’oba ng’oli wa luganda mubatize era nga toli muweereza, osobola okweteerawo ekiruubirirwa eky’okuba omuweereza mu kibiina? Kiki ekiyinza okukubiriza okuluubirira enkizo eyo? Bisaanyizo ki eby’omu Byawandiikibwa by’olina okutuukiriza? Mu kitundu kino tugenda kulaba eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo. Naye ka tusooke tulabe obuvunaanyizibwa abaweereza mu kibiina bwe balina.

OMUWEEREZA ABA NA BUVUNAANYIZIBWA KI?

4. Omuweereza aba na buvunaanyizibwa ki? (Laba n’ekifaananyi.)

4 Omuweereza aba wa luganda mubatize eyalondebwa omwoyo omutukuvu okuyambako abakadde okukola emirimu egitali gimu egyetaagisa mu kibiina. Abaweereza abamu bakakasa nti ababuulizi baba n’ekitundu ekimala eky’okubuuliramu era n’ebitabo ebimala eby’okukozesa mu kubuulira. Abalala bayambako mu kulongoosa Ekizimbe ky’Obwakabaka n’okukirabirira. Ate era abaweereza bakola omulimu gw’okwaniriza abo ababa bazze mu nkuŋŋaana, era bakola ne ku by’amaloboozi ne vidiyo. Obusinga obungi ku buvunaanyizibwa bwabwe buzingiramu emirimu egikolebwa ku Kizimbe ky’Obwakabaka. Okusingira ddala abaweereza baba basajja abaagala Yakuwa era abatambulira ku mitindo gye egy’obutuukirivu. Ate era baagala nnyo bakkiriza bannaabwe. (Mat. 22:​37-39) Ow’oluganda omubatize ayinza atya okuluubirira enkizo ey’okukola ng’omuweereza mu kibiina?

Abaweereza bakoppa Yesu nga baweereza abalala n’omutima gwabwe gwonna (Laba akatundu 4)


5. Kiki ow’oluganda ky’alina okukola okuluubirira okufuuka omuweereza?

5 Bayibuli eraga ebisaanyizo abo abayinza okulondebwa okuba abaweereza bye balina okutuukiriza. (1 Tim. 3:​8-10, 12, 13) Bw’oba ng’oyagala okukola ng’omuweereza mu kibiina, weekenneenye ebisaanyizo ebyo era ofube okubituukiriza. Naye okusookera ddala lowooza ku nsonga lwaki oyagala okufuuka omuweereza.

LWAKI OYAGALA KUFUUKA OMUWEEREZA?

6. Nsonga ki esaanidde okuba nga y’ekuleetera okwagala okuweereza bakkiriza banno? (Matayo 20:28; laba ku ddiba.)

6 Lowooza ku Yesu Kristo eyatuteerawo ekyokulabirako ekisingayo obulungi. Buli kimu kye yakolanga yakikolanga olw’okuba ayagala nnyo Kitaawe n’abantu. Okwagala okwo kwamuleetera okuweerezanga n’obunyiikivu era n’okukola emirimu egyali gitwalibwa okuba egya wansi okusobola okuyamba abalala. (Soma Matayo 20:28; Yok. 13:​5, 14, 15) Okwagala bwe kuba nga kwe kukuleetera okwagala okuba omuweereza, Yakuwa ajja kukuwa emikisa era ajja kukuyamba okutuuka ku kiruubirirwa eky’okuba omuweereza.—1 Kol. 16:14; 1 Peet. 5:5.

Yesu ateerawo abatume be ekyokulabirako ng’abayigiriza okuba abeetegefu okuweereza abalala mu kifo ky’okwenoonyeza ebitiibwa (Laba akatundu 6)


7. Lwaki kikyamu ow’oluganda okwagala okuba omuweereza olw’okwenoonyeza ebitiibwa n’obuyinza?

7 Mu nsi, abo abeetwala okuba aba waggulu abantu batera okubeegomba. Ekyo si bwe kiri mu kibiina kya Yakuwa. Okufaananako Yesu, okwagala bwe kuba nga kwe kukubiriza ow’olugamba okuluubirira enkizo, aba teyeegwanyiza bitiibwa oba okuba n’obuyinza ku balala. Omuntu eyeegwanyiza ebitiibwa oba obuyinza ku balala, bw’alondebwa okuba omuweereza ayinza okugaana okukola egimu ku mirimu egya wansi egyetaagisa okusobola okulabirira endiga za Yakuwa ez’omuwendo. Ayinza okwetwala nti wa waggulu nnyo okukola emirimu ng’egyo. (Yok. 10:12) Yakuwa tasobola kuwa mukisa muntu yenna eyeetwala nti wa waggulu.—1 Kol. 10:​24, 33; 13:​4, 5.

8. Kubuulirira ki Yesu kwe yawa abatume be?

8 Ebiseera ebimu n’abayigirizwa ba Yesu ab’oku lusegere baayagalanga okufuna enkizo ezimu nga balina ebiruubirirwa ebikyamu. Lowooza ku ekyo omutume Yakobo ne Yokaana kye baakola. Baasaba Yesu okubawa ebifo eby’oku mwanjo mu Bwakabaka bwe. Yesu teyabasiima olw’ekyo kye baasaba. Mu kifo ky’ekyo, yagamba abatume bonna 12 nti: “Buli ayagala okuba omukulu mu mmwe ateekeddwa okubeera omuweereza wammwe, era buli ayagala okubeera ow’olubereberye mu mmwe ateekeddwa okubeera omuddu wa bonna.” (Mak. 10:​35-37, 43, 44) Ab’oluganda abaagala okuba abaweereza ng’ekiruubirirwa kyabwe kya kuweereza balala, baba ba mugaso nnyo eri ekibiina.—1 Bas. 2:8.

KIKI EKIYINZA OKUKUYAMBA OKWAGALA OKUWEEREZA BAKKIRIZA BANNO?

9. Kiki ekiyinza okukuyamba okwagala okukola emirimu abaweereza gye bakola?

9 Kya lwatu, oyagala nnyo Yakuwa era oyagala okuweereza abalala. Wadde kiri kityo, oyinza okuba nga toyagala kukola mirimu abaweereza gye bakola. Kiki ekiyinza okukuyamba okwagala okukola emirimu egyo? Lowooza ku ssanyu eriva mu kuweereza abalala. Yesu yagamba nti: “Okugaba kulimu essanyu okusinga okuweebwa.” (Bik. 20:35) Ye kennyini yakolera ku bigambo ebyo, era yafuna essanyu eriva mu kuweereza abalala. Naawe osobola okulifuna.

10. Yesu yakiraga atya nti yafunanga essanyu mu kuweereza abalala? (Makko 6:​31-34)

10 Lowooza ku kyokulabirako ekiraga nti Yesu yafunanga essanyu mu kuweereza abalala. (Soma Makko 6:​31-34.) Lumu ye n’abatume be baali bakooye nnyo era nga bagenda mu kifo ekyesudde okusobola okuwummulako. Naye abantu baabasookayo nga baagala Yesu abayigirize. Yandibadde asobola okugaana okubayigiriza. Ye ne banne ‘baali tebafunye na kiseera kya kuwummulamu wadde eky’okulya emmere.’ Oba yandibadde ayigiriza abantu abo ekintu kimu oba bibiri n’abasiibula. Naye olw’okuba yali abaagala, ‘yatandika okubayigiriza ebintu bingi.’ Era yeeyongera okubayigiriza okutuusa obudde lwe “bwawungeera.” (Mak. 6:35) Ekyo yakikola si lwa kuba nti yali ateekeddwa, naye lwa kuba ‘yabasaasira.’ Yali ayagala okubayigiriza kubanga yali abaagala. Okuweereza abalala kwamuleetera essanyu lingi.

11. Biki Yesu bye yakola okuyamba abantu? (Laba n’ekifaananyi.)

11 Yesu teyakoma ku kuyigiriza bantu abo naye waliwo n’ebirala bye yakola. Yakola ne ku by’etaago byabwe eby’omubiri. Yabafunira emmere mu ngeri ey’ekyamagero era n’agamba abayigirizwa be bagibagabire. (Mak. 6:41) Mu kukola bw’atyo, yayigiriza abayigirizwa be engeri y’okuweerezaamu abalala. Ate era yabalaga nti emirimu ng’egyo, okufaananako egyo abaweereza gye bakola, gya muganyulo nnyo. Lowooza ku ssanyu abatume lye baafuna mu kukolera awamu ne Yesu ne bagabira abantu abo emmere “bonna ne balya ne bakkuta”! (Mak. 6:42) Kya lwatu nti ogwo si gwe mulundi gwokka Yesu lwe yakulembeza eby’abalala mu kifo ky’okukulembeza ebibye. Obulamu bwe bwonna ku nsi yabukozesa okuweereza abalala. (Mat. 4:23; 8:16) Yesu yafuna essanyu lingi n’obumativu mu kuyigiriza abalala n’okukola ku byetaago byabwe. Naawe ojja kufuna essanyu lingi bw’onooba omwetegefu okuweereza abalala ng’okola ng’omuweereza.

Okwagala Yakuwa n’okwagala okuweereza abalala kijja kukuleetera okuba omwetegefu okuweereza ekibiina mu mbeera yonna (Laba akatunda 11) a


12. Lwaki tewali n’omu ku ffe asaanidde kulowooza nti talina busobozi bwa kuyamba kibiina?

12 Bw’oba ng’owulira nti tolina busobozi bwa njawulo, toggwaamu maanyi. Tewali kubuusabuusa nti olina engeri ezisobola okukufuula ow’omugaso eri ekibiina. Ojja kuganyulwa nnyo singa osaba Yakuwa okukuyamba era ne weekenneenya ebyo omutume Pawulo bye yayogera ebiri mu 1 Abakkolinso 12:​12-30. Ebigambo bya Pawulo ebyo bikyoleka bulungi nti okufaananako abaweereza ba Yakuwa abalala, weetaagibwa mu kibiina era oli wa muwendo nnyo. Bwe kiba nti mu kiseera kino tosobola kukola nga muweereza olw’okuba waliwo ebisaanyizo by’olina okusooka okutuukiriza, toggwaamu maanyi. Kola kyonna ky’osobola okuba ow’omugaso eri Yakuwa n’eri bakkiriza banno. Ba mukakafu nti abakadde bajja kukulowoozaako era bajja kukuwa obuvunaanyizibwa bw’osobola okutuukiriza mu kiseera kino.—Bar. 12:​4-8.

13. Kiki kye tuyinza okwogera ku bisaanyizo ebisinga obungi abaweereza bye balina okutuukiriza?

13 Ate lowooza ku kino: Ebisinga obungi ku bisaanyizo ebiragibwa mu Byawandiikibwa abaweereza bye balina okutuukiriza, bye bisaanyizo bye bimu Abakristaayo bonna bye balina okutuukiriza. Ng’ekyokulabirako, Abakristaayo bonna balina okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa, balina okuba abagabi, era balina okutambuza obulamu bwabwe mu ngeri esanyusa Katonda. N’olwekyo, oyinza okuba nga bingi ku bisaanyizo abaweereza bye balina okutuukiriza obituukiriza. Naye biki ab’oluganda bye balina okukola nga baluubirira okuba abaweereza?

BY’OYINZA OKUKOLA OKUSOBOLA OKUFUUKA OMUWEEREZA

14. Kitegeeza ki okuba ‘ow’obuvunaanyizibwa’? (1 Timoseewo 3:​8-10, 12)

14 Kati ka tulabe ebimu ku bisaanyizo ebyogerwako mu 1 Timoseewo 3:​8-10, 12. (Soma.) Omuweereza alina okuba omuntu ‘ow’obuvunaanyizibwa.’ Ekigambo ekyo era kiyinza okuvvuunulwa nga “alina okuba omuntu agwanira okussibwamu ekitiibwa.” Ekyo tekitegeeza nti olina kuba muntu ataseka oba atasaagako. (Mub. 3:​1, 4) Naye olina okuba ng’ofuba okutuukiriza obulungi obuvunaanyizibwa bwonna obukuweebwa. Bw’oba ng’omanyiddwa okuba omuntu afuba okutuukiriza obuvunaanyizibwa obukuweebwa, abalala mu kibiina bajja kukwesiga era bajja kukussaamu ekitiibwa.

15. Kitegeeza ki obutaba wa “nnimibbirye” ‘n’obutalulunkana kufuna bintu mu makubo makyamu’?

15 ‘Obutaba wa nnimibbirye’ kitegeeza nti olina okuba ng’oli mwesigwa, ng’oli mwesimbu, era nga weesigika. Bulijjo olina okuba ng’okolera ku bigambo byo era nga tolimba balala. (Nge. 3:32) ‘Obutalulunkana kufuna bintu mu makubo makyamu’ kitegeeza nti olina okuba omwesigwa mu bya bizineesi ne mu ngeri gy’okozesaamu ssente. Ate era oba togezaako kufuna ssente mu lukujjukujju mu bakkiriza banno.

16. (a) Kitegeeza ki ‘obutanywa mwenge mungi’? (b) Kitegeeza ki okuba ‘n’omuntu ow’omunda omuyonjo’?

16 ‘Obutanywa mwenge mungi’ kitegeeza nti teweekatankira mwenge era tomanyiddwa ng’omuntu anywa ennyo omwenge. Okuba ‘n’omuntu ow’omunda omuyonjo’ kitegeeza nti okolera ku mitindo gya Yakuwa. Wadde nga totuukiridde, olina emirembe ku mutima olw’okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda.

17. Ow’oluganda bw’aba ‘ng’agezesebwa okulaba obanga asobola’ ayinza atya okukiraga nti yeesigika? (1 Timoseewo 3:10; laba n’ekifaananyi.)

17 ‘Okuba ng’ogezeseddwa okulaba obanga osobola’ kitegeeza nti abakadde bakirabye nti otuukiriza bulungi obuvunaanyizibwa bwonna obuba bukuweereddwa era nti weesigika. N’olwekyo, abakadde bwe babaako omulimu gwe bakuwa, fuba okukolera ku bulagirizi bwe bakuwa n’obwo obuva eri ekibiina kya Yakuwa. Kakasa nti otegeera bulungi ebizingirwa mu kukola omulimu ogwo na ddi lw’osaanidde okugumaliriza. Bw’onoofuba okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwonna obukuweebwa, abalala mu kibiina bajja kukiraba era bajja kusiima nnyo olw’okuba okulaakulana. Abakadde, mukakase nti mutendeka ab’oluganda ababatize. (Soma 1 Timoseewo 3:10.) Mu kibiina kyammwe mulimu ab’oluganda ababatize abaakayingira emyaka egy’obutiini oba abato n’okusingawo? Balina enteekateeka ennungi ey’okwesomesa? Beeteekerateekera bulungi enkuŋŋaana? Bulijjo babaako kye baddamu mu nkuŋŋaana, era beenyigira mu mulimu gw’okubuulira? Bwe kiba kityo, mubawe obuvunaanyizibwa obugya mu myaka gyabwe ne mu mbeera yaabwe. Mu ngeri eyo, ab’oluganda abo abato baba ‘bagezesebwa okulaba obanga basobola.’ Ekiseera we kinaatuukira nga banaatera okuweza emyaka 20, bajja kuba basobola okukola ng’abaweereza mu kibiina.

Abakadde bwe bawa ab’oluganda ababatize obuvunaanyizibwa obutali bumu, baba ‘babagezesa okulaba obanga basobola’ (Laba akatundu 17)


18. Kitegeeza ki ‘obutabaako kya kunenyezebwa’?

18 ‘Obutabaako kya kunenyezebwa’ kitegeeza nti tewali n’omu akulumiriza nti olina ekibi eky’amaanyi kye wakola. Kya lwatu nti Omukristaayo ayinza okuwaayirizibwa nti alina ebibi bye yakola. Yesu baamuwaayiriza nti alina ebintu ebikyamu bye yakola, era yagamba nti ekyo kyandituuse ne ku bagoberezi be. (Yok. 15:20) Naye bw’ofuba okweyisa obulungi nga Yesu bwe yakola, ojja kumanyibwa ng’omuntu omulungi mu kibiina.—Mat. 11:19.

19. Kiki ekizingirwa mu kubeera ‘n’omukazi omu’?

19 ‘Okuba n’omukazi omu.’ Bw’oba omufumbo, olina okunywerera ku mutindo ogw’obufumbo Yakuwa gwe yassaawo, kwe kugamba, olina okubeera n’omukazi omu. (Mat. 19:​3-9) Omusajja Omukristaayo talina kwenyigira mu bikolwa bya bugwenyufu. (Beb. 13:4) Naye waliwo ebirala ebizingirwamu. Olina okuba omwesigwa eri mukyala wo, kwe kugamba, tolina kuba na nkolagana etasaana n’abakazi abalala.—Yob. 31:1.

20. Omusajja ‘afuga atya obulungi’ ab’omu maka ge?

20 ‘Okufuga obulungi abaana bo n’ab’omu maka go.’ Bw’oba ng’oli mutwe gwa maka, obuvunaanyizibwa obwo olina okuba ng’obutwala nga bukulu nnyo. Olina okukubirizanga okusinza kw’amaka obutayosa n’okubuulirangako awamu na buli omu ku b’omu maka go emirundi mingi nga bwe kisoboka. Olina okuyamba abaana bo okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa. (Bef. 6:4) Omusajja alabirira obulungi ab’omu maka ge aba akyoleka nti asobola okulabirira obulungi ekibiina.—Geraageranya 1 Timoseewo 3:5.

21. Bw’oba nga tonnafuuka muweereza, kiki ky’olina okukola?

21 Ab’oluganda, bwe muba nga mu kiseera kino temuli baweereza, mufumiitirize ku ebyo bye tulabye mu kitundu kino, era musabe Yakuwa ku nsonga eyo. Musome ebikwata ku bisaanyizo abaweereza bye balina okutuukiriza, era mufube nnyo okubituukiriza. Mulowooze ku kwagala kwe mulina eri Yakuwa n’eri bakkiriza bannammwe. Mweyongere okwagala bakkiriza bannammwe era mulowooze ku nsonga lwaki mwagala okubaweereza. (1 Peet. 4:​8, 10) Mujja kufuna essanyu eriva mu kuweereza bakkiriza bannammwe. Yakuwa k’abawe emikisa nga mufuba okutuukiriza ebisaanyizo by’okuweereza ng’abaweereza mu kibiina!—Baf. 2:13.

OLUYIMBA 17 “Njagala”

a EBIFAANANYI: Ku kkono, Yesu aweereza abatume be mu bwetoowaze; omuweereza mu kibiina ayamba ow’oluganda akaddiye.