Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 47

OLUYIMBA 103 Abasumba Birabo

Ab’Oluganda​—⁠Muluubirira Okuweereza ng’Abakadde mu Kibiina?

Ab’Oluganda​—⁠Muluubirira Okuweereza ng’Abakadde mu Kibiina?

“Omusajja yenna bw’aluubirira okuba omulabirizi, aba yeegomba omulimu omulungi.”1 TIM. 3:1.

EKIGENDERERWA

Ebimu ku bisaanyizo by’omu Byawandiikibwa ow’oluganda by’alina okutuukiriza okusobola kuweereza ng’omukadde.

1-2. “Omulimu omulungi” omukadde gw’akola guzingiramu ki?

 BW’OBA ng’omaze ekiseera ng’okola ng’omuweereza mu kibiina, oyinza okuba ng’ofubye nnyo okukulaakulanya engeri ezeetaagisa kufuuka omukadde. Wandyagadde okukola “omulimu omulungi” abakadde gwe bakola?—1 Tim. 3:1.

2 Buvunaanyizibwa ki omukadde bw’aba nabwo? Awoma omutwe mu kubuulira, afuba okukyalira bakkiriza banne n’abazzaamu amaanyi, ayigiriza, era azimba ekibiina mu ebyo by’ayogera ne mu kyokulabirako ky’assaawo. Tekyewuunyisa nti Bayibuli abakadde ebayita ‘ebirabo mu abantu.’—Bef. 4:8.

3. Ow’oluganda ayinza atya okufuuka omukadde? (1 Timoseewo 3:​1-7; Tito 1:​5-9)

3 Oyinza otya okutuukiriza ebisaanyizo by’okuweereza ng’omukadde? Okutuukiriza ebisaanyizo by’okuweereza ng’omukadde si kye kimu n’okutuukiriza ebisaanyizo by’okufuna omulimu ogw’okweyimirizaawo. Emirundi mingi mu nsi, bw’oba ng’olina obukugu oyo anoonya abakozi bwe yeetaaga, osobola okufuna omulimu. Okwawukana ku ekyo, bw’oba ng’oyagala kulondebwa ng’omukadde, tolina kukoma ku kubeera mukugu mu kubuulira n’okuyigiriza. Olina okuba ng’otuukiriza ebisaanyizo by’omu Byawandiikibwa abakadde bye balina okutuukiriza ebyogerwako mu 1 Timoseewo 3:​1-7 ne Tito 1:​5-9. (Soma.) Mu kitundu kino tugenda kulaba ebisaanyizo abakadde bye balina okutuukiriza mu mbeera zino ssatu: okuba nga bamanyiddwa nti bantu balungi mu kibiina n’ebweru w’ekibiina, okuba nga bassaawo ekyokulabirako ekirungi ng’emitwe gy’amaka, n’okuba nga beetegefu okuweereza ekibiina.

OLINA OKUBA NG’OMANYIDDWA NTI OLI MUNTU MULUNGI

4. Kitegeeza ki ‘obutabaako kya kunenyezebwa’?

4 Okusobola okufuuka omukadde, olina okuba ‘nga toliiko kya kunenyezebwa,’ kwe kugamba, ng’omanyiddwa nti oli muntu mulungi mu kibiina olw’okuba tewaliiwo akulumiriza nti weeyisa bubi. Ate era olina okuba ‘ng’oyogerwako bulungi abantu ab’ebweru.’ Abantu abatali baweereza ba Yakuwa bayinza okukuvumirira olw’ebyo by’okkiririzaamu, naye tebalina kuba nga babuusabuusa obanga oli mwesiga era oba nti olina empisa ennungi. (Dan. 6:​4, 5) Weebuuze, ‘Mmanyiddwa ng’omuntu omulungi mu kibiina n’ebweru w’ekibiina?’

5. Oyinza otya okukiraga nti ‘oyagala ebirungi’?

5 Bw’oba ‘ng’oyagala ebirungi,’ oba onoonya ebirungi mu balala era oba abasiima olw’engeri zaabwe ennungi. Ate era oba oyagala nnyo okukolera abalala ebirungi, era ng’okola ekisukka ne ku ekyo ekyetaagisa. (1 Bas. 2:8) Lwaki kikulu nnyo abakadde okuba n’engeri eyo? Kubanga bakozesa ebiseera bingi okuzzaamu ab’oluganda mu kibiina amaanyi era n’okutuukiriza obuvunaanyizibwa obulala. (1 Peet. 5:​1-3) Wadde kiri kityo, essanyu lye bafuna mu kuweereza abalala lisingira wala ekintu kyonna kye beefiiriza.—Bik. 20:35.

6. Mu ngeri ki omuntu gy’ayinza okukyoleka nti alina omwoyo ‘gw’okusembeza abagenyi’? (Abebbulaniya 13:​2, 16; laba n’ekifaananyi.)

6 Okyoleka nti olina omwoyo ‘gw’okusembeza abagenyi’ bw’okolera abalala ebirungi, omuli n’abo abatali mikwano gyo egy’oku lusegere. (1 Peet. 4:9) Ekitabo ekimu ekinnyonnyola ebyo ebiri mu Bayibuli kigamba nti ‘omuntu alina omwoyo gw’okusembeza abagenyi aba wa kisa n’eri abantu b’atamanyi era aba musanyufu okubasembeza mu maka ge.’ Weebuuze, ‘Mmanyiddwa ng’omuntu asembeza abagenyi?’ (Soma Abebbulaniya 13:​2, 16.) Omuntu alina omwoyo gw’okusembeza abagenyi aba mwetegefu okugabana n’abalala ekyo kyonna ky’aba nakyo, omuli abaavu, n’abaweereza ba Yakuwa abakola ennyo, gamba ng’abalabirizi abakyalira ebibiina oba ab’oluganda ababa bazze mu kibiina okuwa emboozi.—Lub. 18:​2-8; Nge. 3:27; Luk. 14:​13, 14; Bik. 16:15; Bar. 12:13.

Ow’oluganda ne mukyala we bakyazizza omulabirizi akyalira ebibiina ne mukyala we (Laba akatundu 6)


7. Omukadde akiraga atya nti “si mwagazi wa ssente”?

7 ‘Obutaba mwagazi wa ssente.’ Ekyo kitegeeza nti ssente n’ebintu si by’otwala ng’ebisinga obukulu gy’oli. K’obe ng’oli mugagga oba mwavu, olina okuba ng’okulembeza Obwakabaka mu mbeera zonna ez’obulamu bwo. (Mat. 6:33) Olina okuba ng’okozesa ebiseera byo, amaanyi go, n’ebintu byo okuweereza Yakuwa, okulabirira ab’omu maka go, n’okuweereza ekibiina. (Mat. 6:24; 1 Yok. 2:​15-17) Weebuuze: ‘Ndowooza ki gye nnina ku ssente? Ndi mumativu n’ebintu bye nneetaaga mu bulamu, oba nneemalidde ku kunoonya ssente n’eby’obugagga?’—1 Tim. 6:​6, 17-19.

8. Oyinza otya okukiraga nti ‘olina empisa ezisaana’ era nti ‘weefuga’?

8 Bw’oba ‘ng’olina empisa ezisaana’ era ‘nga weefuga,’ olina okuba nga togwa lubege mu mbeera zonna ez’obulamu bwo. Kino kizingiramu okwewala okulya ekisusse, okunywa ennyo omwenge, okwambala n’okwekolako mu ngeri etasaana, n’okwesanyusaamu mu ngeri etasaana. Olina okuba nga weewala okukoppa enneeyisa y’abantu abataweereza Yakuwa. (Luk. 21:34; Yak. 4:4) Osigala ng’oli mukkakkamu ka wabe nga waliwo abakukoze ebintu ebitali birungi. Olina okuba ‘nga toli mutamiivu’ era nga tomanyiddwa ng’omuntu anywa ennyo omwenge. Weebuuze, ‘Engeri gye nneeyisaamu eraga nti nnina mpisa ezisaana era nti nneefuga?’

9. Biki ebizingirwa mu kuba ‘n’endowooza ennuŋŋamu’ n’okuba ‘ng’obulamu bwo obutambuliza ku nteekateeka ennungi’?

9 Bw’oba ‘ng’olina endowooza ennuŋŋamu,’ oba ofumiitiriza ku ekyo Bayibuli ky’eyogera ku bintu ebitali bimu. Ofumiitiriza ku ngeri gy’oyinza okukolera ku misingi gya Bayibuli mu mbeera ezitali zimu ne kikuyamba okutegeera obulungi ensonga n’osobola okusalawo obulungi. Tomala gasalawo nga tosoose kufumiitiriza. Mu kifo ky’ekyo, okakasa nti omanyi byonna ebizingirwa mu nsonga. (Nge. 18:13) N’ekivaamu, osalawo mu ngeri ey’amagezi eyoleka endowooza ya Yakuwa. Bw’oba ‘ng’obulamu bwo obutambuliza ku nteekateeka ennungi,’ oba okola ebintu mu ngeri entegeke obulungi era oba okwata obudde. Olina okuba ng’omanyiddwa ng’omuntu eyeesigika era akolera ku bulagirizi. Bw’okulaakulanya engeri ezo, kijja kukuyamba okumanyibwa ng’omuntu omulungi. Kati ka tulabe ebisaanyizo by’omu Byawandiikibwa by’olina okutuukira okusobola okuba ekyokulabirako ekirungi ng’omutwe gw’amaka.

OLINA OKUBA NG’OSSAAWO EKYOKULABIRAKO EKIRUNGI NG’OMUTWE GW’AMAKA

10. Kitegeeza ki okuba ‘ng’ofuga bulungi amaka go’?

10 Bw’oba ng’oli mutwe gw’amaka era ng’oyagala okufuuka omukadde, ab’omu maka go balina okuba nga bassaawo ekyokulabirako ekirungi. N’olwekyo, olina okuba ‘ng’ofuga bulungi amaka go.’ Ekyo kitegeeza nti olina okuba ng’olabirira ab’omu maka go mu ngeri ey’okwagala era nga by’osalawo bibaganyula. Ekyo kizingiramu okuwoma omutwe mu bintu byonna bye tukola mu kusinza kwaffe. Lwaki ekyo kikulu nnyo? Omutume Pawulo yagamba nti: “Omuntu bw’aba nga tamanyi ngeri ya kufugamu ba mu maka ge, anaalabirira atya ekibiina kya Katonda?”—1 Tim. 3:5.

11-12. Lwaki abaana b’ow’oluganda balina okuba ab’empisa ennungi bw’aba ng’ayagala okubeera omukadde? (Laba n’ekifaananyi.)

11 Bw’oba ng’oli taata, olina okuyamba abaana bo abato okuba “abawulize era ab’empisa ennungi.” Olina okubayigiriza n’okubatendeka mu ngeri ey’okwagala. Kya lwatu oyagala abaana bo babe basanyufu era bazannye ng’abaana abalala bwe bakola. Naye olw’okuba obatendeka bulungi, balina okuba abawulize, abassaamu abalala ekitiibwa, era abalina empisa ennungi. Ate era olina okufuba ennyo okubayamba okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa, okukolera ku misingi gya Bayibuli, n’okukulaakulana mu by’omwoyo batuuke okubatizibwa.

12 Olina okuba ‘n’abaana abali mu kukkiriza, abatayogerwako ng’ab’empisa embi oba ng’abajeemu.’ Omwana Omujulirwa wa Yakuwa bw’akola ekibi eky’amaanyi, kikwata kitya ku kitaawe? Kitaawe bw’aba ng’abadde tafaayo kumutendeka oba okumukangavvula, ayinza okuba nga tatuukiriza bisaanyizo bya kuba mukadde.—Laba Watchtower eya Okitobba 15, 1996, lup. 21, kat. 6-7.

Emitwe gy’amaka batendeka abaana baabwe okwenyigira mu bintu eby’omwoyo ebitali bimu (Laba akatundu 11)


OKUWEEREZA EKIBIINA

13. Oyinza otya okukiraga nti ‘toli mukakanyavu’ era nti ‘teweefaako wekka’?

13 Ab’oluganda abakulaakulanyizza engeri ez’Ekikristaayo baba ba mugaso nnyo eri ekibiina. Omusajja ‘atali mukakanyavu’ aba wa mirembe era ayamba n’abalala okuba mu mirembe. Bw’oba ng’oyagala okumanyibwa ng’omuntu atali mukakanyavu, wuliriza abalala era fuba okutegeera endowooza yaabwe. Bwe muba mu lukuŋŋaana, oba mwetegefu okuwagira ekyo abasinga obungi kye baba basazeewo kasita waba nga tewaliiwo musingi gwa Bayibuli gumenyeddwa? Bw’oba ‘nga teweefaako wekka” oba towaliriza balala kukola bintu nga ggwe bw’oyagala. Oba okitwala nti kikulu okuwuliriza amagezi abalala ge bawa. (Lub. 13:​8, 9; Nge. 15:22) ‘Tolina kuba muyombi’ oba okuba omuntu ‘asunguwala mangu.’ Mu kifo ky’okubeera omuntu atawa balala kitiibwa oba awakana nabo, oba obayisa mu ngeri ey’ekisa. Olw’okuba oli muntu wa mirembe, obaako ky’okolawo okuleetawo emirembe ne mu mbeera etali nnyangu. (Yak. 3:​17, 18) Ebigambo eby’ekisa by’oyogera bisobola okuyamba abantu okukkakkana, omuli n’abo abavumirira bye tukkiririzaamu.—Balam. 8:​1-3; Nge. 20:3; 25:15; Mat. 5:​23, 24.

14. Bayibuli etegeeza ki bw’egamba nti oyo alondebwa okuba omukadde “talina kuba oyo eyaakafuuka omukkiriza” era nti alina okuba ‘omwesigwa’?

14 Ow’oluganda okusobola kufuuka omukadde, ‘talina kuba nga yaakafuuka mukkiriza.’ Wadde nga tekikwetaagisa kuba ng’omaze emyaka mingi ng’obatiziddwa, weetaaga ekiseera okufuuka Omukristaayo omukulu mu by’omwoyo. Okufaananako Yesu, olina okuba omwetoowaze era ng’oli mwetegefu okuweereza Yakuwa mu ngeri yonna. Olina kuba omugumiikiriza n’olindirira Yakuwa okukuwa obuvunaanyizibwa mu kibiina. (Mat. 20:23; Baf. 2:​5-8) Osobola okukiraga nti oli “mwesigwa” ng’onywerera ku Yakuwa ne ku mitindo gye egy’obutuukirivu era ng’okolera ku bulagirizi bw’atuwa okuyitira mu kibiina kye.—1 Tim. 4:15.

15. Kya tteeka nti omukadde alina okuba ng’awa bulungi nnyo emboozi? Nnyonnyola.

15 Ebyawandiikibwa bikyoleka bulungi nti abalabirizi balina okuba ‘nga basobola okuyigiriza.’ Ekyo kitegeeza nti oteekeddwa okuba ng’oli mwogezi mulungi nnyo? Nedda. Wadde ng’abakadde bangi si boogezi balungi, bayigiriza bulungi nga bali mu kubuulira era bakozesa bulungi Ebyawandiikibwa okuzzaamu bakkiriza bannaabwe amaanyi. (Geeraageranya 1 Abakkolinso 12:​28, 29 ne Abeefeso 4:11.) N’olwekyo, wadde nga toli mwogezi mulungi olina okufuba okulongoosa mu ngeri gy’oyigirizaamu. Kiki ekiyinza okukuyamba okuyigiriza obulungi?

16. Oyinza otya okweyongera okulongoosa mu ngeri gy’oyigirizaamu? (Laba n’ekifaananyi.)

16 Olina okuba ‘ng’onywerera ku kigambo ekyesigwa bw’oba oyigiriza.’ Okusobola okuyigiriza obulungi, by’oyogera ng’owa emboozi oba ng’oliko b’owabula birina okuba nga byesigamye ku Kigambo kya Katonda. Nyiikira okwesomesa Bayibuli n’ebitabo byaffe. (Nge. 15:28; 16:23) Bw’oba weesomesa, weetegereze engeri gy’oyinza okukolera ku Byawandiikibwa mu ngeri entuufu. Ate bw’oba ng’oyigiriza, fuba nnyo okutuuka ku mitima gy’abakuwuliriza. Osobola okulongoosa mu ngeri gy’oyigirizaamu nga weebuuza ku bakadde abalina obumanyirivu era ng’okolera ku magezi ge bakuwa. (1 Tim. 5:17) Abakadde balina okuba nga basobola ‘okuzzaamu bakkiriza bannaabwe amaanyi,’ naye oluusi kibeetaagisa okuwabula abalala era ‘n’okubanenya.’ Ka babe nga bazzaamu balala maanyi oba nga babanenya, balina okuba ab’ekisa. Bw’oba ng’oli wa kisa, ng’olaga abalala okwagala, era nga by’oyigiriza byesigamye ku Byawandiikibwa, ojja kuba oyigiriza bulungi kubanga ojja kuba okoppa Yesu, Omuyigiriza Omukulu.—Mat. 11:​28-30; 2 Tim. 2:24.

Omuweereza ng’ali wamu n’omukadde alina obumanyirivu ng’akozesa akakisa ako okuyiga engeri y’okuyigirizaamu abalala ng’akozesa Bayibuli. Omuweereza ayimiridde mu maaso g’endabirwamu nga yeegezaamu engeri gy’anaawaamu emboozi mu kibiina (Laba akatundu 16)


WEEYONGERE OKUFUBA OKUTUUKIRIZA EBISAANYIZO

17. (a) Kiki ekiyinza okuyamba abaweereza okufuba okutuukiriza ebisaanyizo by’okuba abakadde? (b) Kiki abakadde kye basaanidde okujjukira bwe baba beekenneenya okulaba obanga ow’oluganda atuukiriza ebisaanyizo by’okuba omukadde? (Laba akasanduuko “Temuba Bakakanyavu nga Mwekenneenya Ebisaanyizo.”)

17 Oluvannyuma lw’okwekenneenya ebisaanyizo ebyetaagisa omuntu okufuuka omukadde, abaweereza abamu bayinza okulowooza nti bo tebasobola kubituukiriza. Kijjukire nti Yakuwa takusuubira kutuukiriza bisaanyizo ebyo mu ngeri etuukiridde, era n’ekibiina kye tekikusuubira kubituukiriza mu ngeri etuukiridde. (1 Peet. 2:21) Omwoyo gwa Yakuwa ogw’amaanyi gwe gukuyamba okutuukiriza ebisaanyizo ebyo. (Baf. 2:13) Waliwo ekisaanyizo ky’owulira nti weetaaga okufuba ennyo okukituukiriza? Saba Yakuwa omutegeeze ku nsonga eyo. Kinoonyerezeeko era saba omu ku bakadde akuwe amagezi ku ngeri gy’oyinza okukituukirizaamu.

18. Abaweereza bonna bakubirizibwa kukola ki?

18 Ka ffenna nga mw’otwalidde n’abakadde, tweyongere okukulaakulanya engeri ezoogeddwako mu kitundu kino. (Baf. 3:16) Oli muweereza? Fuba okutuukiriza ebisaanyizo by’okuba omukadde! Saba Yakuwa akutendeke weeyongere okuba ow’omugaso gy’ali n’eri ekibiina kye. (Is. 64:8) Yakuwa k’akuwe emikisa ng’ofuba okutuukiriza ebisaanyizo by’okuba omukadde.

OLUYIMBA 101 Okukolera Awamu nga Tuli Bumu