Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ebinaakuyamba Okwesomesa Obutayosa

Ebinaakuyamba Okwesomesa Obutayosa

Oluusi ozibuwalirwa okusoma Bayibuli obutayosa? Oba oluusi tonyumirwa kwesomesa? Ebiseera ebimu ffenna ekyo kitutuukako. Naye lowooza ku bintu ebirala bye tukola obutayosa gamba ng’okunaaba. Okunaaba kututwalira ebiseera era kwetaagisa okufuba naye oluvannyuma tuwulira bulungi. Okwesomesa Bayibuli nakwo kusobola okutuleetera okuwulira obulungi. (Bef. 5:26) Lowooza ku bimu ku ebyo ebisobola okukuyamba okwesomesa obutayosa:

  • Kola enteekateeka ogiteeke mu buwandiike. Okusoma Bayibuli kye kimu ku ‘bintu ebisinga obukulu’ Omukristaayo by’atalina kulagajjalira. (Baf. 1:10) Okusobola okugoberera enteekateeka yo, giteeke w’osobola okugirabira. Oba osobola okutega essimu yo n’ekujjukiza ng’ebula akabanga katono ekiseera kye wassaawo okwesomesa kituuke.

  • Lowooza ku ebyo ebinaakuyamba okussaayo omwoyo. Oyanguyirwa okussaayo omwoyo ng’osomedde ekiseera kiwanvu oba kikwanguyira okussaayo omwoyo ng’osomedde eddakiika ntonotono naye ng’ekyo okikola emirundi egiwera? Omanyi bulungi ekisinga okukukolera mu mbeera yo. Ekiseera eky’okwesomesa bwe kituuka naye n’owulira nga toyagala kusoma, oyinza okusalawo okwesomesa okumala eddakiika nga kkumi zokka. Ne bwe weesomesa okumala akaseera katono, oganyulwa nnyo okusinga obuteesomesa. Era bw’otandika okwesomesa oyinza okunyumirwa by’osoma ne weeyongera mu maaso.—Baf. 2:13.

  • Salawo nga bukyali by’onoosomako. Bw’olinda ekiseera eky’okwesomesa okutuuka n’olyoka olowooza ku ebyo by’oyagala okwesomesa, oyinza okwesanga ‘nga tokozesa bulungi ebiseera byo.’ (Bef. 5:16) Kola olukalala lw’emitwe oba olw’ebitundu by’oyagala okusomako. Buli lwe wabaawo ekibuuzo ekikujjira kiwandiike, era buli luvannyuma lw’okwesomesa wayinza okubaawo ebirala by’oyagala okugatta ku lukalala lw’ebyo by’oyagala okusomako.

  • Bba mwetegefu okukyusakyusaamu. Gezaako okukyusakyusa mu nteekateeka yo gamba ng’okukyusa ebiseera by’omala nga weesomesa oba ebintu by’osalawo okusomako. Ekikulu si ddi lw’osoma, kiseera kyenkana wa kyomala ng’osoma, oba biki by’osoma, wabula kwe kwesomesa obutayosa.

Mazima ddala tuganyulwa nnyo mu kwesomesa obutayosa. Tusemberera Yakuwa, tuyiga okweyisa mu ngeri ey’amagezi, era tuzzibwamu amaanyi.—Yos. 1:8.