Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBINAAKUYAMBA MU KWESOMESA

Funa Ekifo Ekirungi eky’Okusomeramu

Funa Ekifo Ekirungi eky’Okusomeramu

Wandyagadde okweyongera okuganyulwa mu ebyo by’osoma? Ebintu bino wammanga bisobola okukuyamba okussaayo omwoyo nga weesomesa:

  • Londa ekifo ekirungi. Bwe kiba kisoboka, londa ekifo ekitaliimu bintu bingi ate nga waliwo ekitangaala ekimala kikusobozese okusoma obulungi. Oyinza okutuula ku ntebe oba oyinza okufuna ekifo ekisaana wabweru w’ennyumba.

  • Londa ekifo ekitaliimu bantu. Yesu yasalawo okusabanga ‘ku makya ennyo mu kifo ekitaliimu bantu.’ (Mak. 1:35) Bwe kiba nga tekisoboka kubeerako wekka, tegeeza abo b’obeera nabo oba abo b’okola nabo ku nteekateeka yo ey’okwesomesa, era obasabe baleme okukutaataaganya ng’osoma.

  • Ssaayo omwoyo ng’osoma. Weewale ebiwugula. Bwe kiba nti osoma ng’okozesa essimu oba kompyuta, ggyako eddoboozi, oba giteeke mu airplane mode osobole okwewala okuwugulibwa. Bwe wabaawo ekintu ky’ojjukidde okukola, baako w’okiwandiika oleme okukyerabira osobole okukikola ng’omaze okwesomesa. Bwe weesanga nga tokyassaayo bulungi mwoyo ku by’osoma, situka otambuletambulemu oba weegololemu.