Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 45

OLUYIMBA 138 Abalina Envi ba Kitiibwa

Kye Tuyigira ku Bigambo by’Abasajja Abeesigwa Ebyasembayo

Kye Tuyigira ku Bigambo by’Abasajja Abeesigwa Ebyasembayo

“Abakadde si be baba n’amagezi, era abo abawangadde si be baba n’okutegeera?”YOB. 12:12.

EKIGENDERERWA

Okugondera Yakuwa kivaamu emikisa mu kiseera kino era kijja kutuviirako okufuna obulamu obutaggwaawo mu biseera eby’omu maaso.

1. Lwaki tusobola okuyigira ku abo abatusinga obukulu?

 FFENNA twetaaga obulagirizi nga tulina ebintu ebikulu bye tusalawo mu bulamu. Obulagirizi obusinga obungi tusobola okubufuna okuva eri abakadde n’Abakristaayo abalala abakulu mu by’omwoyo. Bwe baba nga batusingira ddala obukulu, tetusaanidde kukitwala nti amagezi ge batuwa tegakyakola. Yakuwa ayagala tuyigire ku abo abatusinga obukulu. Olw’okuba babaddewo ekiseera kiwanvu, bayise mu bintu bingi okutusinga era ekyo kibayambye okufuna amagezi.—Yob. 12:12.

2. Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

2 Mu biseera by’edda, Yakuwa yakozesa abaweereza be abaali bakaddiye okuzzaamu amaanyi abantu be n’okubawa obulagirizi. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku Musa, Dawudi, n’omutume Yokaana. Baaliwo mu biseera bya njawulo era embeera zaabwe zaali za njawulo. Bwe baali banaatera okufa, balina amagezi amalungi ge baawa abaweereza ba Yakuwa abaali abato ku bo. Buli omu ku basajja abo abeesigwa yalaga nti kikulu nnyo okugondera Katonda. Ebintu eby’amagezi bye baayogera, Yakuwa yabiwandiisa mu Bayibuli tusobole okubiganyulwamu leero. Ka tube bato oba bakulu, tusobola okuganyulwa mu kubuulirira okulungi kwe baawa. (Bar. 15:4; 2 Tim. 3:16) Mu kitundu kino, tugenda kwekenneenya ebigambo abasajja abo abasatu bye baayogera era n’ebyo bye tusobola okuyigira ku bigambo ebyo.

“OJJA KUWANGAALA”

3. Buvunaanyizibwa ki Musa bwe yalina mu buweereza bwe?

3 Musa yaweereza Yakuwa n’omutima gwe gwonna. Yaweereza nga nnabbi, omulamuzi, omudduumizi w’amagye, era munnabyafaayo. Musa yalina obumanyirivu bungi nnyo mu bulamu! Yakulemberamu eggwanga lya Isirayiri okuva mu buddu e Misiri, era yalaba eby’amagero bingi Yakuwa bye yakola. Yakuwa yamukozesa okuwandiika ebitabo ebitaano ebisooka mu Bayibuli, Zabbuli 90, era oboolyawo ne Zabbuli 91. Era kirabika ye yawandiika n’ekitabo kya Yobu.

4. Baani Musa be yazzaamu amaanyi, era lwaki?

4 Bwe waali wabula ekiseera kitono Musa afe, ng’alina emyaka 120, yakuŋŋaanya wamu Abayisirayiri bonna okubajjukiza ebintu bye baali balabye ne bye baali bayiseemu. Abamu ku bo bwe baali bakyali bavubuka, baalaba obubonero bungi n’eby’amagero Yakuwa bye yakola mu Misiri awamu n’emisango gye yasalira Abamisiri. (Kuv. 7:​3, 4) Baali bayise ku ttaka ekkalu wakati mu nnyanja emmyufu era baali balabye amagye ga Falaawo nga gazikirizibwa. (Kuv. 14:​29-31) Mu ddungu, baali balabye engeri Yakuwa gye yabakuumamu era n’engeri gye yabalabiriramu. (Ma. 8:​3, 4) Kati nga banaatera okuyingira mu nsi ensuubize, Musa eyali anaatera okufa yakozesa akakisa akasembayo okubazzaamu amaanyi. a

5. Ebigambo Musa bye yayogera ng’anaatera okufa ebisangibwa mu Ekyamateeka 30:​19, 20, byayamba Abayisirayiri okuba abakakafu ku ki?

5 Biki Musa bye yabagamba? (Soma Ekyamateeka 30:​19, 20.) Yajjukiza Abayisirayiri nti ebiseera byabwe eby’omu maaso byandibadde birungi. Yakuwa yandibawadde emikisa ne bawangaalira mu nsi gye yali abasuubizza. Ensi eyo yali nnungi nnyo era ng’ebala emmere! Ng’ayogera ku nsi eyo Musa yabagamba nti: “Ensi omuli ebibuga ebinene era ebirabika obulungi by’otaazimba, n’ennyumba ezijjude ebintu ebirungi ebya buli ngeri by’otaakolerera, n’enzizi z’otaasima, n’ennimiro z’emizabbibu n’emizeyituuni gy’otaasimba.”—Ma. 6:​10, 11.

6. Lwaki Katonda yaleka amawanga amalala okutwala Abayisirayiri mu buwaŋŋanguse?

6 Musa era yalabula Abayisirayiri. Okusobola okweyongera okubeera mu nsi eyo ennungi, baalina okugondera ebiragiro bya Yakuwa. Yabakubiriza ‘okweroboza obulamu’ nga bawuliriza Yakuwa era nga ‘bamunywererako.’ Kyokka Abayisirayiri baajeemera Yakuwa. N’olwekyo, nga wayise ekiseera Yakuwa yaleka Abaasuli n’oluvannyuma Abababulooni okuwamba ensi yaabwe era n’okubatwala mu buwaŋŋanguse.—2 Bassek. 17:​6-8, 13, 14; 2 Byom. 36:​15-17, 20.

7. Biki bye tuyiga mu bigambo bya Musa? (Laba n’ekifaananyi.)

7 Kiki kye tuyiga? Okuba abawulize kiwonyaawo obulamu. Okufaananako Abayisirayiri abaali banaatera okuyingira Ensi Ensuubize, naffe tunaatera okuyingira mu nsi empya era tulabe ensi eno ng’efuuliddwa Olusuku lwa Katonda. (Is. 35:1; Luk. 23:43) Sitaani ne badayimooni bajja kuba tebakyaliwo. (Kub. 20:​2, 3) Amadiini ag’obulimba gajja kuba tegakyalimbalimba bantu kubaggya ku Yakuwa. (Kub. 17:16) Gavumenti z’abantu ezinyigiriza zijja kuba tezikyaliwo. (Kub. 19:​19, 20) Mu nsi empya tejja kubaayo bajeemu. (Zab. 37:​10, 11) Buli wamu abantu bajja kuba bagondera amateeka ga Yakuwa ag’obutuukirivu, agasobozesa abantu okuba mu mirembe n’obumu. Bajja kuba baagalana era nga beesigaŋŋana. (Is. 11:9) Ekiseera ekyo nga kijja kuba kirungi nnyo! N’ekisinga obukulu, bwe tusigala nga tuli bawulize eri Yakuwa tujja kusobola okubeera ku nsi emirembe gyonna.—Zab. 37:29; Yok. 3:16.

Bwe tunaagondera Yakuwa, tujja kubeera mu nsi eneeba efuuliddwa Olusuku lwa Katonda (Laba akatundu 7)


8. Ekisuubizo kya Yakuwa eky’okutuwa obulamu obutaggwaawo kyayamba kitya omuminsani omu? (Yuda 20, 21)

8 Bulijjo bwe tufumiitiriza ku kisuubizo kya Katonda eky’okutuwa obulamu obutaggwaawo, kijja kutuyamba okumunywererako ka tube nga twolekagana na bigezo ki. (Soma Yuda 20, 21.) Okufumiitiriza ku kisuubizo ekyo era kisobola okutuyamba okulwanyisa obunafu bwaffe. Omuminsani omu eyali amaze ekiseera kiwanvu ng’aweereza mu Afirika era nga yalina obunafu bwe yali alwanyisa, yagamba nti: “Nnakiraba nti nnali nnyinza obutafuna bulamu butaggwaawo olw’obutagondera Yakuwa. Ekyo kyannyamba okweyongera okulwanyisa obunafu bwange n’okusaba ennyo Yakuwa annyambe okubuvvuunuka. Yakuwa yannyamba ne nsobola okubuvvuunuka.”

“OJJA KUTUUKA KU BUWANGUZI”

9. Bizibu ki Dawudi bye yayolekagana nabyo mu bulamu?

9 Dawudi yali kabaka wa maanyi. Ate era yali muyimbi, muyiiya wa bitontome, mulwanyi muzira, era yali nnabbi. Yayolekagana n’ebizibu bingi. Okumala emyaka, yalina okudduka okutaasa obulamu bwe olwa Kabaka Sawulo eyali ayagala okumutta. Oluvannyuma lw’okufuuka kabaka, Dawudi era yalina okudduka okutaasa obulamu bwe mutabani we Abusaalomu bwe yagezaako okwezza obwakabaka bwe. Wadde nga Dawudi yayolekagana n’ebizibu ebitali bimu era nga yalina obunafu obw’enjawulo, yasigala mwesigwa eri Yakuwa okutuusiza ddala okufa. Yakuwa yamwogerako ng’omusajja eyali “asanyusa omutima” gwe. Tusaanidde okuwuliriza amagezi Dawudi ge yawa!—Bik. 13:22; 1 Bassek. 15:5.

10. Lwaki Dawudi yabuulirira mutabani we Sulemaani eyali agenda okumuddira mu bigere?

10 Ng’ekyokulabirako, lowooza ku magezi Dawudi ge yawa mutabani we Sulemaani eyali agenda okumuddira mu bigere. Yakuwa yali alonze Sulemaani okuzimba yeekaalu abantu mwe bandibadde basinziza Yakuwa. (1 Byom. 22:5) Sulemaani yandibadde ayolekagana n’ebizibu. Kiki Dawudi kye yamugamba? Ka tulabe.

11. Okusinziira ku 1 Bassekabaka 2:​2, 3, kiki Dawudi kye yagamba Sulemaani, era ebigambo ebyo byatuukirira bitya? (Laba n’ekifaananyi.)

11 Biki Dawudi bye yagamba? (Soma 1 Bassekabaka 2:​2, 3.) Dawudi yagamba mutabani we nti bwe yandigondedde Yakuwa, yandituuse ku buwanguzi mu bulamu. Era okumala emyaka mingi Sulemaani yatuuka ku buwanguzi. (1 Byom. 29:​23-25) Yazimba yeekaalu amatiribona, era yawandiika ebimu ku bitabo ebiri mu Bayibuli. Ate era ebimu ku bigambo bye yayogera byawandiikibwa mu bitabo ebirala ebiri mu Bayibuli. Yamanyibwa nnyo olw’amagezi ge n’olw’obugagga bwe. (1 Bassek. 4:34) Naye nga Dawudi bwe yali agambye, Sulemaani yandituuse ku buwanguzi olwo lwokka ng’agondera Yakuwa. Eky’ennaku, mu myaka gye egy’obukadde Sulemaani yatandika okusinza bakatonda abalala. Yali takyasiimibwa mu maaso ga Yakuwa era yali takyalina magezi ga kufuga bantu mu ngeri ey’obutuukirivu n’obwenkanya.—1 Bassek. 11:​9, 10; 12:4.

Ebigambo Dawudi bye yasembayo okugamba mutabani we Sulemaani bituyamba okukiraba nti bwe tugondera Yakuwa atuwa amagezi agatuyamba okusalawo mu ngeri ennungi (Laba akatundu 11-12) b


12. Kiki kye tuyiga mu bigambo bya Dawudi?

12 Kiki kye tuyiga? Bwe tuba abawulize kitusobozesa okutuuka ku buwanguzi. (Zab. 1:​1-3) Kyo kituufu nti Yakuwa tatusuubiza kutuwa byabugagga na kitiibwa nga Sulemaani bye yalina. Naye bwe tugondera Katonda waffe ajja kutuwa amagezi aganaatuyamba okusalawo mu ngeri ennungi. (Nge. 2:​6, 7; Yak. 1:5) Emisingi gye gisobola okutuyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi mu bintu gamba ng’emirimu, obuyigirize, eby’okwesanyusaamu, ne ssente. Okukolera ku magezi Katonda g’atuwa kituyamba obutatuukibwako kabi ka lubeerera. (Nge. 2:​10, 11) Kituyamba okufuna emikwano emirungi. Era tuba n’obulagirizi bwe twetaaga okusobola okuba n’amaka amasanyufu.

13. Carmen yatuuka atya ku buwanguzi?

13 Mwannyinaffe Carmen abeera mu Mozambique, yali alowooza nti okufuna obuyigirize obwa waggulu kye kisobozesa omuntu okutuuka ku buwanguzi. Yagenda ku yunivasite n’asomerera essomo ly’okukuba pulaani z’ebizimbe. Yagamba nti: “Nnali njagala nnyo bye nnali nsoma. Naye byantwalangako obudde bungi era byankooyanga nnyo. Nnabeeranga ku ssomero okuva ku ssaawa 1:30 ez’oku makya okutuuka ku ssaawa 12:00 ez’akawungeezi. Nnazibuwalirwanga okubaawo mu nkuŋŋaana era nnaddirira mu by’omwoyo. Muli nnakiraba nti nnali ngezaako okuweereza abaami babiri.” (Mat. 6:24) Yatuukirira Yakuwa mu kusaba nnamutegeeza ku nsonga eyo era nnanoonyereza ne mu bitabo byaffe. Yagamba nti: “Oluvannyuma lw’ab’oluganda abakulu mu by’omwoyo era ne maama wange okumpa amagezi amalungi, nnasalawo okuva ku yunivasite ne ntandika okuweereza Yakuwa ekiseera kyonna. Nkiraba nti nnasalawo bulungi era ssejjusa.”

14. Bubaka ki obukulu obwali mu bigambo bya Musa ne Dawudi?

14 Musa ne Dawudi baali baagala nnyo Yakuwa era baali bakimanyi nti kikulu nnyo okumugondera. Mu bigambo bye baayogera nga banaatera okufa, baakubiriza abo abaali babawuliriza okukoppa ekyokulabirako kyabwe nga banywerera ku Yakuwa. Abasajja abo bombi era baagamba nti abo abaleka Yakuwa bandibadde balekeraawo okusiimibwa mu maaso ge era bandifiiriddwa ebintu ebirungi bye yasuubiza. Ebyo bye baayogera bya muganyulo nnyo ne gye tuli leero. Nga wayise emyaka mingi oluvannyuma lw’abasajja abo okufa, omuweereza wa Yakuwa omulala yalaga obukulu bw’okuba abeesigwa eri Katonda.

“TEWALI KISINGA KUNSANYUSA”

15. Biki omutume Yokaana bye yalaba era ne bye yayitamu mu bulamu bwe?

15 Yokaana yali mukwano gwa Yesu era yali mutume we. (Mat. 10:2; Yok. 19:26) Yokaana yatambulanga ne Yesu ng’akola omulimu gw’okubuulira, yalaba ebyamagero bye yakolanga, era yamunywererako ne mu mbeera enzibu. Yalaba Yesu ng’attibwa era yamulaba ng’azuukidde. Yalaba ekibiina Ekikristaayo nga kikula, era olw’okuba yawangaala nnyo yalaba amawulire amalungi nga ‘gaabuulirwa mu bitonde byonna ebiri wansi w’eggulu.’—Bak. 1:23.

16. Baani abaganyuddwa mu bbaluwa Yokaana ze yawandiika?

16 Yokaana bwe yali ng’akaddiye nnyo yafuna enkizo ey’okuwandiika ekitabo ky’Okubikkulirwa. (Kub. 1:1) Yawandiika n’ekitabo ky’Enjiri ekiyitibwa erinnya lye, era yawandiika n’ebbaluwa ssatu ezaaluŋŋamizibwa. Ebbaluwa ye ey’okusatu yagiwandiikira Omukristaayo omwesigwa eyali ayitibwa Gayo, gwe yali atwala ng’omwana we omwagalwa ow’eby’omwoyo. (3 Yok. 1) Mu kiseera ekyo Yokaana ateekwa okuba nga yali alina bangi be yali atwala ng’abaana be ab’eby’omwoyo. Ebyo omusajja oyo omwesigwa bye yawandiika bizizzaamu abagoberezi ba Yesu amaanyi n’okutuusa leero.

17. Okusinziira ku 3 Yokaana 4, kiki ekireeta essanyu eringi?

17 Biki Yokaana bye yawandiika? (Soma 3 Yokaana 4.) Yokaana yawandiika ku ssanyu eriva mu kugondera Katonda. We yawandiikira ebbaluwa ye ey’okusatu waaliwo abaali basaasaanya enjigiriza ez’obulimba era nga baleetawo enjawukana mu kibiina. Kyokka waaliwo abalala abaali bakyeyongera ‘okutambulira mu mazima.’ Baali bagondera Yakuwa era nga ‘bagoberera ebiragiro bye.’ (2 Yok. 4, 6) Abakristaayo abo abeesigwa baaleetera Yokaana ne Yakuwa essanyu.—Nge. 27:11.

18. Biki bye tuyiga mu bigambo by’omutume Yokaana?

18 Kiki kye tuyiga? Okuba abeesigwa eri Yakuwa kireeta essanyu. (1 Yok. 5:3) Ng’ekyokulabirako, tufuna essanyu okukimanya nti tusanyusa Yakuwa. Asanyuka bw’alaba nga twewala okutwalirizibwa ebikemo era nga tukkiriza amazima. (Nge. 23:15) Ne bamalayika mu ggulu basanyuka. (Luk. 15:10) Naffe tuba basanyufu bwe tulaba bakkiriza bannaffe nga basigadde beesigwa naddala nga boolekagana n’ebizibu awamu n’ebikemo. (2 Bas. 1:4) Ate era ensi ya Sitaani bw’eneemala okuzikirizibwa, tujja kuba basanyufu okukimanya nti twasigala tuli beesigwa eri Yakuwa.

19. Mwannyinaffe Rachel ayogera ki ku ky’okuyigiriza abalala amazima? (Laba n’ekifaananyi.)

19 Tufuna essanyu lingi bwe tuyigiriza abalala amazima agakwata ku Yakuwa. Rachel abeera mu Dominican Republic, akiraba nti okuyigiriza abalala amazima agakwata ku Katonda nkizo ya maanyi. Ayambye abantu bangi okufuuka abaweereza ba Yakuwa. Agamba nti: “Nfuna essanyu lingi bwe ndaba abo b’enjigirizza Bayibuli nga baagala Yakuwa, nga bamwesigira ddala, era nga bakyusa obulamu bwabwe basobole okumusanyusa. Essanyu eryo lisingira wala okufuba kwonna n’okwefiiriza bye mba ntaddemu okusobola okubayigiriza.”

Tufuna essanyu lingi nnyo bwe tuyigiriza abalala okwagala Yakuwa n’okumugondera (Laba akatundu 19)


GANYULWA MU BIGAMBO BY’ABASAJJA ABEESIGWA EBYASEMBAYO

20. Biki bye tufaanaganya ne Musa, Dawudi, ne Yokaana?

20 Ebiseera Musa, Dawudi, ne Yokaana we baabeererawo byali bya njawulo ku byaffe. Naye bingi bye tufaanaganya nabo. Baaweereza Katonda ow’amazima nga naffe bwe tukola. Okufaananako abasajja abo, tusaba Yakuwa era gwe twesiga okutuyamba n’okutuwa obulagirizi. Era okufaananako abasajja abo, tuli bakakafu nti Yakuwa awa emikisa abo bonna abamugondera.

21. Mikisa ki egirindiridde abo abakolera ku kubuulirira kw’abasajja abeesigwa nga Musa, Dawudi, ne Yokaana?

21 N’olwekyo, ka tukolere ku bigambo ebyasembayo eby’abasajja abo abeesigwa nga tugondera Yakuwa. Bwe tukola tutyo tujja kutuuka ku buwanguzi mu buli kimu kye tukola. Tujja kuba balamu bulungi era ‘tujja kuwangaala mu nsi’ emirembe gyonna! (Ma. 30:20) Era tujja kufuna essanyu eriva mu kukimanya nti tusanyusa Kitaffe ow’omu ggulu atwagala era ajja okutuwa emikisa emingi.—Bef. 3:20.

OLUYIMBA 129 Tujja Kweyongera Okugumiikiriza

a Abayisirayiri abasinga obungi abaalaba ebyamagero Yakuwa bye yakola ku nnyanja emmyufu tebaalaba Nsi Nsuubize. (Kubal. 14:​22, 23) Yakuwa yalagira nti abo bonna abaali baweza emyaka 20 n’okudda waggulu abaali babaliddwa, bandifiiridde mu ddungu. (Kubal. 14:29) Kyokka Yoswa, Kalebu, n’abalala bangi abaali batannaweza myaka 20, awamu n’abalala bangi ab’omu kika kya Leevi, baasomoka Omugga Yoludaani ne bayingira mu Nsi Ensuubize.—Ma. 1:​24-40.

b EBIFAANANYI: Ku kkono: Dawudi alina amagezi gaawa mutabani we Sulemaani mu bigambo bye ebyasembayo. Ku ddyo: Abayizi nga bali mu Ssomero lya Bapayoniya.