OMUNAALA GW'OMUKUUMI—OGW'OKUSOMA MU KIBIINA Okitobba 2016
Magazini eno erimu ebitundu eby’okusoma okuva nga Noovemba 28 okutuuka nga Ddesemba 25, 2016.
EBYAFAAYO EBIKWATA KU BULAMU BW'AB'OLUGANDA
Nnafuba Okukoppa Abo Abassaawo Ebyokulabirako Ebirungi
Abakristaayo abakuze mu by’omwoyo bwe bazzaamu abalala amaanyi kisobola okubayamba okweteerawo ebiruubirirwa ebirungi. Thomas McLain atubuulira engeri abalala gye baamuteerawo ekyokulabirako ekirungi, n’engeri naye gy’afubye okuteerawo abalala ekyokulabirako ekirungi.
“Temwerabiranga Okulaga Abantu Be Mutamanyi Ekisa”
Katonda alina ndowooza ki ku bagwira? Kiki ky’osobola okukola okuyamba abagwira abali mu kibiina kyammwe okuwulira obulungi?
Munyweze Enkolagana Yammwe ne Yakuwa nga Muweereza mu Nsi Endala
Abakristaayo basaanidde okukakasa nti bonna ng’amaka banyweza enkolagana yaabwe ne Yakuwa. Kyokka ekyo si kyangu nga muweereza mu nsi endala.
‘Toganyanga Magezi Kukuvaako’
Njawulo ki eriwo wakati w’amagezi okumanya n’okutegeera? Kya muganyulo nnyo okumanya enjawulo eriwo.
Nyweza Okukkiriza kw’Olina mu Bisuubizo bya Katonda
Tulina bye tuyinza okuyigira ku baweereza ba Katonda ab’edda n’ab’omu kiseera kyaffe abaalina okukkiriza okunywevu. Oyinza otya okuba n’okukkiriza okunywevu?
Kirage nti Okkiririza mu Bisuubizo bya Yakuwa
Okukkiriza kye ki? Era oyinza otya okwoleka okukkiriza?
Obadde Okimanyi?
Buyinza bwenkana wa Rooma bwe yawa abakulembeze b’omu Buyudaaya mu kyasa ekyasooka? Kituufu nti mu biseera eby’edda omuntu yali asobola okusiga omuddo mu nnimiro y’omuntu omulala?