Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Munyweze Enkolagana Yammwe ne Yakuwa nga Muweereza mu Nsi Endala

Munyweze Enkolagana Yammwe ne Yakuwa nga Muweereza mu Nsi Endala

“Bye wayogera mbitereka mu mutima gwange.”​—ZAB. 119:11.

ENNYIMBA: 142, 92

1-3. (a) Ka tube mu mbeera ki, kiki ffenna kye tulina okufuba okukola? (b) Kusoomooza ki abo abayiga olulimi olupya kwe bafuna, era ekyo kireetawo bibuuzo ki? (Laba ekifaananyi waggulu.)

ABAJULIRWA ba Yakuwa bangi beenyigira mu kutuukirizibwa kw’obunnabbi obukwata ku kubuulira amawulire amalungi “eri buli ggwanga n’ekika n’olulimi n’abantu.” (Kub. 14:6) Oli omu ku abo abafuba okuyiga olulimi olulala? Oweereza ng’omuminsani oba oweereza mu nsi endala awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako? Oba okuŋŋaanira mu kibiina ekyogera olulimi olulala ekiri mu kitundu kyammwe?

2 Ffenna abaweereza ba Katonda tulina okufaayo ennyo ku mbeera yaffe ey’eby’omwoyo awamu n’embeera y’ab’omu maka gaffe ey’eby’omwoyo. (Mat. 5:3) Kyokka olw’okuba tuba n’eby’okukola bingi oluusi kiyinza obutatubeerera kyangu kwesomesa bulungi. Naye ate abo abaweereza mu nsi endala boolekagana n’okusoomooza okutali kumu.

3 Ng’oggyeeko okuyiga olulimi olupya, abo abaweereza mu nsi endala balina okufuba okulaba nti balya emmere enkalubo eri mu Kigambo kya Katonda. (1 Kol. 2:10) Ekyo bayinza batya okukikola ng’ate bali mu kibiina ekyogera olulimi lwe batategeera bulungi? Era lwaki abazadde Abakristaayo balina okukakasa nti Ekigambo kya Katonda kituuka ku mitima gy’abaana baabwe?

EKINTU EKIYINZA OKUKOSA ENKOLAGANA YAFFE NE YAKUWA

4. Mbeera ki eyinza okutukosa mu by’omwoyo? Waayo ekyokulabirako.

4 Bwe tuba nga tetusobola kutegeera bulungi Kigambo kya Katonda mu lulimi olulala, kisobola okutukosa mu by’omwoyo. Mu kyasa eky’okutaano E.E.T., Nekkemiya yanakuwala nnyo bwe yakimanya nti abamu ku baana b’Abayudaaya abaali baakomawo okuva e Babulooni baali tebasobola kwogera Lwebbulaniya. (Soma Nekkemiya 13:23, 24.) Ekyo kyali kya kabi eri abaana abo kubanga baali tebasobola kutegeera bulungi Mateeka ga Yakuwa era ekyo kyandikosezza enkolagana yaabwe ne Yakuwa.​—Nek. 8:2, 8.

5, 6. Kiki abazadde abamu abaweerereza mu nsi endala kye bazudde, era lwaki?

5 Abamu ku bazadde abaweerereza mu bibiina ebyogera olulimi olulala, bakirabye nti okwagala abaana baabwe kwe baalina eri ebintu eby’omwoyo kukendedde. Olw’okuba abaana baabwe baba tebategeera bulungi lulimi olwo, ebintu ebiyigirizibwa mu nkuŋŋaana tebibatuuka bulungi ku mutima. Pedro⁠ [1] eyava mu Amerika n’agenda n’ab’omu maka ge okuweereza mu Australia agamba nti: “Omuntu bw’aba ow’okwagala amazima, ebintu by’ayiga mu Bayibuli birina okusooka okutuuka ku mutima gwe.”​—Luk. 24:32.

6 Bwe tusoma ebintu mu lulimi olulala biyinza obutatukwatako nnyo ng’ebyo bye tuba tusomye mu lulimi lwaffe. Olw’okuba kitwala ebiseera bingi okuyiga olulimi olulala tuyinza okwesanga nga tulagajjalidde ebintu eby’omwoyo. N’olwekyo, wadde nga twagala okusigala nga tuweereza Yakuwa mu nsi endala, tetusaanidde kulagajjalira mbeera yaffe ey’eby’omwoyo.​—Mat. 4:4.

BAAKUUMA ENKOLAGANA YAABWE NE YAKUWA

7. Abababulooni baagezaako batya okukakaatika endowooza zaabwe ku Danyeri n’okumuleetera okusinza bakatonda baabwe?

7 Danyeri ne banne bwe baatwalibwa mu buwambe e Babulooni, Abababulooni baagezaako okubakakaatikako endowooza zaabwe n’okubaleetera okusinza bakatonda baabwe. Ekyo baakikola batya? Baayigiriza Danyeri ne banne “olulimi lw’Abakaludaaya” era ne babatuuma amannya g’Abababulooni. (Dan. 1:​3-7) Erinnya lye baatuuma Danyeri lyali litegeeza Beri, eyali katonda w’Abababulooni omukulu. Oboolyawo Kabaka Nebukadduneeza yali ayagala okuleetera Danyeri okulowooza nti katonda w’Abababulooni yali asinga Yakuwa Katonda amaanyi.​—Dan. 4:8.

8. Kiki ekyayamba Danyeri okusigala nga munywevu mu by’omwoyo ng’ali mu nsi etaali yiye?

8 Bwe yali mu Babulooni, Danyeri baamugamba alyenga ku mmere ya kabaka naye n’agaana okugirya kubanga yali ‘amaliridde mu mutima gwe’ obutamenya mateeka ga Katonda. (Dan. 1:8) Olw’okuba Danyeri yeeyongera okusoma “ebitabo ebitukuvu” ebyali mu lulimi lwe oluzaaliranwa, kyamuyamba okusigala nga munywevu mu by’omwoyo ng’ali mu nsi etaali yiye. (Dan. 9:2, obugambo obuli wansi.) Bwe kityo, wadde nga waali wayise emyaka nga 70 ng’ali mu Babulooni, yali akyayitibwa erinnya lye ery’Olwebbulaniya.​—Dan. 5:13.

9. Nga bwe kiragibwa mu Zabbuli 119, Ekigambo kya Katonda kyayamba kitya omuwandiisi wa zabbuli eyo?

9 Ekigambo kya Katonda kyanyweza omuwandiisi wa Zabbuli 119, era ekyo ne kimuyamba okusigala ng’anyweredde ku kituufu. Abakungu ab’omu lubiri baamwogereranga ebigambo. (Zab. 119:23, 61) Wadde kyali kityo, Ekigambo kya Katonda yakikuumira ku mutima gwe.​—Soma Zabbuli 119:11, 46.

MUSIGALE NGA MULI BANYWEVU MU BY’OMWOYO

10, 11. (a) Kiruubirirwa ki kye tusaanide okuba nakyo nga twesomesa Ekigambo kya Katonda? (b) Tuyinza tutya okutuuka ku kiruubirirwa ekyo? Waayo ekyokulabirako.

10 Wadde nga tuyinza okuba nga tulina eby’okukola bingi mu kibiina era nga tulina obuvunaanyizibwa obulala bungi, tusaanidde okufuna obudde okwesomesa n’okuba n’okusinza kw’amaka. (Bef. 5:15, 16) Kyokka ekiruubirirwa kyaffe ekikulu si kusoma busomi bintu bingi oba okutegeka obutegesi eby’okuddamu mu nkuŋŋaana. Tulina okukakasa nti Ekigambo kya Katonda kitutuuka ku mutima tusobole okunyweza okukkiriza kwaffe.

11 Okusobola okutuuka ku kiruubirirwa ekyo, bwe tuba twesomesa tetulina kukoma ku kulowooza ku ngeri gye tuyinza okukozesaamu ebyo bye tuyiga okuyamba abalala, naye era tulina n’okulowooza ku ngeri gye tuyinza okukolera ku ebyo bye tusoma. (Baf. 1:9, 10) Bwe tuba tweteekerateekera okubuulira, nga twetegekera enkuŋŋaana, oba nga tutegeka emboozi, emirundi mingi tetulowooza ku ngeri ebyo bye tuba tusoma gye biyinza okutukwatako. Kyokka lowooza ku kino: Wadde ng’omufumbi aloza ku mmere gy’aba afumba nga tannagigabula, talowooza nti otumere tw’alya ng’alozaako tumumala. Bw’aba ow’okusigala nga mulamu bulungi, naye aba alina okwefumbira emmere n’agirya. Mu ngeri y’emu, bwe tuba twagala okusigala nga tuli balamu bulungi mu by’omwoyo, tulina okwesomesa Ekigambo kya Katonda obutayosa, kitusobozese okukola ku byetaago byaffe eby’omwoyo.

12, 13. Lwaki bakkiriza bannaffe bangi abaweerereza mu bibiina ebyogera ennimi endala bakirabye nti kikulu okusoma Bayibuli n’ebitabo byaffe mu lulimi lwabwe oluzaaliranwa?

12 Bangi ku bakkiriza bannaffe abaweerereza mu bibiina ebyogera ennimi endala, baganyuddwa nnyo mu kusoma Bayibuli n’ebitabo byaffe obutayosa mu ‘lulimi lwabwe oluzaaliranwa.’ (Bik. 2:8) Ate era ne bakkiriza bannaffe abaweereza ng’abaminsani bakimanyi nti okusobola okusigala nga banywevu mu by’omwoyo tebasaanidde kwesigama ku ebyo byokka bye bawulira mu nkuŋŋaana.

13 Alain, kati amaze emyaka nga munaana ng’ayiga olulimi olwogerwa mu Persia, agamba nti: “Bwe mba ntegeka enkuŋŋaana mu lulimi olwo, ebirowoozo mbimalira nnyo ku ngeri ebigambo gye byatulwamu mu lulimi olwo. Bwe kityo, ebintu bye mba nsoma tebintuuka bulungi ku mutima nga nsoma ebitabo byaffe mu lulimi olwo. Eyo ye nsonga lwaki nfunayo obudde okusoma Bayibuli n’ebitabo byaffe ebirala mu lulimi lwange oluzaaliranwa.”

MUKAKASE NTI AMAZIMA GATUUKA KU MITIMA GY’ABAANA BAMMWE

14. Kiki abazadde kye balina okufuba okukola, era lwaki?

14 Abazadde Abakristaayo basaanidde okukakasa nti Ekigambo kya Katonda kituuka mu mitima gy’abaana baabwe. Ng’ekyokulabirako, bwe waali wayise emyaka ng’esatu ng’ow’oluganda Serge ne mukyala we Muriel baweereza mu kibiina ekyogera olulimi olulala, baakiraba nti mutabani waabwe ow’emyaka 17 yali takyanyumirwa nnyo kwenyigira mu bintu eby’omwoyo. Muriel agamba nti: “Mutabani waffe yali tayagala kubuulira mu lulimi lulala, kyokka ng’ate mu kusooka yali anyumirwa nnyo okubuulira mu lulimi lwaffe, Olufalansa.” Serge agamba nti: “Bwe twakiraba nti okuweereza mu kibiina ekyogera olulimi olulala kyali kiremesezza mutabani waffe okukulaakulana mu by’omwoyo twasalawo okuddayo mu kibiina kye twalimu.”

Mukakase nti amazima gatuuka ku mitima gy’abaana bammwe (Laba akatundu 14, 15)

15. (a) Bintu ki abazadde bye bayinza okusinziirako okusalawo okuddayo mu kibiina ekikozesa olulimi abaana baabwe lwe bategeera obulungi? (b) Kiki abazadde kye balagirwa okukola mu Ekyamateeka 6:5-7?

15 Bintu ki abazadde bye bayinza okusinziirako okusalawo okuddayo mu kibiina ekikozesa olulimi abaana baabwe lwe bategeera obulungi? Okusookera ddala, basaanidde okupimaapimamu okulaba obanga balina obudde obumala okuyamba abaana baabwe okwagala Yakuwa ate nga mu kiseera kye kimu bwe babayigiriza olulimi olulala. Eky’okubiri, bayinza okukiraba nti abaana baabwe tebakyayagala nnyo bintu bya mwoyo oba okubuulira mu kitundu gye baagenda okuweerereza, gye boogera olulimi olulala. Mu mbeera ng’ezo, abazadde Abakristaayo bayinza okukiraba nti kya magezi okuddayo mu kibiina ekikozesa olulimi abaana baabwe lwe bategeera obulungi, okutuusa abaana baabwe lwe banaanywera mu by’omwoyo.​—Soma Ekyamateeka 6:5-7.

16, 17. Abazadde abamu basobodde batya okuyamba abaana baabwe mu by’omwoyo nga baweereza mu kibiina ekyogera olulimi olulala?

16 Ku luuyi olulala, abazadde abamu bafubye okuyigiriza abaana baabwe Bayibuli mu lulimi lwabwe oluzaaliranwa, wadde nga bali mu kibiina ekyogera olulimi olulala. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku Charles, alina abaana abasatu abali wakati w’emyaka 9 ne 13, era aweereza mu kibiina ekyogera Olulingala. Agamba nti: “Twasalawo okuyigirizanga abaana baffe n’okukubiriza okusinza kw’amaka mu lulimi lwaffe oluzaaliranwa. Ate era mu kusinza kwaffe okw’amaka tufunayo akadde okwegezaamu ennyanjula n’okuzannya obuzannyo mu Lulingala kisobozese abaana baffe okuyiga olulimi olwo.”

Mufube okuyiga olulimi olwogerwa mu kitundu gye muweerereza n’okwenyigira mu nkuŋŋaana (Laba akatundu 16, 17)

17 Ow’oluganda Kevin alina bawala be babiri, ow’emyaka etaano n’ow’emyaka omunaana. Afuba nnyo okuyigiriza bawala be abo kubanga tebategeera bulungi ebyo ebiyigirizibwa mu nkuŋŋaana okuva bwe kiri nti bali mu kibiina ekyogera olulimi olulala. Agamba nti: “Nze ne mukyala wange tuyigiriza bawala baffe Bayibuli mu Lufalansa, olulimi lwaffe oluzaaliranwa. Ate era tukakasa nti omulundi gumu buli mwezi tukuŋŋaanirako mu kibiina ekyogera Olufalansa. Okugatta ku ekyo, tufuba okugenda mu nkuŋŋaana ennene ez’Olufalansa.”

18. (a) Ebigambo ebiri mu Abaruumi 15:1, 2 biyinza bitya okukuyamba okusalawo engeri esingayo obulungi ey’okuyambamu abaana bo? (b) Magezi ki abazadde abalala ge bawadde? (Laba eby’okwetegereza.)

18 Kya lwatu nti kiri eri buli muzadde okusalawo ekyo ekinaayamba abaana be okukulaakulana mu by’omwoyo.⁠ [2] (Bag. 6:5) Muriel, eyayogeddwako waggulu agamba nti, ye n’omwami we baalina okwefiiriza basobole okuyamba mutabani waabwe mu by’omwoyo. (Soma Abaruumi 15:1, 2.) Serge naye awulira nti ekyo kye baasalawo okukola kyali kya magezi. Agamba nti: “Bwe twaddayo mu kibiina eky’Olufalansa, mutabani waffe yakulaakulana mu by’omwoyo era oluvannyuma n’abatizibwa. Kati mutabani waffe oyo aweereza nga payoniya owa bulijjo. Ate era alina ekiruubirirwa eky’okuddamu okuweereza mu kibiina ekyogera olulimi olulala!”

MUKAKASE NTI EKIGAMBO KYA KATONDA KITUUKA KU MITIMA GYAMMWE

19, 20. Tuyinza tutya okukiraga nti twagala Ekigambo kya Katonda?

19 Olw’okuba Yakuwa ayagala nnyo abantu, akakasizza nti Bayibuli evvuunulwa mu nnimi nnyingi, kisobozese ‘abantu aba buli ngeri okutegeerera ddala amazima.’ (1 Tim. 2:4) Yakuwa akimanyi nti abantu bwe basoma Ekigambo kye mu lulimi lwabwe, kibaganyula nnyo mu by’omwoyo.

20 Ka tube mu mbeera ki, tulina okufuba okulya emmere ey’eby’omwoyo enkalubo. Bwe tusoma Bayibuli n’ebitabo byaffe ebiri mu lulimi lwaffe, kijja kutuyamba awamu n’ab’omu maka gaffe okusigala nga tuli banywevu mu by’omwoyo era tujja kusobola okukiraga nti ddala Ekigambo kya Katonda tukitwala nga kya muwendo nnyo.​—Zab. 119:11.

^ [1] (akatundu 5) Amannya gakyusiddwa.

^ [2] (akatundu 18) Laba emisingi gya Bayibuli egisobola okuyamba amaka go mu Watchtower eya Okitobba 15, 2002, olupapula 22-26.