Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

‘Toganyanga Magezi Kukuvaako’

‘Toganyanga Magezi Kukuvaako’

WALIWO olugero olumu olukwata ku mulenzi omu omwavu eyali abeera ku kyalo ekimu. Olw’okuba abantu ku kyalo omulenzi oyo baali bamutwala ng’omusiru, baamusekereranga. Abagenyi bwe bajjanga ku kyalo, abamu ku bantu b’okukyalo baamuzanyisanga nga baagala okumuswaza. Baakwatanga ebinusu bibiri, ng’ekimu kya ffeeza ate ng’ekirala kya zzaabu. Ekya ffeeza kyali kikubisaamu ekya zzaabu emirundi ebiri obunene naye ng’ekya zzaabu kya bbeeyi okusinga ekya ffeeza. Baagambanga omulenzi oyo nti: “Ku binusu bino ebibiri, londako kimu.” Omulenzi oyo yalondangako ekinusu ekya ffeeza n’adduka.

Lumu waaliwo omugenyi eyabuuza omulenzi oyo nti: “Tokimanyi nti ekinusu ekya zzaabu kya bbeeyi okusinga ekya ffeeza?” Omulenzi oyo yamwenyamu n’agamba nti: “Nkimanyi.” Omugenyi yamugamba nti: “Kati olwo lwaki olondawo ekinusu ekya ffeeza? Bw’olondawo ekinusu ekya zzaabu ofuna ssente ezikubisaamu emirundi ebiri mu ezo ze wandifunye ng’olonzeewo ekya ffeeza!” Naye omulenzi yamugamba nti: “Singa nnondawo ekinusu ekya zzaabu abantu bajja kulekera awo okuzannya nange akazannyo ako. Omanyi ebinusu bimeka ebya ffeeza bye nkuŋŋaanyizza?” Omulenzi ayogerwako mu lugero olwo yayoleka engeri esobola n’okuyamba abantu abakulu singa bagyoleka. Engeri eyo, ge magezi.

Bayibuli egamba nti: ‘Amagezi n’obusobozi bw’okulowooza tobiganyanga kukuvaako. Olwo ojja kutambulira mu kkubo lyo mirembe, era ekigere kyo tekiryesittala ku kintu kyonna.’ (Nge. 3:21, 23) N’olwekyo okumanya ebizingirwa mu kuba ‘ow’amagezi,’ n’engeri gye tuyinza okugoolekamu, kya bukuumi gye tuli. Kituyamba okuba abanywevu ne tulema okwesittala mu by’omwoyo.

AMAGEZI KYE KI?

Amagezi gaawukana ku kumanya n’okutegeera. Omuntu alina okumanya aba na bingi by’amanyi. Omuntu alina okutegeera aba alaba engeri ebintu ebitali bimu by’amanyi gye bikwataganamu. Ate omuntu alina amagezi akolera ku kumanya n’okutegeera by’alina.

Ng’ekyokulabirako mu kaseera katono omuntu ayinza okusoma era n’ategeera ebyo ebiri mu katabo Kiki Ddala Bayibuli ky’Eyigiriza? Bwe muba musoma, asobola okuddamu bulungi ebibuuzo by’oba omubuuzizza. Ayinza okutandika okujja mu nkuŋŋaana era n’okuddamu ebibuuzo mu nkuŋŋaana. Ebyo byonna biyinza okulaga nti akulaakulana mu by’omwoyo, naye ekyo kiba kiraga nti omuntu oyo wa magezi? Nedda, ekyo ku bwakyo tekiraga nti wa magezi. Ayinza okuba ng’ebintu abikwata bukwasi mangu. Naye bw’akolera ku kumanya n’okutegeera by’aba afunye, ekyo kye kiraga nti wa magezi. Bw’asooka okulowooza nga tannasalawo era n’asalawo bulungi, kyeyoleka lwatu nti wa magezi.

Matayo 7:24-27 woogera ku lugero lwa Yesu olukwata ku basajja ababiri buli omu eyazimba ennyumba. Olugero lulaga nti omu ku basajja abo yali ‘wa magezi.’ Olw’okuba omusajja oyo yalowooza ku ekyo ekyali kiyinza okubaawo mu biseera eby’omu maaso, ennyumba ye yagizimba ku lwazi. Yalengerera wala ebintu era n’abaako ky’akolawo. Teyalowooza nti kyandibadde kitwala ssente ntono n’ebiseera bitono okuzimba ennyumba ye ku musenyu. Mu kifo ky’ekyo yalowooza ku ngeri ekyo kye yandikoze gye kyandikutte ku biseera bye eby’omu maaso. Embuyaga bwe yajja, ennyumba ye teyagwa. Kati ekyebuuzibwa kiri nti, ‘Tuyinza tutya okufuna amagezi era ne tugakuuma?’

OYINZA OTYA OKUFUNA AMAGEZI?

Okusookera ddala lowooza ku bigambo ebiri mu Mikka 6:9, awagamba nti: “Abo abalina amagezi bajja kutya erinnya [lya Katonda].” Okutya erinnya lya Yakuwa kitegeeza okumussaamu ekitiibwa. Kitegeeza okutegeera amakulu g’erinnya lye n’okussa ekitiibwa mu mitindo gye egy’obutuukirivu. Okusobola okussaamu omuntu ekitiibwa olina okusooka okutegeera endowooza ye. Awo oba osobola okumwesiga, n’okumukoppa. Bwe tufumiitiriza ku ngeri ebikolwa byaffe gye bijja okukwata ku nkolagana yaffe ne Yakuwa era ne tusalawo nga tusinziira ku mitindo gye, tuba ba magezi.

Eky’okubiri, Engero 18:1 wagamba nti: “Eyeeyawula ku balala yeenoonyeza bibye, era yeesamba amagezi amalungi gonna.” Bwe tutaba beegendereza tuyinza okwesanga nga twekutudde ku Yakuwa n’abantu be. Ekyo okusobola okukyewala, tulina okufuba okubeerako awamu n’abantu abatya Katonda era abassa ekitiibwa mu mitindo gye egy’obutuukirivu. Bwe kiba kisoboka, tulina okubaawo mu nkuŋŋaana obutayosa. Bwe tuba mu nkuŋŋaana tusaanidde okussaayo omwoyo ku ebyo ebiyigirizibwa bisobole okututuuka ku mutima.

Okugatta ku ekyo, bwe tweyabiza Yakuwa okuyitira mu kusaba, tweyongera okumusemberera. (Nge. 3:5, 6) Bwe tufumiitiriza ku ebyo bye tusoma mu Bayibuli n’ebyo bye tusoma mu bitabo ebikubibwa ekibiina kya Yakuwa, kituyamba okulaba engeri gye tusobola okweyisa mu ngeri ey’amagezi. Era tusaanidde okussaayo omwoyo ku magezi agatuweebwa bakkiriza bannaffe abakuze mu by’omwoyo. (Nge. 19:20) Ebyo bwe tubikola, kijja kutuleetera okuba ab’amagezi.

AMAGEZI GAYINZA GATYA OKUYAMBA AMAKA?

Amagezi gasobola okuyamba amaka. Ng’ekyokulabirako, Bayibuli ekubiriza omukyala “okussaamu ennyo” omwami we ekitiibwa. (Bef. 5:33) Kiki ekiyinza okuyamba omukyala okussaamu ennyo omwami we ekitiibwa? Omwami bw’akaka mukyala we okumussaamu ekitiibwa, ekyo kiganyula akaseera katono. Olw’okuba omukyala oyo aba atya omwami we, ayinza okulaga nti amussaamu ekitiibwa nga waali. Naye olowooza omukyala oyo annassaamu omwami we ekitiibwa nga taliiwo? Ayinza obutamussaamu kitiibwa. Omwami alina okulowooza ku ebyo by’asaanidde okukola, mukyala we asobole okumussaamu ekitiibwa okuviira ddala ku mutima. Omwami bw’ayoleka engeri eziri mu kibala ky’omwoyo, gamba ng’okwagala n’ekisa, kijja kuleetera mukyala we okumussaamu ennyo ekitiibwa. Kya lwatu nti omukyala Omukristaayo asaanidde okussaamu omwami we ekitiibwa, ka kibe nti omwami we alina ky’akozeewo oba nedda.​—Bag. 5:22, 23.

Bayibuli era egamba nti omusajja alina okwagala mukazi we. (Bef. 5:28, 33) Oluusi omukazi ayinza okulowooza nti bw’akweka omwami we ekintu ekibi kye yakola, omwami we ky’asaanidde okumanya, kiyinza okuleetera omwami we okusigala ng’amwagala. Naye ekyo ddala kiba kya magezi? Singa mwami we oluvannyuma amanya ekintu ekyo, biki ebiyinza okuvaamu? Olowooza omwami we aneeyongera okumwagala? Kiyinza okuba ekizibu omwami we okweyongera okumwagala. Kyokka singa omukyala afuna ekiseera ekituufu n’abuulira mwami we ekyaliwo, omwami we ajja kukiraba nti mukyala we mwesimbu. Era ekyo kijja kuleetera omwami we okwongera okumwagala.

Engeri gy’okangavvulamu abaana bo leero, erina kinene ky’ekola ku mpuliziganya eneebaawo wakati wo nabo mu biseera eby’omu maaso

Abaana balina okugondera bazzadde baabwe, era abazadde balina okukangavvulwa abaana baabwe nga bagoberera obulagirizi obuli mu Bayibuli. (Bef. 6:1, 4) Ekyo kitegeeza nti abazadde balina okuteerawo abaana baabwe olukalala lw’amateeka ge balina okugoberera? Abazadde okuteerawo obuteezi abaana baabwe amateeka n’okubabuulira ebibonerezo bye banaaweebwa nga bagamenye tekimala. Omuzadde ow’amagezi ayamba omwana okutegeera ensonga lwaki alina okuba omuwulize.

Ng’ekyokulabirako, watya singa omwana ayogera ne bazadde be mu ngeri eraga nti tabassaamu kitiibwa? Okuboggolera omwana oyo oba okumubonererezaawo, kiyinza okumuswaza n’asalawo okusirika obusirisi. Era ayinza okusiba ekiruyi, n’atandika n’okwewala bazadde be.

Abazadde ab’amagezi bafumiitiriza ku ngeri gye bakangavvulamu abaana baabwe n’engeri ekyo gye kinaakwata ku biseera by’abaana baabwe eby’omu maaso. Abazadde basaanidde okwewala okukangavvula abaana baabwe nga basunguwavu. Mu kifo ky’ekyo, bayinza okuzza omwana ku bbali ne boogera naye mu ngeri ey’obukakkamu, era ne bamuyamba okukiraba nti Yakuwa ayagala abaana bagondere bazadde baabwe era nti ekyo kijja kubaviiramu emikisa egy’olubeerera. N’ekinaavaamu, omwana ajja kutandika okukiraba nti bw’agondera bazadde be aba assa ekitiibwa mu Yakuwa. (Bef. 6:2, 3) Okukwata embeera mu ngeri eyo kisobola okuvaamu ebirungi bingi. Kiyamba omwana okukiraba nti bazadde be bamufaako era ekyo kireetera omwana okweyongera okuwa bazadde be ekitiibwa. Ate era omwana bw’abaako ebintu ebikulu by’ayagala okusalawo, kimwanguyira okwebuuza ku bazadde be.

Abazadde abamu beewala okuwabula omwana olw’okuba baba batya nti ekyo kijja kubanyiiza. Naye kiki ekinaabaawo omwana oyo ng’akuze? Omwana oyo anaatya Yakuwa era anaakiraba nti kya muganyulo okukolera ku mitindo gya Yakuwa? Kinaamwanguyira okweyabiza Yakuwa? Olowooza ekyo tekireetere nkolagana ye ne Yakuwa okunafuwa?​—Nge. 13:1; 29:21.

Abazadde ab’amagezi bamala obudde obuwerako nga bayiga emitindo gya Yakuwa era bafuba okugikolerako mu bulamu bwabwe. Abazadde ng’abo tebeekutula ku Yakuwa n’ekibiina kye, era ekyo kibayamba okufuna amagezi ne bagakozesa okuyamba ab’omu maka gaabwe.

Bulijjo twesanga nga tulina okusalawo ku bintu ebitali bimu ebiyinza okukwata ku biseera byaffe eby’omu maaso. Mu kifo ky’okwanguyiriza okusalawo, tusaanidde okusooka okufumiitiriza. Tusaanidde okufumiitiriza ku ngeri ebyo bye twagala okusalawo gye binaakwata ku biseera byaffe eby’omu maaso. Bwe tunoonya obulagirizi bwa Yakuwa era ne tubukolerako, tujja kusigala nga tuli ba magezi era tujja kufuna obulamu.​—Nge. 3:21, 22.