OMUNAALA GW'OMUKUUMI—OGW'OKUSOMA MU KIBIINA Okitobba 2018

Magazini eno erimu ebitundu eby’okusoma okuva nga Ddesemba 3-30, 2018.

1918—Emyaka 100 Emabega

Ssematalo I yali akyagenda mu maaso mu Bulaaya, naye ebintu ebyaliwo ku ntandikwa y’omwaka ogwo byali birabika ng’ebiwa essuubi Abayizi ba Bayibuli n’abantu mu nsi okutwalira awamu.

Okwogera Amazima

Lwaki abantu balimba, era biki ebivaamu? Tuyinza tutya okwogera amazima buli omu eri munne?

Okuyigiriza Amazima

Mu kiseera ekitono kye tusigazza okuwa obujulirwa, essira tusaanidde kulissa ku kuyigiriza abantu amazima. Tuyinza tutya okukozesa Ebintu Bye Tukozesa Okuyigiriza?

EBYAFAAYO EBIKWATA KU BULAMU BW'AB'OLUGANDA

Yakuwa Yampa Emikisa olw’Ebyo Bye Nnasalawo

Bwe yali akyali muvubuka, Charles Molohan yagaziya ku buweereza bwe n’asalawo okuweereza ku Beseri. Yakuwa amuwadde emikisa mingi.

Weesige Omukulembeze Waffe—Kristo

Ng’ekibiina kya Katonda kyeyongera mu maaso, lwaki tusaanidde okwesiga Omukulembeze waffe Kristo?

Sigala ng’Olina Emirembe ku Mutima Wadde nga Wazzeewo Enkyukakyuka

Embeera yaffe bw’ekyuka nga tubadde tetukisuubira kisobola okutweraliikiriza. ‘Emirembe gya Katonda’ gisobola gitya okutuyamba?

Obadde Okimanyi?

Siteefano ye mugoberezi wa Yesu eyasooka okuttibwa olw’enzikiriza ye. Yasobola atya okusigala nga mukkakkamu ng’ayigganyizibwa?