Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

1918—Emyaka 100 Emabega

1918—Emyaka 100 Emabega

Watch Tower eya Jjanwali 1, 1918, yatandika n’ebigambo bino: “Biki ebinaabaawo mu mwaka gwa 1918?” Ssematalo I yali akyagenda mu maaso mu Bulaaya, naye ebintu ebyaliwo ku ntandikwa y’omwaka ogwo byali birabika ng’ebiwa essuubi Abayizi ba Bayibuli n’abantu mu nsi okutwalira awamu.

AMAWANGA GOOGERA KU MIREMBE

Nga Jjanwali 8, 1918, Woodrow Wilson, eyali pulezidenti w’Amerika mu kiseera ekyo, bwe yali ayogera eri Olukiiko olukulu olw’Amerika yanokolayo ebintu 14 bye yagamba nti bye byandisobozesezza ensi okubaamu emirembe egya nnamaddala. Mu bintu bye yamenya mwe mwali eky’amawanga okukolagana obulungi, okukendeeza ku by’okulwanyisa, n’okussaawo ekibiina ekigatta amawanga ekyandiganyudde amawanga ag’amaanyi n’agatali ga maanyi. Ebintu ebyo 14 bye yamenya oluvannyuma byasinziirwako okutandikawo Ekinywi ky’Amawanga n’okukola endagaano eyasinziirwako okukomya Ssematalo I.

ABALWANYISA ABAYIZI BA BAYIBULI BAWANGULWA

Wadde ng’omwaka ogwali guyise gwalimu nnyo obutabanguko, * ebintu ebyali mu lukuŋŋaana olwa Watch Tower Bible and Tract Society olubaawo buli mwaka, byawa Abayizi ba Bayibuli essuubi nti baali banaatera okufuna emirembe.

Ku lukuŋŋaana olwo olwaliwo nga Jjanwali 5, 1918, abasajja abawerako abaali abamanyifu abaali bagobeddwa ku Beseri baagezaako okwezza obuyinza obw’okuddukanya ekibiina. Richard H. Barber, ow’oluganda omwesigwa eyali akola ng’omulabirizi akyalira ebibiina yaggulawo olukuŋŋaana olwo n’okusaba. Oluvannyuma lw’okuwuliriza lipoota ekwata ku byali bituukiddwako omwaka ogwali guyise, baalonda badayirekita b’ekibiina. Ow’oluganda Barber yalonda Joseph Rutherford n’ab’oluganda abalala mukaaga. Ne munnamateeka omu eyali ku ludda lw’abo abaali baagobwa ku Beseri yalonda abasajja abalala musanvu, omwali n’abamu ku abo abaali baagobwa ku Beseri. Naye baawangulwa. Abasinga obungi mu lukiiko olwo baasemba Ow’oluganda Rutherford ne banne abalala omukaaga abaali abeesigwa okuba badayirekita.

Ab’oluganda bangi abaaliwo ku lukuŋŋaana olwo baasanyuka nnyo olw’okuba baalaba nga ddala olukuŋŋaana olwo Yakuwa yali aluwadde omukisa. Naye essanyu eryo teryamala kiseera kiwanvu.

EKITABO THE FINISHED MYSTERY

Abayizi ba Bayibuli baali bamaze emyezi egiwerako nga bagaba ekitabo The Finished Mystery. Abantu ab’emitima emirungi baasiima nnyo obubaka obwakirimu obwali buva mu Bayibuli.

Ng’ayogera ku mwami n’omukyala omu abaali basomye ekitabo The Finished Mystery era ne bakkiriza amazima mu bbanga lya wiiki ttaano zokka, Edward Crist eyali akola ng’omulabirizi akyalira ebibiina mu Canada yagamba nti: “Omwami oyo ne mukyala we kati baweereza ba Yakuwa era bakulaakulana mu by’omwoyo.”

Omusajja omu yafuna ekitabo ekyo n’akisoma era amangu ddala n’abuulirako mikwano gye ebyo bye yali asomye. Yakwatibwako nnyo ebyo bye yasoma mu kitabo ekyo. Agamba nti: “Bwe nnali ntambula ku luguudo olumu ekintu kyankuba ku kibegabega era mu kusooka nnalowooza nti ettoffaali lye lyali linkubye. Naye kyali kitabo ‘The Finished Mystery.’ Nnakitwala eka ne nkisoma kyonna. . . . Oluvannyuma nnakimanya nti omukulu w’eddiini omu . . . mu busungu obungi ye yali akikasuse ng’akiyisa mu ddirisa . . . Ekikolwa ekyo ekimu omukulu w’eddiini oyo kye yakola kyaviirako abantu bangi okuyiga amazima. . . . Obusungu bw’omukulu w’eddiini oyo bwatuviirako okutandika okutendereza Katonda.”

Ekitabo ekyo tekyanyiiza mukulu wa ddiini oyo yekka. Nga Febwali 12, 1918, abakungu ba gavumenti mu Canada baawera ekitabo ekyo nga bagamba nti kyalimu obubaka obukubiriza abantu okujeemera gavumenti n’obuteenyigira mu ntalo. Waayita ekiseera kitono abakungu ba gavumenti ya Amerika nabo ne bakola kye kimu. Baayaza Beseri ne ofiisi zaffe ezaali mu New York, mu Pennsylvania, ne mu California, nga banoonya obujulizi kwe bandisinzidde okuggulawo emisango ku abo abaali batwala obukulembeze mu kibiina. Nga Maaki 14, 1918, ekitongole ky’amateeka mu Amerika kyawera ekitabo The Finished Mystery, nga kigamba nti okukuba ekitabo ekyo n’okukibunyisa mu bantu kyali kigootaanya enteekateeka z’olutalo era nti ekyo kyali kimenya akawaayiro akamu mu ssemateeka.

BASIBIBWA MU KKOMERA!

Nga Maayi 7, 1918, ekitongole ky’amateeka kyafuna olukusa okukwata Giovanni DeCecca, George Fisher, Alexander Macmillan, Robert Martin, Frederick Robison, Joseph Rutherford, William Van Amburgh, ne Clayton Woodworth. Baali bavunaanibwa omusango “ogw’okuleetera abantu okujeemera gavumenti, n’okubaleetera okugaana okuweereza mu magye g’Amerika.” Omusango ogwabavunaanibwa gwatandika okuwulirwa nga Jjuuni 3, 1918, naye kyali kyeraga lwatu nti baali bajja kusingisibwa omusango ogwo. Lwaki?

Ssaabawaabi wa gavumenti y’Amerika yagamba nti etteeka lye baamenya lye lyali etteeka erisingayo “okuyamba mu kulwanyisa pokopoko.” Nga Maayi 16, 1918, olukiiko olukulu olw’Amerika lwagaana okukola ennongoosereza mu tteeka eryo eyandibadde esobozesa ‘abo abawandiika ebintu ebituufu era abalina ebigendererwa ebituufu obutabaako musango.’ Ekitabo The Finished Mystery kyakubaganyizibwako nnyo ebirowoozo mu lukiiko olwo. Ekiwandiiko ekimu eky’Olukiiko olukulu olw’Amerika kyagamba nti: “Ekimu ku bintu ebisingayo okubunyisa pokopoko ow’omutawaana kye kitabo ‘The Finished Mystery’ . . . Ekigendererwa kyokka eky’ekitabo ekyo kwe kuleetera abasirikale okuggya obwesigwa mu bigendererwa byaffe . . . n’okulemesa abantu okuyingira amagye.”

Nga Jjuuni 20, 1918, abalamuzi baasingisa ab’oluganda abo omunaana emisango gyonna egyali gibavunaanibwa. Ku lunaku olwaddako, omulamuzi yabasalira ekibonerezo. Yagamba nti: “Pokopoko w’eddiini abasajja bano gwe basaasaanya . . . wa kabi nnyo n’okusinga ekibinja ky’abasirikale ba Bugirimaani. . . . Balina okuweebwa ekibonerezo ekikakali.” Oluvannyuma lwa wiiki bbiri ab’oluganda abo omunaana baatwalibwa mu kkomera ly’omu Atlanta, Georgia, ng’abamu ba kumalayo emyaka 10 ate abalala 20.

OMULIMU GW’OKUBUULIRA GWEYONGERA MU MAASO

Mu kiseera ekyo, Abayizi ba Bayibuli baayigganyizibwa nnyo. Ekitongole ekikessi ekiyitibwa FBI, kyanoonyereza nnyo ku bintu ebyali bikolebwa ab’oluganda era kyawandiika ebintu bingi ku b’oluganda. Ebintu ebyo bye kyawandiika biraga nti ab’oluganda baali bamalirivu okweyongera okukola omulimu gw’okubuulira.

Mu bbaluwa emu gye yawandiikira ekitongole kya FBI, omusajja eyali atambuza amabaluwa mu Orlando, Florida, yagamba nti: ‘Abayizi ba Bayibuli bamaliridde okugenda mu maaso n’okubuulira wadde nga bayigganyizibwa nnyo.’

Munnamagye omu yawandiikira ekitongole kya FBI ng’akitegeeza ebikwata ku Frederick W. Franz, oluvannyuma eyaweereza ku Kakiiko Akafuzi. Munnamagye oyo yagamba nti: “F. W. Franz . . . abadde akyeyongera okutunda ekitabo ‘Finished Mystery’ era atunze ebitabo nkumi na nkumi.”

Charles Fekel, naye oluvannyuma eyaweereza ku Kakiiko Akafuzi yayigganyizibwa nnyo. Ab’obuyinza baamukwata olw’okubunyisa ekitabo The Finished Mystery era baalondoolanga amabaluwa ge yali afuna ne ge yali asindika. Yasibibwa mu kkomera ly’e Baltimore, Maryland, okumala omwezi gumu era baamutwala ng’omulabe wa gavumenti. Fekel bwe yali awa obujulirwa nga bamuwozesa, yajjukira ebigambo bya Pawulo ebiri mu 1 Abakkolinso 9:16, awagamba nti: “Zinsanze bwe sirangirira mawulire malungi!” *

Ng’oggyeeko okubuulira n’obunyiikivu, Abayizi ba Bayibuli baategeka ekiwandiiko ekisaba okusumululwa kw’ab’oluganda abaali basibiddwa mu Atlanta ne bakibunyisa mu bantu basseeko emikono. Anna K. Gardner yagamba nti: “Buli kiseera twabangako ekintu kye tukola. Ab’oluganda bwe baali mu kkomera, omulimu gwaffe gwali gwa kufuna abassa emikono ku kiwandiiko ekisaba okusumululwa kwabwe. Twagenda nnyumba ku nnyumba. Twafuna emikono mingi nnyo! Abantu be twatuukiriranga twabagambanga nti abasajja abo abaali basibiddwa baali Bakristaayo ab’amazima era nti baasibibwa awatali musango.”

ENKUŊŊAANA ENNENE

Mu kiseera ekyo ekyali ekizibu, enkuŋŋaana ennene ez’omuddiriŋŋanwa zaategekebwa okunyweza ab’oluganda mu by’omwoyo. Watch Tower yagamba nti: “Enkuŋŋaana ennene ezisukka mu makumi ana . . . ze zibaddewo mu mwaka . . . Tufunye lipoota nnyingi ezizzaamu amaanyi ezoogera ku nkuŋŋaana ezo. Emabega enkuŋŋaana zonna ennene twabanga nazo myezi gimu na gimu; naye kati buli mwezi gubaamu enkuŋŋaana ennene.”

Abantu ab’emitima emirungi beeyongera okukkiriza amawulire amalungi. Olukuŋŋaana olunene olwali mu Cleveland, Ohio, lwaliko abantu nga 1,200 era abantu 42 be baabatizibwa omwali n’akalenzi ‘akaakiraga nti kaagala Katonda era nti kaagala okumuweereza. Ekyo kiteekwa okuba nga kyaswaza abantu bangi abakulu abataalina kukkiriza.’

KIKI EKYADDIRIRA?

Omwaka gwa 1918 bwe gwali gunaatera okuggwaawo, Abayizi ba Bayibuli baalina ebibuuzo bingi bye baali beebuuza ebikwata ku biseera byabwe eby’omu maaso. Ebimu ku bizimbe byabwe ebyali mu Brooklyn byatundibwa era ekitebe kyabwe ekikulu ne bakizza e Pittsburgh, Pennsylvania. Wadde ng’ab’oluganda abaali batwala obukulembeze baali bakyali mu kkomera, olukuŋŋaana olubaawo buli mwaka lwali lutegekebwa era nga lwa kubaawo nga Jjanwali 4, 1919. Kiki ekyali kigenda okubaawo?

Ab’oluganda beeyongera okubuulira n’obunyiikivu. Baali bakakafu nti Yakuwa yandibayambe era bwe batyo ne balonda Isaaya 54:17 okuba ekyawandiikibwa ky’omwaka 1919. Ekyawandiikibwa ekyo kigamba nti: “Tewali kya kulwanyisa ekiriweesebwa okukulwanyisa ekiriba n’omukisa.” Baali beetegekedde enkyukakyuka ey’amaanyi eyali eneetera okubaawo, era enkyukakyuka eyo yali egenda kunyweza nnyo okukkiriza kwabwe n’okubayamba okuba abamalirivu okukola omulimu omunene ogwali gubalindiridde.

^ lup. 6 Laba Yearbook eya 2017, olupapula 172-176.

^ lup. 22 Soma ebikwata ku Charles Fekel mu Watchtower eya Maaki 1, 1969, lup. 153-156.