Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okuyigiriza Amazima

Okuyigiriza Amazima

“Ai Yakuwa, . . . amazima gwe mulamwa gw’ekigambo kyo.”​—ZAB. 119:159, 160.

ENNYIMBA: 29, 53

1, 2. (a) Mulimu ki Yesu gwe yakulembeza mu bulamu bwe, era lwaki? (b) Kiki kye tusaanidde okukola okusobola okutuukiriza obulungi omulimu gw’okubuulira?

YESU KRISTO yakola omulimu gw’okubajja n’ogw’okubuulira n’okuyigiriza abantu. (Mak. 6:3; Bar. 15:8) Emirimu egyo gyombi yagikola bulungi nnyo. Bwe yali akola omulimu ogw’okubajja, yayiga okukozesa obulungi ebintu eby’enjawulo okukola ebintu ebitali bimu okuva mu mbaawo. Ate bwe yali akola omulimu ogw’okuyigiriza abantu amawulire amalungi, yakozesa bulungi Ebyawandiikibwa okuyamba abantu okutegeera amazima agali mu Kigambo kya Katonda. (Mat. 7:28; Luk. 24:32, 45) Bwe yaweza emyaka 30, Yesu yalekera awo okukola omulimu gw’okubajja kubanga yali akimanyi nti omulimu gw’okubuulira n’okuyigiriza abantu gwe gwali gusinga obukulu. Yagamba nti emu ku nsonga lwaki Katonda yamutuma ku nsi kwe kubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda. (Mat. 20:28; Luk. 3:23; 4:43) Omulimu gw’okubuulira Yesu gwe yakulembeza mu bulamu bwe era yali ayagala n’abalala bamwegatteko mu kukola omulimu ogwo.​—Mat. 9:35-38.

2 Ffe tuyinza obutaba babazzi, naye tuli babuulizi b’amawulire amalungi. Omulimu ogwo mukulu nnyo kubanga ne Katonda agwenyigiramu era eyo ye nsonga lwaki Bayibuli egamba nti “tukolera wamu ne Katonda.” (1 Kol. 3:9; 2 Kol. 6:4) Tukimanyi nti “amazima gwe mulamwa gw’ekigambo [kya Yakuwa].” (Zab. 119:159, 160) Eyo ye nsonga lwaki tulina okukakasa nti tukozesa “ekigambo eky’amazima mu ngeri entuufu” nga tubuulira. (Soma 2 Timoseewo 2:15.) N’olwekyo tulina okweyongera okukuguka mu ngeri gye tukozesaamu Bayibuli, kubanga Bayibuli kye kintu ekisinga obukulu kye tukozesa mu kuyigiriza abantu amazima agakwata ku Yakuwa, ku Yesu, ne ku Bwakabaka. Okusobola okutuyamba okukola obulungi omulimu gwaffe, ekibiina kya Yakuwa kituteereddewo ebintu ebirala bye tusaanidde okuyiga okukozesa obulungi mu buweereza bwaffe. Ebintu ebyo byonna awamu biyitibwa “Ebintu bye Tukozesa Okuyigiriza.”

3. Kiki kye tusaanidde okussaako essira mu buweereza bwaffe, era ebigambo ebiri mu Ebikolwa by’Abatume 13:48 bituyamba bitya okukola ekyo?

3 Oyinza okuba nga weebuuza ensonga lwaki ebintu ebyo tubiyita Ebintu bye Tukozesa Okuyigiriza so si Ebintu bye Tukozesa Okubuulira. Okubuulira kitegeeza okulangirira obubaka; naye okuyigiriza kitegeeza okuleetera obubaka okutuuka ku mutima gw’omuntu asobole okukolera ku ebyo by’ayiga. Mu kiseera ekitono kye tusigazzaayo okukola omulimu ogw’okuwa obujulirwa, essira tusaanidde kulissa ku kuyigiriza abantu amazima agali mu Bayibuli. Ekyo kitegeeza nti tulina okufuba okunoonya ‘abo bonna abalina endowooza ennuŋŋamu ebasobozesa okufuna obulamu obutaggwaawo’ tubayambe okufuuka abakkiriza.​—Soma Ebikolwa 13:44-48.

4. Tuyinza tutya okuzuula abo ‘abalina endowooza ennuŋŋamu ebasobozesa okufuna obulamu obutaggwaawo’?

4 Tuyinza tutya okumanya abo ‘abalina endowooza ennuŋŋamu ebasobozesa okufuna obulamu obutaggwaawo’? Nga bwe kyali mu kyasa ekyasooka, ne leero engeri yokka gye tusobola okuzuulamu abantu abo kwe kuwa obujulirwa. Bwe kityo tulina okukolera ku kiragiro kya Yesu kino: “Mu buli kibuga oba mu buli kyalo mwe munaayingira, munoonyeemu oyo agwanira.” (Mat. 10:11) Tetusuubira bantu abatali beesimbu, ab’amalala, n’abatafaayo ku bintu eby’omwoyo kukkiriza mawulire malungi. Tusaanidde okunoonya abantu abeesimbu, abeetoowaze, era abalina ennyonta ey’okumanya amazima. Okunoonya abo abagwanira tuyinza okukugeraageranya ku ekyo Yesu ky’ayinza okuba nga yakola ng’anoonya omuti omutuufu ogw’okukolamu enzigi, ebikoligo, n’ebintu ebirala. Bwe yamalanga okuzuula omuti omutuufu, yaggyangayo ebintu bye yakozesanga n’akozesa obukugu bwe yalina n’akola ekyo kye yabanga ayagala okukola. Naffe ekyo kye tulina okukola nga tufuba okufuula abantu ab’emitima emirungi abayigirizwa.​—Mat. 28:19, 20.

5. Kiki kye tusaanidde okumanya ku Bintu Bye Tukozesa Okuyigiriza? Waayo ekyokulabirako. (Laba ekifaananyi ku lupapula 11.)

5 Ebintu byonna ebikozesebwa okukola omulimu, buli kimu kiba n’omugaso gwakyo ogw’enjawulo. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku bintu Yesu by’ayinza okuba nga yakozesa mu mulimu gw’okubajja. * Ayinza okuba nga yakozesanga ebipima, ebiramba, ebisala, ebiwumulamu ebituli, ebiwoola, n’ebisiba. Mu ngeri y’emu naffe Ebintu Bye Tukozesa Okuyigiriza birina emirimu egy’enjawulo gye bituukiriza. Ka twetegereze ebintu bino ebituweereddwa era tulabe engeri gye tusaanidde okubikozesaamu.

BYE TUKOZESA OKWEYANJULA

6, 7. (a) Okozesezza otya bukaadi obulagirira abantu omukutu gwaffe? (b) Bintu ki ebibiri akapapula akayita abantu mu nkuŋŋaana bye kakola?

6 Bukaadi Obulagirira Abantu Omukutu Gwaffe. Bukaadi buno tusobola okubukozesa okweyanjula eri abantu n’okubalagirira omukutu gwaffe. Ku mukutu ogwo basobola okumanya ebirala ebitukwatako era basobola okusaba okuyigirizibwa Bayibuli. Abantu abasukka mu 400,000 be baakasaba okuyigirizibwa Bayibuli nga bayitira ku mukutu gwaffe jw.org, era n’abalala bangi nnyo buli lunaku basaba okuyigirizibwa Bayibuli! Osobola okufunayo bukaadi butonotono obukozese ng’ofunye akakisa okubaako b’obuulira.

7 Obupapula Obuyita Abantu mu Nkuŋŋaana. Obupapula buno bukola ebintu bibiri. Ebigambo ebisooka ku kapapula ako bigamba nti: “Oyanirizibwa okuyiga Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa.” Era kalaga nti omuntu asobola okuyigira Bayibuli “mu nkuŋŋaana zaffe” ‘oba okufuna omuntu amuyigiriza.’ N’olwekyo, ng’oggyeeko okuba nti akapapula kano kayamba abantu okutumanya, era kayamba abantu “abamanyi obwetaavu bwabwe obw’eby’omwoyo” okukimanya nti basobola okuyiga naffe Bayibuli. (Mat. 5:3) Kya lwatu nti abantu bonna baanirizibwa mu nkuŋŋaana zaffe ka babe nga bakkirizza okuyiga Bayibuli oba nedda. Bwe bajja mu nkuŋŋaana zaffe, bajja kukiraba nti bayiga ebintu bingi okuva mu Bayibuli.

8. Lwaki kikulu nnyo omuntu okujja mu nkuŋŋaana zaffe waakiri omulundi gumu? Waayo ekyokulabirako.

8 Kikulu okweyongera okuyita abantu okujja mu nkuŋŋaana zaffe waakiri omulundi gumu. Lwaki? Ekyo kibayamba okulaba enjawulo eriwo wakati w’embeera ennungi ennyo ey’eby’omwoyo eri mu bantu ba Yakuwa n’embeera embi ennyo ey’eby’omwoyo eri mu Babulooni Ekinene. (Is. 65:13) Ekyo omusajja omu ayitibwa Ray ne mukyala we Linda ababeera mu Amerika baakiraba. Baasalawo okutandika okugenda mu kkanisa okusinza. Baali bakkiririza mu Katonda era nga balina ennyonta ey’eby’omwoyo. Baasalawo okugenda mu buli limu ku masinzizo agaali mu kibuga kyabwe. Mu kibuga kyabwe mwalimu amasinzizo mangi n’amadiini mangi. Bwe baali batandika okugenda baasalawo nti essinzizo lye bandyegasseeko lyalina okutuukiriza ebintu bibiri. Ekisooka, baalina okubaako ekintu ekipya kye bayiga nga bagenzeeyo. Eky’okubiri, abantu abakuŋŋaaniramu baalina okuba ng’endabika yaabwe eraga nti baweereza ba Katonda. Kyabatwalira emyaka egiwerako okugenda mu masinzizo gonna agali mu kibuga kyabwe, naye tebaazuulamu na limu lyali lituukiriza bisaanyizo ebyo. Baali tebalina kye bayizeeyo era abantu baamu baali tebafaanana ng’abaweereza ba Katonda. Bwe baamala okuva mu ssinzizo eryasembayo eryali ku lukalala lwabwe, Linda yeeyongerayo ku mulimu gwe ate ye Ray n’asalawo okuddayo eka. Ray bwe yali addayo eka, yalaba Ekizimbe ky’Obwakabaka muli ne yeebuuza nti ‘Lwaki sigendayo ndabe ebifaayo?’ Bye yalabayo byamusanyusa nnyo! Buli omu mu Kizimbe ky’Obwakabaka yali musanyufu, ng’afaayo ku balala, era ng’ayambadde bulungi. Ray yatuula mu kifo eky’omu maaso era bye yayiga byamukwatako nnyo! Nga Pawulo bwe yagamba, Ray yawulira nti ‘ddala Katonda yali mu bantu abo.’ (1 Kol. 14:23-25) Ray yatandika okugendanga mu nkuŋŋaana buli lwa Ssande era oluvannyuma yatandika n’okugendanga mu nkuŋŋaana ezibaawo wakati mu wiiki. Linda naye yatandika okugendanga mu nkuŋŋaana era bombi baatandika okuyiga Bayibuli, wadde nga baali mu myaka 70, era oluvannyuma baabatizibwa.

EBINTU EBITUYAMBA OKUTANDIKA OKUNYUMYA N’ABANTU

9, 10. (a) Lwaki tulakiti nnyangu okukozesa? (b) Nnyonnyola engeri gy’oyinza okukozesaamu tulakiti Obwakabaka bwa Katonda kye Ki?

9 Tulakiti. Tulina tulakiti munaana ennyangu okukozesa mu kutandika okunyumya n’abantu. Okuva tulakiti ezo lwe zaatandika okukubibwa mu 2013, kopi ng’obuwumbi butaano ze zaakakubibwa! Ekirungi kya tulakiti ezo kiri nti bw’oyiga okukozesa emu ku zo, zonna oba osobola okuzikozesa kubanga zaasengekebwa mu ngeri y’emu. Oyinza otya okukozesa tulakiti ezo okutandika okunyumya n’abantu?

10 Ng’ekyokulabirako, ka tugambe nti osazeewo okukozesa tulakiti Obwakabaka bwa Katonda kye Ki? Laga omuntu ekibuuzo ekiri kungulu omubuuze nti: “Olowooza Obwakabaka bwa Katonda kye ki? Olowooza . . . ?” Oluvannyuma mubuuze kiruwa ku by’okuddamu ebisatu kye yandironzeeko. Awatali kumugamba nti kyazzeemu kituufu oba kikyamu bikkula munda mu tulakiti awali “Bayibuli ky’Egamba” okubaganye naye ebirowoozo ku byawandiikibwa ebiragiddwa, Danyeri 2:44 ne Isaaya 9:6. Bwe kiba kisoboka weeyongere okukubaganya naye ebiroowozo. Ku nkomerero, mulage ekibuuzo “Obulamu buliba butya nga tufugibwa Obwakabaka bwa Katonda?” ekiri emabega wa tulakiti wansi w’omutwe “Ky’Oyinza Okulowoozaako.” Ekyo kijja kukuyamba okussaawo omusingi gwe munaatandikirako omulundi ogunaddako. Bw’oddayo okumulaba osobola okujuliza Essomo 7 mu brocuwa Amawulire Amalungi Okuva eri Katonda!, era nga brocuwa eyo y’emu ku ebyo bye tukukozesa okutandika okuyigiriza abantu Bayibuli.

EBINTU EBIREETERA ABANTU OKWAGALA OKUMANYA EBISINGAWO

11. Magazini zaffe zirina kigendererwa ki, naye kiki kye tusaanidde okumanya ku magazini ezo?

11 Magazini. Omunaala gw’Omukuumi ne Zuukuka! ze magazini ezisingayo okukubibwa n’okuvvuunulwa mu nsi yonna! Okuva bwe kiri nti zisomebwa abantu okwetooloola ensi yonna, emitwe egibeera kungulu ku magazini ezo gikwata ku bantu abali mu bitundu byonna eby’ensi. Tusaanidde okuzikozesa okuleetera abantu okwagala okumanya ebisingawo ku bintu ebisinga obukulu mu bulamu. Kyokka okusobola okuwa abantu abatuufu magazini ezo, tulina okumanya baani okusingira ddala be ziwandiikirwa.

12. (a) Magazini ya Zuukuka! ewandiikirwa baani, era erina kigendererwa ki? (b) Birungi ki by’ofunye mu kukozesa magazini eno?

12 Magazini ya Zuukuka! ewandiikibwa okuyamba abantu abatalina kye bamanyi ku Bayibuli oba abamanyi ekitono ennyo ku Bayibuli. Bayinza okuba nga tebalina kye bamanyi ku njigiriza ez’Ekikristaayo, nga tebakyesiga ddiini, oba nga tebakimanyi nti Bayibuli erimu amagezi ag’omuganyulo. Ekigendererwa kya Zuukuka! ekikulu kwe kuyamba omusomi okukiraba nti ddala Katonda gy’ali. (Bar. 1:20; Beb. 11:6) Ate era egendereddwa okuyamba omusomi okukiraba nti ddala Bayibuli ‘Kigambo kya Katonda.’ (1 Bas. 2:13) Emitwe esatu egiri kungulu ku magazini za Zuukuka! eza 2018 gye gino: “Ekkubo Erireeta Essanyu,” “Ebintu 12 Ebisobozesa Amaka Okuba Amanywevu,” ne “Ebisobola Okuyamba Abo Abafiiriddwa Abantu Baabwe.”

13. (a) Magazini y’Omunaala gw’Omukuumi eya bonna ewandiikirwa baani? (b) Birungi ki by’ofunye mu kukozesa magazini eyo?

13 Magazini y’Omunaala gw’Omukuumi, eya bonna, okusingira ddala ekubibwa okuyamba abo abakkiririza mu Katonda ne mu Kigambo kye Bayibuli ku kigero ekitonotono. Wadde nga bayinza okuba nga balina kye bamanyi ku Bayibuli, tebategeera bulungi njigiriza zaayo. (Bar. 10:2; 1 Tim. 2:3, 4) Emitwe esatu egiri kungulu ku magazini z’Omunaala gw’Omukuumi eza bonna eza 2018 gye gino: “Bayibuli Ekyali ya Mugaso Leero?,” “Ebiseera eby’Omu Maaso Biriba Bitya?,” ne “Ddala Katonda Akufaako?

EBINTU EBIREETERA ABANTU OKUBAAKO KYE BAKOLAWO

14. (a) Vidiyo ennya eziri mu “Bintu Bye Tukozesa Okuyigiriza” zirina kigendererwa ki? (b) Birungi ki by’ofunye mu kukozesa vidiyo ezo?

14 Vidiyo. Mu kiseera kya Yesu ebintu byonna ababazzi bye baakozesanga tewaaliwo na kimu kyali kikozesa masannyalaze. Naye ennaku zino ebimu ku bintu ababazzi bye bakozesa bya masannyalaze, gamba ng’emisumeeni egimu, ebyuma ebiwummula ebituli, n’ebirala. Mu ngeri y’emu, ng’oggyeeko ebintu ebikubibwa mu kyapya tulina ne vidiyo ennungi ze tulaga abantu era nga nnya ku zo ze zimu ku “Bintu Bye Tukozesa Okuyigiriza.” Vidiyo ezo ze zino: Lwaki Kikulu Okuyiga Bayibuli?, Omuntu Ayigirizibwa Atya Bayibuli?, Biki Ebikolebwa mu Kizimbe ky’Obwakabaka?, ne Abajulirwa ba Yakuwa​—Ffe Baani? Vidiyo ezitaweza ddakiika bbiri nnungi nnyo okukozesa ku mulundi ogusooka. Ate vidiyo empanvuko zisobola okukozesebwa ng’ozzeeyo eri omuntu oba ng’oyogera n’omuntu alina ebiseera ebingiko. Vidiyo ezo zisobola okuleetera omuntu okwagala okuyiga Bayibuli n’okujja mu nkuŋŋaana.

15. Waayo ebyokulabirako ebiraga engeri abantu gye bakwatibwako nga balabye vidiyo mu lulimi lwabwe.

15 Ng’ekyokulabirako, mwannyinaffe omu bwe yasisinkana omukazi ava mu Micronesia eyali ayogera olulimi oluyitibwa Yapese, yamulaga vidiyo Lwaki Kikulu Okuyiga Bayibuli? mu lulimi lwe. Bwe yamuteerako vidiyo eyo omukazi yagamba nti: “Eri mu lulimi lwange. Siyinza kukikkiriza! Nkiraba nti oyo ayogera ava ku kizinga gye nva. Ayogera lulimi lwange!” Oluvannyuma yagamba nti yali agenda kusoma era alabe n’ebintu ebirala byonna ebiri mu lulimi lwe ku jw.org. (Geraageranya Ebikolwa 2:8, 11.) Lowooza ku kyokulabirako ekirala. Mwannyinaffe omulala abeera mu Amerika yaweereza omwana wa mwannyina abeera mu nsi endala linki ya vidiyo eyo mu lulimi lwe. Omwana oyo yalaba vidiyo eyo era n’amuwandiikira n’amugamba nti: “Ekitundu ekiraga nti waliwo omubi afuga ensi yonna kyankutteko nnyo era nnasabye okuyigirizibwa Bayibuli.” Omwana oyo abeera mu nsi omulimu gwaffe gye gukugirwa!

EBINTU BYE TUKOZESA OKUYIGIRIZA AMAZIMA

16. Nnyonnyola ekigendererwa kya buli emu ku brocuwa zino: (a) Wuliriza Katonda Obeere Mulamu Emirembe Gyonna. (b) Amawulire Amalungi Okuva eri Katonda! (c) Baani Leero Abakola Yakuwa by’Ayagala?

16 Brocuwa. Oyinza otya okuyigiriza amazima omuntu atamanyi bulungi kusoma oba ayogera olulimi lwe tutalinaamu bitabo byaffe? Tulina ebintu bye tusobola okukozesa mu mbeera eyo. Tulina brocuwa Wuliriza Katonda Obeere Mulamu Emirembe Gyonna. * Ekintu ekirungi ennyo mu kutandika okuyigiriza abantu Bayibuli ye brocuwa Amawulire Amalungi Okuva eri Katonda! Osobola okulaga omuntu emitwe 14 egiri ku lupapula olw’emabega n’omubuuza akubuulire gw’ayagala mwogereko. Oluvannyuma tandika okumuyigiriza Bayibuli ng’otandikira ku ssomo ly’alonze. Ogezezzaako okukozesa enkola eno ng’oddidde omuntu gwe wayogerako naye? Brocuwa ey’okusatu eri mu Bintu Bye Tukozesa Okuyigiriza ye Baani Leero Abakola Yakuwa by’Ayagala? Brocuwa eyo yategekebwa okuyamba abayizi okutegeera ekibiina n’okukyegattako. Okusobola okumanya engeri gy’osola okukozesaamu brocuwa eno laba Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffeaka Maaki 2017 .

17. (a) Obutabo obubiri bwe tuyigiririzaamu abantu bulina mugaso ki? (b) Kiki abo bonna abakulaakulana ne batuuka ku kubatizibwa kye balina okukola, era lwaki?

17 Ebitabo. Oluvannyuma lw’okutandika okuyigiriza omuntu Bayibuli ng’okozesa brocuwa, osobola okumukyusa n’omuzza mu katabo Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli? wonna we kiba kyetaagisiza. Akatabo ako kayamba omuntu okumanya ebisingawo ku njigiriza za Bayibuli ezisookerwako. Omuntu bw’amalako akatabo ako era ng’akulaakulana mu by’omwoyo, weeyongere okusoma naye mu katabo Engeri gy’Oyinza Okusigala mu Kwagala kwa Katonda. Akatabo kano kayamba omuyizi wa Bayibuli okuyiga okukolera ku misingi gya Bayibuli mu bulamu bwe. Omuntu ne bw’aba ng’amaze okubatizibwa alina okumalako obutabo obwo bwombi. Ekyo kimuyamba okunywerera mu mazima.​—Soma Abakkolosaayi 2:6, 7.

18. (a) Kiki 1 Timoseewo 4:16 kye watukubiriza okukola nga tuyigiriza abantu amazima, era biki ebivaamu? (b) Tulina kuba na kigendererwa ki nga tukozesa Ebintu Bye Tukozesa Okuyigiriza?

18 Abajulirwa ba Yakuwa tukwasiddwa ‘obubaka obw’amazima, nga gano ge mawulire amalungi,’ era obubaka obwo busobozesa abantu okufuna obulamu obutaggwaawo. (Bak. 1:5; soma 1 Timoseewo 4:16.) Eyo ye nsonga lwaki tuweereddwa Ebintu Bye Tukozesa Okuyigiriza bituyambe okutuukiriza obulungi obuvunaanyizibwa obwo. (Laba akasanduuko “ Ebintu Bye Tukozesa Okuyigiriza.”) Ka tufube okukuguka mu kukozesa ebintu ebyo. Buli mubuulizi asobola okusalawo kintu ki ku ebyo bye tukozesa mu kuyigiriza ky’anaakozesa na ddi lw’anaakikozesa. Naye ekigendererwa kyaffe si kya kugenda nga tugaba bugabi bitabo, era tetusaanidde kugabira bitabo byaffe bantu abatasiima bubaka bwaffe. Ekigendererwa kyaffe kya kuyamba abantu abeesimbu, abeetoowaze, n’abo abalina ennyonta ey’eby’omwoyo okufuuka abayigirizwa. Abo be bantu ‘abalina endowooza ennuŋŋamu ebasobozesa okufuna obulamu obutaggwaawo.’​—Bik. 13:48; Mat. 28:19, 20.

^ lup. 5 Laba ekitundu “Omubazzi” n’akasanduuko “Ebintu Omubazzi Bye Yakozesanga” mu Watchtower eya Agusito 1, 2010.

^ lup. 16 Omuntu bw’aba tasobola kusoma, oyinza okumusomesa nga ye agoberera mu brocuwa Wuliriza Katonda, okusingira ddala erimu ebifaananyi.