EBYAFAAYO
Yakuwa Yampa Emikisa olw’Ebyo Bye Nnasalawo
Obudde bwe bwali bunaatera okukya naffe twali tumaliriza okusonseka tulakiti wansi w’enzigi z’abantu mu kitundu kye twali tuweereddwa okukolamu. Omwaka gwali gwa 1939, era twali tuzuukuse mu ttumbi ne tuvuga emmotoka okumala essaawa ng’emu ne tugenda mu kabuga k’e Joplin mu bukiikaddyo bwa Missouri, Amerika. Bwe twamaliriza omulimu ogwali gutututte, twayingira mu mmotoka ne tuvuga okugenda mu kifo we twali tulagaanye okusisinkana ne tulinda abalala okutuuka. Naye oyinza okuba nga weebuuza ensonga lwaki twagenda okubuulira ng’obudde bukyali bwa kiro ate ne tuvaayo mangu nga tebunnatangaala. Ekyo nja kukibabuulira oluvannyuma.
NDI musanyufu nnyo okuba nti bazadde bange, Fred ne Edna Molohan baali Bakristaayo era banjigiriza okutya Katonda. We banzaalira mu 1934 baali bamaze emyaka 20 nga Bayizi ba Bayibuli (Bajulirwa ba Yakuwa). Twali tubeera mu Parsons, akabuga akatono akasangibwa mu bukiikaddyo bwa Kansas, era ekibiina kye twalimu kumpi kyalimu baafukibwako mafuta bokka. Ffenna mu maka twanyumirwanga nnyo okugenda mu nkuŋŋaana n’okubuulira abalala amazima agali mu Kigambo kya Katonda. Buli lwa mukaaga mu ttuntu twabuuliranga ku nguudo. Oluusi twakoowanga nnyo, naye taata yateranga okututwala okulya ayisikuliimu nga tumaze okubuulira.
Wadde ng’ekibiina kyaffe kyali kitono, twalina ekitundu kinene eky’okubuuliramu omwali obubuga ne faamu ezitali zimu. Bwe twabanga tubuulira abalimi, oluusi bwe twabawanga ebitabo baatuwangamu enva endiirwa, amagi, oba enkoko. Okuva bwe kiri nti taata yabanga amaze okusasulira ebitabo ebyo, eby’okulya ebyo twabyongerezanga ku mmere y’awaka.
KAWEEFUBE W’OKUBUULIRA
Taata ne maama baafuna gramufomu gye baakozesanga mu mulimu gw’okubuulira. Mu kiseera ekyo nnali muto nga sisobola kugikozesa naye nnanyumirwanga nnyo okuyambako maama ne taata nga bagikozesa okuteerako abo be baabanga bayigiriza Bayibuli emboozi z’Ow’oluganda Rutherford.
Emmotoka yaffe taata yagissaako ekizindaalo. Emmotoka ng’ezo ez’ekizindaalo zaayamba nnyo mu kubunyisa amawulire g’Obwakabaka. Emirundi egisinga baasookanga kuteekako buyimba okuteekateeka abantu oluvannyuma ne bassaako emboozi eyeesigamiziddwa ku Bayibuli. Emboozi eyo bwe yaggwanga, twagabiranga abantu ebitabo.
Mu kabuga k’e Cherryvale, Kansas, abapoliisi baagamba taata nti yali takkirizibwa kuyingiza mmotoka ey’ekizindaalo mu kibangirizi abantu mwe baali bawummulira ku Ssande naye nti yali akkirizibwa okugisimba wabweru w’ekibangirizi.
Taata teyabakaayanya era yatwala emmotoka n’agisimba ku luguudo olwali okumpi n’ekibangirizi abantu abaali mu kibangirizi we baali basobola okuwuliriza obubaka era n’assaako emboozi. Nnasanyukanga nnyo okubeera awamu ne taata ne muganda wange Jerry nga tubuulira mu ngeri eyo.Emyaka gya 1930 bwe gyali ginaatera okuggwaako, twenyigira mu kaweefube ow’enjawulo ow’okubuulira mu bwangu mu bitundu mwe baali batuyigganya ennyo. Twazuukukanga ng’obudde tebunnakya (nga bwe twakola mu Joplin, Missouri) ne tusonseka butulakiti n’obutabo wansi w’enzigi z’abantu. Oluvannyuma twabangako we tusisinkana ebweru w’ekibuga okulaba obanga waliwo omu ku ffe poliisi gwe yali ekutte.
Ekintu ekirala ekyatunyumiranga nga tubuulira mu kiseera ekyo kwe kutambula ku nguudo nga tulina ebipande. Okusobola okulangirira Obwakabaka twayambalanga ebipande ne tutambula mu lunyiriri nga tuyita mu kibuga. Nzijukira olumu ab’oluganda bwe baayita mu kibuga nga bambadde ebipande ebiriko ebigambo “Eddiini Kyambika era Nzibi.” Baayita mu kibuga ne batambula olugenda lwa mayiro ng’emu oluvannyuma ne baddayo eka. Tewali n’omu yabaziyiza era baasisinkana abantu bangi abaali baagala okumanya ebisingawo.
ENKUŊŊAANA ENNENE EZAASOOKA
Ffenna ng’amaka twavanga e Kansas ne tugenda e Texas ku nkuŋŋaana ennene. Olw’okuba Taata yakolanga mu kitongole ky’eggaali y’omukka ekya Missouri, Kansas, ne Texas, eggaali y’omukka twagirinnyanga ku bwereere era ekyo kyatusobozesanga okukyaliranga ab’eŋŋanda zaffe n’okugendanga mu nkuŋŋaana ennene ffenna ng’amaka. Kojja Fred Wismar, eyali mukulu wa maama, awamu ne mukyala we Eulalie, baali babeera mu kibuga Temple, eky’omu Texas. Fred yayiga amazima ng’akyali muvubuka ku ntandikwa y’emyaka gya 1900, n’abatizibwa era n’abuulirako baganda be ku ebyo bye yali ayize, nga mw’otwalidde ne maama wange. Fred yali amanyiddwa nnyo ab’oluganda mu Texas, gye yaweerezaako ng’omuweereza wa zooni (omulabirizi w’ekitundu). Yali musajja wa kisa, nga musanyufu, era ng’ab’oluganda banyumirwa nnyo okubeera naye. Yali ayagala nnyo amazima, era yannyamba nnyo mu myaka gyange egy’obuvubuka.
Mu 1941 ffenna ng’amaka twalinnya eggaali y’omukka ne tugenda mu St. Louis, Missouri, mu lukuŋŋaana olunene. Ku lukuŋŋaana olwo abaana bonna baagambibwa okutuula awamu mu kifo eky’enjawulo ng’Ow’oluganda Rutherford awa emboozi eyalina omutwe, “Abaana ba Kabaka.” Ku nkomerero y’emboozi ye Ow’oluganda Rutherford ne banne abaali bamuyambako, baakwasa buli mwana akatabo Children. Ffenna abaana abaafuna akatabo ako twali tusukka mu 15,000.
Mu Apuli 1943 twafuna olukuŋŋaana olunene mu Coffeyville, Kansas olwalina omutwe “Omulanga.” Ku lukuŋŋaana olwo, Essomero ly’Omulimu gwa Katonda, eryali ligenda okubangawo mu bibiina byonna lyatongozebwa, era akatabo akaalimu amasomo 52 agaali ag’okukozesebwa mu ssomero eryo kaafulumizibwa ku olwo. Omwaka ogwo bwe gwali gunaatera okuggwaako, nnawa emboozi yange eyasooka mu ssomero eryo. Olukuŋŋaana olwo era lwali lwa
njawulo nnyo gye ndi kubanga ku olwo lwe nnabatizibwa. Nnabatirizibwa mu kidiba ekyali ku faamu ekyalimu amazzi agannyogoga ennyo.MPEEREZA KU BESERI
Nnamaliriza emisomo gyange mu 1951 era nnalina okusalawo ku bintu ebitali bimu ebikwata ku biseera byange eby’omu maaso. Nnali njagala nnyo okuweereza ku Beseri, muganda wange Jerry gye yali aweerezzaako, era mangu ddala nnajjuzaamu foomu n’esindikibwa ku ofiisi y’e Brooklyn. Ekyo kye nnasalawo kyannyamba nnyo mu by’omwoyo. Waayita ekiseera kitono ne mpitibwa okugenda okuweereza ku Beseri era nnatandika okuweereza ku Beseri nga Maaki 10, 1952.
Nnali njagala nnyo okukola gye bakubira ebitabo byaffe nsobole okwenyigira mu kukuba magazini n’ebitabo ebirala. Naye nnaweebwa mulimu gwa kuweereza mmere ate oluvannyuma ne nkola mu ffumbiro, era nnayiga ebintu bingi nga nkola emirimu egyo. N’olwekyo saakolako gye bakubira bitabo. Naye olw’okuba ffe abaakolanga mu ffumbiro twamalanga mangu emirimu gyaffe, kyansobozesa okufunanga ebiseera mu budde obw’emisana okugenda mu tterekero ly’ebitabo ery’oku Beseri okwesomesa. Ekyo kyannyamba okwongera okukula mu by’omwoyo era kyanyweza okukkiriza kwange. Era ekyo kyandeetera okuba omumalirivu okusigala nga mpeereza ku Beseri. Jerry yali yava ku Beseri mu 1949 n’awasa Patricia, era baali babeera mu Brooklyn okumpi ne Beseri. Bannyamba nnyo mu myaka gyange egyasooka ku Beseri.
Bwe waali waakayita ekiseera kitono nga nzize ku Beseri, baatandika okusunsula mu b’oluganda abatali bamu basobole okufunamu aboogezi abakiikirira Beseri. Ab’oluganda abaalondebwamu baasindikibwanga okugenda okuwa emboozi mu bibiina ebyali byesudde Beseri ebbanga eritasussa mayiro 200, era baabuulirangako wamu n’ebibiina ebyo. Nnafuna enkizo okuba omu ku b’oluganda abo. Emboozi yange eyasooka nnagiwa nga nnina ekiwuggwe era emboozi ezo twaziweeranga essaawa nnamba. Emirundi egisinga obungi nnagendanga mu bibiina okuwa emboozi nga nkozesa eggaali y’omukka. Nzijukira lumu ku Ssande mu 1954, ng’obudde bwa butiti, nnalinnya eggaali y’omukka eyali egenda mu New York, era nnali wa kutuuka ku Beseri ng’obudde tebunnawungeera. Naye embuyaga ey’amaanyi yakunta n’omuzira ne gugwa, era ekyo kyaviirako eggaali y’omukka okutambula empola. Eggaali y’omukka yatuuka mu New York ku ssaawa nga 11 ez’okumakya. Bwe nnava mu ggaali y’omukka, nnatambula nga nnyanguwa nsobole okutuuka amangu ku Beseri era bwe nnatuuka nnagenda butereevu okukola mu ffumbiro. Nnali mukoowu olw’okumala ekiro kyonna nga ntudde mu ggaali y’omukka eyali ezikirazikira. Naye essanyu lye nnafunanga mu kuweereza ab’oluganda n’okusisinkana emikwano emipya ku wiikendi lyanneerabizanga ebizibu ng’ebyo.
Bwe nnali nnaakatandika okuweereza ku Beseri, nnalondebwa okuba omu ku abo abaweereza programu ku leediyo yaffe eyali eyitibwa WBBR. Mu kiseera ekyo, situdiyo za leediyo eyo zaali ku mwaliro ogw’okubiri ogw’ekizimbe ekiyitibwa 124 Columbia Heights. Buli wiiki ku programu kwabangako ekitundu ekyabanga kiggiddwa mu Bayibuli era nnakiikiriranga omu ku bantu aboogerwako mu Bayibuli eyabanga ayogerwako mu kitundu ekyo. Ow’oluganda A. H. Macmillan, eyali amaze ekiseera kiwanvu ng’aweereza ku Beseri, yeenyigiranga obutayosa mu programu ezaabanga ku leediyo yaffe. Ow’oluganda Macmillan yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi ffe abavubuka mu kunywera ku buweereza bwaffe eri Yakuwa.
Mu 1958 nnaweebwa enkizo okuyambako mu mirimu egikwatagana n’Essomero lya Gireyaadi. Omulimu gwange gwali gwa kuyamba abaminsani okufuna viza n’okukola ku by’entambula yaabwe. Mu kiseera ekyo, okutambulira mu nnyonyi kyali kitwala ssente nnyingi era bayizi batono nnyo abaasobolanga okutambulira mu nnyonyi. Abasinga obungi baagenda mu Afirika ne mu Asiya nga bakozesa mmeeri ezeetikka emigugu. Kampuni z’ennyonyi bwe zeeyongera obungi ebisale by’ennyonyi byakendeera era kati bangi ku baminsani baalinnyanga nnyonyi okugenda gye baabanga basindikiddwa.
OKUGENDA KU NKUŊŊAANA ENNENE
Emirimu gyange gyeyongerako mu 1960 bwe nnaweebwa obuvunaanyizibwa obw’okufuna ennyonyi ezaali ez’okutwala ab’oluganda okuva mu Amerika
ku nkuŋŋaana ennene ezaali zigenda okubeera mu nsi ez’enjawulo mu Bulaaya mu 1961. Nze okusobola okugenda ku lumu ku nkuŋŋaana ezo nnatambulira mu nnyonyi eyava mu New York n’egenda mu Hamburg, eky’omu Bugirimaani. Oluvannyuma lw’olukuŋŋaana olwo nze n’ab’oluganda abalala basatu twapangisa emmotoka ne tugenda mu Italy, ku ofiisi y’ettabi mu Rooma. Bwe twava eyo, tweyongerayo mu Bufalansa, ne tuyita mu Nsozi Pyrenees, ne tugenda mu Sipeyini, omulimu gwaffe gye gwali guwereddwa. Twasobola okuwa baganda baffe mu Barcelona ebitabo nga tubisabise ng’ebirabo. Kyatusanyusa nnyo okubasisinkana! Oluvannyuma twavuga ne tugenda mu Amsterdam gye twalinnyira ennyonyi ne tuddayo mu New York.Nga wayise omwaka nga gumu, obuvunaanyizibwa bwange ku Beseri kati bwali buzingiramu okukola ku by’entambula ey’ab’oluganda abaali balondeddwa okugenda ku nkuŋŋaana ennene ezitali zimu okwetooloola ensi. Enkuŋŋaana ezo ennene ezaaliwo mu 1963 zaalina omutwe “Amawulire Amalungi ag’Emirembe n’Emirembe.” Enteekateeka zaakolebwa ab’oluganda 583 okugenda ku nkuŋŋaana ennene ezaali mu Bulaaya, Asiya, ne South Pacific, era nga baali ba kukomekkereza n’ezo ezaali mu Honolulu, Hawaii, ne Pasadena, California. Ebimu ku bifo bye baalambula mwe mwali ensi ya Lebanooni n’eya Jordan okubaako bye bayiga ebikwata ku bitundu ebyogerwako mu Bayibuli. Ng’oggyeeko okufunira ab’oluganda abo bonna ennyonyi ne wooteeri mwe bandisuze, ekitongole kyaffe ku Beseri kyabafunira ne visa ezandibasobozesezza okutuukako mu nsi ezitali zimu.
NFUNA MUNNANGE GWE NTANDIKA OKUTAMBULA NAYE
Omwaka gwa 1963 era gwali gwa njawulo nnyo gye ndi mu ngeri endala. Nga Jjuuni 29, nnawasa Lila Rogers enzaalwa ya Missouri, eyali amaze emyaka esatu ng’aweereza ku Beseri. Nga wayise wiiki emu nga tumaze okufumbiriganwa, nze ne Lila twegatta ku b’oluganda abaali bagenda okukyalira ensi ezitali zimu omwali Buyonaani, Misiri, ne Lebanooni. Twalinnya ennyonyi okuva mu Beirut ne tugenda ku kisaawe ky’ennyonyi ekitono mu Jordan. Okuva bwe kiri nti omulimu gwaffe gwali guwereddwa mu Jordan era nga baali batugambye nti Abajulirwa ba Yakuwa baali tebaweebwa viza zibakkiriza kuyingira mu Jordan, twali twebuuza ekyandibaddewo nga tutuuseeyo. Nga kyatwewuunyisa nnyo bwe twatuuka ku kisaawe ky’ennyonyi ne tusanga nga waliwo abantu bangi abatulindiridde nga bakutte ekipande ekigamba nti “Abajulirwa ba Yakuwa Mwaniriziddwa”! Ate era nga kyatusanyusa nnyo okulaba ebimu ku bifo ebyogerwako mu Bayibuli! Twalambula ebifo abasajja abeesigwa ab’edda gye baabeeranga, ebifo Yesu n’abatume be bye baabuulirangamu, n’ebifo Obukristaayo gye bwatandikira.—Bik. 13:47.
Kati mmaze emyaka 55 nga mpeerereza wamu ne Lila. Twakyalira Sipeyini ne Portugal emirundi egiwerako ng’omulimu gwaffe gukyawereddwa mu nsi ezo. Twazzangamu ab’oluganda mu nsi ezo amaanyi era twabawanga ebitabo n’ebintu ebirala bye baabanga beetaaga. Twasobola n’okukyalirako abamu ku baganda baffe abaali basibiddwa mu nkambi y’amagye mu Cádiz, Sipeyini. Kyansanyusanga nnyo okuwa ab’oluganda abo emboozi okubazzaamu amaanyi.
Okuva mu mwaka gwa 1963 mbadde n’enkizo ey’okuyambako mu kuteekerateekera ab’oluganda entambula nga bagenda ku nkuŋŋaana ennene mu Afirika, Australia, mu Amerika ow’omu massekati n’ow’omu bukiikaddyo, mu Bulaaya, Asiya, Hawaii, New Zealand, ne Puerto Rico. Nze ne Lila tunyumiddwa nnyo okugenda ku nkuŋŋaana ennene ezitali zimu nga mwe muli n’olwo olwali mu Warsaw, Poland, mu 1989. Ab’oluganda bangi okuva mu Russia baasobola okujja ku lukuŋŋaana olwo era ng’olwo lwe lukuŋŋaana olunene lwe baasooka okubaako! Bangi ku b’oluganda ne bannyinaffe be twasisinkana baali baamala emyaka mingi nga basibiddwa mu makomera ga Soviet Union olw’enzikiriza yaabwe.
Tunyumiddwa nnyo okukyalira ofiisi z’ettabi mu nsi ezitali zimu okuzzaamu Ababeseri n’abaminsani amaanyi. Mu lukyala lwaffe olwasembayo twakyalira South Korea, era twasobola okusisinkana ab’oluganda 50 abaali basibiddwa mu kkomera mu Suwon. Ab’oluganda abo bonna baalina endowooza ennuŋŋamu era baali beesunga okuddamu okwenyigira mu buweereza. Okusisinkana ab’oluganda abo kyatuzzaamu nnyo amaanyi!—Bar. 1:11, 12.
OKWEYONGERAYONGERA KUTULEETERA ESSANYU
Ndabye engeri Yakuwa gy’awaddemu abantu be emikisa ne beeyongera obungi. We nnabatirizibwa mu 1943 waaliwo ababuulizi nga 100,000 naye kati waliwo ababuulizi abasukka mu 8,000,000 abaweereza Yakuwa mu nsi 240. Abaminsani abavudde mu Ssomero lya Gireyaadi abawoma omutwe mu mulimu gw’okubuulira bakoze kinene nnyo ku kweyongerayongera okwo. Ng’ebadde nkizo ya maanyi nnyo okukolera awamu n’abaminsani nga mbayamba okufuna viza basobole okugenda mu nsi gye baba basindikiddwa!
Ndi musanyufu nnyo okuba nti nnasalawo nga nkyali muvubuka okugenda okuweereza ku Beseri. Yakuwa ampadde emikisa mingi. Ng’oggyeeko essanyu lye tufunye mu kuweereza ku Beseri, nze ne Lila twafuna essanyu lingi mu kubuulirako awamu n’ebibiina ebitali bimu mu Brooklyn, era twafuna emikwano mingi.
Nkyeyongera okuweereza ku Beseri era Lila annyamba nnyo. Wadde nga kati nsussa emyaka 84 nkyeyongera okuweereza Yakuwa era mpeereza mu kitongole ekikola ku mabaluwa.
Nga nkizo ya maanyi okuba mu kibiina kya Yakuwa n’okulaba enjawulo eriwo wakati w’abo abaweereza Yakuwa n’abo abatamuweereza. Kati tutegeera bulungi ebigambo bino ebiri mu Malaki 3:18: “Muliddamu nate okulaba enjawulo eriwo wakati w’omutuukirivu n’omubi, n’enjawulo eriwo wakati w’oyo aweereza Katonda n’oyo atamuweereza.” Buli lukya ensi ya Sitaani yeeyongera kutabuka, era ejjudde abantu abatalina ssuubi na ssanyu. Naye abo abaagala Yakuwa basanyufu, wadde nga boolekagana n’ebizibu mu nnaku zino ez’enkomerero, era balina essuubi ekkakafu. Nga tulina enkizo ya maanyi ey’okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka! (Mat. 24:14) Twesunga nnyo ekiseera Obwakabaka bwa Katonda lwe bunaazikiriza ensi ya Sitaani eno buleete emikisa Yakuwa gye yasuubiza, omuli okuba abalamu obulungi n’okufuna obulamu obutaggwaawo. Mu kiseera ekyo, abaweereza ba Yakuwa abeesigwa bajja kunyumirwa obulamu ku nsi emirembe gyonna.