OMUNAALA GW'OMUKUUMI—OGW'OKUSOMA MU KIBIINA Okitobba 2019

Magazini eno erimu ebitundu eby’okusoma Ddesemba 2-29, 2019.

1919—Emyaka Kikumi Emabega

Mu 1919, Yakuwa yasobozesa abantu be okubuulira ku kigero ekyali kitabangawo. Naye okusooka waliwo enkyukakyuka eyalina okubaawo mu bayizi ba Bayibuli.

Emisango Katonda Gy’asala—Bulijjo Awa Okulabula Okumala?

Mu kiseera kino Yakuwa alabula abantu abali ku nsi ku “muyaga” ogugenda okujja ogw’akabi ennyo okusinga omuyaga gwonna ogwali gubaddewo. Ekyo akikola atya?

Ba n’Eby’Okukola Bingi mu Nnaku Zino Ezisembayo ‘ez’Ennaku ez’Enkomerero’

Bintu ki ebinaabaawo ku nkomerero ‘y’ennaku ez’enkomerero’? Kiki Yakuwa ky’atusuubira okukola nga tulindirira ebintu ebyo?

Sigala ng’Oli Mwesigwa mu “Kibonyoobonyo Ekinene”

Kiki Yakuwa ky’ajja okutusuubira okukola mu ‘kibonyoobonyo ekinene’? Tuyinza tutya okweteekateeka kati tusobole okusigala nga tuli beesigwa?

Kiki Yakuwa ky’Anaakuleetera Okuba?

Mu biseera eby’edda, Yakuwa yayagazisa abaweereza be okukola era n’abawa amaanyi okumuweereza. Yakuwa atusobozesa atya okumuweereza leero?

Weemalire ku Yakuwa

Lowooza ku bintu bibiri ebisobola okutuyamba okumanya obanga twemalidde ku Yakuwa.