Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ow’oluganda Rutherford ng’awa emboozi ku lukuŋŋaana olunene olwali mu Cedar Point, Ohio, mu 1919

1919—Emyaka Kikumi Emabega

1919—Emyaka Kikumi Emabega

OMWAKA gwa 1919 we gwatuukira, Ssematalo I, eyali amaze emyaka ng’ena yali awedde. Omwaka gwa 1918 bwe gwali gunaatera okuggwaako, amawanga gaalekera awo okulwana, era nga Jjanwali 18, 1919, olukuŋŋaana olw’okuzzaawo emirembe lwatuula mu kibuga Paris. Ekimu ku bintu ebikulu ebyakolebwa ku lukuŋŋaana olwo ye ndagaano eyitibwa Treaty of Versailles, eyalaga mu butongole nti Ssematalo oyo yali awedde. Endagaano eyo yassibwako emikono nga Jjuuni 28, 1919.

Era okuyitira mu ndagaano eyo, Ekinywi ky’Amawanga kyatandikibwawo. Ekigendererwa ky’ekibiina ekyo kyali kya “kusobozesa amawanga okukolagana obulungi n’okuleetawo emirembe n’obutebenkevu mu nsi yonna.” Mangi ku madiini ga Kristendomu gaawagira Ekinywi ky’Amawanga. Ekibiina ekyali kigatta amakanisa g’Abapolotesitante mu Amerika kyagamba nti Ekinywi ky’Amawanga “Obwakabaka bwa Katonda mwe buyitira okufuga ensi.” Ekibiina ekyo kyalaga nti kyali kiwagira Ekinywi ky’Amawanga bwe kyasindika ababaka mu olukuŋŋaana olw’okuzzaawo emirembe olwali mu Paris. Omu ku babaka abo yagamba nti olukuŋŋaana olwo “lwatandikawo omulembe omupya mu byafaayo by’ensi.”

Omulembe omupya gwali gutandiseewo, naye abo abaali mu lukuŋŋaana olwo si be baagutandikawo. Mu 1919 omulembe omupya gwatandikawo Yakuwa bwe yasobozesa abaweereza be okubuulira ku kigero ekyali kitabangawo. Naye ng’ekyo tekinnabaawo, waliwo enkyukakyuka ey’amaanyi eyalina okubaawo mu Bayizi ba Bayibuli.

OKUSALAWO OKUTAALI KWANGU

Joseph F. Rutherford

Okulonda badayirekita ba Watch Tower Bible and Tract Society okwali kukolebwa buli mwaka kwali kugenda kubaawo ku Lwomukaaga nga Jjanwali 4, 1919. Mu kiseera ekyo Ow’oluganda Joseph F. Rutherford, eyali atwala obukulembeze mu bantu ba Yakuwa, yali asibiddwa mu kkomera ly’omu Atlanta, Georgia, Amerika, awamu n’abalala musanvu. Ekibuuzo ekyaliwo kyali nti ab’oluganda abaali mu kkomera abaali boofiisa mu kiseera ekyo bandizzeemu okulondebwa oba bandironze abalala ne badda mu kifo kyabwe?

Evander J. Coward

Bwe yali mu kkomera, Ow’oluganda Rutherford yali yeeraliikirira ebiseera by’ekibiina eby’omu maaso. Yali akimanyi nti ab’oluganda abamu baali bawulira nti kyandisinzeeko omuntu omulala okulondebwa okuba pulezidenti. N’olwekyo, Rutherford yawandiika ebbaluwa ng’asemba Evander J. Coward okulondebwa okuba pulezidenti. Rutherford yagamba nti Ow’oluganda Coward yali “mukkakkamu,” “wa magezi,” era nti yali “yeemalidde ku Mukama waffe.” Naye ab’oluganda bangi baali baagala okulonda okwo kwongezebweyo emyezi mukaaga mu maaso. Ab’oluganda abaali baawolereza Rutherford ne banne mu kkooti ekyo bakkiriziganya nakyo. Ab’oluganda bwe baali bateesa eky’okukola, abamu ku bo baafunamu okweraliikirira.

Richard H. Barber

Mu kiseera ekyo waliwo ekyabaawo Ow’oluganda Richard H. Barber kye yagamba nti ‘kyaggyawo enkonge eyali yeekiise mu kkubo.’ Omu ku b’oluganda eyaliwo nga basalawo eky’okukola yagamba nti: “Siri mukugu mu by’amateeka, naye mmanyi ekyetaagisa okuba omwesigwa. Katonda ayagala abaweereza be babe beesigwa. Engeri esingayo obulungi gye tuyinza okulagamu nti tuli beesigwa gy’ali kwe kuddamu okulonda Ow’oluganda Rutherford okuba pulezidenti.”​—Zab. 18:25.

Alexander H. Macmillan

Ow’oluganda Macmillan, omu ku abo abaasibibwa ne Rutherford yagamba nti enkeera Ow’oluganda Rutherford yakonkona ku kasenge ke yalimu mu kkomera n’amugamba nti, “Yisaamu omukono gwo.” Bwe yaguyisaamu, Ow’oluganda Rutherford yamuwa telegulaamu. Macmillan bwe yasoma obubaka obwagirimu obwali buwandiikiddwa mu bufunze, yategeererawo kye bwali butegeeza. Bwali bugamba bwe buti: “RUTHERFORD WISE VAN BARBER ANDERSON BULLY NE SPILL BADAYIREKITA ABASATU ABASOOKA BOOFIISA TUBAAGALA NNYO MMWENNA.” Obubaka obwo bwali butegeeza nti badayirekita bonna baali bazzeemu okulondebwa era nti Joseph Rutherford ne William Van Amburgh baali basigazza ekifo kyabwe eky’okuba boofiisa. Bwe kityo, Ow’oluganda Rutherford yali agenda kweyongera okubeera pulezidenti.

BASUMULULWA!

Ab’oluganda abo omunaana bwe baali bakyali mu kkomera, Abayizi ba Bayibuli abeesigwa baatandika okunoonya abantu okussa omukono ku kiwandiiko ekisaba gavumenti okusumulula ab’oluganda abo. Ab’oluganda abo ne bannyinaffe abavumu baakuŋŋaanya emikono egisukka mu 700,000. Ku Lwokusatu, nga Maaki 26, 1919, ng’ekiwandiiko ekyo tekinnaweebwayo, Ow’oluganda Rutherford ne banne baasumululwa.

Bwe yali ayogera eri abo abaamwaniriza ng’amaze okuteebwa, Ow’oluganda Rutherford yagamba nti: ‘Ndi mukakafu nti bino ffenna bye tuyiseemu bibadde bituteekerateekera ebiseera ebisingawo obuzibu ebijja mu maaso. Ekigendererwa kyammwe ekikulu tekibadde kya kuggya baganda bammwe mu kkomera, wabula kibadde kya kuleetera Yakuwa ttendo, era abo abakikoze bafunye emikisa mingi.’

Engeri ebintu gye byatambulamu baganda baffe abo balyoke bateebwe esobola okutukakasa nti mwalimu omukono gwa Yakuwa. Nga Maayi 14, 1919, kkooti ejulirwamu yagamba nti: “Abo abavunaanibwa emisango gino. . . tebaalamulwa mu bwenkanya, era olw’ensonga eyo emisango gibaggiddwako.” Ab’oluganda abo baali bavunaaniddwa emisango egy’amaanyi era nga singa baali basonyiyiddwa busonyiyibwa oba singa ekibonerezo kyabwe kyali kikendeezeddwako bukendeezebwa, emisango egyo gyandisigadde mu biwandiiko ebibakwatako. Naye kati waali tewakyaliwo musango gwonna gubavunaanibwa. Bwe kityo, Ow’oluganda Rutherford yasigaza omulimu gwe ogw’okuba munnamateeka w’ekibiina ky’abantu ba Yakuwa mu kkooti ey’oku ntikko ey’omu Amerika, era emirundi mingi yawolereza abantu ba Yakuwa mu kkooti eyo oluvannyuma lw’okusumululwa mu kkomera.

BAALI BAMALIRIVU OKUBUULIRA

Ow’oluganda Macmillan yagamba nti: “Twali tetugenda kutuula butuuzi awo tulindirire Mukama waffe okututwala mu ggulu. Twakiraba nti twalina okubaako kye tukolawo okusobola okumanya ki Mukama waffe kye yali ayagala.”

Naye ab’oluganda ku kitebe ekikulu baali tebasobola kugenda mu maaso n’omulimu gwe baali bazze bakola okumala emyaka. Lwaki? Kubanga bwe baali bali mu kkomera, ebintu bye baali bakozesa mu kukuba ebitabo byali byonooneddwa. Ekyo kyali kimalamu amaanyi, era ab’oluganda abamu baali beebuuza obanga omulimu gw’okubuulira gwali guwedde.

Waliwo abantu abaali bakyayagala okuwuliriza obubaka bw’Obwakabaka Abayizi ba Bayibuli bwe baali babuulira? Okusobola okumanya eky’okuddamu mu kibuuzo ekyo, Ow’oluganda Rutherford yasalawo okubaako emboozi gy’awa. Ow’oluganda Macmillan yagamba nti abantu baalina okuyitibwa, era nti “singa tewaali muntu n’omu yandizze mu lukuŋŋaana olwo, twandikitegedde nti omulimu gw’okubuulira gwali guwedde.”

Olupapula lw’amawulire nga lulanga emboozi y’Ow’oluganda Rutherford eyalina omutwe “Essuubi eri Abantu Ababonaabona” gye yaweera mu Los Angeles, California, mu 1919

N’olwekyo, ku Ssande nga Maayi 4, 1919, Ow’oluganda Rutherford, wadde nga yali mulwadde nnyo, yawa emboozi eyalina omutwe “Essuubi eri Abantu Ababonaabona” era yagiweera mu Los Angeles, California. Abantu nga 3,500 be baaliwo okuwuliriza emboozi eyo era abalala bangi tebaasobola kuyingira olw’okuba ebifo byali tebimala. Ku lunaku olwaddako, abantu abalala 1,500 bajja okuwuliriza emboozi eyo. Ab’oluganda baali bafunye eky’okuddamu. Abantu baali baagala okuwuliriza amawulire g’Obwakabaka!

Ekyo ab’oluganda kye baddako okukola kikutte ku ngeri Abajulirwa ba Yakuwa gye bakolamu omulimu gw’okubuulira n’okutuusa leero.

BEETEGEKERA OKWEYONGERAYONGERA KW’ABANTU ABAYIGA AMAZIMA

Watch Tower eya Agusito 1, 1919, yagamba nti ku ntandikwa y’omwezi gwa Ssebutemba, waali wagenda kubaawo olukuŋŋaana olunene mu Cedar Point, Ohio. Omuyizi wa Bayibuli omu eyali ayitibwa Clarence B. Beaty, eyali abeera mu Missouri, yagamba nti: “Buli muntu yali yeesunga okubaayo.” Ab’oluganda ne bannyinaffe abasukka mu 6,000 be baaliwo ku lukuŋŋaana olwo era baali bangi nnyo okusinga bwe kyali kisuubirwa. Ekintu ekirala ekyayongera okunyumisa olukuŋŋaana olwo be bantu abasoba mu 200 abaabatirizibwa mu Nnyanja Erie eri okumpi awo.

G. Eddiba lya magazini eyasooka eya Golden Age, eya Okitobba 1, 1919

Nga Ssebutemba 5, 1919, ku lunaku olw’okutaano olw’olukuŋŋaana olwo, Ow’oluganda Rutherford bwe yali awa emboozi eyalina omutwe “Eri Bakozi Bannaffe,” yalangirira okufulumizibwa kwa magazini empya eyali eyitibwa The Golden Age. * Magazini eyo yali “ya kwogera ku bintu ebikulu ebibaawo mu nsi, era ng’ekozesa Ebyawandiikibwa, yandiraze ensonga lwaki ebintu ebyo bibaawo.”

Abayizi ba Bayibuli bonna baakubirizibwa okubuulira n’obuvumu nga bakozesa magazini eyo empya. Ebbaluwa eyalaga engeri omulimu gw’okubuulira gye gwalina okutegekebwamu yagamba nti: “Buli omu ku ffe eyabatizibwa asaanidde okukijjukira nti nkizo ya maanyi okuweereza, era asaanidde okukozesa akakisa kano okwenyigira mu bujjuvu mu kuwa obujulirwa eri ensi.” Bangi baayanukula omulanga ogwo! Omwezi gwa Ddesemba we gwatuukira, ababuulizi abo abanyiikivu baali bafunye abantu abasukka mu 50,000 abaasaba okuweebwanga magazini eyo.

Ab’oluganda mu Brooklyn, New York, nga bayimiridde okumpi ne loole eyali yeetisse magazini za Golden Age

Omwaka gwa 1919 we gwaggwerako, abantu ba Yakuwa baali bazzeemu okutegekebwa era nga babuulira n’obunyiikivu. Ate era obunnabbi obutali bumu obukwata ku nnaku ez’enkomerero bwali butuukiriziddwa. Okugezesebwa n’okulongoosebwa kw’abantu ba Katonda okwayogerwako mu Malaki 3:1-4, kwali kuwedde. Abantu ba Yakuwa baali basumuluddwa okuva mu “Babulooni Ekinene,” era Yesu yali alonze “omuddu omwesigwa era ow’amagezi.” * (Kub. 18:2, 4; Mat. 24:45) Kati Abayizi ba Bayibuli baali beetegefu okukola omulimu Yakuwa gwe yali ayagala bakole.

^ lup. 22 Oluvannyuma magazine ya The Golden Age yatuumibwa Consolation mu 1937 ate mu 1946 n’eyitibwa Zuukuka!