Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 40

Ba n’Eby’Okukola Bingi mu Nnaku Zino Ezisembayo ‘ez’Ennaku ez’Enkomerero’

Ba n’Eby’Okukola Bingi mu Nnaku Zino Ezisembayo ‘ez’Ennaku ez’Enkomerero’

“Munywere, temusagaasagana, bulijjo mube n’eby’okukola bingi mu mulimu gwa Mukama waffe.”​—1 KOL. 15:58.

OLUYIMBA 58 Okunoonya Abo Abaagala Emirembe

OMULAMWA *

1. Kiki ekitukakasa nti tuli mu “nnaku ez’enkomerero”?

WAZAALIBWA luvannyuma lwa 1914? Bwe kiba kityo, obulamu bwo bwonna obumaze oli mu “nnaku ez’enkomerero” ez’enteekateeka y’ebintu eno. (2 Tim. 3:1) Ffenna tuwulidde ku bintu Yesu bye yagamba nti byandibaddewo mu kiseera kino eky’enkomerero. Mu bintu ebyo mwe muli entalo, enjala, musisi, endwadde, okweyongera kw’obujeemu, n’okuyigganyizibwa kw’abantu ba Yakuwa. (Mat. 24:3, 7-9, 12; Luk. 21:10-12) Ate era tulaba abantu nga beeyisa mu ngeri omutume Pawulo gye yayogerako. (Laba akasanduuko “ Engeri Abantu Gye Beeyisaamu Leero.”) Abaweereza ba Yakuwa tuli bakakafu nti tuli mu “nnaku ezisembayo.”​—Mi. 4:1.

2. Bibuuzo ki bye twetaaga okumanya eby’okuddamu?

2 Olw’okuba wayise emyaka mingi okuva mu mwaka gwa 1914, tuteekwa okuba nga tuli mu nnaku ezisembayo ‘ez’ennaku ez’enkomerero.’ Okuva bwe kiri nti enkomerero esembedde nnyo, twetaaga okumanya eby’okuddamu mu bibuuzo bino ebikulu: Biki ebinaabaawo ku nkomerero ‘y’ennaku ez’enkomerero’? Biki Yakuwa by’atusuubira okuba nga tukola nga tulindirira ebintu ebyo?

BIKI EBINAABAAWO KU NKOMERERO ‘Y’ENNAKU EZ’ENKOMERERO’?

3. Okusinziira ku bunnabbi obuli mu 1 Abassessalonika 5:1-3, kiki amawanga kye gajja okulangirira?

3 Soma 1 Abassessalonika 5:1-3. Pawulo yayogera ku ‘lunaku lwa Yakuwa.’ Mu kyawandiikibwa kino, olunaku lwa Yakuwa lutegeeza ekiseera ekitandika n’okulumbibwa kwa “Babulooni Ekinene,” nga gano ge madiini gonna ag’obulimba, okutuukira ddala ku Amagedoni. (Kub. 16:14, 16; 17:5) “Olunaku” olwo bwe lunaaba lunaatera okutandika, amawanga gajja kulangirira ‘emirembe n’obutebenkevu!’ Abafuzi b’amawanga oluusi bakozesa ebigambo ebyo nga boogera ku kuleetawo enkolagana ennungi wakati w’amawanga. * Naye okulangirira ‘emirembe n’obutebenkevu’ Bayibuli kweyogerako kujja kuba kwa njawulo. Lwaki? Okulangirira okwo bwe kunaabaawo, abantu bangi bajja kulowooza nti abafuzi b’amawanga basobodde okuleetawo obutebenkevu mu nsi. Naye “ekibonyoobonyo ekinene” kijja kutandika era ‘okuzikiriza okw’amangu’ kujje.​—Mat. 24:21.

Tokkiririza kulimbibwalimbibwa ng’amawanga galangiridde ‘emirembe n’obutebenkevu’ (Laba akatundu 3-6) *

4. (a) Biki bye tutamanyi ku kulangirira ‘kw’emirembe n’obutebenkevu’? (b) Biki bye tumanyi ku kulangirira okwo?

4 Tulina bye tumanyi ku kulangirira ‘emirembe n’obutebenkevu.’ Naye waliwo ne bye tutamanyi. Tetumanyi kiki kinaaviirako bafuzi kulangirira ‘mirembe na butebenkevu’ era tetumanyi ngeri ekyo gye banaakikolamu. Tetumanyi obanga bajja kulangirira enfunda eziwera oba bajja kulangirira omulundi gumu. Ka kibe ki ekinaabaawo, kye tumanyi kiri nti: Tetusaanidde kulimbibwalimbibwa kulowooza nti abafuzi b’amwanga basobola okuleetawo emirembe mu nsi yonna. Bayibuli ky’etugamba kyokka okukola kwe kulindirira okulangirira okwo. Okulangirira okwo ke kabonero akajja okulaga nti “Olunaku lwa Yakuwa” lunaatera okutandika!

5. Ebyo ebiri mu 1 Abassessalonika 5:4-6 bituyamba bitya okwetegekera “olunaku lwa Yakuwa”?

5 Soma 1 Abassessalonika 5:4-6. Ebigambo bya Pawulo bitulaga bye tusaanidde okukola okwetegekera “olunaku lwa Yakuwa.” Tetusaanidde “kwebaka ng’abalala bwe bakola.” Tulina ‘okusigala nga tutunula’ n’okuba obulindaala. Ng’ekyokulabirako, tulina okwegendereza tuleme kwenyigira mu bya bufuzi bya nsi. Bwe tubyenyigiramu tuba tufuuse “ba nsi.” (Yok. 15:19) Tumanyi nti Obwakabaka bwa Katonda bwe bwokka obujja okuleetawo emirembe mu nsi yonna.

6. Kiki kye twagala okuyamba abantu okukola, era lwaki?

6 Ng’oggyeeko ffe okusigala nga tutunula, twagala okuyamba abalala okuzuukuka mu tulo bamanye ekyo Bayibuli ky’egamba ekigenda okubaawo mu nsi. Tusaanidde okukijjukira nti ekibonyoobonyo ekinene bwe kinaatandika, akakisa abantu ke balina okudda eri Yakuwa kajja kuba kaweddewo. Eyo ye nsonga lwaki omulimu gw’okubuulira gwe tukola mukulu nnyo! *

WEEYONGERE OKUBUULIRA N’OBUNYIIKIVU

Bwe tuba tubuulira leero, tukiraga nti Obwakabaka bwa Katonda bwe bwokka obusobola okuleeta mu nsi emirembe n’obutebenkevu ebya nnamaddala (Laba akatundu 7-9)

7. Kiki Yakuwa ky’atusuubira okukola kati?

7 Mu kiseera ekitono ekisigaddeyo ng’olunaku lwa Yakuwa terunnajja, Yakuwa atusuubira okweyongera okubuulira n’obunyiikivu. Tulina okufuba okulaba nga tuba “n’eby’okukola bingi mu mulimu gwa Mukama waffe.” (1 Kol. 15:58) Yesu yalaga ekyo kye twandikoze. Bwe yali ayogera ku bintu ebikulu ebyandibaddewo mu nnaku ez’enkomerero, yagamba nti: “Amawulire amalungi galina okusooka okubuulirwa mu mawanga gonna.” (Mak. 13:4, 8, 10; Mat. 24:14) Kirowoozeeko: Buli lw’ogenda okubuulira oba weenyigira mu kutuukirizibwa kw’obunnabbi obwo.

8. Omulimu gw’okubuulira gweyongedde gutya okukula?

8 Kiki kye tuyinza okwogera ku ngeri omulimu gw’okubuulira gye gukulaakulanyeemu? Buli mwaka omulimu ogwo gugenda mu maaso. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku kweyongerayongera kw’omuwendo gw’ababuulizi b’Obwakabaka mu nsi yonna mu nnaku ez’enkomerero. Mu 1914, waaliwo ababuulizi 5,155 mu nsi 43. Leero, waliwo ababuulizi ng’obukadde munaana n’ekitundu mu nsi 240! Wadde kiri kityo, omulimu tegunnaggwa. Tulina okweyongera okulangirira Obwakabaka bwa Katonda nti bwe bwokka obujja okumalawo ebizibu byonna abantu bye boolekagana nabyo.​—Zab. 145:11-13.

9. Lwaki tulina okweyongera okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka?

9 Tujja kweyongera okukola omulimu gw’okubuulira okutuusa Yakuwa lw’anaatugamba nti guwedde. Kiseera kyenkana wa ekisigaddeyo abantu okumanya ebikwata ku Yakuwa Katonda ne Yesu Kristo? (Yok. 17:3) Tetumanyi. Naye tukimanyi nti ng’ekibonyoobonyo ekinene tekinnatandika, abo bonna ‘abalina endowooza ennuŋŋamu ebasobozesa okufuna obulamu obutaggwaawo’ basobola okuwuliriza amawulire amalungi ne basalawo okuweereza Yakuwa. (Bik. 13:48) Tuyinza tutya okuyamba abantu abo ng’ekiseera tekinnaggwaayo?

10. Biki Yakuwa by’atuwadde okutuyamba okuyigiriza abantu amazima?

10 Okuyitira mu kibiina kye, Yakuwa atuwa byonna bye twetaaga okuyigiriza abantu amazima. Ng’ekyokulabirako, buli wiiki tutendekebwa mu lukuŋŋaana olubaawo wakati mu wiiki. Olukuŋŋaana olwo lutuyamba okumanya bye tusaanidde okwogera ku mulundi ogusooka n’engeri y’okuddayo eri abantu be tuba twabuulira. Era lutuyigiriza engeri y’okuyigirizaamu abantu Bayibuli. Ate era ekibiina kya Yakuwa kituwadde Ebintu Bye Tukozesa Okuyigiriza. Ebintu ebyo bituyamba . . .

  • okutandika okunyumya n’abantu,

  • okutuusa ku bantu obubaka bwaffe mu ngeri esikiriza,

  • okuleetera abantu okwagala okumanya ebisingawo,

  • okuyigiriza abantu Bayibuli,

  • n’okuyita abantu okujja mu nkuŋŋaana zaffe n’okubalagirira omukutu gwaffe.

Kya lwatu nti tekimala kubeera bubeezi na bintu ebyo. Tulina okubikozesa. * Ng’ekyokulabirako, oluvannyuma lw’okunyumyako n’omuntu ayagala okumanya ebisingawo, mulekere tulakiti oba magazini gy’anaasigala ng’asoma okutuusa lw’onoddamu okwogerako naye. Buli omu ku ffe asaanidde okubuulira n’obunyiikivu buli mwezi.

11. Lwaki ekitundu Okuyigira Bayibuli ku Intaneeti kyatandikibwawo?

11 Yakuwa era ayamba abantu okuyiga amazima okuyitira mu kitundu Okuyigira Bayibuli ku Intaneeti ekiri ku jw.org®. (Genda wansi wa BIBLE TEACHINGS > ONLINE LESSONS.) Lwaki ekitundu ekyo kyatandikibwawo? Buli mwezi, abantu nkumi na nkumi bagenda ku Intaneeti nga baagala okuyiga ebiri mu Bayibuli. Ekitundu ekyo ekiri ku mukutu gwaffe kisobola okuyamba abantu abo okutandika okuyiga amazima agali mu Kigambo kya Katonda. Ate abantu abamu be tubuulira bayinza obutaagala muntu kubayigiriza Bayibuli. Abantu ng’abo osobola okubalaga ekitundu ekyo ekiri ku mukutu gwaffe oba okubawa linki ebatwala ku kitundu ekyo. *

12. Biki omuntu by’ayiga mu masomo agali mu kitundu Okuyigira Bayibuli ku Intaneeti?

12 Ekitundu Okuyigira Bayibuli ku Intaneeti kirimu amasomo gano: “Bayibuli n’Oyo Eyagiwandiisa,” “Abo Okusingira Ddala Bayibuli b’Eyogerako,” ne “Obubaka bwa Bayibuli Obuwa Essuubi.” Mu masomo ago omuntu ayiga:

  • Engeri Bayibuli gy’esobola okuyambamu omuntu

  • Yakuwa, Yesu, ne Bamalayika be baani

  • Ensonga lwaki Katonda yatonda abantu

  • Ensonga lwaki waliwo okubonaabona n’ebintu ebibi

Ate era amasomo ago galaga engeri Yakuwa gy’ajja . . .

  • okumalawo okubonaabona n’okufa,

  • okuzuukiza abafu,

  • n’engeri gy’ajja okuggyawo gavumenti z’abantu asseewo Obwakabaka bwa Katonda.

13. Ekitundu Okuyigira Bayibuli ku Intaneeti kiggyawo enteekateeka y’okuyigiriza abantu Bayibuli? Nnyonnyola.

13 Ekitundu Okuyigira Bayibuli ku Intaneeti tekiggyaawo nteekateeka ya kuyigiriza bantu Bayibuli. Yesu yatukwasa omulimu ogw’okufuula abantu abayigirizwa. Tusuubira nti ebyo abantu bye basoma mu kitundu ekyo bijja kubaleetera okwagala okuyiga ebisingawo, era oboolyawo bakkirize okuyigirizibwa Bayibuli. Ku nkomerero ya buli ssomo, omuntu akubirizibwa okusaba wabeewo omuntu amuyigiriza Bayibuli. Okuyitira ku mukutu gwaffe, buli lunaku abantu abasukka mu 230, be basaba okuyigirizibwa Bayibuli! Kikulu nnyo omuntu okuba n’omuntu amuyigiriza Bayibuli!

WEEYONGERE OKUFUBA OKUFUULA ABANTU ABAYIGIRIZWA

14. Okusinziira ku kiragiro kya Yesu ekiri mu Matayo 28:19, 20, kiki kye tulina okufuba okukola, era lwaki?

14 Soma Matayo 28:19, 20. Nga tuyigiriza abantu Bayibuli, tulina okukola kyonna ekisoboka ‘okufuula abantu bayigirizwa, nga tubayigiriza okukwata ebintu byonna Yesu bye yalagira.’ Tulina okuyamba abantu okukimanya nti kikulu nnyo okuweereza Yakuwa n’okuwagira Obwakabaka bwe. Ekyo kitegeeza nti tulina okukubiriza abantu okukolera ku bye bayiga mu Bayibuli, okwewaayo eri Yakuwa, n’okubatizibwa. Ekyo kye kijja okubayamba okuwonawo ku lunaku lwa Yakuwa.​—1 Peet. 3:21.

15. Baani be tutasaanidde kumalirako budde, era lwaki?

15 Nga bwe tulabye, ekiseera ekisigaddeyo enkomerero etuuke kitono ddala. N’olwekyo, tetusaanidde kumalira budde ku bantu abataagala kufuuka bayigirizwa ba Kristo. (1 Kol. 9:26) Ekiseera kye tusigazza okukola omulimu gw’okubuulira kitono ddala! Wakyaliwo abantu bangi abeetaaga okuwulira obubaka bw’Obwakabaka ng’ekiseera tekinnaggwaayo.

KAKASA NTI TOBA NA KAKWATE KONNA NA DDIINI ZA BULIMBA

16. Okusinziira ku Okubikkulirwa 18:2, 4, 5, 8, kiki ffenna kye tulina okukola? (Laba obugambo obuli wansi.)

16 Soma Okubikkulirwa 18:2, 4, 5, 8Ennyiriri zino ziraga ekintu ekirala Yakuwa ky’asuubira mu baweereza be. Abakristaayo bonna ab’amazima tebalina kuba na kakwate konna na Babulooni Ekinene. Nga tannayiga mazima, omuntu ayinza okuba nga yali mu ddiini emu ey’obulimba. Ayinza okuba nga yagendanga mu masinzizo gaayo era nga yeenyigiranga ne mu bintu ebitali bimu ebikolebwamu. Oba ayinza okuba nga yawangayo ssente okuwagira emirimu egikolebwa eddiini eyo. Omuyizi wa Bayibuli nga tannafuuka mubuulizi mubatize, alina okusooka okwekutulira ddala ku ddiini ey’obulimba. Alina okuwandiika ebbaluwa eraga nti takyali mu ddiini eyo oba mu kibiina kyonna ekirina akakwate n’eddiini eyo, era ebbaluwa eyo n’agiwaayo eri abakulu b’eddiini eyo. *

17. Mirimu ki Omukristaayo gy’alina okwewala, era lwaki?

17 Omukristaayo ow’amazima alina okukakasa nti omulimu gw’akola okweyimirizaawo tegulina kakwate konna na Babulooni Ekinene. (2 Kol. 6:14-17) Ng’ekyokulabirako, tasobola kuba mukozi wa kanisa. Ate era Omukristaayo akozesebwa tasobola kukola mirimu minene ku bizimbe ebikozesebwa mu kusinza okw’obulimba. Ate bw’aba nga yeekozesa tasobola kupatana mulimu ku masinzizo oba ebifo ebikozesebwa amadiini ag’obulimba. Lwaki ekyo kikulu nnyo? Kubanga tetwagala kuba na kakwate konna na bikolwa awamu n’ebibi by’ebibiina ebitali birongoofu mu maaso ga Katonda.​—Is. 52:11. *

18. Ow’oluganda omu yanywerera atya ku misingi gya Bayibuli ng’akola omulimu gwe?

18 Emyaka egiwerako emabega, ow’oluganda omu eyali yeekozesa yekka yasabibwa okubaako omulimu gw’akola ku kanisa emu ey’omu kitundu mwe yali abeera. Oyo eyali amugamba okukola omulimu ogwo yali akimanyi nti enfunda eziwerako ow’oluganda oyo yali amugambye nti tasobola kukola mulimu ku kkanisa yonna. Naye ku luno oyo eyali amugamba okukola omulimu ogwo yali abuliddwa omuntu ow’okugukola. Wadde kyali kityo, ow’oluganda yanywerera ku misingi gya Bayibuli n’agaana okugukola. Wiiki eyaddako olupapula lw’amawulire lwafulumiramu ekifaananyi ky’omubazzi omu ng’ateeka omusaalaba ku kkanisa eyo. Singa ow’oluganda oyo yali yekkirirannyizza, ekifaananyi kye kye kyandibadde kirabikira mu mawulire ago. Lowooza ku ngeri ab’oluganda gye bandibadde bamutwalamu! Ate era lowooza ku ngeri Yakuwa gye yandibadde awuliramu.

BIKI BYE TUYIZE?

19-20. (a) Biki bye tuyize mu kitundu kino? (b) Biki bye tujja okulaba mu kitundu ekiddako?

19 Okusinziira ku bunnabbi bwa Bayibuli, ekintu ekikulu ekinaatera okubaawo ge mawanga okulangirira ‘emirembe n’obutebenkevu.’ Olw’okuba Yakuwa atuyigirizza, tukimanyi nti amawanga tegajja kuleeta mirembe gya nnamaddala. Biki bye tulina okukola ng’amawanga tegannalangirira mirembe era ng’okuzikiriza okw’amangu tekunnajja? Yakuwa atusuubira okweyongera okubuulira n’obunyiikivu obubaka bw’Obwakabaka n’okufuula abantu abayigirizwa. Ate era tulina obutaba na kakwate konna na ddiini ez’obulimba. Ekyo kizingiramu omuntu okuwandiika ebbaluwa eraga nti takyali mu ddiini gye yalimu emabega n’okwewala omulimu gwonna ogulina akakwate ne Babulooni Ekinene.

20 Waliwo ebintu ebirala ebigenda okubaawo mu nnaku ezisembayo ‘ez’ennaku ez’enkomerero.’ Ate era waliwo n’ebintu ebirala Yakuwa by’atusuubira okukola. Bintu ki ebyo era tuyinza tutya okweteekerateekera ebintu byonna ebijja mu maaso awo? Ekyo tujja kukiraba mu kitundu ekiddako.

OLUYIMBA 71 Tuli Ggye lya Yakuwa!

^ lup. 5 Mu kiseera ekitali kya wala, tusuubira okuwulira amawanga nga galangirira nti galeeseewo ‘emirembe n’obutebenkevu!’ Ekyo kijja kulaga nti ekibonyoobonyo ekinene kinaatera okutandika. Ng’ekiseera ekyo tekinnatuuka, kiki Yakuwa ky’atusuubira okuba nga tukola? Ekibuuzo ekyo kiddibwamu mu kitundu kino.

^ lup. 3 Ng’ekyokulabirako, ku mukutu gwakyo ogwa Intaneeti, ekibiina ky’Amawanga Amagatte kigamba nti “kikuuma emirembe n’obutebenkevu mu nsi yonna.”

^ lup. 10 Okumanya engeri y’okukozesaamu buli kimu ku Bintu Bye Tukozesa Okuyigiriza, laba ekitundu “Okuyigiriza Amazima” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Okitobba 2018.

^ lup. 11 Amasomo agali mu kitundu ekyo gali mu Lungereza na Lupotugo, era n’ennimi endala nnyingi zijja kugafuna.

^ lup. 16 Ate era tulina okwewala ebibiina, gamba ng’ebibiina by’abavubuka oba ebifo ebisanyukirwamu ebirina akakwate n’eddiini ez’obulimba. Ng’ekyokulabirako, tusaanidde okwewala ebibiina gamba nga YMCA (Young Men’s Christian Association), ne YWCA (Young Women’s Christian Association). Wadde ng’abo abaddukanya ebifo ebyateekebwawo ebibiina ebyo bayinza okugamba nti ebikolebwa mu bifo ebyo tebirina kakwate na ddiini, ekituufu kiri nti, ebibiina ebyo bitumbula enjigiriza z’amadiini ag’obulimba n’ebiruubirirwa byago.

^ lup. 17 Okumanya ebisingawo ku ndowooza y’Ebyawandiikibwa ku mirimu egirina akakwate n’amadiini, laba “Ebibuuzo Ebiva mu Basomi” mu Watchtower eya Apuli 15, 1999.

^ lup. 83 EBIFAANANYI: Bakasitoma mu kifo awaliirwa emmere nga basamaaliridde olw’amawulire ge balabye ku ttivi ng’amawanga galangirira ‘emirembe n’obutebenkevu.’ Omwami ne mukyala we Abajulirwa ba Yakuwa nabo bali mu kifo ekyo nga bawummuddemuko oluvannyuma lw’okubuulira, naye nga bo amawulire ago tegabeewuunyisizza.