Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abantu beetaaga okulabulwa ‘ng’omuyaga’ gwa Katonda tegunnatandika!

Emisango Katonda Gy’asala—Bulijjo Awa Okulabula Okumala?

Emisango Katonda Gy’asala—Bulijjo Awa Okulabula Okumala?

OMUNTU akola mu byuma ebiraga embeera y’obudde bw’eneeba yeetegereza ekigenda mu maaso. Akiraba nti waliwo omuyaga ogw’amaanyi ogugenda okuyita mu kitundu omuli abantu abangi ennyo. Olw’okuba alumirirwa abantu abo afuba okubalabula ku kabi akajja.

Mu ngeri y’emu, mu kiseera kino Yakuwa alabula abantu abali ku nsi ku “muyaga” ogugenda okujja ogw’akabi ennyo okusinga omuyaga gwonna ogwali gubaddewo. Ekyo akikola atya? Era lwaki tusobola okuba abakakafu nti Yakuwa awadde abantu ekiseera ekimala okubaako kye bakolawo? Okusobola okuddamu ebibuuzo ebyo, ka tulabeyo ku kulabula Yakuwa kwe yawa abantu mu biseera by’edda.

OKULABULA KATONDA KWE YAWA

Mu biseera by’edda, Yakuwa yalabulanga abantu ku “miyaga,” oba ku kabi ke yabanga agenda okutuusa ku abo abaali bajeemera ebiragiro bye mu bugenderevu. (Nge. 10:25; Yer. 30:23) Mu buli mbeera, yategeezanga abantu abaabanga bakwatibwako nga bukyali era n’abakubiriza okukyusa amakubo gaabwe. (2 Bassek. 17:12-15; Nek. 9:29, 30) Okusobola okuyamba abantu okukola enkyukakyuka, emirundi mingi yakozesanga abaweereza be abeesigwa ku nsi okulangirira emisango gye yabanga asaze n’okuyamba abantu okukiraba nti balina okubaako kye bakolawo mu bwangu.​—Am. 3:7.

Nuuwa y’omu ku abo Yakuwa be yakozesa okulangirira akabi ke yali agenda okuleeta. Okumala emyaka mingi, Nuuwa yalabula abantu abaaliwo mu kiseera kye abaali beenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu n’ebikolwa eby’obukambwe ku Mataba agaali gagenda okujja. (Lub. 6:9-13, 17) Era yababuulira n’ekyo kye baali beetaaga okukola basobole okuwonawo. Nuuwa yabuulira n’obunyiikivu ne kiba nti oluvannyuma yayitibwa “omubuulizi w’obutuukirivu.”​—2 Peet. 2:5.

Wadde nga Nuuwa yafuba okulabula abantu abaaliwo ng’Amataba tegannajja, tebassaayo mwoyo ku bubaka bwe obwali buva eri Katonda. Tebaalina kukkiriza. N’ekyavaamu, baafa Amataba bwe “gajja ne gabasaanyaawo bonna.” (Mat. 24:39; Beb. 11:7) Bwe baali bazikirizibwa, baali tebasobola kugamba nti Katonda teyabalabula.

Ku mirundi emirala, Yakuwa yalabula abantu ng’ebula akaseera katono aleete akabi. Wadde kyali kityo, yakakasanga nti abantu abo baweebwa ekiseera ekimala okubaako kye bakolawo. Ng’ekyokulabirako, bwe yabanga tannaleeta buli kimu ku Bibonyoobonyo Ekkumi bye yaleeta ku nsi ya Misiri, yasookanga kulabula bantu. Okugeza, Yakuwa yatuma Musa ne Alooni okulabula Falaawo n’abaddu be ku kibonyoobonyo eky’omusanvu, nga guno gwe muzira ogw’amaanyi ogwali gugenda okugwa. Okuva bwe kiri nti omuzira ogwo gwali gugenda kugwa ku lunaku oluddako, Katonda yawa abantu abo ekiseera ekimala okwewala okukosebwa akabi ako? Bayibuli egamba nti: “Oyo yenna ku baweereza ba Falaawo eyatya ekigambo kya Yakuwa, yayanguwa okuyingiza abaweereza be n’ebisolo bye mu nnyumba, naye oyo yenna atassaayo mwoyo ku kigambo kya Yakuwa yaleka abaweereza be n’ebisolo bye ku ttale.” (Kuv. 9:18-21) Awatali kubuusabuusa, Yakuwa yawa abantu ekiseera ekimala ne kiba nti abo abaabaako kye bakolawo mu bwangu tebaakosebwa nnyo muzira ogwo.

Ate era Falaawo n’abaweereza be baalabulwa ng’ekibonyoobonyo eky’ekkumi tekinnatandika. Naye baagaana okukolera ku kulabula okwo. (Kuv. 4:22, 23) N’ekyavaamu, baafiirwa abaana baabwe ababereberye. Ekyo nga kyali kya nnaku nnyo! (Kuv. 11:4-10; 12:29) Baalina obudde obumala okukolera ku kulabula okwo? Yee! Musa yayanguwa okulabula Abayisirayiri ku kibonyoobonyo eky’ekkumi ekyali kibindabinda era n’abategeeza kye baalina okukola ab’omu maka gaabwe basobole okuwonawo. (Kuv. 12:21-28) Bantu bameka abaakolera ku kulabula okwo? Kiteeberezebwa nti baali abantu ng’obukadde busatu, nga mw’otwalidde Abayisirayiri “n’ekibiina ekinene” eky’abantu abataali Bayisirayiri awamu n’Abamisiri abamu. Abantu abo tebaakosebwa kabi ako era baava mu Misiri.​—Kuv. 12:38; obugambo obuli wansi.

Ng’ebyokulabirako ebyo bwe biraga, Yakuwa yakakasanga nti abantu baweebwa obudde obumala okukolera ku kulabula kwe yabanga abawadde. (Ma. 32:4) Lwaki ekyo Katonda yakikolanga? Omutume Peetero yagamba nti Yakuwa “tayagala muntu yenna kuzikirizibwa wabula bonna beenenye.” (2 Peet. 3:9) Mazima ddala, Katonda yafangayo ku bantu. Yali ayagala beenenye bakole enkyukakyuka ezeetaagisa nga tannatuukiriza musango gwe yabanga asaze.​—Is. 48:17, 18; Bar. 2:4.

OKUKOLERA KU KULABULA KATONDA KW’AWA LEERO

Ne leero abantu balina okukolera amangu ku kulabula okuweebwa mu nsi yonna. Yesu bwe yali ku nsi, yagamba nti enteekateeka y’ebintu eno ejja kuzikirizibwa mu kiseera ‘ky’ekibonyoobonyo ekinene.’ (Mat. 24:21) Yesu yawa obunnabbi obwali bulaga ebintu ebitali bimu abagoberezi be bye bandirabye oba bye bandiyiseemu ebyandibasobozesezza okukimanya nti ekibonyoobonyo ekyo kinaatera okutuuka. Yesu yayogera ku bintu bingi bye tulaba leero mu nsi.​—Mat. 24:3-12; Luk. 21:10-13.

Okusinziira ku bunnabbi obwo, mu kiseera kino Yakuwa akubiriza abantu okusalawo okumuweereza n’okumugondera. Ayagala abantu abawulize babe n’obulamu obulungi kati era bafune n’emikisa gy’agenda okuleeta mu nsi empya mu biseera eby’omu maaso. (2 Peet. 3:13) Okusobola okuyamba abantu okukkiririza mu bisuubizo bye, Yakuwa abatuusaako obubaka obusobola okuwonyaawo obulamu bwabwe, nga gano ge ‘mawulire amalungi ag’Obwakabaka,’ Yesu ge yagamba nti “galibuulirwa mu nsi yonna okuba obujulirwa eri amawanga gonna.” (Mat. 24:14) Katonda ategese abaweereza be okumanyisa obubaka buno mu nsi nga 240. Yakuwa ayagala abantu bangi nga bwe kisoboka okukolera ku kulabula okwo bawone “omuyaga” ogujja ogw’omusango ogw’obutuukirivu gw’asaze.​—Zef. 1:14, 15; 2:2, 3.

Tewali kubuusabuusa nti bulijjo Yakuwa awa abantu ekiseera ekimala okukolera ku kulabula kw’awa. Naye ekibuuzo ekikulu kiri nti: Abantu banaakolera ku kulabula okubaweebwa ng’ekiseera kikyaliwo? Ffe ababaka ba Katonda ka tweyongere okuyamba abantu bangi nga bwe kisoboka okuwonawo ng’enteekateeka y’ebintu eno ezikirizibwa.