Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 41

Sigala ng’Oli Mwesigwa mu “Kibonyoobonyo Ekinene”

Sigala ng’Oli Mwesigwa mu “Kibonyoobonyo Ekinene”

“Mwagale Yakuwa mmwe mmwenna abeesigwa gy’ali! Yakuwa akuuma abeesigwa.”​—ZAB. 31:23.

OLUYIMBA 129 Tujja Kweyongera Okugumiikiriza

OMULAMWA *

1-2. (a) Kiki amawanga kye ganaatera okulangirira? (b) Bibuuzo ki ebigenda okuddibwamu?

KUBA akafaananyi ng’abafuzi b’ensi baakamala okulangirira “emirembe n’obutebenkevu.” Bayinza okwewaana nti kyaddaaki basobodde okuleeta obutebenkevu mu nsi. Abafuzi b’amawanga bayinza okwagala tulowooze nti basobola okumalawo ebizibu byonna ebiri mu nsi. Naye bajja kuba tebalina kye basobola kukola ku ekyo ekinaddirira! Lwaki? Kubanga Bayibuli egamba nti, ‘okuzikiriza okw’amangu kujja kubajjira, era tebajja kuwona n’akatono.’​—1 Bas. 5:3.

2 Kati ekyebuuzibwa kiri nti: Biki ebinaabaawo mu ‘kibonyoobonyo ekinene’? Biki Yakuwa by’atusuubira okukola mu kiseera ekyo? Era tuyinza tutya okweteekateeka kati tusobole okusigala nga tuli beesigwa mu kibonyoobonyo ekinene?​—Mat. 24:21.

BIKI EBINAABAAWO MU ‘KIBONYOOBONYO EKINENE’?

3. Okusinziira ku Okubikkulirwa 17:5, 15-18, Katonda anaazikiriza atya “Babulooni Ekinene”?

3 Soma Okubikkulirwa 17:5, 15-18. “Babulooni Ekinene” kijja kuzikirizibwa! Nga bwe kiragiddwa waggulu, ekyo amawanga gajja kuba tegakirinaako buyinza. Lwaki? Bayibuli egamba nti ‘Katonda ajja kukiteeka mu mitima gyabwe okutuukiriza ekirowoozo kye.’ Kirowoozo ki ekyo? Okuzikiriza amadiini gonna ag’obulimba, nga mw’otwalidde ne Kristendomu. * Katonda ajja kuteeka ekirowoozo kye mu mitima ‘gy’amayembe ekkumi ag’ensolo emmyufu.’ Amayembe ekkumi gakiikirira gavumenti zonna eziwagira ‘ensolo’ eyo, kwe kugamba, ekibiina ky’Amawanga Amagatte. (Kub. 17:3, 11-13; 18:8) Gavumenti ezo bwe zinaalumba amadiini ag’obulimba, eyo y’ejja okuba entandikwa y’ekibonyoobonyo ekinene. Ekibonyoobonyo ekyo kijja kujja mbagirawo era kijja kukwata ku nsi yonna.

4. (a) Nsonga ki amawanga ze gayinza okuwa okulumba amadiini ag’obulimba? (b) Abo abaliba baali mu madiini ago bayinza kukola ki mu kiseera ekyo?

4 Tetumanyi nsonga mawanga ze gajja kuwa okulumba Babulooni Ekinene. Gayinza okugamba nti amadiini galemesa emirembe okubaawo mu nsi era nti buli kiseera geeyingiza mu by’obufuzi. Oba gayinza okugamba nti amadiini gafunye obugagga bungi nnyo n’ebintu bingi nnyo. (Kub. 18:3, 7) Kirabika amawanga bwe ganaalumba amadiini ag’obulimba, si buli muntu ali mu madiini ago nti ajja kusaanyizibwawo. Wabula kirabika amawanga gajja kusaanyaawo madiini. Amadiini ago bwe ganaamala okuggibwawo, abo abaliba baagalimu bajja kukitegeera nti abakulembeze b’amadiini ago tebaatuukiriza bye baabasuubiza era abantu abo bayinza okugamba nti tebaalina kakwate konna na madiini ago.

5. Kiki Yakuwa kye yasuubiza ekikwata ku kibonyoobonyo ekinene, era lwaki?

5 Bayibuli teraga kiseera kyenkana wa okuzikirizibwa kwa Babulooni Ekinene kye kunaamala, naye tukimanyi nti kujja kutwala ekiseera kitono. (Kub. 18:10, 21) Yakuwa yasuubiza nti ajja ‘kukendeeza ku nnaku’ z’ekibonyoobonyo ekinene, “abalonde” be basobole okuwonawo awamu n’eddiini ey’amazima. (Mak. 13:19, 20) Naye biki Yakuwa by’ajja okutusuubira okukola wakati w’entandikwa y’ekibonyoobonyo ekinene n’olutalo Amagedoni?

BA MUMALIRIVU OKUSINZA YAKUWA MU NGERI ENTUUFU

6. Lwaki obutaba na kakwate konna na ddiini ez’obulimba ku bwakyo tekimala?

6 Nga bwe kyayogerwako mu kitundu ekyayita, Yakuwa asuubira abaweereza be obutaba na kakwate konna ne Babulooni Ekinene. Naye ekyo ku bwakyo tekimala. Tulina okuba abamalirivu okusinza Yakuwa mu ngeri entuufu. Lowooza ku ngeri bbiri gye tuyinza okukikolamu.

Tetusaanidde kulekayo kukuŋŋaananga wamu ne mu biseera ebizibu (Laba akatundu 7) *

7. (a) Tuyinza tutya okunywerera ku mitindo gya Yakuwa egy’empisa? (b) Abebbulaniya 10:24, 25 walaga watya obukulu bw’okukuŋŋaana awamu, naddala mu kiseera kino?

7 Esooka, tulina okunywerera ku mitindo gya Yakuwa egy’empisa. Tulina okwesambira ddala ebikolwa eby’obugwenyufu ebiri mu nsi. Ng’ekyokulabirako, tetusemba bikolwa eby’obugwenyufu eby’engeri yonna, gamba ng’okulya ebisiyaga. (Mat. 19:4, 5; Bar. 1:26, 27) Ey’okubiri, tulina okweyongera okusinza Yakuwa nga tuli wamu ne bakkiriza bannaffe. Tusinziza wamu nabo mu Bizimbe by’Obwakabaka, oba bwe kiba kyetaagisa mu maka g’ab’oluganda oba mu nkukutu. Ka kibe ki ekibaawo, tetuyinza kulekayo kukuŋŋaana wamu kusinza Yakuwa. Mu butuufu, tulina okukuŋŋaananga awamu ne bakkiriza bannaffe kubanga ‘tulaba nti olunaku lusembedde.’​—Soma Abebbulaniya 10:24, 25.

8. Obubaka bwaffe kirabika bunaakyuka butya mu kibonyoobonyo ekinene?

8 Mu kibonyoobonyo ekinene, kirabika obubaka bwe tubuulira bujja kukyuka. Mu kiseera kino tubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka era tufuba okufuula abantu abayigirizwa. Naye mu kibonyoobonyo ekinene, tuyinza okubuulira obubaka obuli ng’omuzira ogw’amaanyi ogugwa ku bantu. (Kub. 16:21) Tuyinza okulangirira nti mu kaseera katono ensi ya Sitaani yonna egenda kuzikirizibwa. Mu maaso awo tujja kumanyira ddala obubaka bwe tunaalangirira n’engeri gye tujja okubulangiriramu. Tunaakozesa enkola ze zimu ze tuzze tukozesa emyaka egisukka mu kikumi okusobola okutuukiriza obuweereza bwaffe? Oba tunaakozesa nkola ndala? Ka tulindirire tulabe. K’ebe ngeri ki gye tunaabuuliramu, kirabika tujja kufuna enkizo ey’okulangirira omusango Yakuwa gw’asaze!​—Ezk. 2:3-5.

9. Amawanga gayinza kweyisa gatya nga tulangirira obubaka bwaffe, naye tuli bakakafu ku ki?

9 Kirabika, obubaka bwe tujja okubuulira bujja kunyiiza amawanga gagezeeko okutusirisa obutaddamu kubuulira nate. Nga bwe twetaaga Yakuwa okutuyamba leero nga tubuulira, ne mu kiseera ekyo tujja kumwetaaga okutuyamba. Tuli bakakafu nti Katonda waffe ajja kutuwa amaanyi ge twetaaga okutuukiriza by’ayagala.​—Mi. 3:8.

WEETEGEKERE OBULUMBAGANYI OBUJJA OKUKOLEBWA KU BANTU BA KATONDA

10. Nga bwe kiragibwa mu Lukka 21:25-28, ebintu ebinaabaawo mu kibonyoobonyo kinene binaakwata bitya ku bantu abasinga obungi?

10 Soma Lukka 21:25-28. Mu kibonyoobonyo ekinene, abantu bajja kuwuniikirira bwe banaalaba nga buli kintu mu nsi kye baali bataddemu obwesige kisaanawo. Bajja kuba mu “buyinike,” nga beeraliikirira ekigenda okubatuukako mu kiseera ekyo ekigenda okusingayo okuba ekya kazigizigi mu byafaayo by’abantu. (Zef. 1:14, 15) Kirabika mu kiseera ekyo obulamu bujja kweyongera okuba obuzibu ennyo n’eri abantu ba Yakuwa. Olw’okuba tetuli ba nsi, obulamu tebujja kutubeerera bwangu. Tuyinza n’okubulwa ebyetaago ebimu eby’obulamu.

11. (a) Lwaki abantu n’abafuzi b’ensi amaaso gaabwe gonna gajja kuba ku Bajulirwa ba Yakuwa? (b) Lwaki tetusaanidde kutya kibonyoobonyo ekinene?

11 Kirabika ekiseera kijja kutuuka abantu abaali mu madiini agaanaaba gasaanyiziddwawo basunguwalire abantu ba Yakuwa kubanga bo eddiini yaabwe ejja kuba ekyasigaddewo. Kirabika bajja kuweerezeganya obubaka nga buli omu abuulira munne engeri ekyo gye kimulumamu. Amawanga n’omufuzi waago Sitaani, bajja kutukyawa olw’okuba eddiini yaffe yokka y’ejja okuba ng’esigaddewo. Bajja kuba tebatuuse ku kiruubirirwa kyabwe eky’okusaanyaawo amadiini gonna ku nsi. Bwe kityo amaaso gaabwe gonna gajja kuba ku ffe. Mu kiseera ekyo, amawanga gajja kufuuka Googi ow’e Magoogi. * Gajja kwegatta wamu okukola olulumba sinziggu ku bantu ba Yakuwa. (Ezk. 38:2, 14-16) Tuyinza okutandika okweraliikirira ebyo ebinaabaawo mu kibonyoobonyo ekinene, okuva bwe kiri nti tetumanyidde ddala byonna bizingirwamu. Naye tuli bakakafu ku kino: Tetusaanidde kutya kibonyoobonyo ekinene. Yakuwa ajja kutuwa obulagirizi obunaatuyamba okuwonawo. (Zab. 34:19) Tujja ‘kuyimirira busimba era tuyimuse emitwe gyaffe, kubanga okununulibwa kwaffe kujja kuba kutuuse.’ *

12. “Omuddu omwesigwa era ow’amagezi” atuyambye atya okwetegekera ebijja mu maaso?

12 “Omuddu omwesigwa era ow’amagezi” azze atuteekateeka tusobole okusigala nga tuli beesigwa mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene. (Mat. 24:45) Kino akikoze mu ngeri ezitali zimu era emu ku zo ze nkuŋŋaana ennene ez’ennaku esatu ezaaliwo okuva mu 2016 okutuuka mu 2018. Mu nkuŋŋaana ezo twakubirizibwa okwongera okukulaakulanya engeri ze twetaaga okuba nazo ng’olunaku lwa Yakuwa lusembera. Ka tuddemu twejjukanye engeri ezo mu bufunze.

WEEYONGERE OKUKULAAKULANYA OBWESIGWA, OBUGUMIIKIRIZA, N’OBUVUMU

Weetegeke kati okuwonawo mu “kibonyoobonyo ekinene” (Laba akatundu 13-16) *

13. Tuyinza tutya okunyweza obwesigwa bwaffe eri Yakuwa, era lwaki ekyo kikulu nnyo kati?

13 Obwesigwa: Omutwe gw’olukuŋŋaana olunene olw’ennaku esatu olwaliwo mu 2016 gwali gugamba nti “Sigala ng’Oli Mwesigwa eri Yakuwa!” Mu lukuŋŋaana olwo twayiga nti bwe tuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa kituyamba okusigala nga tuli beesigwa gy’ali. Twajjukizibwa nti tusobola okunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa nga tumusaba okuviira ddala ku mutima era nga tunyiikira okusoma Ekigambo kye. Bwe tukola tutyo, tuba tusobola okwaŋŋanga ekizibu kyonna, ka kibe kya maanyi kitya. Ng’enkomerero y’ensi ya Sitaani egende esembera, tusuubira nti obwesigwa bwaffe eri Katonda n’Obwakabaka bwe bugenda kweyongera okugezesebwa ennyo. Kirabika abantu bajja kweyongera okutusekerera n’okutujerega. (2 Peet. 3:3, 4) Ekimu ku biyinza okubaleetera okutusekerera kwe kuba nti tetulina ludda lwe tuwagira mu bya bufuzi by’ensi eno. Tulina okunyweza obwesigwa bwaffe eri Katonda kati tusobola okusigala nga tuli beesigwa mu kibonyoobonyo ekinene.

14. (a) Nkyukakyuka ki eneebaawo mu b’oluganda abatwala obukulembeze ku nsi? (b) Lwaki kijja kutwetaagisa okuba abeesigwa eri Yakuwa mu kiseera ekyo?

14 Mu kibonyoobonyo ekinene, wajja kubaawo enkyukakyuka mu b’oluganda abatwala obukulembeze wano ku nsi. Ekiseera kijja kutuuka, abaafukibwako amafuta bonna abanaaba bakyasigaddewo ku nsi bakuŋŋaanyizibwe batwalibwe mu ggulu basobole okwenyigira mu kulwana olutalo Amagedoni. (Mat. 24:31; Kub. 2:26, 27) Ekyo kitegeeza nti Akakiiko Akafuzi kajja kuba tekakyaliwo ku nsi. Naye ab’ekibiina ekinene bajja kusigala nga bategekeddwa bulungi. Ab’oluganda okuva mu b’endiga endala abalina ebisaanyizo be bajja okuba nga be bakulembera abantu ba Katonda wano ku nsi. Tujja kukiraga nti tuli beesigwa eri Katonda nga tuwagira ab’oluganda abo era nga tukolera ku bulagirizi obuva eri Katonda bwe batuwa. Bwe tuba ab’okuwonawo, tulina okukolera ku bulagirizi bwe banaatuwa!

15. Tuyinza tutya okweyongera okuba abagumiikiriza, era lwaki ekyo kikulu nnyo kati?

15 Obugumiikiriza: Omutwe gw’olukuŋŋaana olunene olw’ennaku esatu olwaliwo mu 2017 gwali gugamba nti “Toggwaamu Maanyi!” Olukuŋŋaana olwo lwatuyamba okumanya engeri y’okwaŋŋangamu ebigezo. Twayiga nti okuba abagumiikiriza tekisinziira ku mbeera gye tubaamu. Bwe tuba ab’okuba abagumiikiriza tulina kwesigama ku Yakuwa. (Bar. 12:12) Tetusaanidde kukyerabira nti Yesu yasuubiza nti: “Oyo agumiikiriza okutuuka ku nkomerero y’alirokolebwa.” (Mat. 24:13) Ebigambo ebyo biraga nti tulina okusigala nga tuli beesigwa, ka tube nga twolekagana na kizibu ki. Bwe tugumira ebigezo byonna bye twolekagana nabyo kati, kituyamba okuba n’okukkiriza okunywevu ng’ekibonyoobonyo ekinene tekinnatandika.

16. Kiki ekituyamba okuba abavumu, era tuyinza tutya okweyongera okuba abavumu kati?

16 Obuvumu: Omutwe gw’olukuŋŋaana olunene olw’ennaku esatu olwaliwo mu 2018 gwali gugamba nti “Beera Muvumu!” Olukuŋŋaana olwo lwatuyamba okukimanya nti obuvumu tebusinziira ku busobozi bwaffe. Okufaananako obugumiikiriza, obuvumu nabwo buva mu kwesiga Yakuwa. Tuyinza tutya okweyongera okwesiga Yakuwa? Nga tusoma Ekigambo kye buli lunaku era nga tufumiitiriza ku ngeri gye yanunulamu abantu be mu biseera by’edda. (Zab. 68:20; 2 Peet. 2:9) Amawanga bwe ganaatulumba mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene, kijja kutwetaagisa okuba abavumu n’okwesiga Yakuwa okusinga bwe kyali kibadde. (Zab. 112:7, 8; Beb. 13:6) Bwe twesiga Yakuwa leero, tujja kusobola okumwesiga ne mu kiseera nga Googi atulumbye. *

WEESUNGE OKUNUNULIBWA

Mu kiseera ekitali kya wala, Yesu n’eggye lye ery’omu ggulu bajja kulwana olutalo Amagedoni bazikirize abalabe ba Katonda! (Laba ekitundu eky’okusoma 41, akatundu 17)

17. Lwaki tetusaanidde kutya lutalo Amagedoni? (Laba ekifaananyi ku ddiba.)

17 Nga bwe twalaba mu kitundu ekyayita, abasinga obungi ku ffe tumaze obulamu bwaffe bwonna nga tuli mu nnaku ez’enkomerero. Naye era tulina essuubi ery’okuwonawo mu kibonyoobonyo ekinene. Olutalo Amagedoni lwe lujja okusaanyizaawo ddala enteekateeka y’ebintu eno. Naye ffe tetulina kutya. Lwaki? Kubanga olutalo olwo lwa Yakuwa, era ffe tetujja kulwana. (Nge. 1:33; Ezk. 38:18-20; Zek. 14:3) Yakuwa bw’anaawa ekiragiro, Yesu ajja kukulemberamu eggye lya Yakuwa okulwana olutalo olwo. Yesu ajja kubeera wamu n’abaafukibwako amafuta abanaaba baazuukizibwa, awamu ne bamalayika bangi nnyo. Bajja kulwanyisa Sitaani, badayimooni, n’amagye g’amawanga.​—Dan. 12:1; Kub. 6:2; 17:14.

18. (a) Kiki Yakuwa ky’atukakasa? (b) Ebigambo ebiri mu Okubikkulirwa 7:9, 13-17 bikugumya bitya?

18 Yakuwa atukakasa nti ‘tewali kya kulwanyisa ekiriweesebwa okutulwanyisa ekiriba n’omukisa.’ (Is. 54:17) “Ekibiina ekinene” eky’abaweereza ba Yakuwa abeesigwa bajja ‘kuyita mu kibonyoobonyo ekinene’ nga balamu, era bajja kweyongera okumuweereza! (Soma Okubikkulirwa 7:9, 13-17.) Mazima ddala Bayibuli etuwa ensonga nnyingi okuba abakakafu nti tujja kulokolebwa! Tukimanyi nti “Yakuwa akuuma abeesigwa.” (Zab. 31:23) Abo bonna abaagala Yakuwa era abamutendereza bajja kusanyuka nnyo okulaba ng’aggye enziro ku linnya lye ettukuvu.​—Ezk. 38:23.

19. Biseera ki ebirungi ennyo ebitulindiridde mu maaso awo?

19 Lowooza ku engeri ebigambo ebiri mu 2 Timoseewo 3:2-5 gye biyinza okusomamu nga byogera ku bantu abanaabeera mu nsi empya eteribaamu Sitaani. (Laba akasanduuko “ Engeri Abantu Gye Baneeyisaamu mu Biseera Ebyo.”) Ow’oluganda George Gangas, * eyaweereza ku Kakiiko Akafuzi yayogera bw’ati ku bantu abaliba mu nsi empya: “Ensi ejja kuba nnungi nnyo nga buli muntu agiriko asinza Yakuwa! Mu kiseera ekitali kya wala ojja kuba n’enkizo ey’okubeera mu nsi empya. Ojja kubeerawo emirembe gyonna nga Yakuwa bw’aliwo emirembe gyonna. Tujja kubeerawo emirembe gyonna.” Eryo nga ssuubi lya kitalo nnyo!

OLUYIMBA 122 Ba Munywevu, Tosagaasagana!

^ lup. 5 Tukimanyi nti mu kiseera ekitali kya wala, “ekibonyoobonyo ekinene” ekigenda okukwata ku bantu bonna kigenda kujja. Kiki ekinaatuuka ku bantu ba Yakuwa mu kiseera ekyo? Kiki Yakuwa ky’ajja okutusuubira okukola mu kiseera ekyo? Ngeri ki ze tulina okukulaakulanya kati tusobole okusigala nga tuli beesigwa mu kiseera ekyo? Ebibuuzo ebyo bigenda kuddibwamu mu kitundu kino.

^ lup. 3 EBIGAMBO EBINNYONNYOLWA: Kristendomu ge madiini gonna ageegamba okuba nti gakkiririza mu Kristo naye nga tegayigiriza bantu kusinza Yakuwa nga bw’ayagala.

^ lup. 11 EBIGAMBO EBINNYONNYOLWA: Ebigambo Googi ow’e Magoogi (oba mu bufunze Googi) bitegeeza amawanga agajja okwegatta awamu okulwanyisa okusinza okulongoofu mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene.

^ lup. 11 Okumanya ebisingawo ku bintu byonna ebinaabaawo ng’olutalo Amagedoni terunnatandika, laba essuula 21 ey’ekitabo God’s Kingdom Rules! Ate okumanya ebisingawo ku bikwata ku bulumbaganyi bwa Googi ow’e Magoogi n’engeri Yakuwa gy’ajja okulwaniriramu abantu be ku Amagedoni, laba essuula 17 ne 18 mu kitabo Yakuwa Azzaawo Okusinza Okulongoofu!

^ lup. 16 Olukuŋŋaana olunene olw’ennaku essatu olwa 2019 olulina omutwe “Okwagala Tekulemererwa!” lutukakasa nti olw’okuba Yakuwa atwagala, ajja kutukuuma.​—1 Kol. 13:8.

^ lup. 19 Laba ekitundu “Ebintu Bye Yakola Bigenda Naye” mu Watchtower eya Ddesemba 1, 1994.

^ lup. 65 EBIFAANANYI: Mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene Abajulirwa ba Yakuwa abatonotono boolese obuvumu ne bakuŋŋaanira wamu mu kibira okusinza.

^ lup. 67 EBIFAANANYI: Ekibiina ekinene eky’abaweereza ba Yakuwa bajja kuyita mu kibonyoobonyo ekinene nga balamu era nga basanyufu!