1920—Emyaka 100 Emabega
OKUVA ku ntandikwa y’omwaka gwa 1920 abantu ba Yakuwa bazzibwamu amaanyi okusobola okukola omulimu ogwali gubalindiridde. Ekyawandiikibwa ky’omwaka kye baalonda mu 1920 kyali kigamba nti, “Mukama ge maanyi gange, lwe luyimba lwange.”—Zab. 118:14, Enkyusa ya King James.
Mazima ddala Yakuwa yawa ababuulizi abo abanyiikivu amaanyi. Mu mwaka ogwo, omuwendo gwa bakolopoota, oba bapayoniya, gwalinnya okuva ku 225 ne batuuka ku 350. Ate era n’omuwendo gw’ababuulizi gwatuuka ku ntikko empya, bwe baawera ababuulizi abasukka mu 8,000. Tewali kubuusabuusa nti Yakuwa yabawa omukisa.
BOOLEKA OBUNYIIKIVU OBW’EKITALO
Nga Maaki 21, 1920, Joseph F. Rutherford, mu kiseera ekyo eyali atwala obukulembeze mu Bayizi ba Bayibuli, yawa emboozi eyalina omutwe ogugamba nti, “Abantu Bukadde na Bukadde Abaliwo Kati Tebagenda Kufa.” Abayizi ba Bayibuli baakola butaweera okuyita abantu okujja okuwuliriza emboozi eyo. Baapangisa ekimu ku bizimbe ebyali bisingayo obunene ebyali biragirwamu emizannyo mu kibuga New York, era baagaba obupapula obuyita abantu 320,000.
Abantu bangi nnyo bajja okuwuliriza emboozi eyo. Abantu abasukka mu 5,000 be baasobola okugya mu kizimbe ekyo, era abalala nga 7,000 tebaasobola kuyingira. Watch Tower yagamba nti, “Olwo lwe lumu ku nkuŋŋaana z’Abayizi ba Bayibuli ezaasingayo okwettanirwa.”
Abayizi ba Bayibuli baamanyibwa nnyo olw’okulangirira nti, “abantu bukadde na bukadde abaliwo kati tebagenda kufa.” Mu kiseera ekyo baali tebannamanya nti obubaka bw’Obwakabaka bwali bukyalina okubuulirwa ku kigero ekinene ennyo. Wadde kyali kityo, baali banyiikivu nnyo. Ida Olmstead, eyatandika okubangawo mu nkuŋŋaana mu 1902, yagamba nti, “Twali tukimanyi nti Katonda yasuubiza okuwa abantu emikisa mingi mu biseera eby’omu maaso era amawulire ago amalungi twafuba okugabuulira abantu.”
TWEKUBIRA EBITABO
Okusobola okukakasa nti wabaawo emmere ey’eby’omwoyo emala, ab’oluganda ku Beseri baatandika okukuba ebimu ku bitabo byaffe. Baagula ebyuma ebikuba ebitabo ne babiteeka mu kizimbe ekimu kye baapangisa mu Brooklyn, New York, ekitaali wala nnyo okuva ku Beseri.
Leo Pelle ne Walter Kessler bajja okuweereza ku Beseri mu Jjanwali 1920. Walter agamba nti: “Bwe twatuuka, ow’oluganda eyali alabirira omulimu gw’okukuba ebitabo yatugamba nti, ‘Ebulayo essaawa emu n’ekitundu, eky’emisana kituuke.’ Yatulagira okusomba bbokisi z’ebitabo okuva mu kisenge ekya wansi.”
Leo yayogera ku ekyo ekyaliwo olunaku olwaddako. Yagamba nti: “Baatuwa omulimu gw’okukuuta
ebisenge by’ekizimbe omwali mugenda okukubirwanga ebitabo. Ebisenge ebyo byali biddugala nnyo naye olw’okuba twali tukolera Mukama, twanyumirwa okukola omulimu ogwo.”Mu wiiki ntono, ab’oluganda baatandika okukuba Watch Tower. Kopi 60,000 eza Watch Tower eya Febwali 1, 1920, ze zaasooka okukubirwa mu kizimbe ekyo. Ate era mu kiseera kye kimu, ab’oluganda baali bateekateeka mu kisenge ekya wansi ekyuma ekirala ekikuba ebitabo kye baatuuma Battleship. Magazini ya The Golden Age nayo baatandika okugyekubira era baatandikira ku ya Apuli 14, 1920. Awatali kubuusabuusa, Yakuwa yawa omukisa okufuba kw’ab’oluganda abo.
“Olw’okuba twali tukolera Mukama, twanyumirwa okukola omulimu ogwo”
“KA TUBEERE MU MIREMBE”
Abantu ba Yakuwa abeesigwa baali bazzeemu okukola omulimu nga bali bumu. Naye abamu ku Bayizi ba Bayibuli baali bavudde ku kibiina mu kiseera ekizibu okuva mu 1917 okutuuka mu 1919. Kiki ekyali kiyinza okukolebwa okubayamba?
Watch Tower eya Apuli 1, 1920, yalimu ekitundu ekyalina omutwe ogugamba nti “Ka Tubeere mu Mirembe.” Yakubiriza abaali bavudde ku kibiina nti: “Tuli bakakafu nti . . . buli alina omwoyo gwa Mukama . . . mwetegefu okwerabira ebintu eby’emabega, . . . yeegatte ku bantu ba Katonda okukola omulimu gwe.”
Bangi baawuliriza ebigambo ebyo. Ow’oluganda omu ne mukyala we baawandiika nti: “Tukirabye nti omwaka oguyise awamu n’emirala gye tumaze nga tetulina kye tukola ng’abalala bagenda mu maaso n’omulimu gw’okubuulira, tubadde tukola nsobi. . . . Tetwagala kuddamu kukola nsobi eyo.” Ab’oluganda abo abaali bazzeemu okwegatta ku kibiina, baalina emirimu mingi egyali gibalindiridde.
OKUGABA “ZG”
Nga Jjuuni 21, 1920, Abayizi ba Bayibuli baatandika kaweefube ow’okugaba “ZG,” nga kino kye kitabo The Finished Mystery * ekyalina eddiba eggonvu. Kopi z’ekitabo ekyo nnyingi zaali zaaterekebwa bwe kyawerebwa mu 1918.
Ababuulizi bonna, so si bakolopoota bokka, baakubirizibwa okwenyigira mu mulimu gw’okugaba ekitabo ekyo. Ab’oluganda baakubirizibwa nti: “Buli muntu omubatize mu buli kibiina asobola okwenyigira mu kugaba ekitabo kino, akole omulimu ogwo n’essanyu. Eno k’ebe eŋŋombo ya buli omu: ‘Ekintu kimu kye nkola’; kugaba ZG.” Edmund Hooper yagamba nti, eri bangi, okugaba ekitabo ekyo gwe gwali omulundi gwabwe ogusooka okubuulira nnyumba ku nnyumba. Yagattako nti, “Twatandika okutegeera ekyali kizingirwa mu mulimu guno ogwali ogw’okukolebwa ku kigero ekinene ennyo.”
OKUDDAMU OKUTEEKATEEKA OMULIMU MU BULAAYA
Olw’okuba mu kiseera kya Ssematalo I tekyali kyangu kuwuliziganya na Bayizi ba Bayibuli mu nsi endala, Ow’oluganda Rutherford yayagala okuzzaamu ab’oluganda abo amaanyi n’okuddamu okuteekateeka omulimu gw’okubuulira mu nsi ezo. N’olwekyo nga Agusito 12, 1920, ye awamu n’ab’oluganda abalala bana baagenda okukyala mu Bungereza ne mu nsi endala nnyingi.
Rutherford bwe yakyala mu Bungereza, Abayizi ba Bayibuli mu nsi eyo baafuna enkuŋŋaana ennene ssatu n’enkuŋŋaana entono 12. Abantu abaaliwo mu nkuŋŋaana ezo bonna awamu baali nga 50,000. Ng’eyogera ku lukyala olwo, Watch Tower yagamba nti: “Ab’oluganda bazzibwamu nnyo amaanyi. Baakuŋŋaana wamu era ne bakolera wamu era ekyo kyabaleetera essanyu lingi.” Mu kibuga Paris, Ow’oluganda Rutherford yaddamu okuwa emboozi eyalina omutwe “Abantu Bukadde na Bukadde Abaliwo Kati Tebagenda Kufa.” Emboozi eyo bwe yatandika, ekizimbe kyakubako abantu. Abantu 300 baasaba okuyambibwa okumanya ebisingawo.
Mu wiiki ezaddirira, abamu ku b’oluganda baagendako mu Athens, mu Cairo, ne mu Yerusaalemi. Okusobola okuyamba abantu abaali baagala okumanya ebisingawo mu bitundu ebyo, Ow’oluganda Rutherford yassaawo ekifo awatuukira ebitabo mu kibuga Ramallah, okumpi ne Yerusaalemi. Oluvannyuma yaddayo mu Bulaaya n’atandikawo ofiisi y’ettabi ey’omu massekkati ga Bulaaya era n’akola enteekateeka ebitabo bitandike okukubirwangayo.
OKWANIKA OBUTALI BWENKANYA
Omwaka gwa 1920 bwe gwali gunaatera okuggwaako, Abayizi ba Bayibuli baafulumya magazini ya Golden Age Na. 27, era magazini eyo yalaga engeri Abayizi ba Bayibuli gye baayigganyizibwamu mu mwaka gwa 1918. Ekyuma ekikuba ebitabo ekiyitibwa Battleship ekyogeddwako waggulu kyakola
emisana n’ekiro okusobola okufulumya kopi za magazini eyo obukadde obusukka mu buna.Abasomi ba magazini eyo baasoma ku musango ogwaggulwa ku Emma Martin. Mwannyinaffe Martin yali aweereza nga kolopoota mu San Bernardino, California. Nga Maaki 17, 1918, ye awamu n’ab’oluganda basatu, E. Hamm, E. J. Sonnenburg, ne E. A. Stevens, baagenda mu lukuŋŋaana lw’Abayizi ba Bayibuli.
Omu ku basajja abaaliwo ku lukuŋŋaana olwo yali tazze kuyiga bikwata ku Bayibuli. Oluvannyuma omusajja oyo bwe yali awa obujulizi mu kkooti yagamba nti: “Ofiisi y’omuwaabi wa gavumenti yansindika okugenda . . . mu lukuŋŋaana olwo. Yansindikayo okugenda okufuna obujulizi.” Yafuna obujulizi bwe yali ayagala era ng’eno yali kopi y’ekitabo The Finished Mystery. Nga wayise ennaku ntono, Mwannyinaffe Martin n’ab’oluganda abo abasatu baakwatibwa. Baggulwako omusango ogw’okumenya amateeka nga bagaba ekitabo ekyali kyawerebwa.
Emma ne banne baasingisibwa omusango era baasalirwa ekibonerezo kya kusibibwa emyaka esatu. Olw’okuba emirundi gye baali bakkirizibwa okujulira gyali giweddeyo, nga Maayi 17, 1920 baasindikibwa mu kkomera. Naye mu kiseera kitono ebintu byakyuka.
Nga Jjuuni 20, 1920, Ow’oluganda Rutherford yabuulira abaaliwo ku lukuŋŋaana olunene olwali mu San Francisco, ebyali bituuse ku Mwannyinaffe Martin ne banne. Ekyo kyanakuwaza nnyo abaaliwo ku lukuŋŋaana olwo era ne bawandiikira pulezidenti wa Amerika ebbaluwa. Baamugamba nti: “Tukiraba nti omusango ogwasingisibwa . . . Muky. Martin . . . tegwasalibwa mu bwenkanya . . . Ekikolwa ky’abawaabi ba gavumenti okukozesa obuyinza bwabwe . . . okutega . . . Muky. Martin . . . oluvannyuma ne bamuggulako omusango era ne bamusindika mu kkomera tukivumirira . . . era si kya buntu bulamu.”
Olunaku olwaddako, Pulezidenti Woodrow Wilson yasazaamu ekibonerezo ekyali kisaliddwa Mwannyinaffe Martin n’Ow’oluganda Hamm, Sonnenburg, ne Stevens. Mwannyinaffe oyo ne baganda baffe abo baateebwa.
Omwaka gwa 1920 we gwaggwerako, Abayizi ba Bayibuli baalina bingi ebyali bibaleetedde essanyu. Emirimu ku kitebe ekikulu gyali gyeyongedde era Abakristaayo ab’amazima baali babuulira n’obunyiikivu nti Obwakabaka bwa Katonda bwe bwokka obujja okugonjoolera ddala ebizibu by’abantu. (Mat. 24:14) Mu mwaka gwa 1921, omulimu gw’Okulangirira Obwakabaka gwali gugenda kukolebwa ne ku kigero ekisingawo.
^ lup. 18 Ekitabo The Finished Mystery gwali muzingo gwa musanvu ogw’ekitabo Studies in the Scriptures. Omuzingo ogwo ogw’omusanvu gwatuumibwa erinnya “ZG” era gwafulumizibwa nga magazini ya Watch Tower eya Maaki 1, 1918. Ennukuta “Z” yali etegeeza Zion’s Watch Tower, ate “G,” ennukuta ey’omusanvu mu walifu, yali etegeeza omuzingo ogw’omusanvu.