Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 41

Okuyigiriza Omuntu Bayibuli n’Atuuka Okubatizibwa​—Ekitundu Ekisooka

Okuyigiriza Omuntu Bayibuli n’Atuuka Okubatizibwa​—Ekitundu Ekisooka

“Kyeyolese bulungi nti muli bbaluwa ya Kristo gye twawandiika ffe ng’abaweereza.”​—2 KOL. 3:3.

OLUYIMBA 78 ‘Okuyigiriza Ekigambo kya Katonda’

OMULAMWA *

Bonna mu kibiina basanyuka nnyo omuyizi wa Bayibuli bw’akulaakulana n’atuuka ku ddaala ery’okubatizibwa. (Laba akatundu 1)

1. Ebiri mu 2 Abakkolinso 3:1-3 bituyamba bitya okusiima enkizo gye tulina ey’okuyigiriza omuntu Bayibuli n’atuuka okubatizibwa? (Laba ekifaananyi ku ddiba.)

OWULIRA otya bw’olaba ng’omu ku bayizi ba Bayibuli mu kibiina kyo abatiziddwa? Awatali kubuusabuusa kikusanyusa nnyo! (Mat. 28:19) Ate bw’oba nga ggwe wasomesa omuntu oyo, osanyuka nnyo n’okusingawo! (1 Bas. 2:19, 20) Abayigirizwa ababa babatiziddwa baba ‘mabaluwa agasemba,’ si abo bokka ababa babasomesezza, wabula n’ekibiina kyonna.​—Soma 2 Abakkolinso 3:1-3.

2. (a) Kibuuzo ki ekikulu kye twetaaga okulowoozaako, era lwaki? (b) Omuyizi wa Bayibuli y’ani? (Laba obugambo obuli wansi.)

2 Kisanyusa nnyo okuba nti emyaka ena egiyise, okutwaliza awamu, abantu nga 10,000,000 be babadde bayigirizibwa Bayibuli * okwetooloola ensi. Era okutwaliza awamu, mu myaka egyo, abantu abasukka mu 280,000 be babadde babatizibwa buli mwaka ne bafuuka Abajulirwa ba Yakuwa era abayigirizwa ba Yesu Kristo. Tuyinza tutya okwongera ku muwendo gw’abayizi ba Bayibuli be tuyamba okutuuka ku kubatizibwa? Nga Yakuwa akyaleseewo akakisa abantu okufuuka abayigirizwa ba Kristo, twagala okukola kyonna kye tusobola okubayamba okutuuka ku kubatizibwa amangu ddala nga bwe kisoboka. Ekiseera ekisigaddeyo kitono nnyo!​—1 Kol. 7:29a; 1 Peet. 4:7.

3. Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

3 Olw’okuba kikulu nnyo kati okufuula abantu abayigirizwa, ofiisi z’amatabi zaabuuzibwa ku kiyinza okukolebwa okwongera okuyamba abayizi ba Bayibuli okutuuka ku ddala ery’okubatizibwa. Mu kitundu kino n’ekiddako tugenda kulaba bye tuyigira ku bapayoniya abalina obumanyirivu, abaminsani, n’abalabirizi abakyalira ebibiina. * (Nge. 11:14; 15:22) Balaga ebyo omusomesa n’omuyizi wa Bayibuli bye basobola okukola omuyizi wa Bayibuli asobole okuganyulwa mu bujjuvu mu kuyiga. Mu kitundu kino, tugenda kulaba ebintu bitaano buli muyizi bye yeetaaga okukola okusobola okukulaakulana okutuuka ku kubatizibwa.

OKUYIGA BULI WIIKI

Buuza omuyizi obanga waliwo we muyinza okutuula ne muyigira awo Bayibuli (Laba akatundu 4-6)

4. Kiki kye tusaanidde okumanya ku kuyigirizanga omuntu Bayibuli okumala akaseera katono?

4 Baganda baffe ne bannyinaffe bangi bayigiririza abantu Bayibuli ku mulyango. Wadde ng’eyo ngeri nnungi ey’okuyambamu omuntu okwagala okuyiga ebisingawo ku Bayibuli, emirundi mingi okuyiga okwo kuba kumpi era kuyinza n’obutabaawo buli wiiki. Okusobola okuyamba omuntu okweyongera okwagala okuyiga, abamu bamusaba ennamba ye ey’essimu ne bamukubirako oba ne bamuweereza mesegi ekwata ku nsonga emu okuva mu Bayibuli mu nnaku endala nga tebannaddayo kumukyalira. Oluusi kitwala emyezi nga bakubaganya ebirowoozo n’omuntu ku Bayibuli mu ngeri eyo. Naye singa omuyizi tayongera kufuba era tayongera ku biseera by’amala ng’ayiga Bayibuli, ddala asobola okukulaakulana n’atuuka okwewaayo n’okubatizibwa? Kirabika nedda.

5. Okusinziira ku Lukka 14:27-33, kiki Yesu kye yayogera ekisobola okutuyamba mu mulimu gw’okufuula abantu abayigirizwa?

5 Lumu Yesu yawa ebyokulabirako ebiraga omuntu ky’asaanidde okukola bw’aba ayagala okuba omuyigirizwa we. Yayogera ku muntu ayagala okuzimba omunaala, ne ku kabaka ayagala okugenda okulwana ne kabaka omulala. Yesu yagamba nti oyo ayagala okuzimba alina ‘okusooka okutuula wansi n’abalirira ebyetaagisa’ okumaliriza omunaala era nti kabaka alina ‘okusooka okutuula wansi ne yeebuuza’ obanga eggye lye lisobola okutuukiriza ky’ayagala okukola. (Soma Lukka 14:27-33.) Mu ngeri y’emu, Yesu yali akimanyi nti omuntu ayagala okufuuka omuyigirizwa we alina okusooka okufumiitiriza ennyo ku kye kitegeeza okuba omugoberezi wa Yesu. Eyo ye nsonga lwaki tulina okukubiriza abayizi ba Bayibuli okuyiganga naffe buli wiiki. Ekyo tuyinza kukikola tutya?

6. Kiki kye tuyinza okugezaako okukola okusobola okuyamba omuyizi okukulaakulana?

6 Genda ng’oyongeza ku biseera bye mumala nga mukubaganya ebirowoozo ku mulyango. Oboolyawo oyinza okwogera ku nsonga esukka mu emu okuva mu Byawandiikibwa buli lw’ogendayo okumuyigiriza. Omuntu bw’amanyiira okuyigira ekiseera ekiwanvuko, oyinza okumubuuza obanga waliwo we muyinza okutuula ne muyigira awo. Ekyo ky’addamu kiyinza okukulaga obanga ddala okuyiga Bayibuli akitwala nga kikulu. Okusobola okumuyamba okukulaakulana amangu, oyinza okumubuuza obanga yandyagadde okuyiga emirundi ebiri mu wiiki. Naye okuyiga naye omulundi gumu oba ebiri buli wiiki ku bwakyo tekimala.

OKWETEGEKERA BULI LUSOMA

Tegeka bulungi ng’ogenda okuyigiriza omuyizi, era mulage engeri y’okutegekamu (Laba akatundu 7-9)

7. Omusomesa ayinza atya okwetegeka obulungi buli lw’aba agenda okuyigiriza omuntu?

7 Omusomesa, olina okutegeka obulungi buli lw’oba ogenda okuyigiriza omuntu. Kino osobola okukikola ng’osoma ebiri mu kitundu kye mugenda okuyiga naye era ng’osoma n’ebyawandiikibwa ebikirimu. Tegeera bulungi ensonga enkulu ezikirimu. Lowooza ku mutwe gw’essomo, emitwe emitono, ebibuuzo, ebyawandiikibwa ebiriko “soma,” ebifaananyi, ne vidiyo ezisobola okuyambako mu kunnyonnyola ensonga eyogerwako. Ng’olowooza ku muyizi wo, fumiitiriza ku ngeri gy’oyinza okumuyigiriza ebintu mu ngeri ennyangu era etegeerekeka obulungi asobole okubitegeera n’okubikolerako.​—Nek. 8:8; Nge. 15:28a.

8. Ebigambo ebiri mu Abakkolosaayi 1:9, 10 bituyigiriza ki ku kusabira abayizi baffe aba Bayibuli?

8 Ate era mu kweteekateeka, saba Yakuwa omutegeeze ku muyizi wo n’ebyetaago bye. Musabe akuyambe okuyigiriza omuntu oyo Bayibuli mu ngeri eneemutuuka ku mutima. (Soma Abakkolosaayi 1:9, 10.) Gezaako okulowooza ku bintu ebiyinza okuzibuwalira omuyizi okutegeera oba okukkiriza. Kijjukirenga nti ekigendererwa kyo kya kumuyamba kutuuka ku ddaala ery’okubatizibwa.

9. Omusomesa ayinza atya okuyamba omuyizi okwetegekera okusoma? Nnyonnyola.

9 Tusuubira nti bw’osomesa omuyizi obutayosa kijja kumuyamba okusiima ebyo Yakuwa ne Yesu bye baamukolera era ajja kwagala okuyiga ebisingawo. (Mat. 5:3, 6) Okusobola okuganyulwa mu bujjuvu mu kuyiga, omuyizi alina okussaayo omwoyo ku ebyo by’ayiga. Ekyo okusobola okumuyamba okukikola, muyambe okulaba ensonga lwaki kikulu okutegeka buli kitundu kye muba mugenda okusoma, ng’akisomamu nga bukyali era ng’afumiitiriza ku ngeri gye kimukwatako. Oyinza otya okumuyamba? Funayo essomo limu olitegekere wamu naye asobole okuyiga engeri y’okutegekamu. * Mulage engeri y’okuzuulamu eby’okuddamu mu bibuuzo, era mulage nti okusazaako ku bigambo bitono ebikulu kijja kumuyamba okujjukira eky’okuddamu. Oluvannyuma mugambe awe eky’okuddamu mu bigambo bye. Bw’akola bw’atyo, kijja kukuyamba okumanya obanga ategedde bulungi by’omuyigirizza. Naye era waliwo n’ekintu ekirala ky’olina okukubiriza omuyizi okukola.

MUYIGIRIZE OKWOGERA NE YAKUWA N’OKUMUWULIRIZA BULI LUNAKU

Yigiriza omuyizi wo okwogera ne Yakuwa n’okumuwuliriza (Laba akatundu 10-11)

10. Lwaki kikulu okusoma Bayibuli buli lunaku, era kiki ekyetaagisa okusobola okuganyulwa mu kugisoma?

10 Ng’oggyeeko okumuyigiriza Bayibuli buli wiiki, omuyizi aganyulwa nnyo bw’abaako ebintu ebimu bye yeekolera buli lunaku. Alina okuwuliziganya ne Yakuwa. Akikola atya? Ng’amuwuliriza era ng’ayogera naye. Asobola okuwuliriza Yakuwa ng’asoma Bayibuli buli lunaku. (Yos. 1:8; Zab. 1:1-3) Mulage engeri gy’ayinza okukozesaamu “Enteekateeka y’Okusoma Bayibuli” eri ku jw.org. * Okusobola okumuyamba okuganyulwa mu kusoma Bayibuli, mukubirize okufumiitiriza ku ki ebyo by’asoma mu Bayibuli kye bimuyigiriza ku Yakuwa n’engeri gy’ayinza okubikolerako mu bulamu bwe.​—Bik. 17:11; Yak. 1:25.

11. Omuyizi ayinza atya okuyiga okusaba mu ngeri entuufu, era lwaki kikulu gy’ali okusabanga Yakuwa obutayosa?

11 Kubiriza omuyizi wo okwogeranga ne Yakuwa ng’amusaba buli lunaku. Saba essaala eziviira ddala ku mutima nga mugenda okutandika okusoma n’oluvannyuma lw’okusoma era omuyizi wo mwogereko mu ssaala ezo. Bw’awuliriza essaala zo ajja kuyiga okusaba okuviira ddala ku mutima era ajja kusaba Yakuwa mu bwesimbu ng’ayitira mu Yesu Kristo. (Mat. 6:9; Yok. 15:16) Tewali kubuusabuusa nti okusoma Bayibuli buli lunaku (okuwuliriza Yakuwa) n’okusaba (okwogera ne Yakuwa) kijja kuyamba omuyizi wo okusemberera Katonda! (Yak. 4:8) Omuyizi wo bw’ayiga okukolanga ebintu ebyo kijja kumuyamba okufuna ekintu ekirala ekijja okumusobozesa okutuuka ku ddaala ery’okwewaayo n’okubatizibwa.

MUYAMBE OKUFUNA ENKOLAGANA EYIYE KU BUBWE NE YAKUWA

12. Omusomesa ayinza atya okuyamba omuyizi okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa?

12 Ebyo omuyizi by’ayiga mu kuyigirizibwa Bayibuli tebirina kukwata ku ndowooza ye yokka naye birina n’okukwata ku mutima gwe. Lwaki? Omutima gwaffe, kwe kugamba, ebyo bye twagala awamu n’enneewulira yaffe, gwe gutuleetera okubaako kye tukolawo. Yesu yayigirizanga mu ngeri etegeerekeka era abantu baayagalanga bye yayigirizanga. Naye abantu baamugoberera olw’okuba yabatuukanga ku mutima. (Luk. 24:15, 27, 32) Omuyizi wo alina okukiraba nti Yakuwa wa ddala, nti asobola okufuna enkolagana naye, era nti asobola okumutwala nga Kitaawe, Katonda we, era Mukwano gwe. (Zab. 25:4, 5) Bw’oba ng’omuyigiriza muyambe okulaba engeri za Katonda. (Kuv. 34:5, 6; 1 Peet. 5:6, 7) Ka libe ssomo ki ly’oba osoma naye, muyambe okulaba engeri ezo. Muyambe okulaba okwagala kwa Yakuwa, ekisa kye, n’obusaasizi bwe. Yesu yagamba nti ‘etteeka erisinga obukulu era erisooka’ kwe ‘kwagala Yakuwa Katonda wo.’ (Mat. 22:37, 38) Fuba okuyamba omuyizi wo okwagala ennyo Katonda.

13. Oyinza otya okuyamba omuyizi wo okumanya engeri za Yakuwa?

13 Bw’oba onyumya n’omuyizi wo, mulage ensonga lwaki oyagala nnyo Yakuwa. Ekyo kiyinza okumuyamba okukiraba nti yeetaaga okufuna enkolagana eyiye ku bubwe ne Katonda. (Zab. 73:28) Ng’ekyokulabirako, waliwo ebigambo mu kitabo kye musoma oba mu kyawandiikibwa ebirina kye biraga ku Yakuwa, gamba ng’okwagala kwe, amagezi ge, obwenkanya bwe, oba amaanyi ge, ebikukwatako ennyo? Bibuulire omuyizi wo era omulage nti eyo y’emu ku nsonga lwaki oyagala nnyo Kitaffe ow’omu ggulu. Waliwo n’ekintu ekirala buli muyizi wa Bayibuli ky’alina okukola okusobola okutuuka ku ddaala ery’okubatizibwa.

MUKUBIRIZE OKUJJANGA MU NKUNŊŊAANA

EKubiriza omuyizi wo okutandika okujjanga mu nkuŋŋaana amangu ddala nga bwe kisoboka! (Laba akatundu 14-15)

14. Abebbulaniya 10:24, 25 walaga ki ekikwata ku nkuŋŋaana ekisobola okuyamba omuyizi wa Bayibuli okukulaakulana?

14 Ffenna twagala abayizi baffe okukulaakulana batuuke ku ddaala ery’okubatizibwa. Engeri emu gye tusobola okubayambamu kwe kubakubiriza okubangawo mu nkuŋŋaana. Abasomesa abalina obumanyirivu bagamba nti abayizi abatandikirawo okujja mu nkuŋŋaana bakulaakulana mangu. (Zab. 111:1) Abasomesa abamu bagamba abayizi baabwe nti balina ebintu bingi bye bajja okuyiga mu nkuŋŋaana bye batasobola kuyiga nga basoma nabo. Soma Abebbulaniya 10:24, 25 n’omuyizi wo, era omulage emiganyulo gy’ajja okufuna ng’azze mu nkuŋŋaana. Mulage vidiyo Biki Ebikolebwa mu Kingdom Hall? * Yamba omuyizi wo okuba omumalirivu obutayosa kubangawo mu nkuŋŋaana.

15. Kiki kye tuyinza okukola okuyamba omuyizi okubangawo mu nkuŋŋaana obutayosa?

15 Kiki ky’oyinza okukola singa omuyizi wo tajjangako mu nkuŋŋaana oba ng’ayosa enkuŋŋaana? Yogera n’ebbugumu ku kintu ekimu kye wayize mu lukuŋŋaana gye buvuddeko awo. Bw’alaba engeri gy’otwalamu enkuŋŋaana kiyinza okumukubiriza okujja. Muwe Omunaala gw’Omukuumi oba Obulamu bw’Ekikristaayo ebisomebwa mu nkuŋŋaana mu kiseera ekyo. Mulage ebigenda okusomebwa mu lukuŋŋaana oluddako, era omubuuze ekisinga okumukwatako. Ebyo omuyizi by’alaba ne by’awulira ng’azze mu lukuŋŋaana olusooka biba bisingira wala bye yali alabye oba awulidde mu lukuŋŋaana olulala lwonna olw’eddiini. (1 Kol. 14:24, 25) Bw’ajja mu nkuŋŋaana asisinkana abalala b’asobola okukoppa era abasobola okumuyamba okukulaakulana n’atuuka okubatizibwa.

16. Kiki ekyetaagisa okusobola okuyigiriza omuntu Bayibuli n’atuuka ku ddaala ery’okubatizibwa, era biki bye tujja okulaba mu kitundu ekiddako?

16 Tuyinza tutya okuyigiriza omuntu Bayibuli n’atuuka okubatizibwa? Tusobola okuyamba omuyizi okutwala okuyiga nga kukulu nga tumukubiriza okuyiga naffe buli wiiki n’okutegeka buli kitundu kye tuba tugenda okusoma naye. Era tusaanidde okumukubiriza okwogeranga ne Yakuwa n’okumuwuliriza buli lunaku era n’okufuna enkolagana eyiye ku bubwe naye. Ate era tusaanidde okumwagazisa okubangawo mu nkuŋŋaana. (Laba akasanduuko “ Ebyo Omuyizi Bye Yeetaaga Okukola Okusobola Okubatizibwa,” ku lupapula 12,) Naye ng’ekitundu ekiddako bwe kiraga, waliwo ebintu ebirala bitaano omusomesa by’asobola okukola okuyamba omuyizi okutuuka ku ddaala ery’okubatizibwa.

OLUYIMBA 76 Owulira Essanyu Lingi

^ lup. 5 Okuyigiriza omuntu kitegeeza okumuyamba “okulowooza, okuwulira, oba okweyisa mu ngeri endala.” Ekyawandiikibwa kyaffe eky’Omwaka 2020, Matayo 28:19, kituyambye okulaba obukulu bw’okuyigiriza abantu Bayibuli n’okubayamba okufuuka abayigirizwa ba Yesu Kristo ababatize. Mu kitundu kino n’ekiddako, tugenda kulaba engeri gye tuyinza okulongoosa mu ngeri gye tukolamu omulimu ogwo omukulu ennyo.

^ lup. 2 EBIGAMBO EBINNYONNYOLWA: Bw’oba ng’okubaganya ebirowoozo n’omuntu ku Bayibuli obutayosa era mu ngeri entegeke, aba muyizi wa Bayibuli. Bw’oba nga walaga omuntu engeri gye tuyigirizaamu abantu Bayibuli era ng’oyizeeko naye emirundi ebiri ate era ng’okiraba nti mujja kugenda mu maaso n’okuyiga, osobola okumuwandiika ku lipoota ng’omuyizi.

^ lup. 3 Ebitundu bino birimu n’amagezi agaali mu bitundu ebyalina omutwe “Okuyamba Abayizi ba Baibuli Okukulaakulana” ebyafulumira mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka okuva mu Jjulaayi 2004 okutuuka mu Maayi 2005.

^ lup. 9 Laba vidiyo ey’eddakiika ennya, Okuyigiriza Abayizi Baffe Okutegeka. Ku JW Library®, genda ku MEDIA > OUR MEETINGS AND MINISTRY > IMPROVING OUR SKILLS.

^ lup. 10 Genda ku LAYIBULALE > EBITABO N’OBUTABO.

^ lup. 14 Ku JW Library®, genda ku MEDIA > OUR MEETINGS AND MINISTRY > TOOLS FOR THE MINISTRY.