Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 42

Okuyigiriza Omuntu Bayibuli n’Atuuka Okubatizibwa​—Ekitundu eky’Okubiri

Okuyigiriza Omuntu Bayibuli n’Atuuka Okubatizibwa​—Ekitundu eky’Okubiri

“Ssangayo omwoyo ku bintu ebikukwatako ne ku kuyigiriza kwo.”​—1 TIM. 4:16.

OLUYIMBA 77 Ekitangaala mu Nsi ey’Ekizikiza

OMULAMWA *

1. Tukimanya tutya nti omulimu gw’okufuula abantu abayigirizwa guwonyaawo obulamu?

OMULIMU gw’okufuula abantu abayigirizwa guwonyaawo obulamu! Ekyo tukimanya tutya? Yesu bwe yawa ekiragiro ekiri mu Matayo 28:19, 20, yagamba nti: “Mugende mufuule abantu . . . abayigirizwa, nga mubabatiza.” Kiki kye tumanyi ku bukulu bw’okubatizibwa? Okubatizibwa kye kimu ku byetaagisa omuntu okusobola okufuna obulokozi. Omuntu ayagala okubatizibwa alina okuba ng’akkiriza nti asobola okufuna obulamu obutaggwaawo olw’okuba Yesu yatufiirira era n’azuukizibwa. Eyo ye nsonga lwaki omutume Peetero yagamba Bakristaayo banne nti: ‘Okubatizibwa kubalokola okuyitira mu kuzuukira kwa Yesu Kristo.’ (1 Peet. 3:21) N’olwekyo, omuntu bw’abatizibwa aba n’essuubi ery’okulokolebwa.

2. Okusinziira ku 2 Timoseewo 4:1, 2 tusaanidde kuba basomesa ba ngeri ki?

2 Okusobola okufuula abantu abayigirizwa, tulina okuyiga ‘okuyigiriza mu ngeri ennungi.’ (Soma 2 Timoseewo 4:1, 2.) Lwaki? Kubanga Yesu yatulagira nti: “Mugende mufuule abantu . . . abayigirizwa . . . , nga mubayigiriza.” Omutume Pawulo yatukubiriza okunyiikirira omulimu ogwo, ‘kubanga bwe tukola tutyo, tuba tujja kwerokola era tulokole n’abo abatuwuliriza.’ Era yatukubiriza ‘okussangayo omwoyo ku kuyigiriza kwaffe.’ (1 Tim. 4:16) Olw’okuba okuyigiriza kulina akakwate n’okufuula abantu abayigirizwa tusaanidde okuyigiriza mu ngeri esingayo obulungi.

3. Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

3 Tuyigiriza abantu bukadde na bukadde Bayibuli okwetooloola ensi. Naye nga bwe twalaba mu kitundu ekyayita, twetaaga okumanya engeri gye tuyinza okuyamba abantu abasingawo okufuuka abayigirizwa ba Yesu Kristo ababatize. Mu kitundu kino, tugenda kulaba ebintu ebirala bitaano omusomesa by’asaanidde okukola okuyamba omuyizi wa Bayibuli okutuuka ku kubatizibwa.

KOZESA BAYIBULI NG’OYIGIRIZA

Saba omubuulizi alina obumanyirivu akuyambe okuyiga okuleka Bayibuli ebe nga y’eyogera (Laba akatundu 4-6) *

4. Lwaki omusomesa alina okwefuga ng’ayigiriza omuntu Bayibuli? (Laba n’obugambo obuli wansi.)

4 Twagala nnyo ebyo bye tuyigiriza abantu okuva mu Kigambo kya Katonda. N’olwekyo tuyinza okugwa mu katego ak’okwogera ennyo nga tuyigiriza. Naye ka tube nga tukubiriza Omunaala gw’Omukuumi, oba Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina, oba nga tuyigiriza omuntu Bayibuli, tetusaanidde kwogera nnyo. Okusobola okuleka Bayibuli okwogera, omusomesa alina okwefuga, yeewale okunnyonnyola buli kintu ky’amanyi ku kyawandiikibwa oba ku nsonga emu. * (Yok. 16:12) Lowooza ku bintu byenkana wa bye wali omanyi mu Bayibuli mu kiseera we wabatirizibwa ne by’omanyi kati. Kirabika mu kiseera ekyo wali omanyi njigiriza za Bayibuli ezisookerwako zokka. (Beb. 6:1) Kikutwalidde emyaka mingi okusobola okumanya ebintu by’omanyi kati; n’olwekyo togezaako kuyigiriza muyizi mupya buli kimu omulundi gumu.

5. (a) Nga bwe kiragibwa mu 1 Abassessalonika 2:13, kiki kye twagala omuyizi waffe amanye? (b) Tuyinza tutya okukubiriza omuyizi okwogera ku bintu by’ayiga?

5 Twagala omuyizi okukitegeera nti by’ayiga biva mu Kigambo kya Katonda. (Soma 1 Abassessalonika 2:13.) Ekyo tuyinza kukikola tutya? Kubiriza omuyizi okwogera ku bintu by’ayiga. Mu kifo ky’okuba nga buli kiseera ggwe onnyonnyola omuyizi ebyawandiikibwa, musabe naye abeeko ebyawandiikibwa ebimu by’akunnyonnyola. Yamba omuyizi okulaba engeri Ekigambo kya Katonda gye kimukwatako kinnoomu. Mubuuze ebibuuzo ebisobola okumuleetera okulaga endowooza gy’alina ku byawandiikibwa by’asoma n’engeri gy’abitwalamu. (Luk. 10:25-28) Ng’ekyokulabirako, mubuuze: “Ekyawandiikibwa kino kikuyambye kitya okulaba emu ku ngeri za Yakuwa?” “Ebyo by’oyize biyinza bitya okukuganyula?” “Ebyo by’oyize bikukutteko bitya?” (Nge. 20:5) Ekikulu si bye bintu byenkana wa omuyizi by’aba amanyi, wabula kwe kuba nti ayagala by’ayiga era abikolerako.

6. Lwaki kiba kirungi okutwala omubuulizi alina obumanyirivu ku muyizi wo?

6 Oluusi otwala ababuulizi abalina obumanyirivu ng’ogenda okuyigiriza omuyizi wo? Bw’oba ng’okikola, basabe bakubuulire kye bayinza okwogera ku ngeri gy’oyigirizaamu era obanga okozesa bulungi Bayibuli. Olina okuba omwetoowaze bw’oba wa kwongera kulongoosa mu ngeri gy’oyigirizaamu. (Geraageranya ne Ebikolwa 18:24-26.) Oluvannyuma buuza omubuulizi alina obumanyirivu obanga alaba nti omuyizi ategeera by’omuyigiriza. Era oyinza okusaba omubuulizi oyo akuyambeko okuyigiriza omuyizi wo bw’oba toobeewo okumala wiiki emu oba okusingawo. Ekyo kijja kuyamba omuyizi obutayosa kuyiga n’okukiraba nti okuyiga kukulu. Tokitwala nti ono muyizi “wange” era nti tewali mulala alina kumuyigiriza. Olw’okuba oyagaliza omuyizi oyo ekisingayo obulungi, oba oyagala yeeyongere okukulaakulana mu mazima.

YIGIRIZA N’EBBUGUMU ERA NGA WEEKAKASA

Buulira omuyizi wo ku bantu abaakola enkyukakyuka mu bulamu bwabwe alabe engeri y’okussa mu nkola by’ayiga (Laba akatundu 7-9) *

7. Kiki ekisobola okuyamba omuyizi okwagala by’ayiga?

7 Omuyizi wo yeetaaga okukiraba nti oyagala nnyo amazima agali mu Bayibuli era nti ogakkiririzaamu. (1 Bas. 1:5) Ekyo kisobola okumuyamba okwagala by’ayiga. Bwe kiba kituukirawo, mubuulire engeri gy’oganyuddwa mu kukolera ku magezi agali mu Bayibuli. Ekyo kijja kumuyamba okukiraba nti Bayibuli erimu amagezi naye agasobola okumuyamba.

8. Kiki ekirala ky’oyinza okukola okuyamba omuyizi wo, era lwaki?

8 Bw’oba oyigiriza omuyizi wo, mubuulire ku bantu abaayolekagana n’okusoomooza okufaananako okukwe era ne basobola okukuvvuunuka. Bw’oba ogenda okumuyigiriza osobola okugenda n’omuntu mu kibiina kyammwe eyayitako mu mbeera efaananako eyiye. Oba osobola okumulagayo ebyokulabirako ebiri mu kitundu “Bayibuli Ekyusa Obulamu bw’Abantu * ebisangibwa ku jw.org. Ebitundu ng’ebyo awamu ne vidiyo bijja kuyamba omuyizi wo okukiraba nti kya magezi okukolera ku magezi agali mu Bayibuli.

9. Oyinza otya okukubiriza omuyizi okubuulirako ab’eŋŋanda ze ne mikwano gye ku ebyo by’ayiga?

9 Omuyizi bw’aba mufumbo, munne mu bufumbo naye ayiga? Bw’aba tayiga, musabe naye abeegatteko mu kuyiga. Kubiriza omuyizi wo by’ayiga okubibuulirako ab’eŋŋanda ze ne mikwano gye. (Yok. 1:40-45) Ekyo oyinza kukikola otya? Oyinza okumubuuza: “Kino ky’oyize oyinza otya okukinnyonnyola ab’eŋŋanda zo?” oba “Kyawandiikibwa ki ky’oyinza okukozesa okunnyonnyola mukwano gwo ekintu kino?” Mu ngeri eyo ojja kuba otendeka omuyizi okufuuka omusomesa, ne kiba nti bw’atuukiriza ebisaanyizo, aba asobola okufuuka omubuulizi atali mubatize. Oyinza okubuuza omuyizi obanga alinayo omulala gw’amanyi eyandyagadde okuyiga Bayibuli. Bw’aba gy’ali, mulabe mu bwangu okole enteekateeka naye okumuyigiriza Bayibuli. Mulage vidiyo Omuntu Ayigirizibwa Atya Bayibuli? *

YAMBA OMUYIZI OKUFUNA EMIKWANO MU KIBIINA

Yamba omuyizi wo okufuna emikwano mu kibiina (Laba akatundu 10-11) *

10. Nga bwe kiragibwa mu 1 Abassessalonika 2:7, 8, omusomesa ayinza atya okukoppa ekyokulabirako kya Pawulo?

10 Abasomesa balina okufaayo ku bayizi baabwe. Abayizi bo batwale ng’abajja okufuuka baganda bo ne bannyoko. (Soma 1 Abassessalonika 2:7, 8.) Tekiba kyangu gye bali okulekayo emikwano gye balina mu nsi n’okukola enkyukakyuka zonna ezeetaagisa okusobola okuweereza Yakuwa. Tusaanidde okubayamba okufuna emikwano egya nnamaddala mu kibiina. Beera mukwano gw’omuyizi wo ng’ofunayo ekiseera okumukyalirako mu nnaku endala ezitali za kumuyigiririzaako. Okumukubira essimu, okumuweereza mesegi, oba okumukyalirako mu nnaku endala ezitali ezo z’omuyigiririzaako kiraga nti omufaako.

11. Kiki kye twagala abayizi baffe okufuna mu kibiina, era lwaki?

11 Kigambibwa nti: “Omwana akuzibwa ekyalo kyonna.” Naffe tuyinza okugamba nti: “Omuntu okufuuka omuyigirizwa ayigirizibwa ekibiina kyonna.” Eyo ye nsonga lwaki abasomesa abalungi bayamba abayizi baabwe aba Bayibuli okumanya abantu abalala mu kibiina abasobola okubayamba. Ekyo kiyamba omuyizi okunyumirwa okubeera awamu n’abantu ba Katonda abasobola okumuyamba mu by’omwoyo n’okumuzzaamu amaanyi. Twagala buli muyizi awulire nti naye wa mu kibiina era nti alina baganda be ab’eby’omwoyo. Twagala abayizi baffe baagale okubeera mu luganda lwaffe olw’ensi yonna. Ekyo kijja kubanguyira okwekutula ku bantu abatasobola kubayamba kwagala Yakuwa. (Nge. 13:20) Singa ababadde mikwano gy’omuyizi bamukyawa, aba akimanyi nti asobola okufuna emikwano egya nnamaddala mu kibiina kya Yakuwa.​—Mak. 10:29, 30; 1 Peet. 4:4.

BULIJJO KIRAGE NTI OKWEWAAYO N’OKUBATIZIBWA KIKULU

Mpolampola omuyizi wa Bayibuli atuuka ku ddaala ery’okubatizibwa! (Laba akatundu 12-13)

12. Lwaki tulina okwogera n’omuyizi waffe ku nsonga y’okwewaayo n’okubatizibwa?

12 Fuba okukyolekanga mu bigambo byo nti kikulu nnyo omuntu okwewaayo n’okubatizibwa. Ensonga lwaki tuyigiriza abantu eri nti twagala bafuuke abayigirizwa ba Yesu ababatize. Nga wayise emyezi mitono oluvannyuma lw’okutandika okuyigiriza omuntu Bayibuli era ng’atandise okujja mu nkuŋŋaana, omuntu oyo asaanidde okukitegeera nti ekigendererwa ky’okumuyigiriza Bayibuli kwe kumuyamba okutandika okuweereza Yakuwa ng’omu ku Bajulirwa be.

13. Mitendera ki omuyizi gy’ayitamu okusobola okutuuka ku kubatizibwa?

13 Mpolampola, omuyizi wa Bayibuli omwesimbu asobola okutuuka ku kiruubirirwa eky’okubatizibwa! Okusookera ddala, omuyizi ayiga ebikwata ku Yakuwa era n’atandika okumwagala n’okumukkiririzaamu. (Yok. 3:16; 17:3) Ekiddako, omuyizi afuna enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa awamu n’ekibiina. (Beb. 10:24, 25; Yak. 4:8) Oluvannyuma, omuyizi alekayo emize emibi era ne yeenenya ebibi bye. (Bik. 3:19) Ate era okukkiriza kwe kumuleetera okubuulirako abalala amazima g’ayize. (2 Kol. 4:13) Ekiddako, yeewaayo eri Yakuwa era n’akyoleka mu lujjudde ng’abatizibwa. (1 Peet. 3:21; 4:2) Mazima ddala, olunaku olwo luba lwa ssanyu eri buli omu! Buli kintu omuyizi ky’aba atuuseeko okusobola okutuukiriza ebisaanyizo by’okubatiziwa, musiime era mukubirize okugenda mu maaso.

BULI LUVANNYUMA LWA KISEERA WEETEGEREZE OMUYIZI W’ATUUSE MU KUKULAAKULANA

14. Omusomesa ayinza atya okumanya wa omuyizi w’atuuse mu kukulaakulana?

14 Tulina okuba abagumiikiriza nga tuyamba omuyizi okutuuka ku ddaala ery’okwewaayo n’okubatizibwa. Naye ekiseera kituuka ne tuba nga twetaaga okumanya obanga ddala ayagala okuweereza Yakuwa. Waliwo ekiraga nti omuyizi afuba okugondera ebiragiro bya Yesu? Oba kyandiba nti ayagala kuyiga buyizi ebiri mu Bayibuli?

15. Biki ebiyinza okulaga omusomesa nti omuyizi agenda akulaakulana?

15 Buli luvannyuma lwa kiseera, weekenneenye wa omuyizi w’atuuse mu kukulaakulana. Ng’ekyokulabirako, akyoleka nti ayagala Yakuwa? Asaba Yakuwa? (Zab. 116:1, 2) Anyumirwa okusoma Bayibuli? (Zab. 119:97) Abaawo mu nkuŋŋaana obutayosa? (Zab. 22:22) Alina enkyukakyuka z’akoze mu nneeyisa ye? (Zab. 119:112) By’ayiga abibuulirako ab’eŋŋanda ze ne mikwano gye? (Zab. 9:1) N’ekisinga obukulu, ayagala okufuuka Omujulirwa wa Yakuwa? (Zab. 40:8) Omuyizi bw’aba talina nkyukakyuka z’akolawo mu bintu ebyo, mu ngeri ey’amagezi gezaako okumanya ensonga lwaki kiri kityo era ensonga eyo ogyogereko naye mu ngeri ey’ekisa naye ng’oli mulambulukufu. *

16. Biki ebiyinza okukuyamba okumanya obanga osaanidde okulekera awo okuyigiriza omuntu Bayibuli?

16 Buli luvannyuma lwa kiseera weebuze obanga osaanidde okweyongera okuyigiriza omuntu. Weebuuze: ‘Omuyizi ono tategeka? Tayagala kubaawo mu nkuŋŋaana? Akyalina emize emibi? Akyali mu ddiini ey’obulimba?’ Eky’okuddamu bwe kiba nti yee, okwongera okuyiga n’omuntu oyo kiba ng’okugezaako okuyigiriza omuntu okuwuga ng’ate tayagala kutoba! Omuyizi bw’aba nga tasiima by’ayiga era nga si mwetegefu kukola nkyukakyuka, tekiba kya magezi kweyongera kumuyigiriza.

17. Okusinziira ku 1 Timoseewo 4:16, kiki abasomesa bonna kye balina okukola?

17 Tukitwala nga kikulu okufuula abantu abayigirizwa era twagala okuyamba abayizi baffe okutuuka ku ddaala ery’okubatizibwa. Eyo ye nsonga lwaki bwe tuba tuyigiriza tuleka Bayibuli y’eba eyogera, tuyigiriza n’ebbugumu, era twekakasa bye tuyigiriza. Tuyamba abayizi okufuna emikwano mu kibiina. Tuyamba abayizi okumanya obukulu bw’okwewaayo n’okubatizibwa era buli luvannyuma lwa kiseera tufaayo okulaba wa we batuuse mu kukulaakulana. (Laba akasanduuko “ Abasomesa Bye Beetaaga Okukola Okuyamba Abayizi Okubatizibwa,” ku lupapula 13) Tuli basanyufu nnyo okuba nti twenyigira mu mulimu guno oguwonyaawo obulamu! Ka tube bamalirivu okuyamba abayizi baffe okutuuka ku ddaala ery’okubatizibwa.

OLUYIMBA 79 Mubayigirize Basobole Okuba Abanywevu

^ lup. 5 Bwe tuba tuyigiriza omuntu Bayibuli, tuba n’enkizo okumuyamba okutandika okulowooza, okutunuulira, n’okukola ebintu nga Yakuwa bw’ayagala. Ekitundu kino kigenda kwongera okulaga engeri gye tuyinza okulongoosa mu ngeri gye tuyigirizaamu.

^ lup. 4 Laba ekitundu “By’Osaanidde Okwewala ng’Oyigiriza Omuntu Bayibuli” mu Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe aka Ssebutemba 2016.

^ lup. 8 Genda ku EBITUKWATAKO > EBYOKULABIRAKO.

^ lup. 9 Ku JW Library®, genda ku MEDIA > OUR MEETINGS AND MINISTRY > TOOLS FOR THE MINISTRY.

^ lup. 15 Laba ekitundu “Okwagala Yakuwa n’Okusiima by’Akukolera Kijja Kukuleetera Okubatizibwa” ne “Otuuse Okubatizibwa?” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Maaki 2020.

^ lup. 77 EBIFANANYI: Nga bavudde ku muyizi wa Bayibuli, mwannyinaffe alina obumanyirivu ayamba oyo abadde ayigiriza okukiraba nti tasaanidde kwogera bingi ng’ayigiriza.

^ lup. 79 EBIFANANYI: Bwe baba bayiga, omuyizi ayiga engeri y’okubaamu omukyala omulungi. Oluvannyuma abuulirako omwami we by’ayize.

^ lup. 81 EBIFANANYI: Omuyizi n’omwami we nga bakyaddeko mu maka g’omu ku mikwano gye gwe yafunye ku Kizmbe ky’Obwakabaka.