Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 40

Okwenenya mu Bwesimbu Kuzingiramu Ki?

Okwenenya mu Bwesimbu Kuzingiramu Ki?

‘Najja okuyita aboonoonyi basobole okwenenya.’​—LUK. 5:32.

OLUYIMBA 36 Tukuuma Emitima Gyaffe

OMULAMWA *

1-2. Njawulo ki eyaliwo wakati wa bakabaka ababiri, era bibuuzo ki bye tugenda okwekenneenya?

KA TULABE bakabaka babiri abaaliwo mu biseera eby’edda. Omu yali afuga mu bwakabaka bwa Isirayiri obw’ebika ekkumi, ate omulala yali afuga mu bwakabaka bwa Yuda obw’ebika ebibiri. Wadde nga baaliwo mu biseera bya njawulo, balina bingi bye bafaanaganya. Bombi baajeemera Yakuwa, era baaviirako abantu be okukola ebintu ebibi. Era bombi beenyigira mu kusinza ebifaananyi n’okutemula abantu bangi. Kyokka waaliwo enjawulo wakati w’abasajja abo ababiri. Omu ku bo yakola ebintu ebibi okutuusiza ddala lwe yafa, ate omulala yeenenya ebibi bye era Yakuwa n’amusonyiwa. Abasajja abo be baani?

2 Omu ku basajja abo yali ayitibwa Akabu, kabaka ya Isirayiri, ate omulala yali ayitibwa Manase, kabaka wa Yuda. Enjawulo gye tugenda okulaba eyaliwo wakati w’abasajja abo ababiri egenda kutuyamba okutegeera kye kitegeeza okwenenya. (Bik. 17:30; Bar. 3:23) Okwenenya kye ki, era omuntu alaga atya nti yeenenyezza? Kikulu okumanya ensonga eno kubanga bwe tusobya tuba twagala Yakuwa atusonyiwe. Okusobola okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo, tugenda kulaba ebyo ebyaliwo mu bulamu bwa bakabaka abo ababiri ne kye tusobola okubayigirako. Ate era tugenda kulaba ekyo Yesu kye yayigiriza ku kwenenya.

KYE TUYIGIRA KU KABAKA AKABU

3. Akabu yali kabaka wa ngeri ki?

3 Akabu ye yali kabaka ow’omusanvu mu bwakabaka bwa Isirayiri obw’ebika ekkumi. Yawasa Yezebeeri eyali muwala wa kabaka wa Sidoni, eggwanga eryali mu bukiikaddyo bwa Isirayiri era eryali eggagga. Akabu okuwasa Yezebeeri kiyinza okuba nga kyaviirako Isirayiri okufuna obugagga. Naye kyayongera okwonoona enkolagana eyaliwo wakati wa Yakuwa n’eggwanga eryo. Yezebeeri yali asinza Bbaali, era yaleetera Akabu okutumbula okusinza kwa Bbaali mu Isirayiri. Okusinza okwo kwali kuzingiramu okukolera obwamalaaya ku yeekaalu n’okusaddaaka abaana. Yezebeeri we yabeerera nnaabakyala, obulamu bwa bannabbi ba Yakuwa bonna bwali mu kabi, era yatta bannabbi bangi. (1 Bassek. 18:13) Ate ye Akabu “yali mubi nnyo mu maaso ga Yakuwa okusinga bonna abaamusooka.” (1 Bassek. 16:30) Yakuwa yali alaba ebyo Akabu ne Yezebeeri bye baali bakola era yali abimanyi bulungi. Kyokka olw’okuba Yakuwa musaasizi, yasindika nnabbi Eriya okulabula abantu be bakyuse amakubo gaabwe baleme okutuukibwako akabi. Naye Akabu ne Yezebeeri baagaana okuwuliriza.

4. Kibonerezo ki Yakuwa kye yasalira Akabu, era Akabu yakola ki ng’akiwulidde?

4 Kyaddaaki Yakuwa yabaako ky’akolawo. Yatuma Eriya okutegeeza Akabu ne Yezebeeri omusango gwe yali abasalidde. Bo n’ab’ennyumba yaabwe bonna baali bagenda kuzikirizibwa. Ebigambo bya Eriya byakwata nnyo ku Akabu! Ekyewuunyisa, omusajja oyo eyali ow’amalala ‘yeetoowaza.’​—1 Bassek. 21:19-29.

Kabaka Akabu yasiba nnabbi wa Yakuwa mu kkomera, ekyalaga nti yali teyeenenyezza mu bwesimbu (Laba akatundu 5-6) *

5-6. Kiki ekiraga nti Akabu yali teyeenenyezza mu bwesimbu?

5 Wadde nga ku mulundi ogwo Akabu yeetoowaza, engeri gye yeeyisaamu oluvannyuma eraga nti teyeenenya mu bwesimbu. Teyagezaako kuggyawo kusinza kwa Bbaali mu bwakabaka bwe, era teyafuba kukubiriza bantu kusinza Yakuwa. Waliwo n’engeri endala eraga nti Akabu yali teyeenenyezza mu bwesimbu.

6 Oluvannyuma Akabu bwe yagamba Kabaka Yekosafaati owa Yuda okumwegattako mu kulwanyisa Abasuuli, Yekosafaati yamugamba nti basooke beebuuze ku nnabbi wa Yakuwa. Mu kusooka ekyo Akabu yakigaana, n’agamba nti: “Waliwo omusajja omulala omu gwe tusobola okuyitiramu okwebuuza ku Yakuwa, naye nze simwagala, kubanga tandagulako birungi wabula bibi byokka.” Wadde kyali kityo, beebuuza ku nnabbi Mikaaya. Era ddala Akabu yali mutuufu, kubanga nnabbi oyo yamugamba nti ebintu byali tebigenda kumugendera bulungi. Mu kifo ky’okwenenya n’asaba Yakuwa amusonyiwe, Akabu yasalawo okusiba nnabbi oyo mu kkomera. (1 Bassek. 22:7-9, 23, 27) Wadde nga Akabu yasobola okusiba nnabbi wa Yakuwa mu kkomera, yali tasobola kulemesa bunnabbi kutuukirira. Akabu yattibwa mu lutalo lwe baagenda okulwana.​—1 Bassek. 22:34-38.

7. Oluvannyuma lwa Akabu okufa, Yakuwa yamwogerako atya?

7 Oluvannyuma lwa Akabu okufa, Yakuwa yalaga engeri gye yali amutwalamu. Kabaka Yekosafaati bwe yakomawo ewuwe, Yakuwa yatuma nnabbi Yeeku okumunenya olw’okukkiriza okuyambako Akabu. Nnabbi oyo yagamba nti: “Ababi b’osaanidde okuyamba, era abo abakyawa Yakuwa b’osaanidde okwagala?” (2 Byom. 19:1, 2) Kirowoozeeko: Singa Akabu yali yeenenyezza mu bwesimbu, nnabbi wa Yakuwa teyandigambye nti yali mubi, era nti yali yakyawa Yakuwa. Kyeyoleka lwatu nti, wadde nga Akabu yali alaze nti anakuwadde olw’ekyo kye yali akoze, teyeenenya mu bwesimbu.

8. Kiki kye tuyigira ku kwenenya kwa Akabu?

8 Kiki kye tuyigira ku Akabu? Eriya bwe yategeeza Akabu akabi akaali kagenda okumutuukako awamu n’ab’ennyumba ye, mu kusooka Akabu yeetoowaza. Ekyo kyali kirungi! Naye ebintu bye yakola oluvannyuma byalaga nti yali teyeenenyezza kuviira ddala ku mutima. N’olwekyo, okwenenya mu bwesimbu tekikoma ku kulaga bulazi nti onakuwadde olw’ekyo ky’oba okoze. Kati ka tulabeyo ekyokulabirako ky’omuntu omulala ekinaatuyamba okumanya ekizingirwa mu kwenenya mu bwesimbu.

KYE TUYIGIRA KU KABAKA MANASE

9. Manase yali kabaka wa ngeri ki?

9 Nga wayise emyaka nga 200, Manase yafuuka kabaka wa Yuda. Ebibi bye yakola biyinza okuba nga byasinga n’ebyo Akabu bye yakola! Bayibuli egamba nti: “Yakola ebibi bingi nnyo mu maaso ga Yakuwa, okumusunguwaza.” (2 Byom. 33:1-9) Manase yazimbira bakatonda ab’obulimba ebyoto, era yateeka n’ekikondo ekisinzibwa mu yeekaalu ya Yakuwa. Kirabika ekikondo ekyo kyali kikiikirira okusinza okwali kukwataganyizibwa n’ebikolwa eby’okwegatta. Yakola eby’obufumu, eby’obulaguzi, n’eby’obulogo. Ate era “yayiwa omusaayi mungi ogw’abantu abataalina musango;” nga muno mwe mwali ‘n’okwokya abaana be mu muliro’ ng’abawaayo nga ssaddaaka eri bakatonda ab’obulimba.​—2 Bassek. 21:6, 7, 10, 11, 16.

10. Yakuwa yakangavvula atya Manase, era kiki Manase kye yakola?

10 Okufaananako Akabu, Manase yagaana okuwuliriza bannabbi Yakuwa be yatuma gy’ali okumulabula. “Yakuwa kyeyava [aleetera Yuda] abakulu b’amagye ga kabaka wa Bwasuli ne bawamba Manase nga bakozesa amalobo ne bamusiba empingu bbiri ez’ekikomo ne bamutwala e Babulooni.” Manase bwe yali eyo mu nsi endala gye yali asibiddwa, kirabika yafumiitiriza nnyo ku ngeri gye yali yeeyisizzaamu. Bayibuli egamba nti: “Yeetoowaza nnyo mu maaso ga Katonda wa bajjajjaabe.” Kyokka teyakoma awo. “Yeegayirira Yakuwa Katonda we amusaasire.” Ate era “yeeyongera okumusaba.” Omusajja oyo eyali omubi kati yali atandise okukyuka. Yatandika okutwala Yakuwa nga ‘Katonda we,’ era yamusaba nnyo.​—2 Byom. 33:10-13.

Kabaka Manase yalwanyisa okusinza okw’obulimba, ekyalaga nti yeenenya mu bwesimbu (Laba akatundu 11) *

11. Okusinziira ku 2 Ebyomumirembe 33:15, 16, Manase yakiraga atya nti yali yeenenyezza mu bwesimbu?

11 Oluvannyuma Yakuwa yaddamu essaala za Manase. Okusinziira ku ssaala Manase ze yasaba, Yakuwa yakiraba nti yali akyuse. Yaddamu essaala za Manase n’amukomyawo mu bwakabaka bwe. Manase yakozesa akakisa ako okulaga nti ddala yali yeenenyezza mu bwesimbu. Yakola ekyo Akabu ky’ataakola. Yakyusa enneeyisa ye. Yalwanyisa okusinza okw’obulimba era n’afuba okuzzaawo okusinza okw’amazima. (Soma 2 Ebyomumirembe 33:15, 16.) Ekyo kyali kyetaagisa obuvumu n’okukkiriza, kubanga okumala emyaka mingi Manase yali ateereddewo ab’omu maka ge, abakungu be, n’abantu bonna ekyokulabirako ekibi. Naye mu myaka egyasembayo egy’obufuzi bwe, Manase yagezaako okutereeza ebimu ku bintu ebibi bye yali akoze. Kirabika ekyokulabirako ekirungi kye yassaawo kye kyakwata ku muzzukulu we Yosiya, eyali kabaka omulungi ennyo.​—2 Bassek. 22:1, 2.

12. Ekyokulabirako kya Manase kituyigiriza ki ku kwenenya?

12 Kiki kye tuyigira ku Manase? Ng’oggyeeko okwetoowaza, alina n’ebirala bye yakola. Yasaba Yakuwa amusaasire era n’akyusa enneeyisa ye. Yafuba nnyo okutereeza ebyali bisobye, era n’anoonya Yakuwa. Ate era yayamba n’abantu abalala okukola kye kimu. Ekyokulabirako kya Manase kizzaamu amaanyi abo ababa bakoze ebibi eby’amaanyi. Kikakasa nti Yakuwa ‘mulungi era nti mwetegefu okusonyiwa.’ (Zab. 86:5) Mazima ddala abo abeenenya mu bwesimbu Yakuwa abasonyiwa.

13. Waayo ekyokulabirako ekiraga ekintu ekikulu ekikwata ku kwenenya.

13 Manase teyakoma ku kuwulira bubi olw’ebintu ebibi bye yali akoze. Ekyo kirina ekintu ekikulu kye kituyigiriza ku kwenenya. Lowooza ku kino: Ka tugambe nti ogenze ku dduuka okugula keeci naye ne bakuwaamu eggi mu kifo kya keeci. Ekyo kikusanyusa? Kya lwatu nedda! Ate singa ow’edduuka akugamba nti eggi kye kimu ku bintu ebikulu ebikolebwamu keeci? Owulira ng’omatidde? Kya lwatu nedda! Mu ngeri y’emu, Yakuwa ayagala omuntu aba akoze ekibi yeenenye. Omuntu bw’awulira obubi olw’ekibi ky’aba akoze, ekyo kiba kirungi. Enneewulira eyo kye kimu ku bintu ebikulu ebizingirwa mu kwenenya. Naye ekyo tekimala. Kiki ekirala ekyetaagisa? Tulina bingi bye tuyigira ku lugero olumu Yesu lwe yagera.

KYE KITEGEEZA OKWENENYA MU BWESIMBU

Omwana omujaajaamya bwe yeekuba mu kifuba n’akyusa amakubo ge, yakwata ekkubo n’addayo ewaabwe (Laba akatundu 14-15) *

14. Mu lugero lwa Yesu, kiki omwana omujaajaamya kye yakola ekyalaga nti yali ayagala kwenenyeza kitaawe?

14 Yesu yagera olugero oluzzaamu amaanyi olukwata ku mwana eyali azaaye, oluli mu Lukka 15:11-32. Omwana oyo yeewaggula ku kitaawe, n’ava awaka, n’agenda “mu nsi ey’ewala.” Bwe yali eyo, yeenyigira mu mpisa embi. Naye embeera bwe yamubijjira yatandika okulowooza ku nneeyisa ye. Yakiraba nti yali bulungi nnyo bwe yali akyali ewa kitaawe. Yesu yalaga nti omuvubuka oyo yeekuba mu kifuba. Yasalawo okuddayo ewaabwe yeegayirire kitaawe amusonyiwe. Kyali kikulu nnyo omwana oyo okukitegeera nti yali yeeyisizza bubi. Naye ekyo kyali kimala? Nedda! Yalina okubaako ky’akolawo.

15. Omwana eyali azaaye yakiraga atya nti yali yeenenyezza mu bwesimbu?

15 Omwana oyo eyali azaaye yakiraga nti yali yeenenyezza mu bwesimbu. Yakwata ekkubo n’adda eka. Oluvannyuma yagamba kitaawe nti: “Nnayonoona eri Katonda ne mu maaso go. Sikyasaana kuyitibwa mwana wo.” (Luk. 15:21) Okwetonda kw’omwana oyo okwali kuviira ddala ku mutima kwalaga nti yali ayagala okuzzaawo enkolagana ye ne Yakuwa. Ate era yakiraba nti ebyo bye yali akoze byali birumizza kitaawe. Yali mwetegefu okukola kyonna ky’asobola okuddamu okusiimibwa mu maaso ga kitaawe, ne kiba nti yasaba waakiri ayisibwe ng’omu ku bapakasi ba kitaawe! (Luk. 15:19) Olugero olwo terwagerebwa kuba nti lutunyumira bunyumizi. Abakadde balina bingi bye basobola okuyiga mu lugero olwo. Lusobola okubayamba okumanya obanga omuntu eyakola ekibi eky’amaanyi ddala yeenenyezza mu bwesimbu.

16. Lwaki abakadde kiyinza obutababeerera kyangu kumanya obanga omuntu yeenenyezza mu bwesimbu?

16 Si kyangu eri abakadde okumanya obanga ddala omuntu eyakola ekibi eky’amaanyi yeenenyezza mu bwesimbu. Lwaki? Abakadde tebasobola kumanya kiri mu mutima gw’omuntu. N’olwekyo bafuba okunoonya obukakafu obulaga nti ddala omuntu oyo yakyawa ekibi kye yakola. Mu mbeera ezimu, ekintu omuntu ky’aba yakola kiba kibi nnyo ne kiba nti abakadde tekibabeerera kyangu kukakasa nti ddala omuntu oyo yeenenyezza mu bwesimbu.

17. (a) Kyakulabirako ki ekiraga nti omuntu okunakuwalira obunakuwalizi ekibi ky’aba akoze si bukakafu obulaga nti yeenenyezza mu bwesimbu? (b) Okusinziira ku 2 Abakkolinso 7:11, biki ebiraga nti omuntu yeenenyezza mu bwesimbu?

17 Lowooza ku kyokulabirako kino: Ow’oluganda ayenda okumala emyaka mingi. Mu kifo ky’okunoonya obuyambi, ekibi kye akikweka mukyala we, mikwano gye, n’abakadde. Kyokka oluvannyuma ekibi ekyo kimanyika. Abakadde bwe bamugamba nti balina obukakafu obulaga nti yayenda, akkiriza ensobi ye era n’alaga nti anyoleddwa nnyo elw’ensobi eyo gye yakola. Naye ekyo kimala? Abakadde ababa bakola ku nsonga eyo baba balina okufuna obukakafu obusingawo ku kulaga nti awulira bubi olw’ekibi kye yakola. Teyagwa mu nsobi mulundi gumu gwokka, wabula yakola ekibi ekyo okumala emyaka. Ate era omuntu oyo si ye yeeroopa, wabula kyazuulibwa buzuulibwa nti yali akola ekibi ekyo. N’olwekyo, abakadde baba balina okusooka okufuna obukakafu obulaga nti omuntu oyo akyusizza endowooza ye, enneewulira ye, n’enneeyisa ye. (Soma 2 Abakkolinso 7:11.) Kiyinza okumutwalira ekiseera okukola enkyukakyuka ezeetaagisa. Omuntu oyo ayinza okugobebwa mu kibiina.​—1 Kol. 5:11-13; 6:9, 10.

18. Omuntu eyagobebwa mu kibiina ayinza atya okulaga nti yeenenyezza mu bwesimbu, era biki ebivaamu?

18 Omuntu eyagobebwa mu kibiina okusobola okulaga nti yeenenyezza mu bwesimbu, alina okuba ng’ajja mu nkuŋŋaana obutayosa era ng’akolera ku magezi abakadde ge baamuwa, gamba ng’okuba n’enteekateeka ennungi ey’okwesomesa era n’okusaba. Ate era alina okufuba ennyo okwewala embeera oba ebintu ebyamuviirako okukola ekintu ekibi. Bw’afuba okutereeza enkolagana ye ne Yakuwa, asobola okuba omukakafu nti Yakuwa ajja kumusonyiwa, era nti abakadde bajja kumukomyawo mu kibiina. Kya lwatu nti embeera z’abantu ababa bagobeddwa mu kibiina zaawukana. N’olwekyo buli mbeera abakadde bagikwata mu ngeri ya njawulo bwe baba beekenneenya okulaba obanga omuntu yeenenyezza. Ate era bafuba okwoleka ekisa.

19. Biki ebizingirwa mu kwenenya mu bwesimbu? (Ezeekyeri 33:14-16)

19 Nga bwe tulabye, okwenenya mu bwesimbu kisingawo ku kwetonda obwetonzi. Kizingiramu n’okukyusa endowooza, era nga kiviirako omuntu okubaako ky’akolawo. Ate era kizingiramu omuntu okulekayo amakubo ge amabi, n’addamu okutambulira mu makubo ga Yakuwa. (Soma Ezeekyeri 33:14-16.) Ekigendererwa ekikulu omwonoonyi ky’asaanidde okuba nakyo kwe kutereeza enkolagana ye ne Yakuwa.

YAMBA ABOONOONYI OKWENENYA

20-21. Tuyinza tutya okuyamba omuntu aba akoze ekibi eky’amaanyi?

20 Yesu yagamba nti: ‘Najja okuyita aboonoonyi basobole okwenenya.’ (Luk. 5:32) Naffe tusaanidde okuba n’endowooza ng’eyo. Kiki kye tusaanidde okukola bwe tukimanya nti mukwano gwaffe ow’oku lusegere akoze ekibi eky’amaanyi?

21 Singa tugezaako okukweka ekibi mukwano gwaffe ky’aba akoze, tuba tetumuyamba. Ate era tuba tumala biseera kubanga Yakuwa aba alaba. (Nge. 5:21, 22; 28:13) Osobola okuyamba mukwano gwo ng’omugamba atuukirire abakadde bamuyambe. Singa mukwano gwo agaana okutuukirira abakadde, ggwe osaanidde okubategeeza, bw’otyo n’okiraga nti ddala oyagala okumuyamba. Ekyo kikulu nnyo kubanga singa abakadde tebamuyamba, ayinza okufiirwa enkolagana ye ne Yakuwa!

22. Kiki kye tujja okulaba mu kitundu ekiddako?

22 Naye watya singa omuntu akoze ekibi eky’amaanyi era ng’akikoze okumala ekiseera kiwanvu, abakadde ne bakiraba nti yeetaaga okugobebwa mu kibiina? Ekyo kiba kiraga nti tebamulaze busaasizi? Mu kitundu ekiddako tujja kulaba engeri Yakuwa gy’akangavvulamu aboonoonyi mu ngeri ey’obusaasizi, era n’engeri gye tuyinza okumukoppa.

OLUYIMBA 103 Abasumba Birabo

^ lup. 5 Okwenenya mu bwesimbu tekikoma ku kwetonda oba okugamba nti tuboneredde. Mu kitundu kino tugenda kulaba ekyokulabirako kya Kabaka Akabu, Kabaka Manase, n’omwana omujaajaamya Yesu gwe yayogerako mu lugero, kituyambe okumanya kye kitegeeza okwenenya mu bwesimbu. Ate era tugenda kulaba ebyo abakadde bye basaanidde okulowoozaako nga bakola ku nsonga z’omuntu aba akoze ekibi eky’amaanyi okulaba obanga ddala yeenenyezza.

^ lup. 60 EBIFAANANYI: Kabaka Akabu alagira abakuumi be okutwala nnabbi wa Yakuwa, Mikaaya, mu kkomera.

^ lup. 62 EBIFAANANYI: Kabaka Manase alagira abantu okusaanyaawo ebifaananyi bye yali atadde mu yeekaalu.

^ lup. 64 EBIFAANANYI: Omwana omujaajaamya akooye oluvannyuma lw’okutambula olugendo oluwanvu. Awulira essanyu bw’alengera ewaabwe.