Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 41

Tuweereza Katonda “ow’Okusaasira Okungi”

Tuweereza Katonda “ow’Okusaasira Okungi”

“Yakuwa mulungi eri bonna, era okusaasira kwe kweyolekera mu mirimu gye gyonna.”​—ZAB. 145:9.

OLUYIMBA 44 Essaala y’Omunaku

OMULAMWA *

1. Omuntu omusaasizi aba atya?

BWE tuwulira ekigambo omusaasizi, ekifaananyi ekiyinza okutujjira kye ky’omuntu ow’ekisa, alumirirwa abalala, era omugabi. Era kiyinza okutuleetera okulowooza ku lugero lwa Yesu olukwata ku Musamaliya eyalaga obusaasizi. Omusajja oyo eyali ow’eggwanga eddala, ‘yalaga obusaasizi’ Omuyudaaya eyali agudde mu banyazi. ‘Yamukwatirwa ekisa’ n’abaako ky’akolawo okumuyamba. (Luk. 10:29-37) Olugero luno lutuyigiriza emu ku ngeri za Katonda ennungi ennyo, nga buno bwe busaasizi. Olw’okuba Katonda atwagala, atulaga obusaasizi era abutulaga mu ngeri nnyingi buli lunaku.

2. Obusaasizi buyinza kulagibwa mu ngeri ki endala?

2 Waliwo n’engeri endala omuntu gy’ayinza okulagamu obusaasizi. Omuntu omusaasizi ayinza okusalawo obutabonereza muntu eyandibadde agwanira okubonerezebwa. Ne mu ngeri eyo, Yakuwa atulaze obusaasizi. Omuwandiisi omu owa zabbuli yagamba nti: “Tatubonerezza nga bwe tugwanidde okubonerezebwa olw’ebibi byaffe.” (Zab. 103:10) Kyokka mu mbeera ezimu Yakuwa akangavvula omuntu aba akoze ekibi.

3. Bibuuzo ki ebigenda okuddibwamu mu kitundu kino?

3 Mu kitundu kino tugenda kulaba eby’okuddamu mu bibuuzo bino ebisatu: Lwaki Yakuwa atulaga obusaasizi? Waliwo akakwate wakati w’okukangavvula n’obusaasizi? Era kiki ekiyinza okutuyamba okulaga abalala obusaasizi? Ka tulabe engeri ebibuuzo ebyo gye biddibwamu mu Kigambo kya Katonda.

ENSONGA LWAKI YAKUWA ALAGA OBUSAASIZI

4. Lwaki Yakuwa alaga obusaasizi?

4 Yakuwa Katonda musaasizi. Omutume Pawulo yaluŋŋamizibwa okuwandiika nti Yakuwa ye Katonda “ow’okusaasira okungi.” Mu kyawandiikibwa ekyo Pawulo yagamba nti Katonda musaasizi olw’okuba yawa abaweereza be abatatuukiridde abaafukibwako amafuta enkizo ey’okugenda mu ggulu. (Bef. 2:4-7) Naye abaafukibwako amafuta si be bokka Yakuwa b’alaga obusaasizi. Omuwandiisi wa zabbuli, Dawudi, yagamba nti: “Yakuwa mulungi eri bonna, era okusaasira kwe kweyolekera mu mirimu gye gyonna.” (Zab. 145:9) Olw’okuba Yakuwa ayagala nnyo abantu, abalaga obusaasizi buli lwe kiba kyetaagisa.

5. Yesu yamanya atya nti Yakuwa musaasizi?

5 Yesu y’asingayo okumanya engeri Yakuwa gy’alagamu obusaasizi. Yesu yali wamu ne Kitaawe mu ggulu okumala emyaka mingi nnyo nga tannajja ku nsi. (Nge. 8:30, 31) Emirundi mingi Yesu yalaba engeri Kitaawe gye yasaasirangamu abantu aboonoonyi. (Zab. 78:37-42) Yesu bwe yalinga ayigiriza, yateranga okwogera ku busaasizi bwa Kitaawe.

Taata teyaleetera mutabani we kuwulira buswavu; yamwaniriza ng’akomyewo awaka (Laba akatundu 6) *

6. Yesu yatuyamba atya okukitegeera nti Kitaawe musaasizi?

6 Nga bwe twalaba mu kitundu ekyayita, Yesu yagera olugero olukwata ku mwana eyali azaaye okulaga engeri Yakuwa gy’alagamu abantu obusaasizi. Omwana oyo yava awaka n’agenda era ‘n’ayonoona ebintu bye nga yeenyigira mu mpisa embi.’ (Luk. 15:13) Oluvannyuma yalekayo empisa embi ne yeetoowaza era n’addayo eka. Kiki taata we kye yakola? Yesu yagamba nti: “[Omwana] bwe yali akyali wala, kitaawe n’amulengera n’amukwatirwa ekisa, n’adduka n’amugwa mu kifuba n’amunywegera.” Taata teyaleetera mwana we kuwulira buswavu. Mu kifo ky’ekyo, yamusaasira n’amusonyiwa, era n’amukkiriza okudda awaka. Omwana oyo yali akoze ebintu ebibi bingi, naye olw’okuba yeenenya, taata we yamusonyiwa. Taata oyo omusaasizi akiikirira Yakuwa. Mu lugero olwo, Yesu yakiraga nti Kitaawe mwetegefu okusonyiwa aboonoonyi ababa beenenyezza mu bwesimbu.​—Luk. 15:17-24.

7. Kakwate ki akaliwo wakati w’amagezi ga Yakuwa n’obusaasizi bw’alaga?

7 Yakuwa alaga obusaasizi olw’okuba alina amagezi mangi nnyo. Yakuwa bulijjo asalawo mu ngeri eganyula ebitonde bye. Bayibuli egamba nti: “Amagezi agava waggulu . . . gajjudde obusaasizi n’ebibala ebirungi.” (Yak. 3:17) Okufaananako omuzadde ayagala abaana be, Yakuwa akimanyi nti obusaasizi buganyula abaana be. (Zab. 103:13; Is. 49:15) Obusaasizi Katonda bw’alaga abantu bubayamba okuba n’essuubi wadde nga tebatuukiridde. N’olwekyo, amagezi ga Yakuwa amangi gamuleetera okulaga abantu obusaasizi buli lw’akiraba nti ddala kyetaagisa okubalaga obusaasizi. Yakuwa alaga obusaasizi mu ngeri etagudde lubege. Olw’okuba alina amagezi mangi, talaga busaasizi bwe kiba nti okukola ekyo kijja kumuleetera okubikkirira ekibi.

8. Oluusi kiki ekyetaagisa okukolebwa, era lwaki?

8 Watya singa omuweereza wa Yakuwa asalawo mu bugenderevu okweyongera okukola ekintu ekibi. Kiki kye tusaanidde okukola? Bayibuli egamba nti: ‘Temukolagananga naye.’ (1 Kol. 5:11) Aboonoonyi abateenenya bagobebwa mu kibiina. Ekyo kikolebwa okusobola okukuuma ekibiina kya Yakuwa nga kiyonjo. Naye abamu eky’okugoba omuntu mu kibiina tebakiraba ng’ekikolwa eky’obusaasizi. Baba batuufu okulowooza bwe batyo? Ka tulabe.

OKUGOBA OMUNTU MU KIBIINA KIKOLWA KYA BUSAASIZI?

Endiga bw’ebeera endwadde eyinza okwawulibwa ku ndala, naye omusumba asigala agifaako (Laba akatundu 9-11)

9-10. Okusinziira ku Abebbulaniya 12:5, 6, lwaki tuyinza okugamba okugoba omuntu mu kibiina kikolwa ekyoleka obusaasizi? Waayo ekyokulabirako.

9 Bwe tuba mu nkuŋŋaana ne tuwulira nga balanga nti omuntu gwe twagala ennyo “takyali omu ku Bajulirwa ba Yakuwa,” kitunakuwaza nnyo. Tuyinza okwebuuza obanga ddala kyabadde kyetaagisa okugoba omuntu oyo mu kibiina. Ddala okugoba omuntu mu kibiina kikolwa kya busaasizi? Yee. Obutakangavvula muntu eyeetaaga okukangavvulwa tekiba kya magezi, tekyoleka busaasizi, era tekyoleka kwagala. (Nge. 13:24) Okugoba omuntu mu kibiina kisobola okumuyamba okukyusa amakubo ge? Yee. Bangi abaakola ekibi eky’amaanyi ne bagobebwa mu kibiina, baakiraba nti ekyo abakadde kye baakola kyabayamba okuzuukuka ne bakyusa amakubo gaabwe ne bakomawo eri Yakuwa.​—Soma Abebbulaniya 12:5, 6.

10 Lowooza ku kyokulabirako kino. Omusumba akiraba nti emu ku ndiga ze ndwadde. Akimanyi nti okusobola okujjanjaba obulwadde obwo, kimwetaagisa okwawula endiga eyo ku ndala. Kyokka endiga zaagala nnyo okubeera awamu ne zinnaazo. Era emu bw’eyawulibwa ku zinnaayo kigiyisa bubi. Naye ekyo kitegeeza nti omusumba oyo okusalawo okwawula endiga eyo agijjanjabe ng’eri yokka aba agiyisizza bubi era nga talina kisa? Kya lwatu nedda. Akimanyi nti bw’aleka endiga eyo endwadde okubeera awamu n’endala, obulwadde obwo bujja kukwata endiga endala. Mu kwawula endiga eyo aba akuuma ekisibo kyonna.​—Geraageranya Eby’Abaleevi 13:3, 4.

11. (a) Lwaki omuntu agobeddwa mu kibiina ayinza okugeraageranyizibwa ku ndiga endwadde? (b) Kiki omuntu agobeddwa mu kibiina ky’ayinza okukola, era buyambi ki obuyinza okumuweebwa?

11 Omuntu bw’agobebwa mu kibiina, tuyinza okumutwala ng’endiga eyo endwadde. Aba mulwadde mu by’omwoyo. (Yak. 5:14) Ng’omuntu alina obulwadde obukwata bw’asobola okubusiiga abalala, n’omuntu omulwadde mu by’omwoyo asobola okusiiga abalala obulwadde obwo. N’olwekyo, mu mbeera ezimu kyetaagisa okwawula abalwadde mu by’omwoyo ku balala. Okukangavvula okw’engeri eyo kulaga nti Yakuwa ayagala nnyo abaweereza be abeesigwa, era kiyinza okuviirako omwonoonyi okukyusa amakubo ge ne yeenenya. Omuntu bw’agobebwa mu kibiina, asobola okusigala ng’ajja mu nkuŋŋaana asobole okuliisibwa mu by’omwoyo n’okuzimbibwa. Ate era akkirizibwa okufuna ebitabo by’asobola okukozesa mu kwesomesa era asobola n’okulaba JW Broadcasting®. Abakadde bamwetegereza okulaba obanga alina enkyukakyuka z’akola, era buli luvannyuma lwa kiseera babaako amagezi ge bamuwa okusobola okumuyamba okuddamu okutereeza enkolagana ye ne Yakuwa asobole okukomezebwawo mu kibiina kya Yakuwa. *

12. Kiki ekyoleka okwagala n’obusaasizi abakadde kye bayinza okukola, bwe kituuka ku mwonoonyi ateenenya?

12 Kikulu okukijjukira nti aboonoonyi abateenenya bokka be bagobebwa mu kibiina. Abakadde bakimanyi nti balina okusooka okulowooza ennyo nga tebannasalawo kugoba muntu. Bakimanyi nti Yakuwa akangavvula omuntu “ku kigero ekisaanira.” (Yer. 30:11) Baagala nnyo bakkiriza bannaabwe era tebaagala kukola kintu kyonna kiyinza kubaviirako kuddirira mu by’omwoyo. Kyokka oluusi okusobola okwoleka okwagala n’obusaasizi, baba balina okugoba omuntu mu kibiina.

13. Lwaki Omukristaayo omu mu kibiina ky’e Kkolinso yalina okugobebwa mu kibiina?

13 Lowooza ku ekyo omutume Pawulo kye yakolera omwonoonyi eyali agaanye okwenenya mu kyasa ekyasooka. Omukristaayo omu mu kibiina ky’e Kkolinso yali yeddizza muka kitaawe. Ekyo nga kyali kikolwa kya bugwagwa nnyo! Mu Mateeka Yakuwa ge yawa Abayisirayiri, yali yabagamba nti: “Omusajja aneegattanga ne muka kitaawe anaabanga aweebudde kitaawe. Bombi banattibwanga.” (Leev. 20:11) Kya lwatu, Pawulo yali tayinza kulagira nti omusajja oyo attibwe. Naye yalagira Abakristaayo mu kibiina ky’e Kkolinso okumugoba mu kibiina. Enneeyisa y’omusajja oyo yali ekosa abalala mu kibiina. Abamu ku bo baali tebakitwala na kukitwala nti ekibi kye yali akola kyali kya maanyi nnyo!​—1 Kol. 5:1, 2, 13.

14. Pawulo yalaga atya omusajja eyali agobeddwa mu kibiina ky’e Kkolinso obusaasizi, era lwaki? (2 Abakkolinso 2:5-8, 11)

14 Oluvannyuma Pawulo yawulira nti omusajja oyo yali akoze enkyukakyuka ez’amaanyi. Yali yeenenyezza mu bwesimbu. Wadde ng’omusajja oyo yali aleese ekivume ku kibiina, Pawulo yagamba abakadde nti yali tayagala kuba ‘mukambwe’ gy’ali. Yabagamba “okumusonyiwa n’okumubudaabuda.” Weetegereze ensonga lwaki Pawulo yabagamba okukola bwe batyo. Yagamba nti: “Aleme okutendewalirwa olw’okunakuwala ennyo.” Pawulo yasaasira omusajja oyo eyali yeenenyezza. Yali tayagala anakuwale nnyo olw’ekyo kye yali akoze, ekyandimuviiriddeko okuggweeramu ddala amaanyi n’atayongera kutereeza nkolagana ye ne Yakuwa.​—Soma 2 Abakkolinso 2:5-8, 11.

15. Abakadde booleka batya endowooza etagudde lubege bwe kituuka ku kusaasira abalala?

15 Okufaananako Yakuwa, abakadde nabo booleka obusaasizi. Bakangavvula omuntu aba akutte ekkubo ekkyamu bwe kiba kyetaagisa, naye era bafuba okulaga obusaasizi. Singa abakadde tebabaako kye bakola okukangavvula omuntu aba akutte ekkubo ekkyamu, awo baba tebalaze busaasizi wabula baba babikkirira ekibi kye. Naye abakadde be bokka abalina okusaasira abalala?

FFENNA TUYINZA TUTYA OKULAGA ABALALA OBUSAASIZI?

16. Okusinziira ku Engero 21:13, Yakuwa atwala atya abo abatasaasira balala?

16 Abakristaayo bonna basaanidde okukoppa Yakuwa mu kulaga abalala obusaasizi. Lwaki? Ensonga emu eri nti Yakuwa tawuliriza ssaala z’abo abatasaasira balala. (Soma Engero 21:13.) Tewali n’omu ku ffe yandyagadde Yakuwa kugaana kuwuliriza ssaala ze. N’olwekyo tusaanidde okwegendereza tuleme kubeera bantu abatasaasira balala. Tetusaanidde kuba bantu abatafaayo nga waliwo Mukristaayo munnaffe abonaabona. Mu kifo ky’ekyo, bulijjo tulina okuba abeetegefu okuwuliriza ‘okukaaba kw’omunaku.’ Ate era tusaanidde okujjukira okubuulirira kuno: “Oyo atali musaasizi ajja kusalirwa omusango awatali kusaasirwa.” (Yak. 2:13) Bwe tukijjukira nti twetaaga okusaasirwa, ekyo kituyamba naffe okuba abasaasizi. Okusingira ddala tusaanidde okusaasira omwonoonyi aba yeenenyezza n’akomawo mu kibiina.

17. Kabaka Dawudi yalaga atya obusaasizi?

17 Ebyokulabirako by’abantu aboogerwako mu Bayibuli bituyamba okuyiga okuba abasaasizi n’okwewala obutasaasira balala. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku Kabaka Dawudi. Emirundi mingi yasaasiranga abalala. Wadde nga Sawulo yali ayagala okutta Dawudi, Dawudi yasaasira kabaka oyo Katonda gwe yali afuseeko amafuta n’agaana okumwesasuza oba okumutuusaako akabi.​—1 Sam. 24:9-12, 18, 19.

18-19. Mirundi ki ebiri Dawudi gye yalemererwa okwoleka obusaasizi?

18 Naye waliwo ebiseera Dawudi lwe yalemererwa okulaga abalala obusaasizi. Ng’ekyokulabirako, Nabbali omusajja ataalina kisa bwe yayogera obubi ku Dawudi era n’agaana okumuwa ye n’abasajja be yali nabo eby’okulya, Dawudi yasunguwala n’asalawo nti yali agenda kutta Nabbali n’abasajja bonna ab’omu nnyumba ye. Ekirungi Abbigayiri mukyala wa Nabbali alina kye yakolawo mu bwangu n’awonya Dawudi okubaako omusango gw’okuyiwa omusaayi.​—1 Sam. 25:9-22, 32-35.

19 Ku mulungi omulala, nnabbi Nasani yabuulira Dawudi ku musajja omugagga eyabba endiga ya muliraanwa we eyali omwavu. Ekyo kyanyiiza nnyo Dawudi era n’agamba nti: “Nga Yakuwa bw’ali omulamu, omusajja eyakola ekyo agwanidde okufa!” (2 Sam. 12:1-6) Dawudi yali amanyi bulungi amateeka Katonda ge yali yawa Abayisirayiri. Omuntu eyabanga abbye endiga yalinanga okusasulamu endiga endala nnya. (Kuv. 22:1) Kyokka ye Dawudi yali amusalidde gwa kufa! Nga yali tayolese kisa n’akatono! Naye ekituufu kiri nti ebyo Nasani bye yagamba Dawudi tebyaliyo, wabula yali ayagala kuyamba Dawudi okukitegeera nti yali akoze ebibi eby’amaanyi ennyo n’okusingawo. Era Yakuwa yalaga Dawudi obusaasizi obw’amaanyi okusinga Dawudi bwe yandiraze omubbi w’endiga Nasani gwe yayogerako!​—2 Sam. 12:7-13.

Kabaka Dawudi teyalaga busaasizi musajja Nasani gwe yayogerako mu lugero (Laba akatundu 19-20) *

20. Kiki kye tuyigira ku Dawudi?

20 Weetegereze nti Dawudi bwe yasunguwala, yasalawo nti Nabbali n’abasajja bonna ab’omu nnyumba ye baali bagwana kufa. Ate era oluvannyuma Dawudi yagamba nti omusajja Nasani gwe yayogerako yali agwanidde kufa. Dawudi yali amanyiddwa ng’omuntu ow’ekisa; naye lwaki yali asalidde omubbi ekibonerezo eky’okuttibwa. Lowooza ku mbeera eyaliwo. Mu kiseera ekyo, omuntu wa Dawudi ow’omunda yali amulumiriza olw’ebibi bye yali akoze. Omuntu bw’amala gasalira abalala omusango awatali kubalaga kisa, kiba kiraga nti enkolagana ye ne Yakuwa si nnungi. Yesu yagamba abagoberezi be nti: “Mulekere awo okusalira abalala omusango nammwe muleme kusalirwa musango; kubanga nga bwe musalira abalala omusango, nammwe bwe gulibasalirwa.” (Mat. 7:1, 2) N’olwekyo, ka tufube okwewala okuba abantu abatasaasira balala, wabula tube nga Katonda waffe “ow’okusaasira okungi.”

21-22. Tuyinza tutya okulaga abalala obusaasizi?

21 Bwe tuba abasaasizi, tetukoma ku kukwatirwa bukwatirwa balala kisa, wabula tubaako kye tukolawo okubayamba. N’olwekyo ffenna tusaanidde okufuba okulaba engeri gye tuyinza okuyambamu abantu be tubeera nabo mu maka gaffe, ab’omu kibiina kyaffe, oba ab’omu kitundu mwe tubeera ababa mu bwetaavu. Mazima ddala waliwo engeri nnyingi gye tuyinza okulagamu abalala obusaasizi. Waliwo omuntu eyeetaaga okubudaabudibwa? Tuyinza okubaako kye tukolawo okumuyamba, gamba ng’okumufunira emmere oba okubaako ekintu ekirala kye tumukolera? Mukkiriza munnaffe akomezeddwawo mu kibiina ayinza okuba nga yeetaaga emikwano egimubudaabuda era egimuzimba. Waliwo be tuyinza okubuulirako amawulire amalungi agabudaabuda? Okubuulira abalala amawulire amalungi y’emu ku ngeri ezisingayo obulungi gye tuyinza okulagamu abalala obusaasizi.​—Yob. 29:12, 13; Bar. 10:14, 15; Yak. 1:27.

22 Bwe tufaayo okumanya ebyetaago by’abalala, tujja kukiraba nti waliwo engeri nnyingi gye tuyinza okulagamu obusaasizi. Bwe tulaga abalala obusaasizi, kisanyusa nnyo Kitaffe ow’omu ggulu, Katonda “ow’okusaasira okungi”!

OLUYIMBA 43 Essaala ey’Okwebaza

^ lup. 5 Obusaasizi y’emu ku ngeri za Yakuwa, era buli omu ku ffe asaanidde okukulaakulanya engeri eyo. Mu kitundu kino tugenda kulaba engeri Yakuwa gy’ayolekamu obusaasizi, lwaki tuyinza okugamba nti akangavvula mu ngeri ey’obusaasizi, era n’engeri gye tuyinza okwolekamu engeri eyo.

^ lup. 11 Okusobola okumanya engeri omuntu aba akomezeddwamu mu kibiina gy’ayinza okutereeza enkolagana ye ne Katonda era n’engeri abakadde gye basobola okumuyambamu, laba ekitundu “Okuddamu Okuba n’Enkolagana Ennungi ne Yakuwa,” mu magazini eno.

^ lup. 60 EBIFAANANYI: Taata bw’aba ali ku kasolya k’ennyumba ye, alengera mutabani we eyali azaaye ng’akomawo eka, era adduse n’agenda okumwaniriza.

^ lup. 64 EBIFAANANYI: Olw’okuba Kabaka Dawudi alumirizibwa omuntu we ow’omunda, asalira omusajja Nasani gw’ayogeddeko ekibonerezo eky’okuttibwa.