Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 43

Amagezi Aga Nnamaddala Galeekaanira mu Nguudo

Amagezi Aga Nnamaddala Galeekaanira mu Nguudo

“Amagezi aga nnamaddala galeekaanira mu nguudo. Googerera waggulu mu bifo eby’olukale.”​—NGE. 1:20.

OLUYIMBA 88 Njigiriza Amakubo Go

OMULAMWA *

1. Abantu bangi leero batwala batya amagezi agali mu Bayibuli? (Engero 1:20, 21)

 MU NSI nnyingi, kibaddenga kya bulijjo okulaba ababuulizi abasanyufu nga bayimiridde ku nguudo mu bifo awayita abantu abangi nga bagabira abantu ebitabo. Wali weenyigiddeko mu nkola eyo ey’okubuulira? Bwe kiba kityo, oboolyawo walowoozaako ku bigambo eby’akabonero ebiri mu kitabo ky’Engero, ebigamba nti amagezi galeekaanira mu nguudo nga gakoowoola abantu bagawulirize. (Soma Engero 1:20, 21.) Mu Bayibuli awamu ne bitabo byaffe, mulimu “amagezi aga nnamaddala,” kwe kugamba, amagezi agava eri Yakuwa. Amagezi ago abantu ge beetaaga okuwulira n’okukolerako okusobola okufuna obulamu obutaggwaawo. Tusanyuka nnyo omuntu bw’akkiriza ekitabo kye tumuwadde. Naye abamu tebakkiriza ebyo bye tubabuulira, era tebaagala kumanya ebyo Bayibuli by’eyigiriza. Abalala batusekerera. Abamu balowooza nti Bayibuli yava dda ku mulembe. Ate abalala bavumirira ebyo Bayibuli by’eyigiriza ku mitindo gy’empisa, era bagamba nti abo abagikolerako si ba kisa era beetwala okuba abatuukirivu. Wadde kiri kityo, Yakuwa akyeyongera okumanyisa abantu bonna amagezi agava gy’ali. Ekyo akikola atya?

2. Wa we tusobola okufuna amagezi aga nnamaddala, naye kiki abantu abasinga obungi kye basalawo okukola?

2 Engeri emu Yakuwa gy’amanyisaamu abantu amagezi aga nnamaddala, kwe kuyitira mu Kigambo kye Bayibuli. Kumpi buli muntu asobola okufuna Bayibuli. Ate byo ebitabo byaffe ebyesigamiziddwa ku Bayibuli? Olw’obuyambi bwa Yakuwa, ebitabo byaffe kati bivvuunulwa mu nnimi ezisukka mu 1,000. Abo abawuliriza amagezi agava eri Yakuwa, kwe kugamba, abo abasoma era ne bassa mu nkola ebyo bye bayiga, baganyulwa nnyo. Kyokka, abantu abasinga obungi basalawo obutawuliriza magezi agava eri Yakuwa. Bwe baba balina kye baagala okusalawo, bakozesa magezi gaabwe oba bawuliriza bantu bannaabwe. Abamu batunyooma olw’okuba tukolera ku ebyo Bayibuli by’egamba. Mu kitundu kino, tugenda kulaba ensonga lwaki abantu beeyisa bwe batyo. Naye ka tusooke tulabe engeri gye tusobola okufunamu amagezi agava eri Yakuwa.

OKUMANYA YAKUWA KITUSOBOZESA OKUFUNA AMAGEZI

3. Kiki kye tusaanidde okukola okusobola okufuna amagezi aga nnamaddala?

3 Omuntu ow’amagezi y’oyo akozesa ebyo by’amanyi okusobola okusalawo obulungi. Kyokka okuba n’amagezi aga nnamaddala kisingawo ku ekyo. Bayibuli egamba nti: “Okutya Yakuwa ye ntandikwa y’amagezi, era okumanya Oyo Asingayo Okuba Omutukuvu kwe kutegeera.” (Nge. 9:10) Bwe tuba nga tulina kye twagala okusalawo, tusaanidde okusalawo nga tusinziira ku kumanya kwe tulina okukwata ku “Oyo Asingayo Okuba Omutukuvu,” kwe kugamba, nga tulowooza ku ngeri Yakuwa gy’atwalamu ekyo kye tuba twagala okusalawo. Ekyo tusobola okukikola nga tusoma Bayibuli n’ebitabo byaffe ebyesigamiziddwa ku Bayibuli. Bwe tukola tutyo, tuba tukiraga nti tulina amagezi aga nnamaddala.​—Nge. 2:5-7.

4. Lwaki Yakuwa yekka y’asobola okutuwa amagezi aga nnamaddala?

4 Yakuwa ye nsibuko y’amagezi, era ye yekka asobola okutuwa amagezi aga nnamaddala. (Bar. 16:27) Lwaki tugamba bwe tutyo? Lwa nsonga nga ssatu. Esooka, olw’okuba ye Mutonzi, amanyi bulungi nnyo buli kimu ekikwata ku bitonde bye. (Zab. 104:24) Ey’okubiri, ebyo byonna Yakuwa by’akola byoleka amagezi. (Bar. 11:33) N’ey’okusatu, amagezi agava eri Yakuwa bulijjo gaganyula abo abagakolerako. (Nge. 2:10-12) Bwe tuba nga twagala okuba n’amagezi aga nnamaddala, tulina okukijjukiranga nti Yakuwa ye nsibuko y’amagezi era ne tukolera ku magezi g’atuwa nga tulina kye twagala okusalawo ne kye twagala okukola.

5. Abantu bwe bagaana okukolera ku magezi agava eri Yakuwa, biki ebivaamu?

5 Waliwo abantu be tusanga nga tubuulira, abakkiriza nti ebintu byakolebwa mu ngeri eyeewuunyisa. Kyokka tebakkiriza nti eriyo Omutonzi era bagamba nti ebintu byajja bifuukafuuka. Ate abalala bagamba nti bakkiririza mu Katonda, kyokka bagamba nti emitindo gy’empisa egiri mu Bayibuli gyava dda ku mulembe era basalawo okweyisa nga bwe baagala. Biki ebivuddemu? Okuba nti abantu basalawo okukolera ku magezi gaabwe mu kifo ky’okukolera ku magezi agava eri Katonda, kivuddemu akalungi konna? Balina essanyu erya nnamaddala, oba essuubi ekkakafu erikwata ku biseera eby’omu maaso? Ebiriwo mu nsi biraga nti ebigambo bino ebiri mu Bayibuli bituufu ddala: “Tewayinza kubaawo magezi, kutegeera, wadde okuteesa mu kuwakanya Yakuwa.” (Nge. 21:30) Ekyo kituleetera okweyongera okusaba Yakuwa atuwe amagezi aga nnamaddala. Naye, lwaki abantu abasinga obungi tebakolera ku magezi agava eri Yakuwa?

ENSONGA LWAKI ABANTU BAGAANA AMAGEZI AGA NNAMADDALA

6. Okusinziira ku Engero 1:22-25, bantu ba ngeri ki abagaana okuwuliriza amagezi aga nnamaddala?

6 Abantu bangi tebawuliriza ng’amagezi aga nnamaddala “galeekaanira mu nguudo.” Bayibuli eyogera ku bantu ba biti bisatu abagaana okuwuliriza ebigambo eby’amagezi. Abantu abo be bano: ‘abatalina kye bamanyi,’ “abasekerezi,” “n’abasirusiru.” (Soma Engero 1:22-25.) Ka tulabe ebireetera abantu ng’abo okugaana okuwuliriza amagezi agava eri Katonda, era n’engeri gye tuyinza okwewala okubeera nga bo.

7. Lwaki abamu basalawo okusigala nga ‘tebalina kye bamanyi’?

7 “Abatalina kye bamanyi” aboogerwako wano beebo abakkiriza buli kimu kye baba bawulidde, era ababuzaabuzibwa amangu. (Nge. 14:15.) Tutera okusanga abantu ng’abo nga tubuulira. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku bantu bukadde na bukadde ababuzaabuziddwa amadiini ne bannabyabufuzi. Abamu bawulira bubi bwe bakitegeera nti baabuzaabuzibwa. Naye abo aboogerwako mu Engero 1:22 basalawo okusigala nga tebalina kye bamanyi olw’okuba bwe batyo bwe baagala okubeera. (Yer. 5:31) Baagala nnyo okukola ebyo bo bye baagala, era tebaagala kumanya ebyo ebiri mu Bayibuli n’okukolera ku mitindo gyayo. Bangi balinga omukyala omu abeera mu Quebec, Canada, eyagamba Abajulirwa ba Yakuwa abaali bagenze okumubuulira nti, “Bwe kiba nti abakulembeze b’eddiini yaffe baatubuzaabuza, eyo nsobi yaabwe so si yaffe!” Kya lwatu tetwagala kubeera ng’abo abasalawo mu bugenderevu okubeera mu butamanya!​—Nge. 1:32; 27:12.

8. Tuyinza tutya okukyoleka nti tulina amagezi aga nnamaddala?

8 Bayibuli tetukubiriza kusigala mu butamanya, wabula etukubiriza ‘okubeera abakulu mu kutegeera.’ (1 Kol. 14:20) Bwe tukolera ku misingi gya Bayibuli mu bulamu bwaffe, tuba tukiraga nti tulina amagezi aga nnaddala. Ate era tulaba engeri Bayibuli gy’etuyamba okwewala ebizibu n’okusalawo mu ngeri ey’amagezi. N’olwekyo, kiba kirungi okwekeberanga okulaba obanga tukolera ku magezi agava eri Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, bw’oba ng’omaze ebbanga ng’oyiga Bayibuli era ng’obaawo mu nkuŋŋaana, kiba kirungi okwebuuza ensonga lwaki tonnasalawo kwewaayo eri Yakuwa n’okubatizibwa. Ate bw’oba nga wabatizibwa, kiba kirungi okwebuuza obanga weeyongedde okulongoosa mu ngeri gy’obuuliramu ne gy’oyigirizaamu. Ebyo bye tusalawo biraga nti tukolera ku misingi gya Bayibuli? Twoleka engeri ez’Ekikristaayo nga tukolagana n’abalala? Bwe tulaba nga waliwo we twetaaga okulongoosaamu, kiba kikulu okukolera ku magezi Yakuwa g’atuwa, ‘agageziwaza atalina bumanyirivu.’​—Zab. 19:7.

9. “Abasekerezi” bakiraga batya nti tebaagala magezi agava eri Yakuwa?

9 Ekiti eky’okubiri eky’abantu abagaana okukolera ku magezi agava eri Katonda be ‘basekerezi.’ Oluusi tusanga abantu ng’abo nga tubuulira. Banyumirwa nnyo okusekerera abalala. (Zab. 123:4) Bayibuli egamba nti mu nnaku ez’enkomerero, wandibaddewo abasekerezi bangi. (2 Peet. 3:3, 4) Okufaananako bakoddomi ba Lutti, abantu abamu leero tebassaayo mwoyo ku kulabula okubaweebwa. (Lub. 19:14) Abantu bangi basekerera abo abakolera ku misingi gya Bayibuli. Abasekerezi batwalirizibwa “okwegomba kwabwe okw’ebintu ebitali bya butuukirivu.” (Yud. 7, 17, 18) Engeri Bayibuli gy’eyogera ku basekerezi etuukana bulungi n’endowooza bakyewaggula n’abantu abalala abataagala ku kolera ku magezi agava eri Yakuwa gye balina.

10. Nga bwe kiragibwa mu Zabbuli 1:1, tuyinza tutya okwewala okutwalirizibwa ebyo abasekerezi bye boogera?

10 Tuyinza tutya okwewala okutwalirizibwa endowooza z’abasekerezi? Engeri emu, kwe kwewala okukolagana n’abo abalina omuze ogw’okwemulugunya. (Soma Zabbuli 1:1.) Tetusaanidde kuwuliriza bakyewaggula bye boogera oba okusoma ebintu byabwe. Ate era tukimanyi nti singa tetwegendereza, naffe tusobola okufuna omuze ogw’okwemulugunya n’okubuusabuusa obulagirizi bwe tufuna mu kibiina kya Yakuwa. Ekyo okusobola okukyewala, tusaanidde okwebuuza ebibuuzo nga bino: ‘Ntera okwemulugunya nga tufunye obulagirizi obupya oba okutegeera okupya okw’ebyawandiikibwa? Ntera okunoonya ensobi mu abo abatwala obukulembeze mu kibiina?’ Bwe twanguwa okutereeza endowooza embi gye tuba tufunye, kisanyusa nnyo Yakuwa.​—Nge. 3:34, 35.

11. “Abasirusiru” batwala batya emitindo gya Yakuwa egy’empisa?

11 Ekiti eky’okusatu eky’abantu abagaana okukolera ku magezi agava eri Yakuwa be ‘basirusiru.’ Basirusiru kubanga bagaana okukolera ku mitindo gya Yakuwa egikwata ku mpisa, ne bakola ebyo bye balaba nga bye birungi mu maaso gaabwe. (Nge. 12:15) Abantu ng’abo bagaana okuwuliriza Yakuwa, Ensibuko y’amagezi. (Zab. 53:1) Bwe tubasanga nga tubuulira batera okutuvumirira olw’okuba tugoberera emitindo gya Yakuwa egy’empisa. Naye abantu ng’abo tebasobola kutuyamba kuba na bulamu bulungi. Bayibuli egamba nti: “Eri omusirusiru amagezi tegasobola kufunika; era taba na kya kwogera ku mulyango gw’ekibuga.” (Nge. 24:7) Abantu ng’abo tebaba na magezi ga muganyulo ge basobola kutuwa. Tekyewuunyisa nti Yakuwa atugamba ‘okwewala omuntu omusirusiru’!​—Nge. 14:7.

12. Kiki ekinaatuyamba okwewala okuba ng’abasirusiru?

12 Obutafaananako abo abagaana okukolera ku magezi agava eri Yakuwa, ffe twagala nnyo amagezi gonna Yakuwa g’atuwa era n’okukolera ku mitindo gye egy’empisa. Ekinaatuyamba okweyongera okwagala okukolera ku mitindo gya Yakuwa kwe kugeraageranya emiganyulo egiri mu kugikolerako, n’ebizibu ebiva mu butagikolerako. Lowooza ku bizibu abantu bye beereetera olw’okugaana okukolera ku magezi Yakuwa g’atuwa. Era lowooza ku ngeri obulamu bwo gye bulongooseemu olw’okuba okolera ku magezi Yakuwa g’atuwa.​—Zab. 32:8, 10.

13. Yakuwa atukaka okukolera ku magezi g’atuwa?

13 Yakuwa ataddewo ebisobozesa abantu bonna okufuna amagezi agava gy’ali, kyokka takaka muntu yenna kugakolerako. Naye atubuulira ebivaamu singa omuntu agaana okukolera ku magezi g’atuwa. (Nge. 1:29-32) Abo abasalawo okujeemera Yakuwa “ebinaabatuukako bijja kuba bibagwanira.” Engeri gye beeyisaamu ejja kubaviirako okufuna obulumi, ebizibu, era oluvannyuma bajja kuzikirizibwa. Ku luuyi olulala, abo abawuliriza amagezi Yakuwa g’atuwa era ne bagakolerako, Yakuwa abasuubiza nti ‘bajja kubeera mu mirembe nga tebatya kabi konna.’​—Nge. 1:33.

AMAGEZI AGA NNAMADDALA GATUGANYULA

Okwenyigira mu nkuŋŋaana kituyamba okunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa (Laba akatundu 15)

14-15. Kiki kye tuyiga mu Engero 4:23?

14 Bulijjo tuganyulwa bwe tukolera ku magezi Yakuwa g’atuwa. Nga bwe tulabye, amagezi agava eri Yakuwa mangu okufuna. Ng’ekyokulabirako, mu kitabo ky’Engero, Yakuwa atuwa amagezi amalungi ennyo agasobola okutuyamba mu bulamu bwaffe singa tugakolerako. Ka tulabeyo amagezi ga mirundi ena agali mu kitabo ekyo.

15 Kuuma omutima gwo ogw’akabonero. Bayibuli egamba nti: “Kuumanga omutima gwo okusinga ekintu ekirala kyonna, kubanga gwe gusibukamu ensulo ez’obulamu.” (Nge. 4:23) Lowooza ku bintu bye twetaaga okukola okusobola okukuuma emitima gyaffe gyennyini nga miramu bulungi. Twetaaga okulya emmere erimu ekiriisa, okukola dduyiro, n’okwewala emize emibi. Okusobola okukuuma omutima gwaffe ogw’akabonero, tukola ebintu ebifaananako bwe bityo. Tusoma Ekigambo kya Katonda buli lunaku, tweteekerateekera enkuŋŋaana z’Ekikristaayo, tuzibeeramu era ne tuzeenyigiramu. Twenyigira mu mulimu gw’okubuulira obutayosa. Ate era tufuba okulaba nti tetuyiga mize mibi nga twewala ekintu kyonna ekiyinza okwonoona ebirowoozo byaffe, gamba ng’eby’okwesanyusaamu ebitasaana era n’emikwano emibi.

Okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku ssente kituyamba okuba abamativu n’ebyo bye tulina (Laba akatundu 16)

16. Lwaki amagezi agali mu Engero 23:4, 5 ga muganyulo nnyo leero?

16 Beera mumativu n’ebyo by’olina. Bayibuli egamba nti: “Teweekooya kunoonya bya bugagga. . . . Bw’obitunuulira, tebibaawo, kubanga byefunira ebiwaawaatiro ng’empungu ne bibuuka mu bbanga.” (Nge. 23:4, 5) Eby’obugagga tebiba bya lubeerera. Kyokka abantu bangi, abaavu n’abagagga, bakola nnyo basobole okufuna ssente nnyingi. Ekyo kibaleetera okukola ebintu ebibaviirako okwonoona erinnya lyabwe, okwonoona enkolagana yaabwe n’abalala, era n’okukosa obulamu bwabwe. (Nge. 28:20; 1 Tim. 6:9, 10) Ku luuyi olulala, okuba n’amagezi agava eri Katonda kituyamba okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku ssente. Okuba n’endowooza ennuŋŋamu kituyamba obutaluubirira kuba na bintu bingi, era ekyo ne kituyamba okuba abamativu era abasanyufu.​—Mub. 7:12.

Bwe tusooka okulowooza nga tetunnayogera, kituyamba okwewala okwogera ebigambo ebirumya abalala (Laba akatundu 17)

17. Kiki ekinaatuyamba okwogeranga “ebigambo by’ab’amagezi,” nga bwe kiragibwa mu Engero 12:18?

17 Sooka olowooze nga tonnaba kwogera. Bwe tuteegendereza, ebigambo bye twogera biyinza okuleetawo ebizibu bingi. Bayibuli egamba nti: “Ayogera nga tasoose kulowooza, ebigambo bye bifumita ng’ekitala, naye ebigambo by’ab’amagezi biwonya.” (Nge. 12:18) Bwe twewala olugambo tuba n’enkolagana ennungi n’abalala. (Nge. 20:19) Okusobola okwogera ebigambo ebiwonya, mu kifo ky’ebyo ebirumya, tulina okujjuza emitima gyaffe amagezi agali mu Kigambo kya Katonda. (Luk. 6:45) Bwe tufumiitiriza ku ebyo bye tusoma mu Bayibuli, ebigambo byaffe bisobola okuba ‘ng’ensibuko y’amagezi’ era nga bizzaamu abalala amaanyi.​—Nge. 18:4.

Okugoberera obulagirizi bwe tufuna, kisobola okutuyamba okulongoosa mu buweereza bwaffe (Laba akatundu 18)

18. Okukolera ku magezi agali mu Engero 24:6 kisobola kitya okutuyamba mu buweereza bwaffe?

18 Goberera obulagirizi. Bayibuli etuwa amagezi gano agasobola okutuyamba okutuuka ku buwanguzi mu bulamu. Egamba nti: “Okusobola okulwana olutalo kyetaagisa obulagirizi obulungi, era bwe wabaawo abawi b’amagezi abangi wabaawo obuwanguzi.” (Nge. 24:6, obugambo obuli wansi) Lowooza ku ngeri amagezi ago gye gayinza okutuyamba okuba ababuulizi abalungi era abasomesa abalungi. Mu kifo ky’okubuulira n’okuyigiriza nga tukolera ku magezi gaffe, tufuba okugoberera obulagirizi obutuweebwa. Tufuna obulagirizi obulungi mu nkuŋŋaana zaffe ez’Ekikristaayo, gye tusobola okuyigira ku balala abayigiriza obulungi nga bakozesa Bayibuli. Ate era ekibiina kya Yakuwa kituwa eby’okukozesa, gamba ng’ebitabo ne vidiyo, ebisobola okuyamba abantu okutegeera ebyo ebiri mu Bayibuli. Ofuba okufuna obumanyirivu mu kukozesa ebintu ebyo?

19. Olowooza otya ku magezi Yakuwa g’atuwa? (Engero 3:13-18)

19 Soma Engero 3:13-18. Tusiima nnyo amagezi amalungi agali mu Kigambo kya Katonda. Obulamu bwaffe tebwandibadde na makulu singa tetulina Kigambo kya Katonda. Mu kitundu kino, tulabye amagezi ag’omuganyulo agali mu kitabo ky’Engero. Kyo kituufu nti Bayibuli yonna erimu amagezi amalungi okuva eri Yakuwa. Bulijjo ka tube bamalirivu okukolera ku magezi Yakuwa g’atuwa. Engeri abantu mu nsi gye batwalamu amagezi ago si kikulu. Tuli bakakafu nti “abo abaganywererako bajja kuyitibwa basanyufu.”

OLUYIMBA 36 Tukuuma Emitima Gyaffe

^ Amagezi Yakuwa g’atuwa gasingira wala nnyo amagezi gonna ge tuyinza okufuna mu nsi. Mu kitundu kino tugenda kwekenneenya ebigambo ebiri mu kitabo ky’Engero, ebigamba nti amagezi galeekaanira mu nguudo. Ate era tugenda kulaba engeri gye tuyinza okufunamu amagezi aga nnamaddala, ensonga lwaki abamu tebakolera ku magezi agava eri Yakuwa, era n’emiganyulo egiri mu kukolera ku magezi agava eri Yakuwa.