Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 42

“Balina Essanyu Abo Abakuuma Obugolokofu” Bwabwe eri Yakuwa

“Balina Essanyu Abo Abakuuma Obugolokofu” Bwabwe eri Yakuwa

“Balina essanyu abo abakuuma obugolokofu . . . , abatambulira mu mateeka ga Yakuwa.”​—ZAB. 119:1, obugambo obuli wansi.

OLUYIMBA 124 Tubeerenga Beesigwa

OMULAMWA *

Abamu ku b’oluganda abaasibibwako mu makomera n’abo abakyali mu makomera olw’okusigala nga beesigwa eri Yakuwa (Laba akatundu 1-2)

1-2. (a) Gavumenti ezimu ziyisizza zitya abantu ba Yakuwa, naye kiki abantu ba Yakuwa kye bakola? (b) Lwaki tusobola okuba abasanyufu nga tuyigganyizibwa? (Yogera ne ku kifaananyi ekiri ku ddiba.)

 WETWOGERERA, omulimu gwaffe ogw’okubuulira gukugirwa oba gwawerebwa mu nsi ezisukka mu 30. Mu zimu ku nsi ezo, baganda baffe ne bannyinaffe baasibibwa mu makomera. Kikyamu ki kye baakola? Tewali kikyamu kyonna kye baakola mu maaso ga Yakuwa. Kye babavunaana kwe kusoma Bayibuli, okubuulirako abalala ebyo bye bakkiririzaamu, era n’okukuŋŋaana awamu ne bakkiriza bannaabwe. Ate era baagaana okubaako oludda lwe bawagira mu by’obufuzi. Wadde nga abaweereza ba Yakuwa abo bayigganyizibwa nnyo, basigadde beesigwa eri Yakuwa, * ne bakiraga nti bamwemaliddeko. Era ekyo kibaleetera essanyu!

2 Oboolyawo wali alabyeko ebifaananyi bya baganda baffe ne bannyinnaffe abayigganyizibwa era n’olaba nga balina akamwenyumwenyu ku matama. Basanyufu olw’okuba bakimanyi nti Yakuwa abasiima olw’okusigala nga beesigwa gy’ali. (1 Byom. 29:17a) Yesu yagamba nti: “Balina essanyu abayigganyizibwa olw’obutuukirivu . . . Musanyuke era mujaguze, kubanga empeera yammwe nnene.”​—Mat. 5:10-12.

BAATUTEERAWO EKYOKULABIRAKO

Abakristaayo ab’omu kiseera kino abayinza okugenda mu kkooti okulwanirira okukkiriza kwabwe, balina kye basobola okuyigira ku Peetero ne Yokaana (Laba akatundu 3-4)

3. Nga bwe kiragibwa mu Ebikolwa 4:19, 20, abatume bwe baayigganyizibwa baakola ki era lwaki baakola bwe batyo?

3 Baganda baffe ne bannyinnaffe bayita mu mbeera y’emu ng’abatume abaaliwo mu kyasa ekyasooka gye baayitamu. Abatume baayigganyizibwa olw’okubuulira ebikwata ku Yesu. Emirungi mingi abalamuzi ba kkooti y’Abayudaaya enkulu ‘baabalagira obutaddamu kwogera mu linnya lya Yesu.’ (Bik. 4:18; 5:27, 28, 40) Kiki abatume kye baakola? (Soma Ebikolwa 4:19, 20.) Baali bakimanyi nti oyo eyali asinga abalamuzi abo obuyinza ye yali abalagidde “okubuulira abantu n’okuwa obujulirwa mu bujjuvu” ku Kristo. (Bik. 10:42) Peetero ne Yokaana, abaali bakiikiridde abatume baayogera n’obuvumu nti baali bajja kugondera Katonda so si balamuzi abo era ne bagamba nti baali tebajja kulekera awo kubuulira ebikwata ku Yesu. Baalinga ababuuza abalamuzi abo nti, ‘Obuyinza bwe mulina businga obwa Katonda?’

4. Nga bwe kiragibwa mu Ebikolwa 5:27-29, kyakulabirako ki abatume kye baateerawo Abakristaayo ab’amazima era tuyinza tutya okubakoppa?

4 Abatume baateerawo Abakristaayo bonna ab’amazima ekyokulabirako kye bakyagoberera n’okutuusa leero, kwe kugamba, ‘okugondera Katonda so si bantu.’ (Soma Ebikolwa 5:27-29.) Abatume bwe baamala okukubibwa, baafuluma mu kkooti enkulu ey’Abayudaaya “nga basanyufu olw’okuba Katonda yali abawadde enkizo okuweebuulwa olw’erinnya lya Yesu,” era beeyongera okubuulira.​—Bik. 5:40-42.

5. Bibuuzo ki ebyetaaga okuddibwamu?

5 Ekyokulabirako abatume kye bassaawo kireetawo ebibuuzo bino ebikulu. Abatume bandisobodde batya okugondera Katonda mu kifo ky’okugondera abantu, ate mu kiseera kye kimu ne bagondera ekiragiro ekiri mu Byawandiikibwa ekigamba nti: “buli muntu agonderenga ab’obuyinza”? (Bar. 13:1) Tuyinza tutya ‘okugondera abafuzi n’ab’obuyinza’ ng’omutume Pawulo bwe yagamba, ate mu kiseera kye kimu ne tusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa Omufuzi waffe ow’Oku Ntikko?​—Tit. 3:1.

“AB’OBUYINZA”

6. (a) “Ab’obuyinza” aboogerwako mu Abaruumi 13:1 be baani, era tusaanidde kukolagana tutya nabo? (b) Kiki kye tuyinza okwogera ku buyinza abafuzi bonna ab’ensi bwe balina?

6 Soma Abaruumi 13:1. Mu lunyiriri luno, ekigambo “ab’obuyinza” kitegeeza abafuzi b’ensi abalina obuyinza ku balala. Abakristaayo basaanidde okugondera ab’obuyinza abo. Ab’obuyinza abo bakuuma emirembe n’obutebenkevu, bakwasisa amateeka, era emirundi egimu bawolereza abantu ba Yakuwa. (Kub. 12:16) N’olwekyo, ebyawandiikibwa bitulagira okubawa emisolo, empooza, okubatya, era n’okubawa ekitiibwa kye baagala. (Bar. 13:7) Kyokka, gavumenti z’abantu zirina obuyinza olw’okuba Yakuwa azikkiriza okuba nabwo. Ekyo Yesu yakiraga bulungi, Gavana Omuruumi eyali ayitibwa Pontiyo Piraato bwe yali amuwozesa. Piraato bwe yayogera ku buyinza bwe yalina okusonyiwa Yesu oba okumuwaayo attibwe, Yesu yamuddamu nti: “Tewandibadde na buyinza bwonna ku nze singa tebwakuweebwa kuva waggulu.” (Yok. 19:11) Okufaananako Piraato, obuyinza abafuzi bonna ab’ensi bwe balina buliko ekkomo.

7. Mbeera ki mwe tutasaanidde kugondera ba buyinza era kiki kye tusaanidde okujjukira?

7 Abakristaayo bagondera gavumenti kasita kiba nti amateeka gaazo tegakontana na mateeka ga Katonda. Tetuyinza kugondera bantu singa batugamba okukola ebintu Katonda by’atugaana okukola oba singa batugaana okukola ebintu Katonda by’ayagala tukole. Ng’ekyokulabirako, bayinza okwagala abavubuka okuyingira amagye. * Oba bayinza okuwera Bayibuli n’ebitabo byaffe oba ne batugaana okubuulira n’okukuŋŋaana awamu okusinza. Abafuzi bwe bakozesa obubi obuyinza bwabwe ne bayigganya abagoberezi ba Kristo, bavunaanyizibwa mu maaso ga Katonda. Era Yakuwa abalaba!​—Mub. 5:8.

8. Obuyinza abafuzi b’ensi bwe balina bwenkana n’obuyinza Yakuwa bw’alina? Nnyonnyola.

8 Wadde nga gavumenti z’abantu zirina obuyinza, obuyinza bwazo si bwa nkomeredde. Yakuwa yekka y’alina obuyinza obw’enkomeredde. Emirundi ena mu Bayibuli, Yakuwa Katonda ayogerwako nga “Oyo Ali Waggulu wa Byonna.”​—Dan. 7:18, 22, 25, 27.

“OYO ALI WAGGULU WA BYONNA”

9. Biki Danyeri bye yalaba mu kwolesebwa?

9 Nnabbi Danyeri yalaba okwolesebwa okwalaga nti Yakuwa y’alina obuyinza obusingiridde. Danyeri yasooka kulaba ensolo nnya ezaali zikiikirira obufuzi kirimaanyi obwaliwo edda; obwa Babulooni, obwa Bumeedi ne Buperusi, obwa Buyonaani, n’obwa Rooma, era n’obufuzi kirimaanyi obuliwo leero obwa Bungereza ne Amerika. (Dan. 7:1-3, 17) Oluvannyuma Danyeri yalaba Yakuwa ng’atudde ku ntebe ye ey’Obwakabaka okulamula. (Dan. 7:9, 10) Ekyo Danyeri kye yaddako okulaba, kwali kulabula eri abafuzi abaliwo leero.

10. Okusinziira ku Danyeri 7:13, 14, 27, baani Yakuwa baawa obuyinza okufuga ensi, era ekyo kiraga ki ku buyinza Yakuwa bw’alina?

10 Soma Danyeri 7:13, 14, 27. Katonda aggya obuyinza ku gavumenti z’abantu n’abuwa abo abagwanira okuba nabwo era ababasinga amaanyi. Be baani abo? Abuwa “oyo eyali afaanana ng’omwana w’omuntu,” nga ye Yesu Kristo, era ‘n’abatukuvu b’Oyo Ali Waggulu wa Byonna,’ nga be Bakristaayo 144,000 abaafukibwako amafuta era abajja okufuga “emirembe n’emirembe.” (Dan. 7:18) Awatali kubuusabuusa, Yakuwa ‘y’Oyo Ali Waggulu wa Byonna,’ kubanga ye yekka alina obuyinza okukola ekintu ng’ekyo.

11. Kiki ekirala Danyeri kye yawandiika ekiraga nti Yakuwa alina obuyinza bungi nnyo okusinga abantu?

11 Ebyo Danyeri bye yalaba mu kwolesebwa bikakasa ekyo kye yali yayogera emabega. Yagamba nti: “Katonda w’eggulu . . . aggyawo bakabaka era ateekawo bakabaka.” Ate era yawandiika nti: “Oyo Asingayo Okuba Waggulu y’Afuga mu bwakabaka bw’abantu era . . . , abuwa oyo yenna gw’ayagala.” (Dan. 2:19-21; 4:17) Ddala waliwo ebiseera Yakuwa lwe yaggyako abafuzi b’ensi n’ateekako abalala? Yee!

Yakuwa yaggya obwakabaka ku Berusazza n’abuwa Abameedi n’Abaperusi (Laba akatundu 12)

12. Waayo ebyokulabirako ebiraga engeri Yakuwa gye yaggya bakabaka ku ntebe mu biseera eby’edda. (Laba ekifaananyi.)

12 Yakuwa akiraze emirundi mingi nti alina obuyinza bungi nnyo okusinga abantu “abali mu buyinza.” Lowooza ku byokulabirako bino ebisatu: Falaawo Kabaka wa Misiri yayisa abantu ba Yakuwa ng’abaddu era n’agaana okubata bagende. Naye Katonda yaggya abantu be mu buddu era n’attira Falaawo mu Nnyanja Emmyufu. (Kuv. 14:26-28; Zab. 136:15) Kabaka Berusazza owa Babulooni yateekateeka ekijjulo ne ‘yeeguluumiriza ku Mukama w’eggulu’ era ‘n’atendereza bakatonda aba ffeeza ne zzaabu’ mu kifo ky’okutendereza Yakuwa. (Dan. 5:22, 23) Naye Katonda yatoowaza Kabaka oyo eyali ow’amalala. “Mu kiro ekyo kyennyini,” Berusazza yattibwa era obwakabaka bwe ne buweebwa Abameedi n’Abaperusi. (Dan. 5:28, 30, 31) Kabaka Kerode Agulipa I owa Palesitayini yatta omutume Yakobo era n’akwata omutume Peetero n’amuteeka mu kkomera nga naye ayagala kumutta. Naye Yakuwa yalemesa Kerode okutta Peetero, era oluvannyuma ‘malayika wa Yakuwa yamulwaza,’ n’afa.​—Bik. 12:1-5, 21-23.

13. Waayo ebyokulabirako ebiraga engeri Yakuwa gye yawangulamu bakabaka abaali beegasse awamu.

13 Yakuwa era yakiraga nti y’ali waggulu wa byonna okuyitira mu ngeri gye yawangulamu amawanga ageegatta awamu okulwanyisa abantu be. Yalwanirira Abayisirayiri n’abasobozesa okuwangula bakabaka Abakanani 31 abaali beegasse awamu, era Abayisirayiri ne basobola okutwala ekitundu kinene eky’Ensi Ensuubize. (Yos. 11:4-6, 20; 12:1, 7, 24) Yakuwa era yawangula Kabaka Beni-kadadi owa Busuuli ne bakabaka abalala 32 abaali bazze okulwanyisa Abayisirayiri.​—1 Bassek. 20:1, 26-29.

14-15. (a) Kabaka Nebukadduneeza ne Kabaka Daliyo baayogera ki ku bufuzi bwa Yakuwa? (b) Kiki omuwandiisi wa Zabbuli kye yayogera ku Yakuwa ne ku abo abamusinza?

14 Emirundi mingi Yakuwa akiraze nti y’Oyo Ali Waggulu wa Byonna! Kabaka Nebukadduneeza owa Babulooni bwe yali nga yeewaana ‘olw’amaanyi ge n’olw’ekitiibwa ky’obwakabaka bwe,’ mu kifo ky’okukiraba nti Yakuwa y’agwanidde okutenderezebwa, Yakuwa yamusuula eddalu. Nebukadduneeza bwe yatereera, yatendereza “Oyo Asingayo Okuba Waggulu” era n’akkiriza nti ‘obufuzi bwa Yakuwa bwa mirembe gyonna.’ Ate era yagamba nti: “Tewali n’omu asobola kumuziyiza.” (Dan. 4:30, 33-35) Oluvannyuma lw’obwesigwa bwa Danyeri okugezesebwa era Yakuwa n’amuwonya okuliibwa empologoma, Kabaka Daliyo yalagira nti: “Abantu bonna balina okutyanga Katonda wa Danyeri n’okumussangamu ekitiibwa, kubanga ye Katonda omulamu, era abeerawo emirembe n’emirembe. Obwakabaka bwe tebulizikirizibwa n’obufuzi bwe bwa mirembe gyonna.”​—Dan. 6:7-10, 19-22, 26, 27.

15 Omuwandiisi wa zabbuli yagamba nti: “Yakuwa alemesezza entegeka z’amawanga; agootaanyizza enteekateeka z’abantu.” Yagattako nti: “Lirina essanyu eggwanga eririna Yakuwa nga Katonda waalyo, abantu b’alonze okuba ababe.” (Zab. 33:10, 12) Awatali kubuusabuusa, tulina ensonga nyingi ezituleetera okusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa!

OLUTALO OLUNAASEMBAYO

Amawanga aganaaba geegasse awamu tegajja kusobola kuwangula Yakuwa n’eggye lye ery’omu ggulu (Laba akatundu 16-17)

16. “Ekibonyoobonyo ekinene” bwe kinaatuuka, tuli bakakafu ku ki era lwaki? (Laba ekifaananyi.)

16 Tulabye ebintu Yakuwa bye yakola mu biseera eby’edda. Kiki Yakuwa ky’ajja okukola mu biseera eby’omu maaso? Tuli bakakafu nti Yakuwa ajja kununula abaweereza be abeesigwa mu “kibonyoobonyo ekinene” ekinaatera okutuuka. (Mat. 24:21; Dan. 12:1) Ekyo ajja kukikola, amawanga aganaaba geegasse awamu agayitibwa Googi ow’e Magoogi, bwe ganaaba galumbye abaweereza be mu nsi yonna. Amawanga ago ne bwe ganaabeera amawanga gonna 193 agali mu kibiina ky’Amawanga Amagatte, tegajja kusobola kuwangula Oyo Ali Waggulu wa Byonna ng’ali wamu n’eggye lye ery’omu ggulu. Yakuwa agamba nti: “Ndyegulumiza, ne nneetukuza, era ne nneemanyisa mu maaso g’amawanga mangi; era balimanya nti nze Yakuwa.”​—Ezk. 38:14-16, 23; Zab. 46:10.

17. Bayibuli eraga nti kiki ekijja okutuuka ku bakabaka b’ensi era ne ku abo abakuuma obugolokofu bwabwe eri Yakuwa?

17 Googi bw’alirumba abantu ba Yakuwa, Yakuwa ajja kubaako ky’akolawo azikirize “bakabaka b’ensi yonna” ku lutalo Amagedoni. (Kub. 16:14, 16; 19:19-21) Oluvannyuma “abagolokofu be balibeera mu nsi, era abo abataliiko kya kunenyezebwa be baligisigalamu.”​—Nge. 2:21, obugambo obuli wansi.

TULINA OKUKUUMA OBUGOLOKOFU BWAFFE

18. Abakristaayo bangi babaddenga bamalirivu kukola ki era lwaki? (Danyeri 3:28)

18 Okumala emyaka mingi, Abakristaayo bangi bayigganyiziddwa era bangi batadde obulamu bwabwe mu kabi, olw’okuba baagala Yakuwa n’obufuzi bwe. Bamalirivu okukuuma obugolokofu bwabwe eri Yakuwa, okufaananako Abebbulaniya abasatu abaasuulibwa mu muliro olw’okusigala nga beesigwa eri Oyo Ali Waggulu wa Byonna. Yakuwa yabanunula olw’okukuuma obugolokofu bwabwe.​—Soma Danyeri 3:28.

19. Kiki Yakuwa ky’anaasinziirako okulamula abantu be, era ekyo kitwetaagisa kukola ki kati?

19 Kabaka Dawudi bwe yali ayogera ku kukuuma obugolokofu bwaffe eri Yakuwa yagamba nti: “Yakuwa ajja kulamula amawanga. Nnamula, Ai Yakuwa, okusinziira ku butuukirivu bwange n’okusinziira ku bugolokofu bwange.” (Zab. 7:8) Yagattako nti: “Obugolokofu n’obwesigwa ka binkuume.” (Zab. 25:21) Engeri esingayo obulungi gye tuyinza okutambuzaamu obulamu bwaffe, kwe kusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa era n’obutekkiriranya ka tube nga twolekaganye na mbeera ki. Bwe tunaakola bwe tutyo, tujja kuba ng’omuwandiisi wa zabbuli eyagamba nti: “Balina essanyu abo abakuuma obugolokofu . . . , abatambulira mu mateeka ga Yakuwa.”​—Zab. 119:1, obugambo obuli wansi.

OLUYIMBA 122 Ba Munywevu, Tosagaasagana!

^ Bayibuli ekubiriza Abakristaayo okugondera ab’obuyinza, kwe kugamba gavumenti z’ensi. Kyokka, gavumenti ezimu ziwakanya Yakuwa era ziyigganya abaweereza be. Tuyinza tutya okugondera ab’obuyinza, kyokka ne tusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa?

^ EBIGAMBO EBINNYONYOLWA: Okukuuma obugolokofu bwaffe eri Yakuwa kwe kusigala nga tuli beesigwa gyali n’eri obufuzi bwe ne bwe tuba nga twolekagana n’ebigezo eby’amaanyi.