Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 44

Kuuma Essuubi Lyo nga Linywevu

Kuuma Essuubi Lyo nga Linywevu

“Essuubi lyo lisse mu Yakuwa.”​—ZAB. 27:14.

OLUYIMBA 144 Kuumira Amaaso Go ku Mpeera!

OMULAMWA *

1. Ssuubi ki lye tulina?

 YAKUWA atusuubiza nti tujja kuba balamu emirembe gyonna. Abantu abamu balina essuubi ery’okufunira obulamu obwo obutaggwaawo mu ggulu. (1 Kol. 15:50, 53) Naye abantu abasinga obungi balina essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo ku nsi, nga balamu bulungi era nga basanyufu. (Kub. 21:3, 4) Ka tube nga tulina essuubi ery’okufunira obulamu obutaggwaawo mu ggulu oba ku nsi, essuubi eryo lya muwendo nnyo gye tuli.

2. Lwaki tuli bakakafu nti Yakuwa ajja kutuukiriza ebyo bye yatusuubiza?

2 Ekigambo “essuubi” nga bwe kikozesebwa mu Bayibuli, kiyinza okunnyonnyolwa “ng’okusuubira nti wajja kubaawo ebintu ebirungi.” Essuubi lye tulina erikwata ku biseera eby’omu maaso kkakafu, kubanga liva eri Yakuwa. (Bar. 15:13) Tumanyi ebyo bye yatusuubiza, era tukimanyi nti bulijjo atuukiriza ebyo by’aba asuubizza. (Kubal. 23:19) Tukimanyi nti Yakuwa ayagala nnyo okutuukiriza ebisuubizo bye era nti asobola okubituukiriza. N’olwekyo, tetulina kubuusabuusa kwonna nti ebyo bye yatusuubiza bijja kutuukirira.

3. Biki bye tugenda okulaba mu kitundu kino? (Zabbuli 27:14)

3 Kitaffe ow’omu ggulu atwagala nnyo era ayagala tumwesige. (Soma Zabbuli 27:14.) Essuubi lye tulina bwe liba nga linywevu, tujja kusobola okugumira ebizibu bye twolekagana nabyo kati era tujja kusigala nga tuli bavumu era nga tuli basanyufu, ka bibe bizibu ki bye tunaayolekagana nabyo mu biseera eby’omu maaso. Kati ka tulabe engeri essuubi lye tulina gye litukuumamu. Ka tusooke tulabe engeri essuubi gye liri ng’ennanga era n’engeri gye liri ng’enkofiira. Oluvannyuma tujja kulaba engeri gye tuyinza okunyweza essuubi lyaffe.

ESSUUBI LYE TULINA LIRI NG’ENNANGA

4. Essuubi lifaananako litya ennanga? (Abebbulaniya 6:19)

4 Omutume Pawulo yageraageranya essuubi lye tulina ku nnanga. (Soma Abebbulaniya 6:19.) Pawulo yateranga okusaabalira ku nnyanja, era yali akimanyi nti ennanga yakozesebwanga okuyamba eryato obutatwalibwa muyaga. Lumu bwe yali mu lyato, omuyaga ogw’amaanyi gwakunta. Yalaba abalunnyanja nga bassa ennanga mu mazzi eryato lireme kutomera njazi. (Bik. 27:29, 39-41) Ng’ennanga bw’ekuumira eryato mu kifo kimu, essuubi lye tulina lituyamba okunywerera ku Yakuwa nga twolekagana n’ebizibu. Lituyamba okusigala nga tuli bakkakkamu, kubanga tuba tukimanyi nti ebiseera eby’omu maaso bijja kuba birungi. Yesu yagamba nti abagoberezi be bandiyiganyiziddwa. (Yok. 15:20) N’olwekyo, okufumiitiriza ku ssuubi lye tulina erikwata ku biseera eby’omu maaso kituyamba okusigala nga tuli banywevu.

5. Okuba n’essuubi kyayamba kitya Yesu ng’ayolekaganye n’okufa?

5 Lowooza ku ngeri okuba n’essuubi gye kyayambamu Yesu okusigala nga mwesigwa eri Yakuwa, wadde nga yali akimanyi nti yali agenda kufiira mu bulimu obw’amaanyi. Ku lunaku lwa Pentekooti 33 E.E., omutume Peetero yajuliza ebigambo ebiri mu zabbuli ebiraga engeri Yesu gye yasigala nga mukkakkamu era nga muvumu. Wagamba nti: “Nja kubeeranga n’essuubi, kubanga tolindeka magombe, era tolireka mwesigwa wo kuvunda. . . . Olinzijuza essanyu nga ndi mu maaso go.” (Bik. 2:25-28; Zab. 16:8-11) Wadde nga Yesu yali akimanyi nti agenda kufa, yali mukakafu nti Katonda yandimuzuukizza era nti yandizzeemu okufuna essanyu ery’okubeera ne Kitaawe mu ggulu.​—Beb. 12:2, 3.

6. Ow’oluganda omu yayogera ki ku ssuubi?

6 Essuubi lye tulina liyambye baganda baffe ne bannyinaffe bangi okugumiikiriza. Lowooza ku w’Oluganda Leonard Chinn, eyali abeera mu Bungereza. Mu kiseera kya ssematalo eyasooka, yakwatibwa n’asibibwa olw’okugaana okuyigira amagye. Yateekebwa mu nkambi y’abasibe okumala emyezi ebiri, era oluvannyuma n’akozesebwa emirimu egy’amaanyi. Oluvannyuma yawandiika nti: “Bye nnayitamu byanjigiriza nti twetaaga okuba n’essuubi okusobola okugumiikiriza. Ekyokulabirako kya Yesu, eky’abatume ne bannabbi, awamu n’ebisuubizo bya Katonda ebiri mu Bayibuli, bisobola okutuyamba okugumiikiriza.” Essuubi lyali ng’ennanga eri Leonard, era naffe lisobola okubeera ng’ennanga gye tuli.

7. Ebizibu bye twolekagana nabyo bituyamba bitya okunyweza essuubi lyaffe? (Abaruumi 5:3-5; Yakobo 1:12)

7 Bwe tulaba engeri Yakuwa gy’atuyambamu okugumira ebizibu, ekyo kitulaga nti tusiimibwa gy’ali era essuubi lyaffe lyeyongera okunywera. (Soma Abaruumi 5:3-5; Yakobo 1:12.) Sitaani ayagala ebizibu bye twolekagana nabyo bitumalemu amaanyi, naye Yakuwa atuyamba okubigumira.

ESSUUBI LYE TULINA LIRINGA ENKOFIIRA

8. Essuubi lifaananako litya enkofiira y’omusirikale? (1 Abassessalonika 5:8)

8 Bayibuli era egeraageranya essuubi lye tulina ku nkofiira omusirikale gye yayambalanga. (Soma 1 Abassessalonika 5:8.) Omusirikale yayambalanga enkofiira okusobola okukuuma omutwe gwe guleme kukosebwa ng’ali mu lutalo. Mu lutalo olw’eby’omwoyo lwe tulimu, twetaaga okukuuma ebirowoozo byaffe Sitaani aleme kubyonoona. Akozesa ebintu ebitali bimu okutukema n’okwonoona ebirowoozo byaffe. Ng’enkofiira bw’ekuuma omutwe gw’omusirikale, essuubi lye tulina likuuma ebirowoozo byaffe ne kituyamba okusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa.

9. Abantu bwe bataba na ssuubi, biki ebivaamu?

9 Essuubi lye tulina ery’okufuna obulamu obutaggwaawo lituyamba okweyisa mu ngeri ey’amagezi. Kyokka singa tutandika okulowooza ku bintu ebibi, okukkiriza kwaffe kuyinza okuddirira, essuubi lye tulina ne liba nga terikyali linywevu. Ekyo kye kyatuuka ku Bakristaayo abamu abaali mu kibuga Kkolinso eky’edda. Baalekera awo okukkiririza mu kisuubizo kya Katonda ekikulu ennyo, eky’okuzuukira. (1 Kol. 15:12) Omutume Pawulo yalaga nti abantu abatalina ssuubi lya kuzuukira babaawo kukkusa bukkusa kwegomba kwabwe okw’omubiri. (1 Kol. 15:32) Leero, abantu abatalina ssuubi lya kuzuukira beenyigira mu buli kimu kye balowooza nti kijja kubayamba okufuna essanyu. Naye ffe tukkiririza mu bisuubizo bya Katonda. Essuubi lye tulina liri ng’enkofiira ekuuma ebirowoozo byaffe ne twewala okukola ebintu ebiyinza okwonoona enkolagana yaffe ne Yakuwa.​—1 Kol. 15:33, 34.

10. Okuba n’essuubi kituyamba kitya okwewala endowooza enkyamu?

10 Essuubi lye tulina era lituyamba obutalowooza nti tekigasa kukola ebyo ebisanyusa Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, abamu bayinza okugamba nti, ‘Siyinza kuba mu abo abanaafuna obulamu obutaggwaawo. Sisobola kukolera ku mitindo gya Katonda.’ Kijjukire nti Erifaazi naye yakozesa ebigambo ebifaananako ebyo bwe yali ayogera ne Yobu. Yagamba nti: “Omuntu obuntu ayinza atya okuba omulongoofu?” Ate era, Erifaazi yayogera bw’ati ku Katonda: “Laba! Teyeesiga batukuvu be, era n’eggulu si ddongoofu mu maaso ge.” (Yob. 15:14, 15) Ebigambo ebyo bya bulimba! Sitaani y’ayagala abantu balowooze bwe batyo. Akimanyi nti bw’oba n’endowooza ng’eyo ojja kuggwaamu essuubi. N’olwekyo, tetusaanidde kukkiriza bulimba ng’obwo, wabula ebirowoozo byaffe tusaanidde kubimalira ku bisuubizo bya Yakuwa. Beera mukakafu nti Yakuwa ayagala obe mulamu emirembe gyonna, era nti ajja kukuyamba okutuuka ku kiruubirirwa ekyo.​—1 Tim. 2:3, 4.

KUUMA ESSUUBI LYO NGA LINYWEVU

11. Lwaki tusaanidde okuba abagumiikiriza nga bwe tulindirira Yakuwa okutuukiriza ebyo bye yasuubiza?

11 Si kyangu okukuuma essuubi lyaffe nga linywevu. Tuyinza okuwulira nga Yakuwa aluddewo okutuukiriza ebisuubizo bye. Kyokka tusaanidde okukijjukira nti Yakuwa abeerawo emirembe gyonna, era nti engeri gy’atwalamu ebiseera ya njawulo ku ngeri ffe gye tubitwalamu. (2 Peet. 3:8, 9) Ajja kutuukiriza ebyo bye yasuubiza, naye ayinza obutabituukiririza mu kiseera ffe kye tusuubira. Tuyinza tutya okukuuma essuubi lyaffe nga linywevu, nga bwe tulindirira Yakuwa okutuukiriza ebyo bye yasuubiza?​—Yak. 5:7, 8.

12. Okusinziira ku Abebbulaniya 11:1, 6, kakwate ki akaliwo wakati w’essuubi n’okukkiriza?

12 Essuubi lyaffe lijja kusigala nga linywevu singa tusigala tulina enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa, era nga tuli bakakafu nti ajja kutuukiriza ebyo bye yasuubiza. Mu butuufu, Bayibuli eraga nti waliwo akakwate ka maanyi wakati w’essuubi n’okuba n’okukkiriza nti Yakuwa gy’ali era nti “y’awa empeera abo abafuba okumunoonya.” (Soma Abebbulaniya 11:1, 6.) Yakuwa gy’akoma okuba owa ddala gye tuli, gye tukoma okuba abakakafu nti ajja kutuukiriza ebyo byonna bye yatusuubiza. Kati ka tulabe engeri gye tuyinza okunywezaamu enkolagana yaffe ne Yakuwa, kitusobozese okukuuma essuubi lyaffe nga linywevu.

Okusaba n’okufumiitiriza bijja kutuyamba okukuuma essuubi lyaffe nga linywevu (Laba akatundu 13-15) *

13. Kiki ekinaatuyamba okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Katonda?

13 Saba Yakuwa, era soma Ekigambo kye. Wadde nga tetusobola kulaba Yakuwa, tusobola okuba n’enkolagana ey’oku lusegere naye. Tusobola okumusaba nga tuli bakakafu nti ajja kuddamu essaala zaffe. (Yer. 29:11, 12) Tuwuliriza Katonda nga tusoma Ekigambo kye era nga tukifumiitirizaako. Bwe tusoma ku ngeri Yakuwa gye yayambamu abantu abaali abeesigwa gy’ali mu biseera eby’edda, essuubi lyaffe lyeyongera okunywera. Byonna ebyawandiikibwa mu Kigambo kya Katonda “byawandiikibwa okutuyigiriza, tusobole okuba n’essuubi okuyitira mu bugumiikiriza ne mu kubudaabuda okuva mu Byawandiikibwa.”​—Bar. 15:4.

14. Lwaki tusaanidde okufumiitiriza ku ebyo Yakuwa bye yakolera abalala?

14 Fumiitiriza ku ngeri Yakuwa gy’azze atuukirizaamu ebisuubizo bye. Lowooza ku ekyo Yakuwa kye yakolera Ibulayimu ne Saala. Baali bakaddiye era nga basussizza emyaka egy’okuzaala. Kyokka Yakuwa yabasuubiza nti bandizadde omwana. (Lub. 18:10) Ekyo Ibulayimu yakitwala atya? Bayibuli egamba nti: “Yali akkiriza nti ajja kufuuka kitaawe w’amawanga amangi.” (Bar. 4:18) Wadde nga mu ndaba ey’obuntu ekyo kyalabika ng’ekitasoboka, Ibulayimu yali mukakafu nti Yakuwa yandituukirizza ekisuubizo kye, era Yakuwa yatuukiriza ekyo kye yali asuubizza Ibulayimu. (Bar. 4:19-21) Ebintu ng’ebyo bye tusoma mu Bayibuli bituleetera okuba abakakafu nti Yakuwa ajja kutuukiriza ebisuubizo bye byonna, ka kibe nti gye tuli kiyinza okulabika ng’ekitasoboka.

15. Lwaki tusaanidde okufumiitiriza ku ebyo Yakuwa by’atukoledde?

15 Lowooza ku ebyo Yakuwa by’akukoledde. Lowooza ku ngeri ggwe gy’oganyuddwa mu kutuukirizibwa kw’ebisuubizo bya Katonda ebiri mu Bayibuli. Ng’ekyokulabirako, Yesu yasuubiza nti Kitaawe ajja kukola ku byetaago byo eby’omubiri. (Mat. 6:32, 33) Ate era Yesu yatukakasa nti bwe tusaba Yakuwa atuwe omwoyo gwe omutukuvu, ajja kugutuwa. (Luk. 11:13) Yakuwa atuukirizza ebisuubizo ebyo byonna. Ate era oyinza n’okulowooza ku bintu ebirala Yakuwa by’akukoledde. Ng’ekyokulabirako, yasuubiza okukusonyiwa ebibi byo, okukubudaabuda, n’okukulabirira mu by’omwoyo. (Mat. 6:14; 24:45; 2 Kol. 1:3) Bw’ofumiitiriza ku ebyo Yakuwa by’akukoledde, kijja kukuleetera okuba omukakafu nti n’ebyo by’asuubiza okutukolera mu biseera eby’omu maaso, ajja kubituukiriza.

SANYUKA OLW’ESSUUBI LY’OLINA

16. Lwaki essuubi kirabo kya muwendo nnyo?

16 Essuubi lye tulina ery’okufuna obulamu obutaggwaawo, kirabo kya muwendo nnyo okuva eri Yakuwa. Twesunga ebintu ebirungi Yakuwa by’asuubiza okutukolera mu biseera eby’omu maaso, era tuli bakakafu nti bijja kutuukirira. Essuubi eryo liri ng’ennanga gye tuli, kubanga lituyamba okugumira ebizibu, okugumira okuyigganyizibwa, era n’okusigala nga tuli beesigwa nga twolekaganye n’okufa. Ate era liri ng’enkofiira, kubanga likuuma ebirowoozo byaffe ne lituyamba okwewala ebintu ebibi n’okunywerera ku kituufu. Essuubi lye tulina lituyamba okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Katonda era liraga nti atwagala nnyo. Tuganyulwa nnyo bwe tukuuma essuubi lyaffe nga linywevu.

17. Lwaki tusobola okuba abasanyufu olw’essuubi lye tulina?

17 Mu bbaluwa gye yawandiikira Abaruumi, omutume Pawulo yabakubiriza nti: “Musanyukenga olw’essuubi lye mulina.” (Bar. 12:12) Pawulo yali asobola okuba omusanyufu kubanga yali mukakafu nti bwe yandisigadde nga mwesigwa eri Yakuwa, yandifunye obulamu obutaggwaawo mu ggulu. Naffe tusobola okuba abasanyufu olw’essuubi lye tulina, kubanga tuli bakakafu nti Yakuwa ajja kutuukiriza ebyo bye yatusuubiza. Omuwandiisi wa zabbuli yagamba nti, “Alina essanyu . . . oyo asuubirira mu Yakuwa Katonda we, . . . oyo abeera omwesigwa ekiseera kyonna.”​—Zab. 146:5, 6.

OLUYIMBA 139 Weerabe nga Byonna Bizziddwa Buggya

^ Yakuwa atusuubiza nti ebiseera eby’omu maaso bijja kuba birungi nnyo. Essuubi eryo lituzzaamu amaanyi era lituyamba obutamalira birowoozo byaffe ku bizibu bye twolekagana nabyo kati. Lituyamba okusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa, ka tube nga twolekagana n’ebizibu eby’amaanyi. Ate era lituyamba obutatwalirizibwa ndowooza eziyinza okwonoona ebirowoozo byaffe. Nga bwe tugenda okuyiga mu kitundu kino, ezo ze zimu ku nsonga ezituleetera okukuuma essuubi lyaffe nga linywevu.

^ EBIFAANANYI: Ng’enkofiira bw’ekuuma omutwe gw’omusirikale, era ng’ennanga bw’ekuumira eryato mu kifo kimu ne litatwalibwa mbuyaga, essuubi lye tulina likuuma ebirowoozo byaffe era lituyamba okugumira ebizibu. Mwannyinaffe asaba nga mukakafu nti Yakuwa ajja kuddamu okusaba kwe. Ow’oluganda ng’afumiitiriza ku ngeri Katonda gye yatuukirizaamu ebyo bye yasuubiza Ibulayimu. Ow’oluganda omulala ng’afumiitiriza ku ngeri Yakuwa gy’amuwaddemu emikisa.