Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Lwaki Ffe Tetulwana Ntalo ng’Abayisirayiri ab’Edda bwe Baakolanga?

Lwaki Ffe Tetulwana Ntalo ng’Abayisirayiri ab’Edda bwe Baakolanga?

MU KISEERA kya ssematalo ow’okubiri, omukungu omu mu gavumenti y’Abanazi yagamba Abajulirwa ba Yakuwa nti: “Singa wabaawo n’omu ku mmwe agaana okugenda okulwanyisa Bufalansa ne Bungereza, mmwenna mujja kuttibwa!” Wadde ng’okumpi awo waaliwo abasirikale abaali bakutte emmundu, tewali n’omu ku baganda baffe abo eyakkiriza okugenda mu lutalo. Nga baayoleka obuvumu! Ekyokulabirako ekyo kiraga endowooza ffenna Abajulirwa ba Yakuwa gye tulina. Tetwenyigira mu ntalo z’ensi. Ne bwe baba nga batutiisizzatiisizza okututta, tusigala tetulina ludda lwe tuwagira mu ntalo.

Kyokka abantu bangi abeeyita Abakristaayo ekyo tebakkiriziganya nakyo. Bangi balowooza nti Omukristaayo alina okulwanirira ensi ye. Bayinza okugamba nti, ‘Abayisirayiri ab’edda baali bantu ba Katonda era baalwananga entalo; kiki ekigaana Abakristaayo okulwana entalo leero?’ Omuntu alina endowooza ng’eyo oyinza kumuddamu otya? Oyinza okumunnyonnyola nti embeera Abayisirayiri ab’edda gye baalimu yali ya njawulo nnyo ku eyo abantu ba katonda gye balimu leero. Ka tulabe enjawulo za mirundi ettaano.

1. ABANTU BA KATONDA BONNA BAALI BA GGWANGA LIMU

Mu biseera eby’edda, Yakuwa yakuŋŋaanya abantu be n’abateeka mu ggwanga limu, eriyitibwa Isirayiri. Abayisirayiri yabayita ‘ekintu kye ekiganzi mu mawanga gonna.’ (Kuv. 19:5) Ate era Katonda yabateeka mu kitundu kimu. N’olwekyo Katonda bwe yagambanga Abayisirayiri okugenda okulwanyisa amawanga amalala, baali tebalwanyisa Bayisirayiri bannaabwe. *

Leero, abo abasinza Katonda mu ngeri entuufu bava ‘mu buli ggwanga n’ebika n’ennimi.’ (Kub. 7:9) N’olwekyo singa abantu ba Katonda beenyigira mu ntalo, bandibadde balwanyisa era nga batta bakkiriza bannaabwe.

2. YAKUWA YE YALAGIRANGA ABAYISIRAYIRI OKULWANA ENTALO

Mu biseera eby’edda, Yakuwa ye yasalangawo ekiseera Abayisirayiri mwe baalwaniranga entalo era n’ensonga lwaki baalina okulwana entalo ezo. Ng’ekyokulabirako, Katonda yalagira Abayisirayiri okuzikiriza Abakanani, abaasinzanga badayimooni, abeenyigiranga mu bikolwa eby’obugwenyufu, era abaassaddaakanga abaana. Yakuwa yali ayagala Abayisirayiri bamalewo ebikolwa ebibi mu nsi gye yali abasuubizza, kubanga yali tayagala Bayisirayiri beenyigire mu bikolwa ebyo. (Leev. 18:24, 25) Abayisirayiri bwe baatuuka mu Nsi Ensuubize, ebiseera ebimu Katonda yabakkirizanga okulwanyisa amawanga agaali gabanyigiriza. (2 Sam. 5:17-25) Kyokka tewali mulundi na gumu Katonda lwe yakkiriza Abayisirayiri okwesalirawo okugenda okulwana entalo. Era bwe baagendanga okulwana nga Katonda si y’abalagidde, baawangulwanga.​—Kubal. 14:41-45; 2 Byom. 35:20-24.

Leero, Yakuwa tagamba bantu kulwana ntalo. Abantu balwana entalo olw’ebigendererwa ebyabwe ku bwabwe so si ebya Katonda. Basobola okulwana entalo olw’okwagala okugaziya ensi zaabwe, olw’eby’enfuna, oba olw’eby’obufuzi. Ate abo abalwana entalo mu linnya lya Katonda nga bagamba nti balwanirira ddiini yaabwe oba nti batta abalabe ba Katonda? Yakuwa ajja kulwanirira abo abamusinza mu ngeri entuufu era azikirize abalabe be mu lutalo olujja okubaawo mu biseera eby’omu maaso, oluyitibwa Amagedoni. (Kub. 16:14, 16) Mu lutalo olwo, Katonda ajja kukozesa eggye lye ery’omu ggulu okulwana, so si baweereza be ab’oku nsi.​—Kub. 19:11-15.

3. ABAYISIRAYIRI TEBATTANGA ABO ABAAKIRAGANGA NTI BAKKIRIRIZA MU YAKUWA

Entalo ezirwanibwa leero zitaliza abantu abakkiririza mu Katonda ng’Abayisirayiri bwe baataliza Lakabu n’ab’eŋŋanda ze bwe baali bawamba Yeriko?

Mu biseera eby’edda Abayisirayiri bwe baagendanga okulwana, baatalizanga abo abaabanga bakiraze nti bakkiririza mu Katonda ne batta abo bokka Yakuwa be yabanga asalidde omusango nti balina okuttibwa. Lowooza ku byokulabirako bino ebibiri. Wadde nga Yakuwa yali alagidde Abayisirayiri okutta abantu bonna ab’omu Yeriko, Abayisirayiri tebatta Lakabu n’ab’omu maka ge kubanga Lakabu yayoleka okukkiriza. (Yos. 2:9-16; 6:16, 17) Ate oluvannyuma, abantu bonna ab’omu Gibiyoni tebattibwa olw’okuba Abagibiyoni baakiraga nti baali bawa Katonda ekitiibwa.​—Yos. 9:3-9, 17-19.

Leero, amawanga bwe gaba galwanagana tegataliza abo abakkiririza mu Katonda. Era oluusi bannaalumanya ne basaalumanya, nabo bafiira mu ntalo ezo.

4. ABAYISIRAYIRI BAALINANGA OKUGOBERERA AMATEEKA GA KATONDA AGAKWATA KU NTALO

Mu biseera eby’edda, Yakuwa yawanga Abayisirayiri obulagirizi bwe baalinanga okugoberera nga balwana entalo. Ng’ekyokulabirako, oluusi Katonda yagambanga Abayisirayiri nti nga tebannalwanyisa kibuga, baandisoosenga kubuulira abantu b’omu kibuga ekyo kye bandisinziddengako obutakirwanyisa. (Ma. 20:10) Yakuwa era yalagiranga abasirikale Abayisirayiri okukuumanga olusiisira lwabwe nga luyonjo era n’obuteenyigira mu bikolwa bibi. (Ma. 23:9-14) Wadde ng’abasirikale b’amawanga amalala baakwatanga abakazi mu bitundu bye baabanga bawambye, Yakuwa yagaana Abayisirayiri okukola ekikolwa ekyo. Mu butuufu, bwe baabanga bawambye ekibuga, tebakkirizibwanga kuwasa mukazi gwe baabanga bawambye mu lutalo, okutuusa nga wayiseewo omwezi gumu.​—Ma. 21:10-13.

Leero, ensi nnyingi zaateeka omukono ku ndagaano ezirimu amateeka ag’okugoberera mu biseera by’entalo. Wadde ng’amateeka ago gaateekebwawo okukuuma abantu aba bulijjo, oluusi tegagobererwa.

5. KATONDA YALWANIRIRANGA EGGWANGA LYE

Katonda alina eggwanga lyonna ly’alwanirira ku nsi leero nga bwe yayamba Abayisirayiri okuwamba Yeriko?

Mu biseera eby’edda, Yakuwa yalwaniriranga Abayisirayiri era ebiseera ebimu baawangulanga entalo mu ngeri ey’ekyamagero. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ngeri Yakuwa gye yayambamu Abayisirayiri okuwamba ekibuga Yeriko? Nga bagoberera obulagirizi bwa Yakuwa, Abayisirayiri ‘baalaya enduulu z’olutalo, bbugwe w’ekibuga n’agwa wansi,’ ne kibabeerera kyangu okuwamba ekibuga ekyo. (Yos. 6:20) Ate lowooza ku ngeri gye baawangulamu Abaamoni? Bayibuli egamba nti: ‘Yakuwa yasuula amayinja amanene ag’omuzira okuva mu ggulu ne gabakuba . . . Era abo abaafa amayinja ag’omuzira baali bangi okusinga abo Abayisirayiri be batta n’ekitala.’​—Yos. 10:6-11.

Leero, tewali ggwanga na limu ku nsi Yakuwa ly’alwanirira. Obwakabaka bwe obukulemberwa Yesu, “si bwa mu nsi muno.” (Yok. 18:36) Wabula Sitaani y’alina obuyinza ku gavumenti z’abantu zonna. Entalo ezirwanibwa mu nsi eziviiriddeko abantu bangi okubonaabona, zooleka omwoyo gwa Sitaani omubi.​—Luk. 4:5, 6; 1 Yok. 5:19.

ABAKRISTAAYO AB’AMAZIMA BAFUBA OKUBA MU MIREMBE N’ABALALA

Nga bwe tulabye, embeera gye tulimu leero eyawukana nnyo ku y’Abayisirayiri ab’edda. Kyokka, ezo si ze nsonga zokka ze tusinziirako obutalwana ntalo. Waliwo n’ensonga endala. Ng’ekyokulabirako, Katonda yagamba nti mu nnaku ez’enkomerero, abantu be ‘tebandiyize kulwana,’ era tebandyenyigidde mu ntalo. (Is. 2:2-4) Ate era, Kristo yagamba nti abagoberezi be “si ba nsi.” Ekyo kitegeeza nti tebalina ludda lwe bawagira mu ntalo z’ensi.​—Yok. 15:19.

Kristo era yakubiriza abagoberezi be okukola ekisingawo ku ekyo. Yabagamba okwewala ebintu ebiviirako abantu okufuna obukyayi, obusungu, n’okulwana entalo. (Mat. 5:21, 22) Ate era, yakubiriza abagoberezi be okubeera abantu “abaleetawo emirembe” era n’okwagala abalabe baabwe.​—Mat. 5:9, 44.

Naye kiki kye tusobola okukola ng’abantu kinoomu? Tuyinza okuba nga tetulina kirowoozo kyonna kya kwenyigira mu ntalo, naye kyandiba nga tulina obukyayi mu mitima gyaffe obuyinza okuleetawo obutakkaanya n’enjawukana mu kibiina? Ka tufube nnyo okweggyamu obukyayi bwonna bwe tuyinza okuba nabwo mu mitima gyaffe.​—Yak. 4:1, 11.

Mu kifo ky’okwenyigira mu ntalo z’amawanga, ka tweyongere okwagalana n’okuba mu mirembe n’abalala. (Yok. 13:34, 35) Ate era ka tube bamalirivu obutabaako ludda lwe tuwagira mu ntalo z’ensi, okutuusa Yakuwa lw’aliggirawo ddala entalo zonna.​—Zab. 46:9.

^ Oluusi ebika by’Abayisirayiri byalwanagananga, naye entalo ezo tezaasanyusanga Yakuwa. (1 Bassek. 12:24) Naye emirundi egimu Katonda yakkirizanga ebika by’Abayisirayiri ebimu okulwanyisa ebirala, kubanga ebika ebyo byabanga bimujeemedde oba nga bikoze ebintu ebibi ennyo.​—Bal. 20:3-35; 2 Byom. 13:3-18; 25:14-22; 28:1-8.