Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 43

“Ajja Kubafuula ba Maanyi”

“Ajja Kubafuula ba Maanyi”

“[Yakuwa] ajja kubanyweza, ajja kubafuula ba maanyi, era ajja kubateeka ku musingi omugumu.”​—1 PEET. 5:10.

OLUYIMBA 38 Ajja Kukuwa Amaanyi

OMULAMWA a

1. Yakuwa yayamba atya abaweereza be mu biseera by’edda okufuna amaanyi?

 EMIRUNDI egiwerako Bayibuli eraga nti abaweereza ba Yakuwa abeesigwa baalinga ba maanyi. Kyokka oluusi baawuliranga nti tebalina maanyi. Ng’ekyokulabirako, oluusi Kabaka Dawudi yawuliranga nga “munywevu ng’olusozi,” kyokka ebiseera ebimu yawuliranga ‘ng’atidde.’ (Zab. 30:7) Wadde nga Samusooni yabanga n’amaanyi mangi nnyo ng’aliko omwoyo omutukuvu, yagamba nti awatali mwoyo gwa Katonda ‘amaanyi gandimuweddemu n’anafuwa ng’abantu abalala bonna.’ (Balam. 14:​5, 6; 16:17) Ekyo kiraga nti Yakuwa ye yasobozesanga abaweereza be abo abeesigwa okuba ab’amaanyi.

2. Lwaki omutume Pawulo yagamba nti yali munafu ate era nti yali wa maanyi? (2 Abakkolinso 12:​9, 10)

2 Omutume Pawulo naye yakiraga nti yali yeetaaga okufuna amaanyi okuva eri Yakuwa. (Soma 2 Abakkolinso 12:​9, 10.) Okufaananako bangi ku ffe, Pawulo yali atawaanyizibwa obulwadde. (Bag. 4:​13, 14) Oluusi naye yakaluubirirwanga okukola ekituufu. (Bar. 7:​18, 19) Ate ebiseera ebimu yawuliranga nga yeeraliikiridde era nga tamanyi kiyinza kumutuukako. (2 Kol. 1:​8, 9) Wadde kyali kityo, Pawulo bwe yabanga omunafu, yabanga wa maanyi. Mu ngeri ki? Yakuwa yamuwanga amaanyi ge yabanga yeetaaga okusobola okugumira ebizibu. Yamufuula wa maanyi.

3. Bibuuzo ki ebigenda okuddibwamu mu kitundu kino?

3 Naffe Yakuwa atusuubiza okutufuula ab’amaanyi. (1 Peet. 5:10) Naye tetusuubira kufuna maanyi ago nga tetulina kye tukozeewo. Ng’ekyokulabirako, yingini esobozesa emmotoka okutambula. Kyokka emmotoka okusobola okutambula, omuvuzi waayo alina okulinnya ku muliro. Mu ngeri y’emu, Yakuwa mwetegefu okutuwa amaanyi ge twetaaga, naye tulina okubaako kye tukolawo okusobola okugafuna. Biki Yakuwa by’ataddewo ebisobola okutuyamba okufuna amaanyi? Era kiki kye tulina okukola okusobola okugafuna? Okusobola okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo, tugenda kulaba engeri Yakuwa gye yawaamu abantu bano basatu aboogerwako mu Bayibuli amaanyi: nnabbi Yona, Maliyamu maama wa Yesu, n’omutume Pawulo. Ate era tugenda kulaba engeri Yakuwa gy’awaamu abaweereza be amaanyi leero nga bwe yakolanga mu biseera eby’edda.

FUNA AMAANYI OKUYITIRA MU KUSABA NE MU KWESOMESA

4. Tuyinza tutya okufuna amaanyi okuva eri Yakuwa?

4 Engeri emu gye tuyinza okufunamu amaanyi okuva eri Yakuwa kwe kumusaba. Yakuwa addamu essaala zaffe ng’atuwa “amaanyi agasinga ku ga bulijjo.” (2 Kol. 4:7) Ate era bwe tusoma Ekigambo kye era ne tukifumiitirizaako, tusobola okufuna amaanyi. (Zab. 86:11) Obubaka obuli mu Bayibuli ‘bwa maanyi.’ (Beb. 4:12) Bw’osaba Yakuwa era n’osoma Ekigambo kye, osobola okufuna amaanyi ge weetaaga okusobola okugumira ebizibu, okusigala ng’oli musanyufu, n’okutuukiriza obuvunaanyizibwa obutali bwangu. Weetegereze engeri Yakuwa gye yawaamu nnabbi Yona amaanyi.

5. Lwaki nnabbi Yona yali yeetaaga okuzzibwamu amaanyi?

5 Nnabbi Yona yali yeetaaga okuzzibwamu amaanyi. Olw’okuba yatya okugenda mu kitundu Yakuwa gye yali amutumye, yalinnya ekyombo ekyali kigenda mu kitundu ekirala. N’ekyavaamu, yabulako katono okufiira mu muyaga ogw’amaanyi, era yassa mu kabi obulamu bw’abo be yali nabo mu kyombo. Bwe yasuulibwa mu nnyanja, yeesanga ng’ali mu kifo kye yali tabeerangamu; yali mu kizikiza mu lubuto lw’ekyennyanja ekinene. Olowooza Yona yali awulira atya? Yali asuubira okufiira mu lubuto lw’ekyennyanja ekyo? Kyandiba nti yali yeebuuza obanga Yakuwa yali amwabulidde? Yona ateekwa okuba nga yatya nnyo.

Okufaananako nnabbi Yona, tuyinza tutya okuzzibwamu amaanyi nga twolekagana n’ebigezo? (Laba akatundu 6-9)

6. Okusinziira ku Yona 2:​1, 2, 7, kiki ekyayamba Yona okuddamu okufuna amaanyi ng’ali mu lubuto lw’ekyennyanja?

6 Kiki Yona kye yakola okusobola okufuna amaanyi ng’ali yekka mu lubuto lw’ekyennyanja? Olusookera ddala, yasaba. (Soma Yona 2:​1, 2, 7.) Wadde nga yali ajeemedde Yakuwa, yeenenya, era yali mukakafu nti Yakuwa yandiwulirizza essaala ye. Ate era Yona yafumiitiriza ku Byawandiikibwa. Lwaki tugamba bwe tutyo? Essaala ye esangibwa mu Yona essuula 2, erimu ebigambo bingi ebisangibwa mu Zabbuli. (Ng’ekyokulabirako, geraageranya Yona 2:​2, 5 ne Zabbuli 69:1; 86:7.) Kyeyoleka lwatu nti Yona yali amanyi bulungi ebyawandiikibwa ebyo. Era okubifumiitirizaako ng’ali mu mbeera enzibu, kyamuyamba okuba omukakafu nti Yakuwa yandimuyambye. Oluvannyuma Yona yawonyezebwayo, era yali mwetegefu okutuukiriza obuvunaanyizibwa Yakuwa bwe yamuwa.​—Yon. 2:10–3:4.

7-8. Kiki ekiyambye ow’oluganda omu abeera mu Taiwan okufuna amaanyi okusobola okugumira ebizibu?

7 Ebyo bye tusoma ku Yona bisobola okutuyamba nga twolekagana n’ebizibu ebitali bimu. Ng’ekyokulabirako, ow’oluganda ayitibwa Zhiming b abeera mu Taiwan alina obulwadde obumutawaanya. Ng’oggyeeko ekyo, ab’eŋŋanda ze bamuyigganya nnyo olw’okuweereza Yakuwa. Okuyitira mu kusaba ne mu kwesomesa, Yakuwa amuwa amaanyi okugumira embeera eyo. Agamba nti: “Oluusi ebizibu bwe bimpitirirako, nneeraliikirira nnyo ne mba nga sisobola na kwesomesa.” Naye ekyo takikkiriza kumumalamu maanyi. Agamba nti: “Okusookera ddala nsaba Yakuwa. Ekiddako, mpuliriza ennyimba zaffe ez’Obwakabaka. Oluusi nnyimba ennyimba ezo mu ddoboozi erya wansi okutuusa lwe nzikakkana. Oluvannyuma ntandika okwesomesa.”

8 Ebimu ku bintu Zhiming bye yazuula nga yeesomesa byamuyamba okugumira embeera enzibu ennyo. Ng’ekyokulabirako, lumu bwe yali ng’amaze okulongoosebwa, omusawo yamugamba nti yalina omusaayi mutono ddala, era nti kyali kiyinza okumwetaagisa okuteekebwako omusaayi. Ekiro ng’okulongoosebwa okwo kugenda okubaawo enkeera, Zhiming yali asomye ku mwannyinaffe eyali yalongoosebwa mu ngeri y’emu nga naye gye yali agenda okulongoosebwamu. Oluvannyuma lwa mwannyinaffe oyo okulongoosebwa, yalina omusaayi mutono ddala n’okusinga Zhiming gwe yalina; kyokka yasobola okuwona wadde nga yagaana okuteekebwako omusaayi. Ebyo Zhiming bye yasoma ku mwannyinaffe oyo byamuyamba okusigala nga mwesigwa.

9. Bw’oba ng’oweddemu amaanyi olw’ekizibu ky’oyolekagana nakyo, kiki ky’osaanidde okukola? (Laba n’ebifaananyi.)

9 Oluusi bw’oba oyolekagana n’ekizibu owulira nga weeraliikiridde nnyo nga tosobola na kweyabiza bulungi Yakuwa mu kusaba? Oba owulira ng’oli mukoowu nnyo nga tosobola na kwesomesa? Kijjukire nti Yakuwa ategeera bulungi embeera yo. N’olwekyo, ne bw’osaba mu bigambo ebitono, ba mukakafu nti Yakuwa ajja kukuweera ddala ekyo kyennyini kye weetaaga. (Bef. 3:20) Bwe kiba nti obulumi bw’oyitamu oba okweraliikirira kw’olina kukifuula kizibu gy’oli okwesomesa, oyinza okuwuliriza Bayibuli n’ebitabo byaffe ebyakwatibwa mu maloboozi. Oyinza n’okuwuliriza olumu ku nnyimba zaffe oba okulaba vidiyo ku jw.org. Yakuwa ayagala okukuwa amaanyi, era ajja kugakuwa bw’onoomusaba era n’onoonyereza mu Bayibuli ne mu bintu ebirala by’atuwa.

BAKKIRIZA BANNO BASOBOLA OKUKUZZAAMU AMAANYI

10. Bakkiriza bannaffe batuzzaamu batya amaanyi?

10 Yakuwa asobola okukozesa bakkiriza bannaffe okutuzzaamu amaanyi. Basobola okutubudaabuda ‘n’okutuzzaamu ennyo amaanyi’ nga twolekagana n’ebizibu obanga nga tulina obuvunaanyizibwa obutali bwangu bwe tulina okutuukiriza. (Bak. 4:​10, 11) Okusingira ddala twetaaga nnyo emikwano “mu biro eby’okulaba ennaku.” (Nge. 17:17) Bwe tuba nga tuwulira nga tuweddemu amaanyi, bakkiriza bannaffe basobola okutuyamba mu by’omwoyo ne mu by’omubiri. Lowooza ku ngeri abalala gye bazzaamu Maliyamu, maama wa Yesu, amaanyi.

11. Lwaki Maliyamu yali yeetaaga okuzzibwamu amaanyi?

11 Maliyamu yali yeetaaga okuzzibwamu amaanyi. Lowooza ku ngeri gye yawuliramu nga Malayika Gabulyeri amutegeezezza obuvunaanyizibwa obutali bwangu bwe yalina okutuukiriza. Maliyamu teyali mufumbo, kyokka yali agenda kuba lubuto. Wadde nga teyalina bumanyirivu mu kukuza baana, yali agenda kukuza omwana eyali agenda okuba Masiya. Yali teyeegattangako na musajja yenna, kyokka yalina okugamba Yusufu, eyali amwogereza, nti ali lubuto. Kya lwatu ekyo tekyali kyangu.​—Luk. 1:​26-33.

12. Okusinziira ku Lukka 1:​39-45, Maliyamu yafuna atya amaanyi ge yali yeetaaga?

12 Maliyamu yafuna atya amaanyi okusobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa obwo obutaali bwangu? Yanoonya obuyambi okuva eri abalala. Ng’ekyokulabirako, yasaba Gabulyeri amubuulire ebisingawo ku buvunaanyizibwa obwo obwamuweebwa. (Luk. 1:34) Ate oluvannyuma lw’ekiseera kitono, yagenda “mu kitundu eky’ensozi” ekya Yuda okukyalira Erizabeesi gwe yalinako oluganda. Yaganyulwa nnyo mu kukyala okwo. Erizabeesi yayogera bulungi ku Maliyamu, era Yakuwa yamuluŋŋamya okwogera obunnabbi obuzzaamu amaanyi obwali bukwata ku mwana Maliyamu gwe yali agenda okuzaala. (Soma Lukka 1:​39-45.) N’ekyavaamu, Maliyamu yagamba nti Yakuwa yali “akoze eby’amaanyi n’omukono gwe.” (Luk. 1:​46-51) Yakuwa yazzaamu Maliyamu amaanyi okuyitira mu Gabulyeri ne mu Erizabeesi.

13. Mwannyinaffe omu abeera mu Bolivia yaganyulwa atya bwe yasaba bakkiriza banne obuyambi?

13 Okufaananako Maliyamu, naawe bakkiriza banno basobola okukuzzaamu amaanyi. Mwannyinaffe ayitibwa Dasuri, abeera mu Bolivia, yali yeetaaga okuzzibwamu amaanyi. Taata we bwe yaweebwa ekitanda ng’azuuliddwamu obulwadde obwali bugenda okumutta, Dasuri yabeerawo okumujjanjaba. (1 Tim. 5:4) Embeera eyo teyamubeerera nnyangu. Agamba nti: “Emirundi mingi nnawuliranga nga sikyasobola kugumira mbeera eyo.” Yasaba obuyambi? Teyasooka kubusaba. Agamba nti: “Nnali saagala kutawaanya ba luganda. Muli nnagambanga nti, ‘Yakuwa y’ajja okumpa obuyambi bwe nneetaaga.’ Naye oluvannyuma nnakiraba nti okweyawula ku balala nnali ngezaako okwaŋŋanga ekizibu kyange nzekka.” (Nge. 18:1) Dasuri yasalawo okuwandiikira ab’oluganda n’abannyonnyola embeera gye yali ayitamu. Agamba nti: “Sirina bigambo bye nnyinza kukozesa kunnyonnyola ngeri bakkiriza bannange gye banzizaamu amaanyi. Bandeeteranga emmere mu ddwaliro, era bansomeranga ebyawandiikibwa ebyanzizangamu amaanyi. Mazima ddala kirungi nnyo okukimanya nti tetuli ffekka. Tuli ba mu maka ga Yakuwa omuli baganda baffe ne bannyinaffe abeetegefu okutuyamba, okukaabira awamu naffe, n’okulwanira awamu naffe.”

14. Lwaki tusaanidde okukkiriza obuyambi abakadde bwe batuwa?

14 Yakuwa era atuwa amaanyi ng’ayitira mu bakadde. Abakadde birabo Yakuwa by’akozesa okutuyamba n’okutuzzaamu amaanyi. (Is. 32:​1, 2) N’olwekyo, bw’owulira nga weerariikirira, tegeezaako abakadde. Bwe bakuwa obuyambi, bukkirize. Yakuwa asobola okukuzzaamu amaanyi ng’ayitira mu bakadde.

FUNA AMAANYI OKUYITIRA MU SSUUBI ERIKWATA KU BISEERA EBY’OMU MAASO

15. Ssuubi ki Abakristaayo bonna lye balina?

15 Essuubi lye tulina lisobola okutuzzaamu amaanyi. (Bar. 4:​3, 18-20) Abakristaayo tulina essuubi ery’okubeera abalamu emirembe gyonna, mu lusuku lwa Katonda ku nsi oba mu Bakabaka obw’omu ggulu. Essuubi eryo lituwa amaanyi ne tusobola okugumira ebizibu, okubuulira amawulire amalungi, n’okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe tuli na mu kibiina. (1 Bas. 1:3) Pawulo naye yafuna amaanyi olw’essuubi eryo.

16. Lwaki Pawulo yali yeetaaga okuzzibwamu amaanyi?

16 Pawulo yali yeetaaga okuzzibwamu amaanyi. Mu bbaluwa gye yawandiikira Abakkolinso, yeegeraageranya ku kibya eky’ebbumba ekyatika amangu. Yali ‘anyigirizibwa,’ ‘ng’asobeddwa,’ ‘ng’ayigganyizibwa,’ era ng’ali ‘ng’asuulibwa wansi.’ Ate era obulamu bwe bwali mu kabi. (2 Kol. 4:​8-10) Ebigambo ebyo Pawulo yabiwandiika ali lugendo lwe olw’obuminsani olw’okusatu. Mu kiseera ekyo ayinza okuba nga yali takimanyi nti yali agenda kwolekagana n’ebizibu ebirala. Ekibiina ky’abantu kyali kigenda kumuyiikira kimukube, akwatibwe, eryato mwe yandibadde limenyekemenyeke, era oluvannyuma asibibwe.

17. Okusinziira ku 2 Abakkolinso 4:​16-18, kiki ekyayamba Pawulo okusobola okugumira ebizibu?

17 Pawulo yafuna amaanyi n’asobola okugumira ebizibu, olw’okuba yassa ebirowoozo bye ku ssuubi lye yalina. (Soma 2 Abakkolinso 4:​16-18.) Yagamba Abakkolinso nti wadde ng’omubiri gwe gwali ‘gugenda guggwaawo,’ ekyo teyandikikkirizza kumumalamu maanyi. Yassa ebirowoozo bye ku bintu ebirungi bye yandifunye mu biseera eby’omu maaso. Essuubi lye yalina ery’okufuna obulamu obutaggwaawo mu ggulu lyalina “ekitiibwa ekisingiridde,” era nga lisingira wala okubonaabona kwonna kwe yali ayitamu. Pawulo yafumiiitiriza ku ssuubi eryo era ekyo ne kimuyamba okuwulira ‘ng’azzibwa buggya buli lunaku.’

18. Essuubi Tihomir n’ab’omu maka ge lye balina, libayambye litya?

18 Ow’oluganda Tihomir, abeera mu Bulgaria, azziddwamu amaanyi olw’essuubi ly’alina. Emyaka mitono emabega, muganda we omuto eyali ayitibwa Zdravko, yafiira mu kabenje. Tihomir yamala ekiseera ng’awulira obulumi bungi. Okusobola okugumira embeera eyo, Tihomir awamu n’ab’omu maka ge baakuba akafaananyi ku ekyo ekinaabaawo mu kiseera ky’okuzuukira. Agamba nti: “Twakubaganya ebirowoozo ku wa we tujja okusisinkana Zdravko, emmere gye tujja okumufumbira, b’ani be tujja okuyita ku kabaka ke tunaasooka okumutegekera, era ne bye tujja okumunyumiza ebikwata ku nnaku ez’enkomerero.” Tihomir agamba nti okussa ebirowoozo byabwe ku ssuubi lye balina kibayamba okuguma nga bwe balindirira Yakuwa okuzuukiza muganda we.

Olowooza obulamu bwo buliba butya mu nsi empya? (Laba akatundu 19) c

19. Essuubi ly’olina okusobola okweyongera okuba erya ddala gy’oli, kiki ky’osaanidde okukola? (Laba n’ebifaananyi.)

19 Essuubi ly’olina liyinza litya okweyongera okuba erya ddala gy’oli? Bwe kiba nti essuubi ly’olina lya kubeera ku nsi emirembe gyonna, soma ku ebyo Bayibuli by’eyogera ebinaabeera mu Lusuku lwa Katonda era obifumiitirizeeko. (Is. 25:8; 32:​16-18) Lowooza ku bulamu bwe buliba mu nsi empya. Kuba akafaananyi nga gy’oli. B’ani b’olaba? Maloboozi ki g’owulira? Weewulira otya? Okusobola okukuyambako okukuba akafaananyi, tunuulira ebifaananyi ebiri mu bitabo byaffe ebiraga Olusuku lwa Katonda, oba laba vidiyo z’ennyimba gamba nga, Mu Nsi empya Ejja, Binaatera Okutuuka, oba Buliba Buti. Essuubi lye tulina ery’ensi empya bwe liba erya ddala gye tuli, ebizibu bye twolekagana nabyo biba birabika nga ‘bya kaseera buseera ate nga bitono.’ (2 Kol. 4:17) Essuubi Yakuwa ly’akuwadde lijja kukufuula wa maanyi!

20. Ne bw’oba ng’owulira nti oweddemu amaanyi, oyinza otya okuddamu okugafuna?

20 Ne bwe tuba nga tuwulira tuweddemu amaanyi, “Katonda ajja kutuwa amaanyi.” (Zab. 108:13) Yakuwa akuwadde byonna bye weetaaga okusobola okukuyamba okufuna amaanyi. N’olwekyo, bw’oba nga weetaaga obuyambi okusobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa obumu, okugumira ekizibu, oba okusigala ng’oli musanyufu, tuukirira Yakuwa mu kusaba era noonya obulagirizi bwe okuyitira mu kwesomesa. Kkiriza obuyambi bakkiriza banno bwe bakuwa. Bulijjo fumiitirizanga ku bintu ebirungi Katonda by’atusuubiza okutukolera mu biseera eby’omu maaso. Bw’onookola bw’otyo, ‘Katonda ajja kukuwa amaanyi gonna ge weetaaga, osobole okugumira byonna n’okugumiikiriza n’essanyu.’​—Bak. 1:11.

OLUYIMBA 33 Omugugu Gwo Gukwase Yakuwa

a Ekitundu kino kigenda kuyamba abo abawulira nti baweddemu amaanyi olw’ekizibu kye boolekagana nakyo oba olw’obuvunaanyizibwa bwe balowooza nti busukkiridde obusobozi bwabwe. Ate era kigenda kulaga engeri Yakuwa gy’ayinza okutuzzaamu amaanyi, ne kye tusaanidde okukola okusobola okufuna obuyambi bwe.

b Amannya agamu gakyusiddwa.

c EKIFAANANYI: Mwannyinaffe kiggala afumiitiriza ku bintu ebirungi Katonda by’atusuubiza, era alaba ne vidiyo y’oluyimba emuyambye okufumiitiriza ku ngeri obulamu bwe gye bulibaamu mu nsi empya.