Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Abayisirayiri bwe baali mu ddungu, baalina eby’okulya ebirala bye balyanga ng’oggyeeko emmaanu n’obugubi?

Okusingira ddala emmaanu ye mmere Abayisirayiri gye baalyanga mu myaka 40 gye baamala mu ddungu. (Kuv. 16:35) Emirundi ebiri Yakuwa yabawa n’obugubi. (Kuv. 16:​12, 13; Kubal. 11:31) Kyokka Abayisirayiri baalina n’eby’okulya ebirala ebitonotono.

Ng’ekyokulabirako, oluusi Yakuwa yakulemberangamu abantu be n’abatwala mu ‘bifo eby’okuwummuliramu’ omwali amazzi ag’okunywa n’emmere ey’okulya. (Kubal. 10:33) Ekimu ku bifo ebyo kyali kisangibwa “Erimu awaali ensulo z’amazzi 12 n’enkindu 70.” Kya lwatu nti enkindu ezo zaali za ntende. (Kuv. 15:27) Ekitabo ekiyitibwa Plants of the Bible kigamba nti entende “zisangibwa mu bitundu bingi . . . era bye bimera abantu bukadde na bukadde mu ddungu kwe baggya eby’okulya, butto, era ebibayamba okufuna ekisiikirize.”

Abayisirayiri era bayinza okuba nga baasiisirako mu kitundu leero ekiyitibwa Feiran, ekisangibwa mu kiwonvu ekiyitibwa Wadi Feiran. a Ekitabo ekiyitibwa Discovering the World of the Bible kigamba nti: “Ekiwonvu ekyo ekiriko obuwanvu bwa mayiro 81 kye kimu ku biwonvu ebisangibwa mu kitundu ky’e Sinaayi ebisingayo obuwanvu n’okulabika obulungi.” Ekitabo ekyo era kigamba nti: “Omuntu bw’atambula mayiro nga 28 okuva ekiwonvu ekyo we kyegattira ku nnyanja, atuuka mu kitundu ekiyitibwa Feiran. Ekitundu ekyo kiweza mayiro ssatu obuwanvu era kiri ku bugulumivu bwa ffuuti nga 2,000. Kijjudde enkindu z’entende era kirabika bulungi nnyo ne kiba nti kigeraageranyizibwa ku lusuku Edeni. Okumala emyaka mingi abantu bazze mu kitundu ekyo olw’entende ennyingi ennyo ezikirimu.”

Entende mu kitundu ky’e Feiran

Abayisirayiri bwa baali bava e Misiri, baavaayo n’obuwunga obukande, n’ebintu ebikandirwamu, kirabika n’emmere ey’empeke awamu ne butto. Kya lwatu nti ebintu ebyo byali tebisobola kubeerawo kumala bbanga ddene. Ate era Abayisirayiri baavaayo “n’endiga n’embuzi n’ente nnyingi.” (Kuv. 12:​34-39) Kyokka olw’embeera y’omu ddungu enzibu, kirabika omuwendo gw’ensolo gwagenda gukendeera. Ezimu ku zo Abayisirayiri bayinza okuba nga baazirya ate endala nga baaziwaayo nga ssaddaaka, n’eri bakatonda ab’obulimba. b (Bik. 7:​39-43) Wadde kyali kityo, Abayisirayiri baalinawo ensolo nga Yakuwa bwe yakyoleka mu bigambo bye yabagamba nga bamujeemedde. Yagamba nti: “Batabani bammwe baliba basumba mu ddungu okumala emyaka 40.” (Kubal. 14:33) N’olwekyo, kirabika baafunanga amata n’ennyama okuva mu nsolo zaabwe. Naye kyeyoleka lwatu nti ebyo byali tebisobola kumala bantu abaali bawera ng’obukadde busatu, okumala emyaka 40. c

Ensolo baaziggiranga wa emmere ey’okulya n’amazzi ag’okunywa? d Mu kiseera ekyo eddungu eryo liyinza okuba nga lyatonnyangamu enkuba ewerako, era n’olwekyo lyalimu omuddo oguwerako. Ekitabo Insight on the Scriptures, Omuzingo 1, kigamba nti emyaka 3,500 emabega, “eddungu Abayisirayiri lye baayitamu lyalimu amazzi mangiko okusinga bwe kiri leero. Okuba nti ekitundu ekyo kirimu enkonko nnyingi oba ebiwonvu edda ebyali emigga, kiraga nti mu biseera by’edda kyali kitonnyamu enkuba ewerako eyali esobola okuvaamu emigga.” Wadde kiri kityo, eddungu eryo lyali kkalu era nga lya ntiisa. (Ma. 8:​14-16) Singa Yakuwa teyawa Bayisirayiri awamu n’ensolo zaabwe amazzi mu ngeri ey’ekyamagero, bandisaanyeewo.​—Kuv. 15:​22-25; 17:​1-6; Kubal. 20:​2, 11.

Musa yagamba Abayisirayiri nti Yakuwa yabaliisa emmaanu okusobola okubayigiriza nti “omuntu taba mulamu lwa mmere yokka, naye aba mulamu olwa buli kigambo ekiva mu kamwa ka Yakuwa.”​—Ma. 8:3.

a Laba Watchtower eya Maayi 1, 1992, lup. 24-25.

b Bayibuli eyogera ku mirundi ebiri ensolo lwe zaaweebwayo eri Yakuwa nga ssaddaaka mu ddungu. Omulundi ogusooka obwakabona bwali butongozebwa; ate omulundi omulala yali Mbaga ya Kuyitako. Ssaddaaka ezo ez’emirundi ebiri zaaweebwayo mu 1512 E.E.T., nga gwe mwaka ogw’okubiri ng’Abayisirayi bamaze okuva e Misiri​—Leev. 8:14–9:24; Kubal. 9:​1-5.

c Ng’emyaka 40 gye baamala mu ddungu ginaatera okuggwaako, Abayisirayiri baalina ensolo mitwalo na mitwalo ze baafuna ng’omunyago okuva mu ntalo ze baalwana. (Kubal. 31:​32-34) Wadde kyali kityo, beeyongera okulya emmaanu okutuusa lwe baayingira mu Nsi Ensuubize.​—Yos. 5:​10-12.

d Tewaliiwo kiraga nti ensolo zaalyanga emmaanu, okuva bwe kiri nti abantu baalondanga emmaanu okusinziira ku eyo buli muntu gye yali asobola okulya n’amalawo.​—Kuv. 16:​15, 16.