Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 45

Siima Enkizo gy’Olina ey’Okusinziza Yakuwa mu Yeekaalu ey’Eby’Omwoyo

Siima Enkizo gy’Olina ey’Okusinziza Yakuwa mu Yeekaalu ey’Eby’Omwoyo

“Musinze Oyo eyakola eggulu n’ensi.”​—KUB. 14:7.

OLUYIMBA 93 Wa Omukisa Enkuŋŋaana Zaffe

OMULAMWA a

1. Kiki malayika omu ky’agamba, era ekyo kyanditukutteko kitya?

 SINGA malayika yali wa kwogera naawe, wandiwulirizza ky’agamba? Leero malayika ayogera “eri buli ggwanga n’ekika n’olulimi n’abantu.” Kiki ky’agamba? Agamba nti: “Mutye Katonda era mumuwe ekitiibwa . . . musinze Oyo eyakola eggulu n’ensi.” (Kub. 14:​6, 7) Yakuwa yekka ye Katonda ow’amazima buli omu gw’asaanidde okusinza. Tusiima nnyo enkizo ey’ekitalo gy’atuwadde ey’okumusinziza mu yeekaalu ye ey’eby’omwoyo!

2. Yeekaalu ya Yakuwa ey’eby’omwoyo kye ki? (Laba akasanduuko “ Ekyo Yeekaalu ey’Eby’Omwoyo Ky’Etali.”)

2 Naye yeekaalu ey’eby’omwoyo kye ki, era wa we tuyinza okusanga ebigyogerako? Yeekaalu ey’eby’omwoyo si kizimbe ekyazimbibwa. Ye nteekateeka ya Yakuwa ey’okusinza okulongoofu eyeesigamiziddwa ku ssaddaaka ya Yesu. Omutume Pawulo yannyonnyola enteekateeka eyo mu bbaluwa gye yawandiikira Abakristaayo Abebbulaniya ab’omu kyasa ekyasooka abaali babeera mu Buyudaaya. b

3-4. Lwaki Pawulo yawandiikira Abakristaayo Abebbulaniya abaali babeera mu Buyudaaya ebbaluwa, era yabayamba atya?

3 Lwaki Pawulo yawandiikira Abakristaayo Abebbulaniya abaali babeera mu Buyudaaya ebbaluwa? Kirabika lwa nsonga enkulu bbiri. Esooka, yabawandiikira okubazzaamu amaanyi. Abasinga obungi ku bo baali baakuzibwa mu ddiini y’Ekiyudaaya. Abo edda abaali babakulembera mu ddiini y’Ekiyudaaya bayinza okuba nga baali babajerega olw’okufuuka Abakristaayo. Lwaki? Olw’okuba Abakristaayo tebaalina yeekaalu mwe baali basinziza, tebaalina kyoto kwe baali baweerayo ssaddaaka eri Katonda, era tebaalina bakabona babakulemberamu mu kusinza. Ekyo kyali kisobola okumalamu abagoberezi ba Kristo abo amaanyi n’okunafuya okukkiriza kwabwe. (Beb. 2:1; 3:​12, 14) Abamu ku bo bayinza n’okuba nga baalowooza ku ky’okuddayo mu ddiini y’Ekiyudaaya.

4 Ey’okubiri, Pawulo yagamba Abakristaayo abo Abebbulaniya nti baali tebafuba kutegeera njigiriza mpya oba ebintu eby’omwoyo eby’ebuziba, kwe kugamba, “emmere enkalubo” eri mu Kigambo kya Katonda. (Beb. 5:​11-14) Kirabika abamu ku bo baali bakyagoberera Amateeka ga Musa. Naye Pawulo yabannyonnyola nti ssaddaaka ezaali zeetaagibwa mu Mateeka zaali teziyinza kuggirawo ddala kibi. Era olw’ensonga eyo, Amateeka gaali ‘gadibiziddwa.’ Bwe kityo Pawulo yabannyonnyola ebimu ku bintu ebiri mu Kigambo kya Katonda eby’ebuziba. Yabajjukiza “essuubi erisingako obulungi” eryesigamiziddwa ku ssaddaaka ya Yesu, eryandibayambye ‘okusemberera Katonda.’​—Beb. 7:​8, 19.

5. Kiki kye twetaaga okutegeera mu kitabo ky’Abebbulaniya, era lwaki?

5 Pawulo yannyonnyola bakkiriza banne Abebbulaniya ensonga lwaki engeri gye baali basinzaamu Katonda yali esingira wala engeri gye baamusinzangamu edda nga bakyali mu ddiini y’Ekiyudaaya. Engeri Abayudaaya gye baasinzangamu nga bagoberera Amateeka ga Musa, yali ‘kisiikirize ky’ebyo ebyali bigenda okujja, naye ng’ebya ddala biri mu Kristo.’ (Bak. 2:17) Ekisiikirize kiba nga kifaananyi bufaananyi eky’ekintu so si ekintu kyennyini. Bwe kityo, n’okusinza kw’eddiini y’Ekiyudaaya kwali kisiikirize busiikirize eky’ebintu ebya ddala ebyali bigenda okujja. Tusaanidde okutegeera enteekateeka Yakuwa gy’ataddewo ffe okusobola okusonyiyibwa ebibi byaffe tusobole okumusinza mu ngeri gy’asiima. Kati ka tugeraageranye ‘ekisiikirize’ (engeri Abayudaaya edda gye baasinzangamu) ne “ebya ddala” (engeri Abakristaayo gye basinzaamu), nga bwe binnyonnyolwa mu kitabo ky’Abebbulaniya. Ekyo kijja kutuyamba okutegeera obulungi yeekaalu ey’eby’omwoyo n’engeri gy’etukwatako.

WEEMA ENTUKUVU

6. Weema ey’okusisinkaniramu yakozesebwanga etya?

6 Ekisiikirize. Ebintu omutume Pawulo bye yannyonnyola byali byetooloolera ku weema entukuvu Musa gye yassaawo mu 1512 E.E.T. (Laba ekipande “Ekisiikirize​—Ekya Ddala.”) Weema entukuvu Abayisirayiri baagisitulanga okugiggya mu kifo ekimu okugizza mu kirala ekiseera kye baamala nga batambula mu ddungu. Baagikozesa okumala emyaka nga 500 okutuusa yeekaalu lwe yazimbibwa mu Yerusaalemi. (Kuv. 25:​8, 9; Kubal. 9:22) Awo ku ‘weema eyo ey’okusisinkaniramu’ Abayisirayiri we baakuŋŋaaniranga okusinza Yakuwa n’okuwaayo ssaddaaka gy’ali. (Kuv. 29:​43-46) Kyokka weema entukuvu yali ekiikirira ekintu ekisingirawo ddala obukulu ekyali eky’okujja.

7. Yeekaalu ey’eby’omwoyo yatandika ddi okubaawo?

7 Ekya ddala. Weema entukuvu ey’edda yali “kisiikirize ky’ebintu eby’omu ggulu,” era yali ekiikirira yeekaalu ya Yakuwa ey’eby’omwoyo. Pawulo yagamba nti: “Weema eno [entukuvu] kabonero ka kiseera ekiriwo kati.” (Beb. 8:5; 9:9) N’olwekyo, mu kiseera we yawandiikira Abebbulaniya ebbaluwa, yeekaalu ey’eby’omwoyo yali w’eri. Yatandika okubaawo mu 29 E.E. Mu mwaka ogwo Yesu yabatizibwa, n’afukibwako omwoyo omutukuvu, era n’atandika okuweereza nga “kabona asinga obukulu” mu yeekaalu ey’eby’omwoyo. c​—Beb. 4:14; Bik. 10:​37, 38.

KABONA ASINGA OBUKULU

8-9. Okusinziira ku Abebbulaniya 7:​23-27, njawulo ki ey’amaanyi eriwo wakati wa bakabona abasinga obukulu mu Isirayiri ne Kabona Asinga Obukulu, Yesu Kristo?

8 Ekisiikirize. Kabona asinga obukulu yalinanga obuvunaanyizibwa obw’okukiikirira abantu mu maaso ga Katonda. Kabona asinga obukulu eyasooka mu Isirayiri yali Alooni, era Yakuwa ye yamulonda weema bwe yali ng’etongozebwa. Kyokka Pawulo yagamba nti “bangi baafuuka bakabona ng’omu asikira omulala kubanga okufa kwabalemesanga okweyongera okuweereza nga bakabona.” d (Soma Abebbulaniya 7:​23-27.) Ate era olw’okuba abo abaali bawereza nga bakabona abasinga obukulu baali tebatuukiridde, baalina okuwangayo ssaddaaka olw’ebibi byabwe. Eyo ye njawulo ennene eriwo wakati wa bakabona b’Abayisirayiri abasinga obukulu ne Yesu Kristo Kabona Asinga Obukulu.

9 Ekya ddala. Yesu Kristo Kabona waffe Asinga Obukulu akola ng’omuweereza “w’omu . . . weema yennyini eyateekebwawo Yakuwa, so si muntu.” (Beb. 8:​1, 2) Pawulo yagamba nti “olw’okuba [Yesu] abeera mulamu emirembe gyonna, obwakabona bwe tebuliiko babusikira.” Ate era yagamba nti Yesu ‘mulongoofu, tali ng’aboonoonyi’ era nti obutafaananako bakabona abasinga obukulu ab’Abayisirayi, “tekimwetaagisa kuwaayo ssaddaaka buli lunaku” olw’ebibi bye. Kati ka tulabe enjawulo eziriwo wakati w’ebyoto ne ssaddaaka eby’omu kisiikirize ne mu kya ddala.

EBYOTO NE SSADDAAKA

10. Ssaddaaka ezaaweebwangayo ku kyoto eky’ekikomo zaali zisonga ku ki?

10 Ekisiikirize. Wabweru okumpi n’omulyango gwa weema entukuvu waalingawo ekyoto eky’ekikomo kwe baaweerangayo eri Yakuwa ssaddaaka z’ensolo. (Kuv. 27:​1, 2; 40:29) Kyokka ssaddaaka ezo zaali tezisobola kuggirawo ddala bibi by’abantu. (Beb. 10:​1-4) Ssaddaaka z’ensolo ezaaweebwangayo ku weema entukuvu zaali zisonga ku ssaddaaka emu eyandibadde esobozesa abantu okusonyiyirwa ddala ebibi byabwe.

11. Yesu yeeweerayo ku kyoto ki nga ssaddaaka? (Abebbulaniya 10:​5-7, 10)

11 Ekya ddala. Yesu yali akimanyi nti Yakuwa yamutuma ku nsi okuwaayo obulamu bwe nga ssaddaaka okusobola okununula abantu. (Mat. 20:28) N’olwekyo Yesu bwe yabatizibwa, yeeyanjula eri Yakuwa okukola ekyo Yakuwa kye yali ayagala. (Yok. 6:38; Bag. 1:4) Yesu yeeweerayo ku kyoto eky’akabonero ekyali kikiikirira ekyo Katonda kye yali ‘ayagala kikolebwe,’ kwe kugamba, Omwana we atuukiridde okuwaayo obulamu bwe. Obulamu bwa Yesu bwaweebwayo “omulundi gumu” okutangirira oba okubikkira ddala ku bibi bya buli muntu akkiririza mu Kristo. (Soma Abebbulaniya 10:​5-7, 10.) Kati ka tulabe amakulu g’ebintu ebyali munda mu weema entukuvu.

AWATUKUVU N’AWASINGA OBUTUKUVU

12. Baani abaayingiranga mu Awatukuvu n’Awasinga Obutukuvu?

12 Ekisiikirize. Weema entukuvu ne yeekaalu ezaazimbibwa oluvannyuma mu Yerusaalemi zaali zifaanagana munda. Zaalimu ebitundu bibiri, “Ekifo Ekitukuvu” oba Awatukuvu ne “Awasinga Obutukuvu,” ebyali byawulwa olutimbe. (Beb. 9:​2-5; Kuv. 26:​31-33) Munda mu Awatukuvu mwalimu ekikondo ky’ettaala ekya zzaabu, ekyoto okwayoterezebwanga obubaani, n’emmeeza okwabanga emigaati egy’okulaga. ‘Bakabona abaafukibwako amafuta’ bokka be bakkirizibwanga okuyingira mu Awatukuvu okukola emirimu gyabwe egy’obwakabona. (Kubal. 3:​3, 7, 10) Mu Awasinga Obutukuvu mwalimu essanduuko y’endagaano eya zzaabu eyali ekiikirira okubeerawo kwa Yakuwa. (Kuv. 25:​21, 22) Kabona asinga obukulu yekka ye yakkirizibwanga okuyita mu lutimbe n’agenda mu Awasinga Obutukuvu omulundi gumu mu mwaka ku Lunaku olw’Okutangirirako ebibi. (Leev. 16:​2, 17) Yayingirangayo buli mwaka ng’alina omusaayi gw’ensolo okutangirira ebibi bye n’eby’eggwanga lya Isirayiri. Oluvannyuma Yakuwa ng’akozesa omwoyo gwe omutukuvu, yalaga amakulu g’ebintu ebyo ebyali mu weema entukuvu.​—Beb. 9:​6-8. e

13. Awatukuvu n’Awasinga Obutukuvu mu yeekaalu ey’eby’omwoyo wakiikirira ki?

13 Ekya ddala. Abayigirizwa ba Kristo abatonotono baafukibwako omwoyo omutukuvu, era balina enkolagana ey’enjawulo ne Yakuwa. Bali 144,000 era ba kuweereza nga bakabona ne Yesu mu ggulu. (Kub. 1:6; 14:1) Awatukuvu awa weema entukuvu wakiikirira embeera yaabwe ey’okuba nti baafuulibwa baana ba Katonda ab’omwoyo nga bakyali wano ku nsi. (Bar. 8:​15-17) Awasinga Obutukuvu awa weema wakiikirira eggulu Yakuwa gy’abeera. ‘Olutimbe’ olwali lwawula Awatukuvu ku Awasinga Obutukuvu lukiikirira omubiri gwa Yesu ogwali gumulemesa okuyingira mu ggulu nga Kabona Asinga Obukulu ow’omu yeekaalu ey’eby’omwoyo. Yesu bwe yawaayo omubiri gwe nga ssaddaaka ku lw’abantu, yaggulirawo Abakristaayo abaafukibwako amafuta bonna ekkubo ery’okufuna obulamu mu ggulu. Nabo okusobola okufuna empeera yaabwe ey’omu ggulu, tebalina kugenda na mibiri gyabwe. (Beb. 10:​19, 20; 1 Kol. 15:50) Yesu bwe yamala okuzuukizibwa, yayingira mu Awasinga Obutukuvu awa yeekaalu ey’eby’omwoyo era oluvannyuma abaafukibwako amafuta bonna gye bagenda ne bamwegattako.

14. Okusinziira ku Abebbulaniya 9:​12, 24-26, kiki ekifuula yeekaalu ya Yakuwa ey’eby’omwoyo okuba ng’esingira wala enteekateeka y’okusinza eyali egobererwa mu Mateeka ga Musa?

14 Kati tukiraba nti enteekateeka y’okusinza Yakuwa eyeesigamiziddwa ku ssaddaaka ya Yesu Kristo ne ku bwakabona bwe esingira wala enteekateeka y’okusinza Yakuwa eyali yeesigamiziddwa ku Mateeka ga Musa. Kabona asinga obukulu mu Isirayiri ey’edda yayingiranga mu Awasinga Obutukuvu ng’alina omusaayi gw’ensolo. Naye Yesu yayingira “mu ggulu mmwennyini,” ekifo ekisingayo obutukuvu, okulabika mu maaso ga Yakuwa. Ng’ali eyo, yawaayo omuwendo gw’obulamu bwe, obw’omuntu atuukiridde, ku lwaffe “okuggyawo ekibi ng’ayitira mu ssaddaaka ye.” (Soma Abebbulaniya 9:​12, 24-26.) Ssaddaaka ya Yesu ye yokka eggirawo ddala ebibi emirembe n’emirembe. Nga bwe tugenda okulaba, ka tube nga tulina ssuubi lya kugenda mu ggulu oba lya kubeera ku nsi, ffenna tusobola okusinziza Yakuwa mu yeekaalu ye ey’eby’omwoyo.

EMPYA

15. Baani abaaweererezanga mu luggya lwa weema entukuvu?

15 Ekisiikirize. Weema yaliko oluggya lumu bakabona mwe baakoleranga emirimu gyabwe, era lwali lwetooloddwa olukomera. Lwalimu ekyoto ekinene eky’ekikomo awamu n’ebbenseni ennene ey’ekikomo omwabeeranga amazzi bakabona ge baanaabanga nga bagenda okukola emirimu gyabwe ku weema. (Kuv. 30:​17-20; 40:​6-8) Kyokka yeekaalu ezaazimbibwa oluvannyuma zaaliko n’oluggya olw’ebweru, abo abataali bakabona mwe baayimiriranga okusinza Katonda.

16. Baani abaweerereza mu buli lumu ku mpya eza yeekaalu ey’eby’omwoyo?

16 Ekya ddala. Nga tebannagenda mu ggulu kuweereza ne Yesu nga bakabona, abaafukibwako amafuta baweereza n’obwesigwa wano ku nsi mu luggya olw’omunda olwa yeekaalu ey’eby’omwoyo. Ebbenseni ennene eyabeerangamu amazzi eyamba Abakristaayo abaafukibwako amafuta awamu n’Abakristaayo abalala bonna okukijjukira nti kikulu nnyo okusigala nga bayonjo mu mpisa ne mu by’omwoyo. Kati bo ‘ab’ekibiina ekinene’ abawagira baganda ba Yesu abaafukibwako amafuta basinziza wa? Omutume Yokaana yabalaba nga “bayimiridde mu maaso g’entebe y’obwakabaka,” nga ‘baweereza Katonda mu yeekaalu ye emisana n’ekiro.’ Ekyo ab’ekibiina ekinene bakikolera wano ku nsi mu luggya olw’ebweru olwa yeekaalu ey’eby’omwoyo. (Kub. 7:​9, 13-15) Tusiima nnyo okuba nti tulina ekifo mu nteekateeka ya Yakuwa ey’okusinza okulongoofu!

ENKIZO GYE TULINA EY’OKUSINZA YAKUWA

17. Ssaddaaka ki ze tuwaayo eri Yakuwa leero?

17 Leero Abakristaayo bonna balina enkizo ey’okuwaayo ssaddaaka eri Yakuwa nga bakozesa ebiseera byabwe, amaanyi gaabwe, n’ebintu byabwe okuwagira emirimu gy’Obwakabaka bwa Katonda. Nga Pawulo bwe yagamba Abakristaayo Abebbulaniya, tusobola okuwaayo “eri Katonda ssaddaaka ey’okutendereza, kwe kugamba, ekibala eky’emimwa egirangirira mu lujjudde erinnya lye.” (Beb. 13:15) Tusobola okulaga nti enkizo gye tulina ey’okusinza Yakuwa tugitwala nga ya muwendo nnyo nga tuwaayo ssaddaaka ezisingayo obulungi.

18. Okusinziira ku Abebbulaniya 10:​22-25, biki bye tutasaanidde kulagajjalira, era biki bye tusaanidde okujjukiranga?

18 Soma Abebbulaniya 10:​22-25. Bwe yali anaatera okumaliriza ebbaluwa gye yawandiikira Abebbulaniya, Pawulo yayogera ku bintu ebitali bimu ebizingirwa mu kusinza kwaffe bye tutasaanidde kulagajjalira. Ebintu ebyo bizingiramu okutuukirira Yakuwa mu kusaba, okulangirira mu lujjudde essuubi lye tulina, okukuŋŋaananga awamu ng’ekibiina, n’okuzziŋŋanamu amaanyi “naddala nga bwe [tulaba] nti olunaku [lwa Yakuwa] lusembedde.” Mu ssuula ezisembayo mu kitabo ky’Okubikkulirwa, malayika wa Yakuwa yagamba nti: “Sinza Katonda.” Ekyo yakyogera emirundi ebiri okulaga nti kikulu nnyo. (Kub. 19:10; 22:9) Ka bulijjo tujjukirenga ebintu eby’ebuziba bye tuyize ebikwata ku yeekaalu ya Yakuwa eby’eby’omwoyo, era enkizo gye tulina ey’okusinza Yakuwa Katonda waffe tugitwale nga ya muwendo nnyo!

OLUYIMBA 88 Njigiriza Amakubo Go

a Emu ku njigiriza ez’ebuziba eziri mu Kigambo kya Katonda ekwata ku yeekaalu ya Yakuwa ey’eby’omwoyo. Yeekaalu eyo kye ki? Mu kitundu kino tugenda kulaba ebintu ebikwata ku yeekaalu eyo ebyogerwako mu kitabo ky’Abebbulaniya. Ekitundu kino ka kikuyambe okweyongera okusiima enkizo gy’olina ey’okusinza Yakuwa.

b Okusobola okumanya ebyo ebiri mu kitabo ky’Abebbulaniya, laba vidiyo Ennyanjula y’Ekitabo kya Abebbulaniya, ku jw.org.

c Abebbulaniya kye kitabo kyokka mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani ekyogera ku Yesu nga Kabona Asinga Obukulu.

d Okusinziira ku kitabo ekimu, yeekaalu mu Yerusaalemi we yasaanyirizibwawo mu mwaka gwa 70 E.E, abantu 84 be baali baweerezza nga bakabona abasinga obukulu mu Isirayiri.

e Okumanya amakulu g’ebyo kabona asinga obukulu bye yakolanga ku Lunaku olw’Okutangirirako Ebibi, laba vidiyo Weema Entukuvu, ku jw.org.

g Laba akasanduuko “Engeri Omwoyo Gye Gwabikkulamu Ebikwata Yeekaalu ey’Eby’Omwoyo” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Jjulaayi 15, 2010, lup. 22.