OMUNAALA GW'OMUKUUMI—OGW'OKUSOMA MU KIBIINA Ssebutemba 2016

Magazini eno erimu ebitundu eby’okusoma okuva nga Okitobba 24 okutuuka nga Noovemba 27, 2016.

“Toggwaamu Maanyi”

Yakuwa anyweza atya abaweereza be? Oyinza otya okumukoppa?

Weeyongere Okulwanirira Omukisa gwa Yakuwa

Abantu ba Katonda boolekagana n’okugezesebwa kungi nga bamuweereza. Kyokka basobodde okwaŋŋanga embeera enzibu!

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Ekigambo kya Katonda ekyogerwako mu Abebbulaniya 4:12 kye ki??

Okulwanirira Amawulire Amalungi mu Mateeka

Waliwo kye tusobola okuyigira ku ngeri Pawulo gye yalwaniriramu amawulire amalungi mu mateeka.

Engeri gy’Oyambalamu Eweesa Katonda Ekitiibwa?

Amagezi agali mu Bayibuli gasobola okutuyamba.

Ganyulwa mu Bulagirizi Yakuwa bw’Atuwa Leero

Omujulirwa wa Yakuwa ow’omu Poland n’ow’omu Fiji baasalawo bulungi.

Abavubuka, Munyweze Okukkiriza Kwammwe

Abantu bakupikiriza okukkiriza nti ebintu byajjawo byokka? Bwe kiba bwe kityo ekitundu kino kisobola okukuyamba.

Abazadde, Muyambe Abaana Bammwe Okuzimba Okukkiriza Kwabwe

Oluusi owulira ng’obuvunaanyizibwa obwo tosobola kubutuukiriza? Waliwo ebintu bina ebisobola okukuyamba.