Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abavubuka, Munyweze Okukkiriza Kwammwe

Abavubuka, Munyweze Okukkiriza Kwammwe

“Okukkiriza . . . bwe bukakafu obulaga nti ky’okkiriza ddala gye kiri wadde nga tekirabika.”​—BEB. 11:​1.

ENNYIMBA: 41, 69

1, 2. Kusoomooza ki abavubuka kwe bayinza okwolekagana nakwo, era kiki kye bayinza okukola okusobola okukwaŋŋanga?

MWANNYINAFFE omu abeera mu Bungereza, muyizi munne yamugamba nti: “Kyewuunyisa nti omuntu ategeera nga ggwe okkiririza mu Katonda.” Ow’oluganda omu mu Bugirimaani yagamba nti: “Abasomesa bangi bagamba nti ebyo Bayibuli by’eyogera ku kutondebwa kw’ebintu, ngero bugero. Era bakitwala nti buli muyizi akkiriza nti ebintu tebyatondebwa butondebwa.” Mwannyinaffe omu mu Bufalansa yagamba nti: “Abasomesa ku ssomero lyange kibeewuunyisa nti waliyo abayizi abakyakkiririza mu Bayibuli.”

2 Leero abantu bangi tebakkiriza nti Katonda ye yatonda ebintu byonna. Bw’oba oli muvubuka aweereza Yakuwa oba nga waakatandika okuyiga ebikwata ku Yakuwa, oyinza okuba ng’oluusi weebuuza engeri gy’osobola okukakasa abalala nti Katonda ye yatonda ebintu byonna. Bwe kiba kityo, waliwo by’osobola okukola okunyweza okukkiriza kwo. Ekimu ku ebyo by’oyinza okukola kwe kukozesa obusobozi bwo obw’okulowooza Katonda bwe yakuwa, kubanga busobola ‘okukukuuma.’ Busobola okukuyamba n’ototwalirizibwa bufirosoofo bw’ensi obusobola okusaanyaawo okukkiriza kwo.​—Soma Engero 2:​10-​12.

3. Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

3 Okukkiriza okwa nnamaddala kwesigamiziddwa ku kumanya okutuufu okukwata ku Katonda. (1 Tim. 2:4) N’olwekyo, bw’oba osoma Bayibuli awamu n’ebitabo byaffe, tomala gabiyisaayisaamu maaso. Kozesa obusobozi bwo obw’okulowooza osobole okutegeera obulungi by’osoma. (Mat. 13:23) Kati ka tulabe engeri ekyo gye kiyinza okukuyamba okunyweza okukkiriza kwo mu Katonda ne mu Kigambo kye Bayibuli.​—Beb. 11:1.

ENGERI GY’OYINZA OKUNYWEZAAMU OKUKKIRIZA KWO

4. Abo abagamba nti ebintu byajjawo byokka n’abo abagamba nti Katonda ye yatonda ebintu byonna bafaanaganya ki, era kiki ffenna kye tulina okukola?

4 Abantu abamu bakkiriza nti ebintu byajjawo byokka ne bigenda nga bifuukafuuka olw’okuba bannassaayansi bwe batyo bwe bagamba. Era bagamba nti tebakkiririza mu Katonda kubanga tewali muntu yenna yali alabye ku Katonda. Kyo kituufu nti tewali n’omu ku ffe yali alabye Katonda oba eyali alabye ekintu kyonna nga kitondebwa. (Yok. 1:​18) Kyokka n’abo abagamba nti ebintu byajjawo byokka ne bigenda nga bifuukafuuka bakkiririza mu kintu kye batalabangako. Tewali munnassaayansi oba muntu mulala yenna eyali alabye ekintu ekimu ekiramu nga kikyuka okufuuka ekirala. Ng’ekyokulabirako, tewali n’omu yali alabyeko nkima ng’efuuka omuntu. (Yob. 38:​1, 4) N’olwekyo, ffenna twetaaga okunoonya obukakafu era ne tukozesa obusobozi bwaffe obw’okutegeera okusobola okumanya ekituufu. Ng’ayogera ku bitonde, omutume Pawulo yagamba nti: “Engeri [za Katonda] ezitalabika, kwe kugamba, amaanyi ge agataggwaawo n’Obwakatonda bwe, zirabikira ddala bulungi okuva ensi lwe yatondebwa, kubanga zitegeererwa ku bintu ebyatondebwa, ne kiba nti tebalina kya kwekwasa.”​—Bar. 1:​20.

Kozesa ebintu ebituyamba mu kunoonyereza kikuyambe okunnyonnyola abalala ebikwata ku nzikiriza yo (Laba akatundu 5)

5. Ekibiina kya Yakuwa kituyambye kitya okukozesa obusobozi bwaffe obw’okulowooza?

5 Omuntu alina okutegeera takozesa maaso ge na matu ge byokka, wabula akozesa n’ebirowoozo bye. (Beb. 11:3) Ekibiina kya Yakuwa kituwadde ebintu bingi ebisobola okutuyamba okukozesa obusobozi bwaffe obw’okulowooza. Ebintu ebyo bisobola okutuyamba okulaba Omutonzi waffe nga tukozesa amaaso gaffe ag’okukkiriza. (Beb. 11:27) Mu bintu ebyo mwe muli vidiyo eyitibwa The Wonders of Creation Reveal God’s Glory, brocuwa eyitibwa Was Life Created? n’eyo eyitibwa The Origin of Life​—Five Questions Worth Asking, n’akatabo Is There a Creator Who Cares About You? Ate era tufuna emmere ey’eby’omwoyo okuyitira mu magazini zaffe. Mu magazini ya Zuukuka! mufulumiramu ebitundu ebiraga bannassaayansi n’abalala abaali batakkiririza mu Katonda nga bannyonnyola ensonga lwaki kati bamukkiririzaamu. Ekitundu ekirina omutwe “Kyajjawo Kyokka?” kyogera ku biramu eby’enjawulo ebyakolebwa mu ngeri eyeewuunyisa. Emirundi mingi bannassaayansi bagezaako okukoppa engeri ebiramu ebyo gye byakolebwamu nga bakola ebintu ebitali bimu.

6. Miganyulo ki egiri mu kukozesa ebintu ebitali bimu ekibiina kya Yakuwa bye kituwadde, era oganyuddwa otya mu kubikozesa?

6 Ng’ayogera ku brocuwa ezo ebbiri ezoogeddwako waggulu, omuvubuka omu ow’emyaka 19 abeera mu Amerika yagamba nti: “Brocuwa ezo zinnyambye nnyo. Nsomye brocuwa ezo enfunda n’enfunda.” Mwannyinaffe abeera mu Bufalansa yagamba nti: “Ekitundu ekirina omutwe ‘Kyajjawo Kyokka?’ kinnyumira nnyo! Kiraga bulungi nti ne bayinginiya abasingayo obukugu bagezaako okukoppa engeri ebiramu ebitali bimu gye byakolebwamu naye tebasobola kubikoppa mu ngeri etuukiridde.” Bazadde b’omwana omu ow’emyaka 15 ababeera mu South Africa baagamba nti: “Bwe tufuna magazini ya Zuukuka! ekitundu muwala waffe kyasooka okusoma ky’ekyo ekirimu okubuuza bannassaayansi ebibuuzo.” Ate ggwe? Ofuba okukozesa mu bujjuvu ebintu ebyo? Bw’obikozesa, bisobola okukuyamba okunyweza okukkiriza kwo ne kuba ng’omuti ogulina emirandira eminywevu. Okukkiriza ng’okwo kujja kukuyamba okuziyiza enjigiriza ez’obulimba eziringa omuyaga ogw’amaanyi.​—Yer. 17:​5-8.

OKUKKIRIZA KW’OLINA MU BAYIBULI

7. Lwaki Katonda ayagala okozese obusobozi bwo obw’okulowooza?

7 Kiba kikyamu okwebuuza ebibuuzo ebikwata ku Bayibuli? Nedda! Yakuwa ayagala okozese ‘obusobozi bwo obw’okulowooza’ okakasize ddala nti ebyo Bayibuli by’eyogera ge mazima. Katonda tayagala omale gakkiriza kintu olw’okuba abalala bakikkiriza. N’olwekyo kozesa obusobozi bwo obw’okulowooza osobole okufuna okumanya okutuufu. Okumanya okwo kujja kukuyamba okunyweza okukkiriza kwo. (Soma Abaruumi 12:​1, 2; 1 Timoseewo 2:4.) Engeri emu gy’oyinza okufunamu okumanya okwo kwe kubaako ensonga ezimu z’olonda n’ozinoonyerezaako.

8, 9. (a) Ebimu ku bintu by’oyinza okunoonyerezaako bye biruwa? (b) Abamu baganyuddwa batya mu kufumiitiriza ku ebyo bye basoma?

8 Abamu basazeewo okunoonyereza ku bunnabbi obuli mu Bayibuli oba okunoonyereza okulaba obanga ebyafaayo ebiri mu Bayibuli n’ebyo ebigirimu ebikwata ku ssaayansi bituufu. Obumu ku bunnabbi omuntu bw’ayinza okusalawo okunoonyerezaako bwebwo obuli mu Olubereberye 3:​15. Olunyiriri olwo lwanjula ensonga enkulu eyogerwako mu Bayibuli yonna, nga kuno kwe kulaga nti Yakuwa y’agwanidde okufuga obutonde bwonna era n’okutukuzibwa kw’erinnya lye okuyitira mu Bwakabaka. Nga lukozesa olulimi olw’akabonero, olunyiriri olwo lulaga engeri Yakuwa gy’ajja okumalawo okubonaabona kwonna abantu kwe boolekaganye nakwo okuviira ddala lwe baagobwa mu lusuku Edeni. Oyinza otya okunoonyereza ku ebyo ebiri mu Olubereberye 3:​15? Engeri emu gy’oyinza okukikolamu kwe kukola ekipande ekiraga ddi ebintu ebitali bimu we byabeererawo. Ku kipande ekyo osobola okuteekako ebyawandiikibwa ebikulu ebiraga engeri Katonda gye yagenda ng’amanyisa mpolampola ebintu ebitali bimu ebizingirwa mu kutuukirizibwa kw’obunnabbi obwo n’ebyo ebiraga nti obunnabbi obwo bujja kutuukirizibwa. Bw’olaba engeri ebyawandiikibwa ebitali bimu gye bikwataganamu obulungi, ojja kukiraba nti bannabbi aboogerwako mu Bayibuli n’abantu abaakozesebwa mu kuwandiika Bayibuli ‘baalina obulagirizi bw’omwoyo omutukuvu.’​—2 Peet. 1:​21.

9 Ow’oluganda omu abeera mu Bugirimaani yagamba nti: “Obwakabaka ye nsonga enkulu eyogerwako mu Bayibuli yonna. Bwe kityo bwe kiri wadde ng’abasajja nga 40 be baakozesebwa mu kuwandiika Bayibuli. Ekyewuunyisa, bangi ku basajja abo baabeerawo mu biseera bya njawulo era buli omu yali tamanyi munne.” Mwannyinaffe omu mu Australia yakwatibwako nnyo ekitundu ekyafulumira mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Ddesemba 15, 2013, ekyali kyogera ku makulu g’embaga ey’Okuyitako. Embaga eyo erina akakwate n’ebigambo ebiri mu Olubereberye 3:​15 era n’okujja kwa Masiya. Mwannyinaffe oyo yagamba nti: “Okwekenneenya ekitundu ekyo kyannyamba okwongera okukitegeera nti Yakuwa alina amagezi mangi nnyo. Okuba nti Yakuwa yateerawo Abayisirayiri enteekateeka ey’okukwata embaga ey’Okuyitako n’okuba nti ebyabangawo ku mbaga eyo byatuukirira ku Yesu Kristo kyankwatako nnyo. Mu butuufu, nnasiiriikiriramu ne nfumiitiriza ku ngeri ebyo ebyakolebwanga ku mbaga ey’Okuyitako gye byatuukirizibwamu!” Lwaki mwannyinaffe oyo yakwatibwako nnyo? Yafumiitiriza nnyo ku ebyo bye yasoma n’asobola okutegeera ‘amakulu gaabyo.’ Ekyo kyamuyamba okwongera okunyweza okukkiriza kwe n’okusemberera Yakuwa.​—Mat. 13:23.

10. Okuba nti abawandiisi ba Bayibuli baali beesimbu, kinyweza kitya okukkiriza kwaffe?

10 Ekintu ekirala ekiyinza okwongera okunyweza okukkiriza kwaffe bwe buvumu n’obwesimbu abawandiisi ba Bayibuli bwe baayoleka. Abawandiisi bangi ab’edda baasavuwaza ebyo bye baayogera ku bakabaka baabwe era baatendereza nnyo obwakabaka bwabwe. Naye bo bannabbi ba Yakuwa baayogeranga mazima. Baayogera ku nsobi z’abantu baabwe nga mw’otwalidde n’eza bakabaka baabwe. (2 Byom. 16:​9, 10; 24:18-​22) Ate era baayogera ne ku nsobi bo bennyini ze baakola era n’ezo abaweereza ba Katonda abalala ze baakola. (2 Sam. 12:​1-​14; Mak. 14:50) Ow’oluganda omu abeera mu Bungereza yagamba nti: “Obwesimbu ng’obwo tebusangikasangika. Ekyo kiraga nti Bayibuli yava eri Yakuwa.”

11. Amagezi agali mu Bayibuli gakakasa gatya nti Bayibuli yava eri Katonda?

11 Amagazi agali mu Bayibuli nago galeetedde bangi okukkiriza nti ddala Bayibuli yaluŋŋamizibwa Katonda. (Soma Zabbuli 19:​7-​11.) Mwannyinaffe omu abeera mu Japan yagamba nti: “Ffenna awaka bwe twatandika okukolera ku bulagirizi obuli mu Bayibuli twafuna essanyu lingi. Twafuna emirembe, obumu, era tweyongera okwagalana.” Amagezi agali mu Bayibuli gatuyamba obuteenyigira mu kusinza okw’obulimba n’okwewala obulombolombo obukuumidde abantu bangi mu buddu. (Zab. 115:​3-8) Enjigiriza ezireetera abantu okulowooza nti teri Katonda zikola ki ku bantu? Enjigiriza ng’ezo, gamba ng’eyo egamba nti ebintu byajja bifuukafuuka, zireetera abantu okuwa ebitonde ekitiibwa n’ettendo bye bagwanidde okuwa Yakuwa, mu ngeri eyo ebitonde ne bifuuka katonda waabwe. Abo abagamba nti teri Katonda baba ng’abagamba nti abantu be bajja okusobola okuleeta embeera ennungi mu nsi yonna mu biseera eby’omu maaso. Naye ekyo si kituufu kubanga ebyafaayo biraga nti abantu tebasobola kugonjoola bizibu ebiri mu nsi.​—Zab. 146:​3, 4.

OKUKUBAGANYA EBIROWOOZO N’ABALALA

12, 13. Oyinza otya okukubaganya ebirowoozo ne bayizi banno, abasomesa, n’abantu abalala ku bikwata ku butonde?

12 Oyinza otya okukubaganya ebirowoozo n’abalala ku bikwata ku butonde ne ku Bayibuli? Okusookera ddala, weewale okulowooza nti omanyi ekyo abalala kye bakkiriza. Abantu abamu abakkiririza mu njigiriza egamba nti ebintu byajja bifuukafuuka oluusi nabo baba bakkiriza nti Katonda gy’ali. Baba balowooza nti Katonda yakozesa enkola ey’ebintu okugenda nga bifuukafuuka okutonda ebintu ebitali bimu. Abalala bakkiririza mu njigiriza eyo olw’okuba balowooza nti singa enjigiriza eyo teyali ntuufu, bandibadde tebagisomesa mu masomero. Ate abantu abamu balekera awo okukkiriza nti waliyo Katonda olw’okwetamwa amadiini. N’olwekyo bw’oba okubaganya ebirowoozo n’omuntu ku bikwata ku ngeri obulamu gye bwajjawo, kiba kirungi n’osooka obaako ebibuuzo by’omubuuza. Fuba okumanya ekyo kyennyini omuntu kyakkiriza. Bw’ofuba okumuwuliriza naye ajja kukuwuliriza.​—Tit. 3:2.

13 Singa omuntu akugamba nti si kya magezi okukkiriza nti waliwo eyatonda ebintu byonna, oyinza okumugamba akunnyonnyole engeri obulamu gye bwatandikawo awatali Mutonzi. Osobola okumutegeeza nti bwe kiba nti ebintu byajjawo byokka, ekintu ekiramu ekyasooka okubaawo kirina okuba nga kyali kisobola okuvaamu ebintu ebirala ebikifaanana. Ekyo okusobola okubaawo, profesa omu yagamba nti mu bintu ebyandibadde byetaagisa mwandibadde muzingiramu (1) ekintu ekiringa eddiba oba olususu okukuuma ekintu ekyo, (2) obusobozi bw’okufuna amaanyi n’okugakozesa, (3) obubaka obuli mu Ndagabutonde, ne (4) okuba nti obubaka obwo busobola okukoppebwa ne buba ne mu kintu ekiba kikivuddemu. Yagattako nti: “N’enkula y’obuntu obulamu obusirikitu nayo yeewuunyisa nnyo.”

14. Kiki ky’oyinza okukola singa kikuzibuwalira okukubaganya ebirowoozo n’abantu ebikwata ku njigiriza egamba nti ebintu byajjawo byokka?

14 Bwe kiba nga tekikwanguyira kukubaganya birowoozo n’abantu ku njigiriza egamba nti ebintu byajjawo byokka, osobola okukozesa ebigambo bino ebyangu Pawulo bye yakozesa. Yagamba nti: “Buli nnyumba wabaawo eyagizimba, naye eyakola ebintu byonna ye Katonda.” (Beb. 3:4) Abantu abasinga obungi kibanguyira okutegeera ebigambo ebyo! Ekintu kyonna ekyakula mu ngeri eyeewuunyisa kibaako omuntu ow’amagezi eyakikola. Oyinza n’okusalawo okuwa omuntu akatabo akatuukirawo. Mwannyinaffe omu yawa omuvubuka omu brocuwa ebbiri ezaayogeddwako waggulu. Omuvubuka oyo yali agamba nti takkiriza nti eriyo Katonda era nti yali akkiriza nti ebintu byajja bifuukafuuka. Nga wayise wiiki ng’emu, omuvubuka oyo yagamba nti: “Kati nzikiriza nti Katonda gy’ali.” Omuvubuka oyo yatandika okuyiga Bayibuli era kati yabatizibwa.

15, 16. Kiki kye tulina okusooka okukola nga tetunnaba kunnyonnyola muntu nti Bayibuli yava eri Katonda, era kiki kye tusaanidde okujjukira?

15 Oyinza okukola kye kimu ng’okubaganya ebirowoozo n’omuntu abuusabuusa nti Bayibuli yava eri Katonda. Sooka omanye ebyo byakkiriza n’ebintu by’anyumirwa okwogerako. (Nge. 18:13) Bw’aba ayagala nnyo ebintu ebikwata ku ssaayansi, ayinza okukwatibwako ennyo singa oyogera ku bintu ebikakasa nti Bayibuli ntuufu ne bw’eba eyogera ku bintu ebya ssaayansi. Abantu abamu bayinza okukwatibwako ennyo bw’obalaga obukakafu obulaga nti obunnabbi n’ebyafaayo ebiri mu Bayibuli byesigika era bituufu. Oba oyinza okwogera ku magezi amalungi agali Bayibuli, gamba ng’ago agali mu kubuulira kwa Yesu okw’oku Lusozi.

16 Kijjukire nti ekigendererwa kyo si kya kuwakana na bantu wabula kya kutuuka ku mitima gyabwe. N’olwekyo, wuliriza bulungi. Buuza ebibuuzo ebituukirawo era ba mukkakkamu ng’oyogera n’abantu, naddala abo abakulu mu myaka. Ekyo kiyinza okubaleetera okuwuliriza by’obagamba. Ate era bajja kukiraba nti ebintu by’okkiririzaamu wasooka kubifumiitirizaako nnyo. Ekyo kye kintu abavubuka bangi kye batakola. Kyokka era osaanidde okukijjukira nti teweetaaga kumalira biseera ku abo abaagala obwagazi okuwakana oba okukujerega.​—Nge. 26:4.

AMAZIMA GAFUULE GAGO

17, 18. (a) Kiki ekiyinza okukuyamba okufuula amazima agago? (b) Kibuuzo ki ekijja okuddibwamu mu kitundu ekiddako?

17 Okusobola okuba n’okukkiriza okunywevu, tetulina kukoma ku kumanya njigiriza za Bayibuli ezisookerwako. N’olwekyo fuba okusima ebintu eby’ebuziba ebiri mu Kigambo kya Katonda ng’olinga anoonya eby’obugagga ebyakwekebwa. (Nge. 2:​3-6) Fuba okukozesa ebintu ebituyamba mu kunoonyereza, gamba nga, Watchtower Library, LAYIBULALE KU MUKUTU GWAFFE, Watch Tower Publications Index, oba Ekitabo Ekiyamba Abajulirwa ba Yakuwa Okunoonyereza. Era weeteerewo ekiruubirirwa ky’okusoma Bayibuli yonna ogimaleko. Oyinza okugezaako okugisoma n’ogimalako mu bbanga lya myezi 12. Ekimu ku bintu ebisinga okutuyamba okuzimba okukkiriza kwe kusoma Ekigambo kya Katonda. Ng’ayogera ku myaka gye egy’obuvubuka, omulabirizi omu akyalira ebibiina agamba nti: “Ekimu ku bintu ebyannyamba okukkiriza nti Bayibuli Kigambo kya Katonda kwe kugisoma yonna ne ngimalako. Ebintu ebiri mu Bayibuli bye bansomesanga nga nkyali muto kati byali bikola amakulu. Ekyo kyannyamba nnyo okukulaakulana mu by’omwoyo.”

18 Abazadde mulina kinene kye musobola okukola okuyamba abaana bammwe okukulaakulana mu by’omwoyo. Muyinza mutya okuyamba abaana bammwe okuba n’okukkiriza okunywevu? Ekitundu ekiddako kijja kuddamu ekibuuzo ekyo.