Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

“Ekigambo kya Katonda kiramu”

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

‘Ekigambo kya Katonda ekiramu era eky’amaanyi’ ekyogerwako mu Abebbulaniya 4:​12 kye ki?

Ennyiriri eziriraanyeewo ziraga nti wano Pawulo yali ayogera ku bintu ebikwata ku kigendererwa kya Katonda, gamba ng’ebyo ebiri mu Bayibuli.

Emirundi mingi mu bitabo byaffe ebigambo ebiri mu Abebbulaniya 4:​12 bikozesebwa okulaga nti Bayibuli erina amaanyi agasobola okukyusa obulamu bw’abantu, era ekyo kituufu ddala. Wadde kiri kityo, kikulu okutunuulira ebigambo ebiri mu Abebbulaniya 4:​12 mu ngeri engaziko. Mu kwogera ebigambo ebyo, Pawulo yali akubiriza Abakristaayo Abebbulaniya okutuukanya obulamu bwabwe n’ebigendererwa bya Katonda, nga bingi ku byo byali biragiddwa mu Byawandiikibwa Ebitukuvu. Pawulo yakozesa ekyokulabirako ky’Abayisirayiri abaanunulwa okuva mu buddu e Misiri. Baalina essuubi ery’okuyingira mu nsi ensuubize, “ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki,” mwe bandifunidde ekiwummulo ekya nnamaddala.​—Kuv. 3:8; Ma. 12:​9, 10.

Kyali kigendererwa kya Katonda okuwa Abayisirayiri ekiwummulo ekya nnaddala. Naye ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, Abayisirayiri bangi baakakanyaza emitima gyabwe era ne batayoleka kukkiriza, era bangi ku bo tebaayingira mu kiwummulo ekyo. (Kubal. 14:30; Yos. 14:​6-​10) Naye Pawulo yagamba nti waali wakyaliwo “ekisuubizo ky’okuyingira mu kiwummulo [kya Katonda].” (Beb. 3:​16-​19; 4:1) Kya lwatu nti “ekisuubizo” ekyo kye kimu ku ebyo ebizingirwa mu kigendererwa kya Katonda. Okufaananako Abakristaayo abo Abebbulaniya, naffe tusobola okusoma ebikwata ku kigendererwa kya Katonda ekyo era ne tutuukanya obulamu bwaffe nakyo. Okusobola okukakasa nti ekisuubizo ekyo kyesigamiziddwa ku Byawandiikibwa, Pawulo yajuliza ebigambo ebiri mu Olubereberye 2:2 ne Zabbuli 95:11.

Nga kitusanyusa nnyo okukimanya nti “ekisuubizo ky’okuyingira mu kiwummulo [kya Katonda] kikyaliwo.” Tukkiriza nti tusobola okuyigira mu kiwummulo kya Katonda ekyo, era tulina kye tukozeewo okulaba nti tukiyingira. Ekyo tetukikoze nga tukwata Amateeka ga Musa oba nga tukola ebintu ebirala, wabula tukikoze nga tutuukanya obulamu bwaffe n’ekigendererwa kya Katonda. Leero waliwo abantu bangi okwetooloola ensi abayize Bayibuli era ne bategeera ekigendererwa kya Katonda. Bangi ku bo boolese okukkiriza, ne bakola enkyukakyuka mu bulamu bwabwe, era ne babatizibwa. Enkyukakyuka ez’amaanyi ze bakoze mu bulamu bwabwe bukakafu bwa nkukunala obulaga nti ddala ‘ekigambo kya Katonda kiramu era kya maanyi.’ Okumanya ebikwata ku kigendererwa kya Katonda kituleetedde okukola enkyukakyuka mu bulamu bwaffe era tujja kweyongera okuzikola.