Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ganyulwa mu Bulagirizi Yakuwa bw’Atuwa Leero

Ganyulwa mu Bulagirizi Yakuwa bw’Atuwa Leero

OMUVUBUKA MU POLAND YASALAWO MU NGERI EY’AMAGEZI

“NNABATIZIBWA nga nnina emyaka 15 era nga wayise emyezi mukaaga nnatandika okuweereza nga payoniya omuwagizi. Oluvannyuma lw’omwaka gumu, nnajjuzaamu foomu ne nsaba okuweereza nga payoniya owa bulijjo. Bwe nnamala emisomo gyange egya siniya, nnasaba okugenda okuweereza awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako. Nnali njagala okuva mu kitundu mwe nnakulira era ndekere awo okubeera ne jjajja wange ataali Mujulirwa wa Yakuwa. Kyammalamu nnyo amaanyi omulabirizi w’ekitundu bwe yaŋŋamba nti ekitundu kye baali bampadde okuweerezaamu kye kitundu kyennyini mwe nnali mbeera! Nnagezaako okwezibiikiriza aleme okukimanya nti ekyo kyali tekinsanyusizza. Nnavaawo nga nkotese omutwe ne ŋŋenda okulowooza ku ekyo kye yali aŋŋambye. Nnagamba munnange gwe nnali ŋŋenda okukola naye nti: “Kirabika ntandise okweyisa nga Yona. Naye Yona yamala n’akkiriza okugenda e Nineeve. Kale nange nja kuweereza mu kitundu kye bandagidde okubuuliramu.”

“Kati wayise emyaka ena nga mpeereza nga payoniya mu kitundu mwe nnakulira, era nkiraba nti kyali kya magezi okukolera ku bulagirizi obwampeebwa. Endowooza yange etaali nnuŋŋamu ye yali enviiriddeko obutaagala kubuulira mu kitundu mwe nnakulira. Kati nnina essanyu lingi. Mu mwezi gumu gwokka, nnayigiriza abantu 24 Bayibuli. Ate era Yakuwa yannyamba ne nsobola okutandika okuyigiriza jjajja wange Bayibuli, wadde nga mu kusooka yali tayagala Bajulirwa ba Yakuwa.”

EKINTU EKIRUNGI EKYALIWO MU FIJI

Omukyala omu mu Fiji eyali ayiga Bayibuli yalina okusalawo wakati w’okugenda n’omwami we ku kabaga k’amazaalibwa oba okugenda ku lukuŋŋaana olunene olw’Abajulirwa ba Yakuwa. Omwami we yamukkiriza okugenda ku lukuŋŋaana olwo olunene. Omukyala oyo yagamba omwami we nti yali ajja kumwegattako ku kabaga ako ng’olukuŋŋaana luwedde. Naye omukyala oyo bwe yadda awaka oluvannyuma lw’olukuŋŋaana, yakiraba nti kyali kya magezi obutagenda ku kabaga ako kubanga ekyo kyali kisobola okwonoona enkolagana ye ne Yakuwa.

Omwami we bwe yatuuka ku kabaga n’agamba ab’eŋŋanda ze nti mukyala we yali amusabye asooke okugenda mu lukuŋŋaana oluvannyuma alyoke abeegatteko ku kabaga, ab’eŋŋanda ze baamugamba nti, “Tajja kujja; Abajulirwa ba Yakuwa tebakuza mazaalibwa!” *

Okuba nti omukyala oyo yanywerera ku ekyo kye yali akkiriza, kyakwata nnyo ku mwami we. Ekyo kyawa omukyala oyo akakisa okubuulira omwami we awamu n’abalala. N’ekyavaamu, omwami we yakkiriza okutandika okuyiga Bayibuli era n’atandika n’okugenda ne mukyala we mu nkuŋŋaana.

^ lup. 7 Laba “Ebibuuzo Ebiva mu Basomi” mu Watchtower eya Ddesemba 15, 2001.