Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

“Toggwaamu Maanyi”

“Toggwaamu Maanyi”

“Toggwaamu maanyi.”​—ZEF. 3:​16.

ENNYIMBA: 81, 32

1, 2. (a) Bizibu ki abantu bangi bye balina leero, era biki ebivuddemu? (b) Kiki Katonda ky’atusuubiza mu Isaaya 41:10, 13?

MWANNYINAFFE omu aweereza nga payoniya owa bulijjo era eyafumbirwa omukadde mu kibiina agamba nti: “Wadde nga nnina enteekateeka ennungi ey’eby’omwoyo, mbadde n’ebintu ebineeraliikiriza okumala emyaka mingi. Oluusi bimbuza otulo, bikosa obulamu bwange, era bikwata ne ku ngeri gye nkolaganamu n’abalala. Ebiseera ebimu mpulira nga mpeddemu amaanyi.”

2 Otegeera engeri mwannyinaffe oyo gy’awuliramu? Ensi ya Sitaani erimu ebintu bingi ebitweraliikiriza era ebisobola okutumalamu amaanyi. Ebintu ebyo biyinza okugeraageranyizibwa ku nnanga esibiddwa ku lyato, nga terikkiriza kutambula. (Nge. 12:25) Kiki ekiyinza okukuleetera okuwulira bw’otyo? Oboolyawo oyinza okuba nga wafiirwa omuntu gw’oyagala ennyo, ng’olina obulwadde obw’amaanyi, ng’okisanga nga kizibu okulabirira ab’omu maka go, oba ng’oyigganyizibwa. Ebintu ebyo byonna bisobola okukuleetera okuwulira ng’oweddemu amaanyi era biyinza okukumalako essanyu. Wadde kiri kityo, beera mukakafu nti Yakuwa asobola okukuyamba.​—Soma Isaaya 41:10, 13.

3, 4. (a) Ekigambo “emikono” oluusi kikozesebwa kitya mu Bayibuli? (b) Kiki ekiyinza okuleetera emikono gyaffe okugwa?

3 Emirundi mingi Bayibuli ekozesa ebitundu by’omubiri gw’omuntu mu ngeri ey’akabonero. Ng’ekyokulabirako, Bayibuli etera okukozesa ekigambo “emikono” okutegeeza ebintu eby’enjawulo. Okunyweza emikono kiyinza okutegeeza okuzzaamu omuntu amaanyi. (1 Sam. 23:16, obugambo obuli wansi; Ezer. 1:6, obugambo obuli wansi.) Ate era kiyinza okutegeeza okuba n’essuubi.

4 Okuleka emikono okugwa oluusi kikozesebwa okutegeeza omuntu okuggwaamu amaanyi oba obutaba na ssuubi. (2 Byom. 15:7, obugambo obuli wansi; Beb. 12:12) Kyangu omuntu ng’oyo okuwulira nti takyalina ky’ayinza kukolawo okutereeza embeera. Bw’oyolekagana n’embeera enzibu era ne zikuleetera okuwulira ng’oweddemu amaanyi, kiki ekiyinza okukuyamba okuddamu amaanyi osobole okugumiikiriza ng’oli musanyufu?

“OMUKONO GWA YAKUWA SI MUMPI NE KIBA NTI TEGUSOBOLA KULOKOLA”

5. (a) Bwe tufuna ebizibu kiki ekiyinza okubaawo, naye kiki bulijjo kye tusaanidde okujjukira? (b) Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

5 Soma Zeffaniya 3:​16, 17. Mu kifo ky’okuterebuka n’okuggwaamu amaanyi, ne tuba ng’abalese emikono gyaffe okugwa, Kitaffe ow’omu ggulu atukubiriza ‘okumukwasa byonna ebitweraliikiriza.’ (1 Peet. 5:7) Bulijjo tusaanidde okujjukira ebigambo Katonda bye yagamba Abayisirayiri. Yabagamba nti omukono gwe “si mumpi ne kiba nti tegusobola kulokola” baweereza be abeesigwa. (Is. 59:1) Mu kitundu kino tugenda kulaba ebyokulabirako bisatu okuva mu Bayibuli ebiraga nti Yakuwa ayagala nnyo okuzzaamu abantu be amaanyi basobole okukola by’ayagala wadde nga boolekagana n’embeera enzibu ennyo. Laba engeri ebyokulabirako ebyo gye biyinza okukuganyula.

6, 7. Kiki kye tuyigira ku buwanguzi Abayisirayiri bwe baatuukako nga balwanyisa Abamaleki?

6 Abayisirayiri bwe baali baakanunulibwa okuva mu buddu e Misiri, Abamaleki baabalumba. Ng’akolera ku bulagirizi bwa Musa, Yoswa yakulembera Abayisirayiri mu lutalo olwo. Ate ye Musa yagenda ne Alooni awamu ne Kuli ku ntikko y’olusozi olwali okumpi awo we baali basobola okulengerera olutalo olwo nga lugenda mu maaso. Abasajja abo abasatu baali badduse nga batidde olutalo? Nedda!

7 Musa alina ekintu kye yakola ekyayamba Abayisirayiri okuwangula olutalo olwo. Musa yayimusa emikono gye waggulu ng’akutte omuggo gwa Katonda ow’amazima. Bwe yasigalanga ng’ayimusizza emikono gye waggulu, Yakuwa yanywezanga emikono gy’Abayisirayiri ne basinza Abamaleki amaanyi. Naye Musa bwe yassanga wansi emikono gye, Abamaleki basinzanga Abayisirayiri amaanyi. Emikono gya Musa bwe gyatendewalirwa, Alooni ne Kuli ‘baaleeta ejjinja Musa n’alituulako. Alooni ne Kuli baawanirira emikono gye, ng’omu ali ku luuyi olumu ate omulala ng’ali ku luuyi olulala era emikono gye tegyava mu kifo okutuusa enjuba lwe yagwa.’ Mu butuufu, Yakuwa yakozesa omukono gwe ogw’amaanyi okuyamba Abayisirayiri okuwangula olutalo.​—Kuv. 17:​8-​13.

8. (a) Kiki Asa kye yakola ng’Abeesiyopiya balumbye Yuda? (b) Tuyinza tutya okukoppa Asa?

8 Yakuwa era yakiraga nti omukono gwe si mumpi mu kiseera kya Kabaka Asa. Waliwo entalo nnyingi ezoogerwako mu Bayibuli. Naye olutalo olwasingayo okwetabwamu abasirikale abangi lwelwo olwali wakati wa Zeera Omwesiyopiya ne Kabaka Asa. Zeera yalina abasirikale abatendeke obulungi 1,000,000. Buli musirikale omu ow’omu ggye lya Asa yalina okulwanyisa abasirikale nga babiri Abeesiyopiya. Asa yali ayinza okweraliikirira n’atya, ne kimuleetera okuggwaamu amaanyi. Mu kifo ky’ekyo, amangu ddala Asa yasaba Yakuwa amuyambe. Mu ndaba ey’obuntu, Asa yali tasobola kuwangula Beesiyopiya, naye “eri Katonda ebintu byonna bisoboka.” (Mat. 19:26) Olw’okuba Asa yali yeemalidde ku Yakuwa, Yakuwa yamuyamba okuwangula Abeesiyopiya.​—2 Byom. 14:​8-​13; 1 Bassek. 15:14.

9. (a) Kintu ki ekitaalemesa Nekkemiya kuzimba bbugwe wa Yerusaalemi? (b) Katonda yaddamu atya okusaba kwa Nekkemiya?

9 Kati ate lowooza ku Nekkemiya. Mu kiseera we yagendera e Yerusaalemi, ekibuga ekyo tekyalina bukuumi, era Bayudaaya banne baali baweddemu nnyo amaanyi. Abalabe baatiisatiisa Abayudaaya, ne kireetera Abayudaaya okulekera awo okuzimba bbugwe wa Yerusaalemi. Nekkemiya yakkiriza embeera eyo okumumalamu maanyi? Nedda! Okufaananako Musa, Asa, n’abaweereza ba Yakuwa abalala abeesigwa, emirundi mingi Nekkemiya yali akiraze nti yeesiga Yakuwa. Ne ku mulundi guno ekyo kye yakola. Wadde nga mu ndaba ey’obuntu abalabe b’Abayudaaya baali balabika ng’ab’amaanyi ennyo, Yakuwa yaddamu okusaba kwa Nekkemiya n’ayamba Abayudaaya. Yakuwa yakozesa amaanyi ge ag’ekitalo n’omukono gwe ogw’amaanyi okunyweza Abayudaaya abaali baweddemu amaanyi. (Soma Nekkemiya 1:​10; 2:​17-​20; 6:9.) Naawe okkiriza nti ne leero Yakuwa akozesa amaanyi ge ag’ekitalo n’omukono gwe ogw’amaanyi okunyweza abaweereza be?

YAKUWA AJJA KUNYWEZA EMIKONO GYO

10, 11. (a) Sitaani agezaako atya okutumalamu amaanyi? (b) Biki Yakuwa by’akozesa okutunyweza n’okutuyamba okufuna amaanyi? (c) Oganyuddwa otya mu buyigirize bwe tufuna mu kibiina kya Yakuwa?

10 Sitaani ajja kweyongera okukola kyonna ekisoboka okutulemesa okuweereza Yakuwa. Sitaani akozesa abakulembeze b’amadiini ne bakyewaggula okutwogerako eby’obulimba, era akozesa ne gavumenti okututiisatiisa. Kigendererwa ki ky’alina? Alina ekigendererwa eky’okutumalamu amaanyi tulekere awo okukola omulimu gw’okubuulira. Naye okuyitira mu mwoyo gwe omutukuvu,Yakuwa asobola okutuwa amaanyi ge twetaaga. (1 Byom. 29:12) N’olwekyo, kikulu okusaba Yakuwa atuwe omwoyo gwe omutukuvu tusobole okwaŋŋanga embeera enzibu ezireetebwa Sitaani n’ensi ye. (Zab. 18:39; 1 Kol. 10:13) Era kikulu okusomanga Ekigambo kya Katonda kye yawandiisa ng’akozesa omwoyo gwe omutukuvu. Lowooza ne ku mmere ennyingi ey’eby’omwoyo gye tufuna buli mwezi. Ebigambo ebiri mu Zekkaliya 8:​9, 13 (soma) byayogerwa mu kiseera yeekaalu y’omu Yerusaalemi bwe yali ng’ezzeemu okuzimbibwa era ebigambo ebyo bitukwatako leero.

11 Ate era Yakuwa atunyweza okuyitira mu bintu bye tuyiga mu nkuŋŋaana ennene n’entono awamu n’ebyo bye tuyiga mu masomero g’ekibiina kya Yakuwa. Okutendekebwa kwe tufuna kutuyamba okuba n’endowooza ennuŋŋamu nga tuweereza Katonda, okweteerawo ebiruubirirwa eby’omwoyo, n’okutuukiriza obuweereza bwaffe. (Zab. 119:32) Ofuba okuganyulwa mu kuyigirizibwa Yakuwa kw’atuwa kikuyambe okufuna amaanyi?

12. Biki bye tulina okukola okusobola okusigala nga tuli banywevu mu by’omwoyo?

12 Yakuwa yayamba Abayisirayiri okuwangula Abamaleki n’Abeesiyopiya, era yawa Nekkemiya ne banne amaanyi ne basobola okumaliriza omulimu gw’okuzimba. Naffe Katonda ajja kutuwa amaanyi ge twetaaga okusobola okugumira okuyigganyizibwa n’ebintu ebirala ebiyinza okutumalamu amaanyi, kituyambe okweyongera okukola omulimu gw’okubuulira. (1 Peet. 5:​10) Leero tetusuubira Yakuwa kutuyamba mu ngeri ya kyamagero. Tusaanidde okubaako kye tukolawo. Muno mwe muli okusoma Ekigambo kya Katonda buli lunaku, okwetegekera enkuŋŋaana n’okuzibaamu, okwesomesa, okuba n’okusinza kw’amaka, n’okusabanga Yakuwa atuyambe. Ka tuleme kukkiriza kintu kyonna kutulemesa kukozesa mu bujjuvu ebintu byonna Yakuwa by’atuwadde okusobola okutunyweza n’okutuzzaamu amaanyi. Singa okizuula nti waliwo ekimu ku bintu ebyo ky’olagajjalidde, saba Katonda akuyambe. Bw’onookola bw’otyo, Katonda ajja kukozesa omwoyo gwe akuwe amaanyi, ‘akwagazise okukola era okole.’ (Baf. 2:​13) Naye oyinza otya okunyweza emikono gy’abalala?

NYWEZA EMIKONO EGIRAGAYE

13, 14. (a) Ow’oluganda omu yazzibwamu atya amaanyi nga mukyala we afudde? (b) Tuyinza tutya okuzzaamu abalala amaanyi?

13 Yakuwa atuwadde bakkiriza bannaffe mu nsi yonna abasobola okutuzzaamu amaanyi. Omutume Pawulo yagamba nti: “Munyweze emikono egiragaye n’amaviivi agajugumira, mutereeze amakubo g’ebigere byammwe.” (Beb. 12:12, 13) Abakristaayo mu kyasa ekyasooka bazzangamu bakkiriza bannaabwe amaanyi mu by’omwoyo. Bwe kityo bwe kiri ne leero. Ng’ekyokulabirako, ow’oluganda omu bwe yafiirwa mukyala we era n’afuna ebizibu ebirala eby’amaanyi, yagamba nti: “Nkirabye nti tetusobola kweronderawo kugezesebwa kwe tunaayolekagana nakwo oba mirundi emeka gye tunaafuna okugezesebwa oba ddi lwe tunaakufuna. Naye okusaba n’okwesomesa binnyambye nnyo. Ate era bakkiriza bannange nabo banzizizzaamu nnyo amaanyi. Nkirabye nti kikulu okunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa ng’embeera enzibu tezinnajja.”

Buli omu mu kibiina alina ky’asobola okukolawo okuzzaamu abalala amaanyi (Laba akatundu 14)

14 Alooni ne Kuli baawanirira emikono gya Musa ng’olutalo lugenda mu maaso. Naffe tusobola okulaba engeri gye tuyinza okuyambamu abalala. Baani be tuyinza okuyamba? Tusobola okuyamba abo abakaddiye, abalwadde, abayigganyizibwa ab’omu maka gaabwe, aboolekagana n’ekiwuubaalo, oba abafiiriddwa. Era tusobola okuyamba abavubuka abapikirizibwa okwenyigira mu bikolwa ebibi, okuluubirira obuyigirize obwa waggulu, oba okwemalira ku kunoonya ssente. (1 Bas. 3:​1-3; 5:​11, 14) Tusaanidde okukozesa buli kakisa ke tufuna okuzzaamu abalala amaanyi nga tuli ku Kizimbe ky’Obwakabaka, nga tubuulira, nga tuliirako wamu n’abalala emmere, oba nga tubakubidde essimu.

15. Ebigambo ebirungi biyinza kukwata bitya ku bakkiriza bannaffe?

15 Asa bwe yamala okuwangula olutalo, nnabbi Azaliya yamuzzaamu amaanyi awamu n’abantu be ng’abagamba nti: “Mubeere bavumu era temuleka mikono gyammwe kugwa, kubanga mujja kuweebwa empeera olw’ebyo bye mukola.” (2 Byom. 15:7, obugambo obuli wansi) Ebigambo ebyo byaleetera Asa okukola enkyukakyuka nnyingi mu bwakabaka bwe okusobola okuzzaawo okusinza okw’amazima. Mu ngeri y’emu, naawe ebigambo by’oyogera bisobola okuleetera abalala okubaako kye bakolawo. Bisobola okubaleetera okuweereza Yakuwa n’obunyiikivu. (Nge. 15:23) Bw’ofuba okubaako by’oddamu mu nkuŋŋaana, ebyo by’oyogera bisobola okuzzaamu abalala amaanyi.

16. Okufaananako Nekkemiya, abakadde bayinza batya okunyweza emikono gya bakkiriza bannaabwe? Waayo ebyokulabirako ebiraga engeri bakkiriza banno gye bakuyambyemu.

16 Yakuwa yanyweza emikono gya Nekkemiya ne banne ne basobola okuzimba bbugwe wa Yerusaalemi era omulimu ogwo baagumalira mu nnaku 52 zokka! (Nek. 2:​18, obugambo obuli wansi; 6:15, 16) Nekkemiya teyakola gwa kulabirira bulabirizi mulimu ogwo. Naye yeenyigira butereevu mu kuzimba bbugwe wa Yerusaalemi. (Nek. 5:​16) Leero, waliwo abakadde bangi abakoppye Nekkemiya nga beenyigira mu mulimu gw’okuzimba ebizimbe ebikozesebwa mu mulimu gw’Obwakabaka era nga beenyigira ne mu kulongoosa n’okuddaabiriza Ebizimbe by’Obwakabaka mwe bakuŋŋaanira. Era banyweza emikono gya bakkiriza bannaabwe nga babuulirako wamu nabo era nga babakyalira okubazzaamu amaanyi.​—Soma Isaaya 35:​3, 4.

“TOGGWAAMU MAANYI”

17, 18. Bwe tufuna ebizibu, tusaanidde kuba bakakafu ku ki?

17 Okuweerereza awamu ne bakkiriza bannaffe kituyamba okuba obumu, okufuna emikwano egya nnamaddala, n’okwongera okukkiririza mu mikisa Obwakabaka bwa Katonda gye bujja okuleeta. Bwe tufuba okunyweza emikono gya bakkiriza bannaffe, kibayamba okwaŋŋanga embeera enzibu era ne kibayamba okwongera okunyweza okukkiriza kwabwe mu bisuubizo bya Katonda. Ate era bwe tuzzaamu abalala amaanyi naffe kituyamba okusigala nga tuli banywevu mu by’omwoyo era kituyamba okunyweza okukkiriza kwaffe mu bisuubizo bya Katonda. Mu butuufu, bwe tunyweza emikono gy’abalala naffe emikono gyaffe ginywera.

18 Bwe tulowooza ku ngeri Yakuwa gye yayambamu abaweereza be abeesigwa ab’edda kituleetera okwongera okunyweza okukkiriza kwaffe n’okwongera okumwesiga. N’olwekyo, bw’ofuna ebizibu, “toggwaamu maanyi”! Mu kifo ky’ekyo, saba Yakuwa akuyambe, era leka omukono gwe ogw’amaanyi gukunyweze osobole okufuna emikisa Obwakabaka gye bujja okuleeta.​—Zab. 73:23, 24.