Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Weeyongere Okulwanirira Omukisa gwa Yakuwa

Weeyongere Okulwanirira Omukisa gwa Yakuwa

“Omegganye ne Katonda era n’abantu, n’owangula.”​—LUB. 32:28.

ENNYIMBA: 60, 38

1, 2. Abaweereza ba Katonda bameggana na ki?

OKUVIIRA ddala mu kiseera kya Abbeeri, omusajja omwesigwa eyasooka, abaweereza ba Katonda babadde bameggana n’ebintu ebitali bimu. Omutume Pawulo yagamba Abakristaayo Abebbulaniya nti baali ‘bagumiikirizza ensiitaano ey’amaanyi n’okubonaabona’ okusobola okusiimibwa Yakuwa n’okufuna emikisa gye. (Beb. 10:32-​34) Pawulo yageraageranya okufuba Abakristaayo kwe balina okwoleka ku kufuba abaddusi, abazannyi b’ebigwo, n’abakubi b’ebikonde abeenyigiranga mu mizannyo gy’Abayonaani kwe baalinanga okwoleka nga bazannya emizannyo egyo. (Beb. 12:​1, 4) Leero, tuli mu mbiro ez’obulamu era abalabe baffe baagala okutuwugula, okutumegga, oba okutukuba batumaleko essanyu era tufiirwe emikisa Yakuwa gy’atutegekedde.

2 Tumeggana ne Sitaani awamu n’ensi ye embi. (Bef. 6:​12) Tusaanidde okwewala okwonoonebwa ebintu by’ensi “ebyasimba amakanda,” omuli enjigiriza ez’obulimba, obufirosoofo, n’ebikolwa ebibi, gamba ng’ebikolwa eby’obugwenyufu, okunywa ssigala, okutamiira, n’okukozesa ebiragalalagala. Ate era bulijjo tulina okufuba okulwanyisa obunafu bwaffe obw’omubiri n’okwewala ebintu ebitumalamu amaanyi.​—2 Kol. 10:​3-6; Bak. 3:​5-​9.

3. Katonda atutendeka atya okusobola okulwanyisa abalabe baffe?

3 Ddala tusobola okulwanyisa abalabe baffe abo ne tubawangula? Yee, tusobola singa tufuba. Nga yeegeraageranya ku mukubi w’ebikonde, Pawulo yagamba nti: “Ebikonde byange sibikuba ng’akuba ebbanga.” (1 Kol. 9:​26) Ng’omukubi w’ebikonde bw’afuba okulwanyisa omulabe we, naffe tulina okufuba okulwanyisa abalabe baffe. Yakuwa atutendeka era atuyamba okulwanyisa abalabe baffe. Atuwa obulagirizi okuyitira mu Kigambo kye. Era atuyamba okuyitira mu bitabo ebikubibwa omuddu omwesigwa n’okuyitira mu nkuŋŋaana ennene n’entono. Okolera ku ebyo Yakuwa by’atuyigiriza? Bw’otobikolerako oba “ng’akuba ebbanga”; omulabe wo oba tomulwanyisa.

4. Tuyinza tutya okwewala okuwangulwa ekibi?

4 Abalabe baffe basobola okutulumba mu kiseera we tutabasuubirira. N’olwekyo buli kiseera tulina okuba obulindaala. Bayibuli etugamba nti: “Tokkirizanga kuwangulwa bintu bibi, naye wangulanga ebintu ebibi ng’okola ebirungi.” (Bar. 12:21) Ebigambo “tokkirizanga kuwangulwa bintu bibi” biraga nti tusobola okuwangula ebintu ebibi. Ekyo tusobola okukikola singa tweyongera okulwanyisa ebintu ebibi. Ku luuyi olulala singa tulekera awo okulwanyisa Sitaani, ensi ye, n’okwegomba kw’omubiri gwaffe, ebintu ebibi bisobola okutuwangula. Tokkiriza Sitaani kukutiisatiisa ne kikuleetera okulowooza nti tosobola kuwangula!​—1 Peet. 5:9.

5. (a) Kiki ekiyinza okutuyamba okweyongera okufuba tusobole okufuna emikisa gya Yakuwa? (b) Bantu ki aboogerwako mu Bayibuli be tugenda okwetegereza?

5 Bwe tuba ab’okuwangula olutalo olw’eby’omwoyo lwe tulimu, tulina okujjukiranga ensonga lwaki tulwana. Okusobola okusiimibwa Katonda n’okufuna emikisa gye, tulina okukuumira mu birowoozo ebigambo ebiri mu Abebbulaniya 11:6, awagamba nti: “Oyo atuukirira Katonda ateekwa okukkiriza nti gyali era nti y’awa empeera abo abafuba okumunoonya.” Ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa “abafuba okumunoonya” kirina amakulu ag’okufuba ennyo okukola ekintu. (Bik. 15:17) Ebyawandiikibwa byogera ku basajja n’abakazi bangi abaafuba okunoonya omukisa gwa Yakuwa. Yakobo, Laakeeri, Yusufu, ne Pawulo baayolekagana n’embeera enzibu ennyo naye baagumiikiriza era ne bafuna emikisa. Tuyinza tutya okubakoppa?

OBUGUMIIKIRIZA BUVAAMU EMIKISA

6. Kiki ekyayamba Yakobo okugumiikiriza, era birungi ki ebyavaamu? (Laba ekifaananyi ku lupapula 8.)

6 Yakobo yayoleka obunyiikivu n’obugumiikiriza kubanga yali ayagala nnyo Yakuwa, ng’asiima ebintu eby’omwoyo, era yalina okukkiriza okw’amaanyi mu kisuubizo kya Yakuwa eky’okuwa ezzadde lye omukisa. (Lub. 28:​3, 4) N’olwekyo tekyewuunyisa nti Yakobo bwe yali ng’alina emyaka nga 100 yakola kyonna ekisoboka okufuna omukisa gwa Yakuwa; yatuuka n’okumeggana ne malayika eyali ayambadde omubiri gw’abantu. (Soma Olubereberye 32:24-​28.) Naye ddala Yakobo yalina amaanyi agasobola okumeggana ne malayika? Nedda! Naye yali mumalirivu era ekyo teyatya kukikola! Mu butuufu, Yakuwa yamuwa emikisa olw’okuba yali mumalirivu. Okuva olwo yatandika okuyitibwa Isirayiri, (eritegeeza “Alwana ne Katonda” oba, “Katonda Alwana”). Yakobo yafuna ekintu eky’omuwendo ennyo naffe kye tuluubirira. Yasiimibwa Yakuwa era yafuna omukisa gwe.

7. (a) Mbeera ki enzibu ennyo Laakeeri gye yayolekagana nayo? (b) Laakeeri yeeyongera atya okumeggana n’embeera eyo era n’awangula?

7 Mukyala wa Yakobo Laakeeri, naye yali ayagala nnyo okulaba engeri Yakuwa gye yandituukirizzaamu ekyo kye yali yasuubiza bbaawe. Naye Laakeeri yalina ekizibu eky’amaanyi; yali tazaala. Mu kiseera ekyo obutazaala kyali kinakuwaza nnyo. Kiki ekyayamba Laakeeri okwaŋŋanga embeera eyo eyali amalamu amaanyi ate nga yali talina ky’ayinza kugikolera? Laakeeri teyaggwaamu ssuubi wabula yeeyongera okumeggana, kwe kugamba, yanyiikirira okusaba. Yakuwa yawulira okusaba kwa Laakeeri era oluvannyuma yamuwa abaana. N’olwekyo tekyewuunyisa nti lumu Laakeeri yagamba nti: “Mmegganye . . . okumeggana okw’amaanyi era mpangudde”!​—Lub. 30:​8, 20-​24.

8. Mbeera ki enzibu ennyo Yusufu gye yayolekagana nayo, era kiki kye tumuyigirako?

8 Ekyokulabirako ekirungi Yakobo ne Laakeeri kye baatekawo mu kwoleka obugumiikiriza kyakwata nnyo ku mutabani waabwe Yusufu, era ekyo kyamuyamba nnyo bwe yayolekagana n’embeera ezaagezesa okukkiriza kwe. Yusufu bwe yali wa myaka 17, yayolekagana n’embeera enzibu ennyo mu bulamu bwe. Baganda be baamukwatirwa obuggya ne bamutunda mu buddu. Oluvannyuma yawaayirizibwa era n’asibibwa mu kkomera mu Misiri. (Lub. 37:23-​28; 39:​7-9, 20-​21) Yusufu teyakkiriza bintu ebyo kumumalamu maanyi era teyagezaako kuwoolera ggwanga. Mu kifo ky’ekyo, ebirowoozo bye yabimalira ku nkolagana ey’omuwendo gye yalina ne Yakuwa. (Leev. 19:18; Bar. 12:17-​21) Waliwo bingi bye tuyigira ku Yusufu. Ng’ekyokulabirako, ne bwe tuba nga twakulira mu mbeera enzibu ennyo oba ng’embeera gye tulimu kati nzibu nnyo, tulina okweyongera okwoleka obugumiikiriza. Bwe tukola bwe tutyo, Yakuwa ajja kutuwa emikisa.​—Soma Olubereberye 39:21-​23.

9. Tuyinza tutya okukoppa Yakobo, Laakeeri, ne Yusufu mu kulwanirira omukisa gwa Yakuwa?

9 Lowooza ku mbeera gy’oyolekagana nayo egezesa okukkiriza kwo. Oboolyawo oyisibwa mu ngeri eteri ya bwenkanya, ososolwa, oba osekererwa. Oba wayinza okuba nga waliwo omuntu eyakwogerako eby’obulimba, oboolyawo olw’okuba akukwatirwa obuggya. Mu kifo ky’okukkiriza embeera ng’ezo okukumalamu amaanyi, osaanidde okujjukira ekyo ekyayamba Yakobo, Laakeeri, ne Yusufu okusigala nga baweereza Yakuwa n’essanyu. Katonda yabanyweza era n’abawa emikisa kubanga baali basiima nnyo ebintu eby’omwoyo. Baasigala balwanirira omukisa gwa Yakuwa era baakoleranga ku ssaala zaabwe. Tunaatera okutuuka ku nkomerero y’enteekateeka eno ey’ebintu; n’olwekyo tusaanidde okunyweza essuubi lyaffe! Oli mumalirivu okukola kyonna ekisoboka okusobola okusiimibwa Yakuwa, kwe kugamba, okulwanirira omukisa gwa Yakuwa?

FUBA OKULWANIRIRA OMUKISA GWA YAKUWA

10, 11. (a) Ezimu ku mbeera eziyinza okutwetaagisa okulwanirira omukisa gwa Yakuwa ze ziruwa? (b) Kiki ekinaatuyamba okunywerera ku kituufu nga waliwo ebintu ebitumalamu amaanyi oba ebyagala okutuwuggula?

10 Ezimu ku mbeera eziyinza okutwetaagisa okulwanirira omukisa gwa Yakuwa ze ziruwa? Bangi bakisanze nga kibeetaagisa okufuba ennyo okulwanyisa okwegomba kw’omubiri okubi. Abalala bakisanze nga kibeetaagisa okufuba ennyo okusigala nga balina endowooza ennuŋŋamu ku mulimu gw’okubuulira. Abamu kibeetaagisa okugumira obulwadde oba ekiwuubaalo. Ate abalala kibeetaagisa okufuba ennyo okusobola okusonyiwa abalala. Ka tube nga tumaze bbanga lyenkana wa nga tuweereza Yakuwa, buli omu ku ffe asaanidde okufuba ennyo okulaba nti takkiriza kintu kyonna kumulemesa kweyongera kuweereza bulungi Yakuwa, oyo awa empeera abo bonna abasigala nga beesigwa gy’ali.

Olwanirira omukisa gwa Katonda? (Laba akatundu 10, 11)

11 Kyo kituufu nti kyetaagisa okufuba ennyo okusobola okukola ekituufu n’okutambulira mu kkubo Abakristaayo lye balina okutambuliramu. Ekyo kiri kityo naddala singa omutima gwaffe omulimba gwekubira ku ludda olukyamu. (Yer. 17:9) Singa okizuula nti waliwo we weetaaga okutereeza, nyiikirira okusaba Katonda akuwe omwoyo gwe omutukuvu. Okusaba n’omwoyo omutukuvu bisobola okukuyamba okuba omumalirivu okunywerera mu kkubo ettuufu osobole okufuna omukisa gwa Yakuwa. Fuba okukolera ku ssaala zo. Era fuba okusoma Bayibuli buli lunaku, okwesomesanga, n’okuba n’okusinza kw’amaka obutayosa.​—Soma Zabbuli 119:32.

12, 13. Abakristaayo babiri baayambibwa batya okusobola okulwanyisa okwegomba okubi?

12 Waliwo ebyokulabirako bingi ebiraga engeri Ekigambo kya Katonda, omwoyo gwe, n’ebitabo byaffe gye biyambyemu Abakristaayo okulwanyisa okwegomba okubi. Omuvubuka omu yasoma ekitundu ekyalina omutwe, “Oyinza Otya Okuziyiza Okwegomba Okubi?” ekyafulumira mu Awake! eya Ddesemba 8, 2003. Ekitundu ekyo kyamukwatako kitya? Yagamba nti: “Nfuna ebirowoozo ebibi era nfuba okubirwanyisa. Ekitundu ekyo ekyafulumira mu Awake! eyo kyagamba nti Abakristaayo bangi bafuba nnyo okulwanyisa okwegomba okubi. Ekyo kyandeetera okuwulira nti ekizibu kye njolekagana nakyo bangi ku bakkiriza bannange okwetooloola ensi boolekagana nakyo. Nnakiraba nti olutalo olwo siruliimu nzekka.” Omuvubuka oyo era yaganyulwa nnyo mu kitundu ekyalina omutwe “Katonda Akkiriza Abantu Okweyisa nga Bwe Baagala?” ekyafulumira mu Awake! eya Okitobba 8, 2003. Ekitundu ekyo kyagamba nti eri abantu abamu, okwegomba okubi okw’omubiri kwe balwanyisa kulinga “eriggwa mu mubiri.” (2 Kol. 12:7) Balwanyisa okwegomba okw’omubiri okwo nga bwe balowooza ku biseera eby’omu maaso okwegomba ng’okwo lwe kuliba nga tekukyaliwo. Omuvubuka oyo yagamba nti: “Buli lunaku nsaba Yakuwa annyambe okusigala nga ndi mwesigwa gy’ali. Nneebaza nnyo Yakuwa olw’okukozesa ekibiina kye okutuyamba okwaŋŋanga embeera enzibu ze twolekagana nazo buli lunaku.”

13 Ate lowooza ne ku mwannyinaffe omu abeera mu Amerika. Agamba nti: “Nneebaza nnyo ekibiina kya Yakuwa olw’okutuwa amagezi ge twetaaga mu kiseera ekituufu. Emirundi mingi bwe nsoma ebitundu ebifulumira mu bitabo byaffe, ndabira ddala nga baabiwandiikira nze. Okumala emyaka mingi mbadde n’okwegomba okubi kwe nnwanyisa. Oluusi waliwo lw’empulira nga nkooye okukulwanyisa ne njagala okukukolerako. Nkimanyi nti Yakuwa musaasizi era asonyiwa, naye olw’okuba nnina okwegomba okwo okubi era nga muli nnemeddwa okukukyawa, mpulira nga Yakuwa tasobola kunnyamba. Ekyo emirundi mingi mpulira nga kimmazeeko essanyu. . . . Oluvannyuma lw’okusoma ekitundu ekirina omutwe ‘Olina “Omutima Ogumanyi” Yakuwa?’ ekyafulumira mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Maaki 15, 2013, nnakiraba nti ddala Yakuwa ayagala okunnyamba.”

14. (a) Okwegomba okubi Pawulo kwe yali alwanyisa kwamuleetera kuwulira atya? (b) Tuyinza tutya okulwanyisa okwegomba okw’omubiri okubi era ne tukuwangula?

14 Soma Abaruumi 7:​21-​25. Omutume Pawulo yali akimanyi bulungi nti kyetaagisa okufuba ennyo okusobola okulwanyisa okwegomba okubi. Wadde kyali kityo, yali mukakafu nti okusaba Yakuwa n’okukkiririza mu ssaddaaka ya Yesu byandimusobozesezza okuwangula olutalo olwo. Ate ffe? Naffe tusobola okulwanyisa okwegomba okubi okw’omubiri era ne tuwangula olutalo olwo. Mu ngeri ki? Nga tukoppa Pawulo, nga tunyiikirira okusaba Yakuwa atuyambe, era nga tukkiririza mu ssaddaaka ya Yesu.

15. Kiki ekiraga nti okusaba kusobola okutuyamba okugumira ebizibu n’okusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa?

15 Oluusi Katonda ayinza okuleka embeera enzibu okweyongera okubaawo asobole okutuwa akakisa okumweyabiza nga tumubuulira ebyo ebitweraliikiriza. Ng’ekyokulabirako, watya singa tufuna obulwadde obw’amaanyi oba singa omu ku b’eŋŋanda zaffe afuna obulwadde obw’amaanyi? Oba watya singa tuyisibwa mu ngeri eteri ya bwenkanya? Mu mbeera ng’eyo tukyoleka nti twesiga Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna nga tumwegayirira atuyambe okusigala nga tuli beesigwa gy’ali, okusigala nga tuli basanyufu, n’okusigala nga tuli banywevu mu by’omwoyo. (Baf. 4:​13) Ebyokulabirako by’abaweereza ba Katonda abaaliwo mu kiseera kya Pawulo awamu n’abo ababaddewo mu kiseera kyaffe bituyamba okukiraba nti okusaba kusobola okutunyweza ne tuba bamalirivu okusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa.

WEEYONGERE OKULWANIRIRA OMUKISA GWA YAKUWA

16, 17. Kiki ky’omaliridde okukola?

16 Sitaani ayagala oggweemu amaanyi olekere awo okulwanirira omukisa gwa Yakuwa. Naye ba mumalirivu ‘okunywerera ku kirungi.’ (1 Bas. 5:​21) Osobola okuwangula Sitaani, ensi ye embi, awamu n’okwegomba okubi. Ekyo osobola okukikola singa weesiga Katonda n’omutima gwo gwonna era n’oba mukakafu nti asobola okukunyweza.​—2 Kol. 4:​7-9; Bag. 6:9.

17 N’olwekyo, weeyongere okumeggana. Weeyongere okwoleka obugumiikiriza ng’olwanirira omukisa gwa Yakuwa. Bw’onookola bw’otyo, Yakuwa ajja ‘kukuyiira emikisa mingi nnyo gibulwe ne we gigya.’​—Mal. 3:​10.