OMUNAALA GW'OMUKUUMI—OGW'OKUSOMA MU KIBIINA Ssebutemba 2017

Magazini eno erimu ebitundu eby’okusoma okuva nga Okitobba 23 okutuuka nga Noovemba 26, 2017.

Yiga Okwefuga

Ebyo bye tusoma ku bantu aboogerwako mu Bayibuli abeefuga n’abateefuga bituyamba bitya okuyiga okwefuga? Lwaki Abakristaayo balina okuyiga okwefuga?

Beera Musaasizi nga Yakuwa

Lumu Katonda yayogera ne Musa n’alangirira erinnya lye n’engeri ze. Emu ku ngeri ze yasooka okwogerako bwe busaasizi. Obusaasizi kye ki era lwaki engeri eyo nkulu?

EBYAFAAYO EBIKWATA KU BULAMU BW'AB'OLUGANDA

Nfunye Enkizo Okukolera Awamu n’Abasajja Abakulu mu by’Omwoyo

David Sinclair afunye essanyu lingi okukolera awamu ne baganda baffe ne bannyinaffe abeesigwa mu bbanga ery’emyaka 61 ly’amaze ng’aweereza ku Beseri.

“Ekigambo kya Katonda Waffe Kibeerawo Emirembe Gyonna”

Bayibuli kye kitabo ekikyasinze okwettanirwa abantu wadde nga yawandiikibwa dda, wadde nga wabaddewo enkyukakyuka mu nnimi ne mu by’obufuzi, era wadde nga wabaddewo abaziyiza omulimu gw’okugivvuunula.

“Ekigambo kya Katonda . . . kya Maanyi”

Bangi bakoze enkyukakyuka ez’amaanyi oluvannyuma lw’okuyiga Bayibuli. Kiki kye tulina okukola bwe tuba ab’okuganyulwa mu Kigambo kya Katonda?

“Beera Muvumu . . . Okole Omulimu”

Lwaki tulina okuba abavumu, era kiki ekiyinza okutuyamba okuba abavumu?