Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

“Ekigambo kya Katonda . . . kya Maanyi”

“Ekigambo kya Katonda . . . kya Maanyi”

“Ekigambo kya Katonda kiramu, kya maanyi.”​BEB. 4:12.

ENNYIMBA: 96, 94

1. Lwaki tuli bakakafu nti Ekigambo kya Katonda kya maanyi? (Laba ekifaananyi waggulu.)

ABAWEEREZA ba Yakuwa tetubuusabuusa nti Ekigambo kya Katonda ‘kiramu era kya maanyi.’ (Beb. 4:12) Ekyo bangi ku ffe tukiwaako obukakafu. Abamu ku baganda baffe ne bannyinaffe bwe baali tebannayiga mazima baali babbi, nga bakozesa ebiragalalagala, oba nga beenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu. Ate abalala baali bagagga naye nga bawulira nti waliwo ekibabulako. (Mub. 2:3-11) Wabaddewo n’abantu bangi abaali bawulira ng’obulamu bwabwe tebulina makulu naye amaanyi agali mu Kigambo kya Katonda ne gabayamba okuzuula ekkubo ery’obulamu. Oyinza okuba ng’osomyeko ku bantu ng’abo mu Omunaala gw’Omukuumi mu kitundu ekirina omutwe “Bayibuli Ekyusa Obulamu bw’Abantu.” Ate era oyinza okuba ng’okirabye nti Bayibuli yeeyongera okuyamba abantu okukola enkyukakyuka ennungi mu bulamu bwabwe n’oluvannyuma lw’okuyiga amazima.

2. Amanyi g’Ekigambo kya Katonda gaakwata gatya ku bantu mu kyasa ekyasooka?

2 Kyanditwewuunyisizza okuba nti abantu bangi bakoze enkyukakyuka ez’amaanyi oluvannyuma lw’okusoma Ekigambo kya Katonda? Nedda! Abantu abo batujjukiza bakkiriza bannaffe abatali bamu abaaliwo mu kyasa ekyasooka, abaalina essuubi ery’okugenda mu ggulu. (Soma 1 Abakkolinso 6:9-11.) Oluvannyuma lw’okumenya abantu abatajja kusikira Bwakabaka bwa Katonda, omutume Pawulo yagattako nti: “Abamu ku mmwe mwali ng’abo.” Naye Ekigambo kya Katonda n’omwoyo omutukuvu byayamba abantu abo okukola enkyukakyuka mu bulamu bwabwe. Abamu ku bo baalina okwongera okulwanyisa emize emibi n’oluvannyuma lw’okuyiga amazima. Ng’ekyokulabirako, Bayibuli eyogera ku Mukristaayo eyafukibwako amafuta eyaliwo mu kyasa ekyasooka eyagobebwa mu kibiina naye oluvannyuma n’akomezebwawo. (1 Kol. 5:1-5; 2 Kol. 2:5-8) Bwe tusoma ku mize egitali gimu Ekigambo kya Katonda gye kiyambye bakkiriza bannaffe okuvvuunuka, tekituzzaamu nnyo amaanyi?

3. Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

3 Okuva bwe kiri nti tulina Ekigambo kya Katonda eky’amaanyi, tusaanidde okukikozesa obulungi. (2 Tim. 2:15) Mu kitundu kino, tugenda kulaba engeri gye tuyinza okukozesa amaanyi g’Ekigambo kya Katonda (1) mu bulamu bwaffe, (2) nga tubuulira, ne (3) nga tuyigiriza ku pulatifoomu. Ebyo bye tugenda okuyiga bijja kutuyamba okwongera okwagala n’okusiima Kitaffe ow’omu ggulu atuyigiriza tusobole okuganyulwa.​—Is. 48:17.

MU BULAMU BWAFFE

4. (a) Bwe tuba ab’okuganyulwa mu Kigambo kya Katonda kiki kye tulina okukola? (b) Nteekateeka ki gy’olina ey’okusoma Bayibuli?

4 Bwe tuba ab’okuganyulwa mu Kigambo kya Katonda, tulina okukisoma obutayosa, si na kindi buli lunaku. (Yos. 1:8) Kyo kituufu nti bangi ku ffe tulina eby’okukola bingi nnyo. Wadde kiri kityo, tetusaanidde kukkiriza kintu kyonna, nga mw’otwalidde n’obuvunaanyizibwa obw’amaanyi bwe tulina, kutaataaganya nteekateeka yaffe ey’okusoma Bayibuli obutayosa. (Soma Abeefeso 5:15, 16.) Abantu ba Yakuwa bangi bafunye engeri ey’okusomamu Bayibuli obutayosa. Abamu bagisoma ku makya, abalala bagisoma kiro, ate abalala bafunayo ekiseera mu lunaku ne bagisoma. Balina endowooza ng’ey’omuwandiisi wa zabbuli eyagamba nti: “Amateeka go nga ngaagala nnyo! Ngafumiitirizaako okuzibya obudde.”​—Zab. 119:97.

5, 6. (a) Lwaki kikulu okufumiitiriza ku bye tusoma? (b) Tuyinza tutya okufumiitiriza obulungi? (c) Oganyuddwa otya mu kusoma n’okufumiitiriza ku Kigambo kya Katonda?

5 Ng’oggyeeko okusoma Bayibuli, tusaanidde n’okufumiitiriza ku ebyo bye tusoma. (Zab. 1:1-3) Ekyo bwe tukikola kijja kutuyamba okukolera ku magezi agagirimu. Ka tube nga Bayibuli tugisomera ku mpapula oba ku kompyuta, tusaanidde okugikkiriza okukyusa obulamu bwaffe.

6 Tuyinza tutya okufumiitiriza obulungi? Bwe tumala okusoma ekitundu kyonna mu Bayibuli, tusaanidde okwebuuza ebibuuzo nga bino: ‘Bye nsomye binjigiriza ki ku Yakuwa? Mu ngeri ki gye nkolera ku misingi egiri mu kitundu kye nva okusoma? Wa we nneetaaga okulongoosaamu?’ Bwe tufumiitiriza ku ebyo bye tusoma mu Kigambo kya Katonda, kijja kutukubiriza okuba abamalirivu okukolera ku magezi agakirimu. Mu ngeri eyo, tujja kulaba ng’amaanyi agali mu Kigambo kya Katonda gakolera mu bulamu bwaffe.​—2 Kol. 10:4, 5.

NGA TUBUULIRA

7. Tuyinza tutya okukozesa obulungi Ekigambo kya Katonda nga tubuulira?

7 Tuyinza tutya okukozesa obulungi Ekigambo kya Katonda nga tubuulira? Ekisooka kwe kukozesa buli kakisa ke tufuna okukisomera abantu be tubuulira oba be tuyigiriza Bayibuli. Ekyo ow’oluganda omu yakyogerako bw’ati, “Singa obadde obuulira ne Yakuwa nnyumba ku nnyumba, ggwe wandibadde osinga okwogera oba wandirese Yakuwa n’ayogera?” Kiki ow’oluganda oyo kye yali ategeeza? Bwe tusomera abantu Ekigambo kya Katonda nga tubuulira, tuba tulese Yakuwa okwogera nabo. Bwe tukozesa ekyawandiikibwa ekituukirawo, kikwata ku muntu okusinga ekintu kyonna kye tuyinza okwogera. (1 Bas. 2:13) Weebuuze, ‘Nkozesa buli kakisa ke nfuna okusomera abantu Bayibuli nga mbuulira?’

8. Lwaki okusoma obusomi ebyawandiikibwa nga tubuulira tekimala?

8 Naye okusomera obusomezi abantu ebyawandiikibwa nga tubuulira tekimala. Lwaki? Kubanga abantu abasinga obungi bamanyi kitono nnyo ku Bayibuli ate abamu tebalina kye bagimanyiiko. Bwe kityo bwe kyali ne mu kyasa ekyasooka. (Bar. 10:2) N’olwekyo tetusaanidde kulowooza nti omuntu ajja kutegeera ensonga gye twagala ategeere olw’okuba tumusomedde ekyawandiikibwa. Tusaanidde okukkaatiriza ebigambo ebiggyayo ensonga enkulu mu kyawandiikibwa kye tuba tusomye, oboolyawo nga tuddamu okubisoma era ne tubinnyonnyola. Bwe tukola tutyo kisobola okuleetera Ekigambo kya Katonda okutuuka ku mitima gy’abo be tubuulira.​—Soma Lukka 24:32.

9. Tuyinza tutya okwanjula ebyawandiikibwa mu ngeri ereetera abantu okussa ekitiibwa mu Bayibuli? Waayo ekyokulabirako.

9 Ate era tusaanidde okwanjula ebyawandiikibwa mu ngeri ereetera abantu okussa ekitiibwa mu Bayibuli. Ng’ekyokulabirako, tuyinza okugamba nti, “Ka tulabe Omutonzi waffe ky’ayogera ku nsonga eno.” Bw’oba oyogera n’omuntu ow’enzikiriza etakozesa Bayibuli oyinza okugamba nti, “Ka tulabe Ebyawandiikibwa Ebitukuvu kye bigamba.” Oba bwe tuba tubuulira omuntu atettanira bya ddiini, tuyinza okugamba nti, “Wali owulidde ku lugero luno olw’edda?” Mu butuufu, tusaanidde okusengeka ebigambo byaffe mu ngeri esikiriza abantu aba buli ngeri.​—1 Kol. 9:22, 23.

10. (a) Kiki ekyaliwo ow’oluganda omu bwe yakozesa ekyawandiikibwa ng’abuulira? (b) Olabye otya amaanyi g’Ekigambo kya Katonda ng’obuulira?

10 Ababuulizi bangi bakirabye nti okukozesa Ekigambo kya Katonda nga babuulira kikwata nnyo ku bantu. Ng’ekyokulabirako, ow’oluganda omu yaddayo eri omusajja omu eyali amaze emyaka ng’asoma magaziini zaffe. Mu kifo ky’okumuwa obuwi Omunaala gw’Omukuumi, ow’oluganda yasalawo okumusomera ekimu ku byawandiikibwa ebyali mu magazini eyo. Yasoma 2 Abakkolinso 1:3, 4, awagamba nti: “Kitaffe ow’okusaasira era Katonda ow’okubudaabuda kwonna . . . atubudaabuda mu kubonaabona kwaffe kwonna.” Omusajja oyo ebigambo ebyo byamukwatako nnyo n’asaba ow’oluganda addemu okubisoma. Omusajja oyo yagamba nti ye ne mukyala we baali beetaaga nnyo okubudaabudibwa era n’alaga nti ayagala okumanya ebisingawo ebikwata ku Bayibuli. Tewali kubuusabuusa nti Ekigambo kya Katonda kya maanyi bwe tukikozesa nga tubuulira.​—Bik. 19:20.

NGA TUYIGIRIZA KU PULATIFOOMU

11. Buvunaanyizibwa ki ab’oluganda abayigiriza ku pulatifoomu bwe balina?

11 Ffenna tunyumirwa nnyo okubaawo mu nkuŋŋaana zaffe ennene n’entono. Ensonga enkulu lwaki tukuŋŋaana wamu kwe kusinza Yakuwa. Ate era tuganyulwa nnyo mu kuyigirizibwa kwe tufuna mu nkuŋŋaana ezo. Ab’oluganda abayigiriza ku pulatifoomu mu nkuŋŋaana zino balina enkizo ya maanyi. Naye era balina okukijjukira nti obuvunaanyizibwa bwe balina bwa maanyi nnyo. (Yak. 3:1) Balina okukakasa nti ebyo bye bayigiriza byesigamye ku Kigambo kya Katonda. Bw’oweebwa obuvunaanyizibwa okuyigiriza ku pulatifoomu, oyinza otya okukakasa nti amaanyi g’Ekigambo kya Katonda gakwata ku abo abawuliriza?

12. Oyo awa emboozi ayinza atya okukakasa nti emboozi ye agizimbira ku Byawandiikibwa?

12 Fuba okulaba nti emboozi yo ogizimbira ku Byawandiikibwa. (Yok. 7:16) Ekyo kizingiramu ki? Ekisooka, fuba okulaba nti ebyokulabirako by’okozesa oba engeri gy’owaamu emboozi tebiwugula bantu kuva ku byawandiikibwa by’okozesa. Ate era kijjukire nti okusoma obusomi ebyawandiikibwa ebiwerako tekitegeeza nti emboozi yo oba ogizimbidde ku Bayibuli. Mu butuufu, okukozesa ebyawandiikibwa ebingi ennyo kiyinza okuviirako abakuwuliriza obutajjukirayo n’ekimu. N’olwekyo, londa n’obwegendereza ebyawandiikibwa by’onookozesa, bisome, binnyonnyole, biweeko ekyokulabirako, era laga engeri gye tuyinza okubikolerako. (Nek. 8:8) Emboozi gy’oba ogenda okuwa bw’eba yeesigamiziddwa ku kiwandiiko omuddu omwesigwa kye yatuwa, kisome n’obwegendereza awamu n’ebyawandiikibwa ebikirimu. Fuba okutegeera akakwate akaliwo wakati w’ensonga ezoogerwako mu kiwandiiko ekyo n’ebyawandiikibwa ebiteekeddwamu. Era kozesa ebimu ku byawandiikibwa ebyo okunnyonnyola ensonga eziweereddwa mu kiwandiiko ekyo. (Laba ekitabo Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda, essomo erya 21 okutuuka ku lya 23.) N’ekisingira ddala, saba Yakuwa akuyambe okukozesa obulungi Ekigambo kye.​—Soma Ezera 7:10; Engero 3:13, 14.

13. (a) Ekyawandiikibwa ekyasomebwa mu lukuŋŋaana kyakwata kitya ku mwannyinaffe omu? (b) Oganyuddwa otya mu ngeri Bayibuli gy’ennyonnyolwamu mu nkuŋŋaana?

13 Mwannyinaffe omu ow’omu Australia bwe yali akyali muto, yayolekagana n’ebizibu bingi. Ne bwe yafuuka Omujulirwa wa Yakuwa, yasigala abuusabuusa obanga ddala Yakuwa yali amwagala. Naye lumu bwe yali mu lukuŋŋaana, baasoma ekyawandiikibwa ekyamukwatako ennyo. Yakifumiitirizaako, n’akinoonyerezaako, era n’asoma n’ebyawandiikibwa ebirala. Ekyo kyamuleetera okuba omukakafu nti ddala Yakuwa yali amwagala. * Naawe waliwo ekyawandiikibwa kye baasoma ng’oli mu lukuŋŋaana olw’ekibiina oba ku lukuŋŋaana olunene ne kikukwatako nnyo?​—Nek. 8:12.

14. Tuyinza tutya okulaga nti tusiima Ekigambo kya Katonda?

14 Tusiima nnyo Yakuwa olw’okutuwa Ekigambo kye, Bayibuli. Yakuwa yasuubiza nti Ekigambo kye kijja kubeerawo emirembe gyonna era atuukirizza ekyo kye yasuubiza. (1 Peet. 1:24, 25) Tusaanidde okusoma Ekigambo kya Katonda buli lunaku, okukikolerako mu bulamu bwaffe, n’okukikozesa okuyamba abalala. Bwe tukola bwe tutyo tuba tulaga nti tusiima ekirabo ekyo Katonda kye yatuwa, era kiba kiraga nti twagala nnyo Oyo eyakiwandiisa, Yakuwa Katonda.

^ lup. 13 Laba akasanduuko “ Endowooza Yange Yakyuka.”