Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

“Ekigambo kya Katonda Waffe Kibeerawo Emirembe Gyonna”

“Ekigambo kya Katonda Waffe Kibeerawo Emirembe Gyonna”

“Omuddo gukala, ekimuli kiwotoka, naye ekigambo kya Katonda waffe kibeerawo emirembe gyonna.”​IS. 40:8.

ENNYIMBA: 95, 97

1, 2. (a) Obulamu bwandibadde butya awatali Bayibuli? (b) Kiki ekisobola okutuyamba okuganyulwa mu bujjuvu mu Bayibuli?

OLOWOOZA obulamu bwandibadde butya nga tewali Bayibuli? Tetwandisobodde kufuna magezi gatuyamba mu bulamu bwaffe. Tetwandisobodde kufuna bya kuddamu bimatiza ebikwata ku Katonda, ku bulamu, ne ku biseera eby’omu maaso. Era tetwandisobodde kumanya ngeri Yakuwa gye yakolaganamu n’abantu mu biseera eby’edda.

2 Naye tuli basanyufu nti embeera yaffe si bw’etyo bw’eri. Yakuwa yatuwa Ekigambo kye Bayibuli. Ate era yatukakasa nti ekigambo kye kijja kubeerawo emirembe gyonna. Omutume Peetero yajuliza ebigambo ebiri mu Isaaya 40:8. Wadde ng’olunyiriri olwo terwogera ku Bayibuli butereevu, ebigambo ebirulimu bikwata ku bubaka obuli mu Bayibuli. (Soma 1 Peetero 1:24, 25.) Kya lwatu nti tuganyulwa nnyo mu Bayibuli nnaddala singa tugisoma mu lulimi lwe tutegeera obulungi. Abo abaagala Ekigambo kya Katonda, ekyo bakimanyi bulungi. Wadde nga tekibadde kyangu, emyaka bwe gizze giyitawo, wabaddewo abantu abeesimbu abafubye okuvvuunula Bayibuli n’okugibunyisa mu bantu. Ekyo kye bakoze kikwatagana n’ekyo Katonda ky’ayagala. Katonda “ayagala abantu aba buli ngeri okulokolebwa era bategeerere ddala amazima.”​—1 Tim. 2:3, 4.

3. Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino? (Laba ekifaananyi ku lupapula 18.)

3 Mu kitundu kino, tugenda kulaba engeri Ekigambo kya Katonda gye kyeyongedde okubeerawo wadde nga wabaddewo (1) enkyukakyuka mu nnimi, (2) enkyukakyuka mu by’obufuzi ezireetedde ennimi ezoogerwa abantu abasinga obungi okugenda nga zikyuka, ne (3) abo abaziyiza omulimu gw’okukivvuunula. Okwekenneenya ensonga ezo kinaatuganyula kitya? Kijja kutuyamba okwongera okwagala Ekigambo kya Katonda. Era kijja kutuleetera okwongera okwagala Katonda, Oyo eyakiwandiisa kisobole okutuganyula.​—Mi. 4:2; Bar. 15:4.

ENKYUKAKYUKA MU NNIMI

4. (a) Ekiseera bwe kigenda kiyitawo ennimi zikyuka zitya? (b) Kiki ekiraga nti Katonda waffe tasosola mu bantu, era ekyo kikukwatako kitya?

4 Ekiseera bwe kigenda kiyitawo, ennimi zikyuka era amakulu g’ebigambo ebimu gakyuka. Oyinza okuba nga naawe olinayo ebigambo by’omanyi mu lulimi lwo ebyakyuka amakulu. Bwe kityo bwe kiri ne mu Lwebbulaniya n’Oluyonaani, ennimi enkulu Bayibuli mwe yasooka okuwandiikibwa. Olwebbulaniya n’Oluyonaani olwogerwa leero lwawukana ku lw’edda. N’olwekyo, oyo yenna ayagala okutegeera Ekigambo kya Katonda alina kusoma Bayibuli eyavvuunulwa ne bw’aba ng’amanyi Olwebbulaniya oba Oluyonaani olwogerwa leero. Abantu abamu balowooza nti singa bayiga Olwebbulaniya n’Oluyonaani olw’edda kisobola okubayamba okusoma obulungi Bayibuli. Naye ekyo kisobola obutabaganyula nga bwe balowooza. * Eky’essanyu kiri nti Bayibuli evvuunuddwa mu bulambalamba oba mu bitundutundu mu nnimi nga 3,000. Kyeyoleka kaati nti Yakuwa ayagala abantu aba “buli ggwanga n’ekika n’olulimi” okuganyulwa mu Kigambo kye. (Soma Okubikkulirwa 14:6.) Ekyo tekikuleetera okwongera okwagala Katonda waffe atasosola?​—Bik. 10:34.

5. Lwaki enkyusa ya King James yali nkulu nnyo?

5 N’ennimi Bayibuli mw’evvuunulwa nazo zigenda zikyuka oluvannyuma lw’ekiseera. Enkyusa ya Bayibuli eyali etegeerekeka obulungi nga yaakavvuunulwa, oluvannyuma lw’ekiseera eyinza okuba nga tekyategeerekeka bulungi. Lowooza ku nkyusa y’Olungereza eyitibwa King James eyafulumizibwa mu 1611. Abantu bangi baayagala nnyo Bayibuli eyo era erina kinene kye yakola ku bigambo ebikozesebwa mu lulimi Olungereza. * Kyokka mu nkyusa eyo baggyamu erinnya lya Katonda mu bifo ebisinga obungi we lirina okubeera. Baakozesa erinnya “Yakuwa” mu nnyiriri ezimu, era ne bakozesa ekigambo “MUKAMA” mu nnukuta ennene mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya erinnya lya Katonda we lirina okubeera. Mu nkyusa za Bayibuli eyo ezaakubibwa oluvannyuma baakozesa ekigambo “MUKAMA” mu nnukuta ennene ne mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani. Mu ngeri eyo, enkyusa ya King James yalaga nti erinnya lya Katonda lirina n’okubeera mu kitundu kya Bayibuli bangi kye bayita Endagaano Empya.

6. Lwaki Enkyusa ey’Ensi Empya nnungi nnyo?

6 Wadde kyali kityo, ekiseera bwe kyagenda kiyitawo bingi ku bigambo ebyakozesebwa mu nkyusa ya King James byali tebikyategeerekeka. Bwe kityo bwe kiri ne ku nzivuunula za Bayibuli mu nnimi endala. N’olwekyo, nga kitusanyusa nnyo okuba nti tulina Enkyusa ey’Ensi Empya mu lulimi olwogerwa mu kiseera kino! Enkyusa ey’Ensi Empya evvuunuddwa mu bulambalamba oba mu bitundutundu mu nnimi ezisukka mu 150, ne kiba nti abantu bangi leero basobola okugisoma mu lulimi lwe bategeera obulungi. Okuva bwe kiri nti ekozesa ebigambo ebitegeerekeka obulungi, kisobozesa Ekigambo kya Katonda okutuuka ku mitima gyaffe. (Zab. 119:97) N’ekisinga obukulu Enkyusa ey’Ensi Empya yazzaawo erinnya lya Katonda mu bifo we lirina okubeera.

OLULIMI ABANTU ABASINGA OBUNGI LWE BOOGERA

7, 8. (a) Lwaki Abayudaaya bangi mu kyasa eky’okusatu E.E.T. baali tebasobola kutegeera Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya? (b) Septuagint kye ki?

7 Enkyukakyuka mu by’obufuzi zizze zireetawo enkyukakyuka mu nnimi ezikozesebwa abantu abasinga obungi. Naye Katonda akoze ki okukakasa nti enkyukakyuka ezo teziremesa bantu kutegeera Kigambo kye? Okusobola okuddamu ekibuuzo ekyo, lowooza ku kyokulabirako kino. Ebitabo 39 ebisooka mu Bayibuli Katonda yakozesa Bayisirayiri oba Bayudaaya okubiwandiika. Be bantu abaasooka ‘okukwasibwa ebigambo bya Katonda ebitukuvu.’ (Bar. 3:1, 2) Naye ekyasa eky’okusatu E.E.T. we kyatuukira, Abayudaaya bangi baali tebakyategeera Lwebbulaniya. Lwaki? Kubanga mu kiseera ekyo Alekizanda Omukulu yali agaziyizza amatwale g’obwakabaka bwa Buyonaani. (Dan. 8:5-7, 20, 21) Obwakabaka obwo bwe bwagenda bugaziwa, Oluyonaani lwafuuka olulimi olwogerwa abantu abasinga obungi nga mw’otwalidde n’Abayudaaya abaali basaasaanidde mu matwale gaabwo. Olw’okuba Abayudaaya bangi baali boogera Luyonaani, abasinga obungi ku bo baali tebakyategeera Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya. Ekizibu ekyo kyagonjoolwa kitya?

8 Awo nga mu makkati g’ekyasa eky’okusatu E.E.T., ebitabo ebitaano ebisooka mu Bayibuli byavvuunulwa okuva mu Lwebbulaniya okubizza mu Luyonaani. Ebitabo ebirala byonna eby’Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya byaggwa okuvvuunulwa mu kyasa eky’okubiri E.E.T. Ebitabo ebyo byonna awamu bwe byamala okuvvuunulwa okuva mu Lwebbulaniya okudda mu Luyonaani byayitiwa Septuagint. Septuagint ye nzivuunula y’Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya eyasooka.

9. (a) Septuagint n’enzivuunula endala ezaasooka zaayamba zitya abasomi b’Ekigambo kya Katonda? (b) Kitundu ki ekisinga okukunyumira mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya?

9 Septuagint yakola kinene mu kuyamba Abayudaaya n’abantu abalala abaali boogera Oluyonaani okutegeera Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya. Lowooza ku ngeri abantu abo gye baawuliramu nga basoma oba nga bawulira Ekigambo kya Katonda mu lulimi lwe baali bategeera obulungi! Ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, ebitundu ebimu ebya Bayibuli byavvuunulwa ne mu nnimi endala ezaali zoogerwa abantu abangi, gamba ng’Olusuuli, Olugoosi, n’Olulattini. Abantu bwe baasomanga Ebyawandiikibwa Ebitukuvu mu nnimi ze bategeera obulungi, baabangako n’ebitundu bye baasinganga okunyumirwa okusoma. (Soma Zabbuli 119:162-165.) Mu butuufu, Ekigambo kya Katonda kyeyongedde okubeerawo wadde ng’ennimi ezoogerwa abantu abasinga obungi zizze zikyuka.

ABAZIYIZA OKUVVUUNULA BAYIBULI

10. Lwaki abantu abasinga obungi abaaliwo mu kiseera kya John Wycliffe baali tebasobola kusoma Bayibuli?

10 Oluusi wabaddewo abantu ab’amaanyi abagezezzaako okulemesa abantu aba bulijjo okusoma Bayibuli. Naye ekyo tekiremesezza bantu abatya Katonda kuyamba bantu ba bulijjo kufuna Bayibuli. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku musajja ayitibwa John Wycliffe eyali abeera mu Bungereza mu kyasa ekya 14. Wycliffe yali akkiriza nti buli muntu yeetaaga okusoma Ekigambo kya Katonda. Naye mu kiseera kye, kyali kizibu nnyo abantu aba bulijjo mu Bungereza okufuna Bayibuli. Lwaki? Olw’okuba Bayibuli zaali zikoppololwa na ngalo, zaali ku buseere nnyo ng’abasinga obungi tebasobola kuzigula. Ate era abantu abasinga obungi baali tebamanyi kusoma. Kyo kituufu nti bayinza okuba nga baawuliranga ebitundu ebimu ebya Bayibuli nga bisomebwa mu masinzizo. Naye baali tebasobola kutegeera bisomebwa. Lwaki? Kubanga enkyusa ya Bayibuli eyitibwa Vulgate eyali esomebwa mu masinzizo yali mu Lulattini. Naye Olulattini lwali lulimi lukadde ng’abantu aba bulijjo tebalutegeera! Abantu abo bandisobodde batya okutegeera obubaka obuli mu Bayibuli?​—Nge. 2:1-5.

John Wycliffe ne banne baayagala nnyo okuyamba abalala okufuna ekigambo kya Katonda. Naawe ekyo ky’oyagala? (Laba akatundu 11)

11. Enkyusa ya Bayibuli Wycliffe gye yavvuunula yakola ki ku bantu?

11 Mu 1382, Wycliffe ne banne baafulumya Bayibuli ey’Olungereza eyitibwa Wycliffe Bible. Abagoberezi ba Wycliffe abaali bayitibwa Lollards baayagala nnyo Bayibuli eyo. Abantu abo baali baagala nnyo Bayibuli ne kiba nti baatambulanga kyalo ku kyalo nga basomera abantu Bayibuli era nga babawa ne kopi za Bayibuli ezaabanga zikoppoloddwa. Ekyo kye baakola kyaleetera abantu okuddamu okwagala ennyo Ekigambo kya Katonda.

12. Abakulu b’eddiini baatwala batya Wycliffe n’omulimu gwe yakola?

12 Ekyo kyakwata kitya ku bakulu b’eddiini? Baakyawa nnyo Wycliffe, enzivuunula ye, n’abagoberezi be. Abakulu b’eddiini baayigganya nnyo abagoberezi ba Wycliffe. Baanoonya buli wamu kopi z’enzivuunula ya Wycliffe era ezo zonna ze baazuulanga baazisaanyangawo. Wycliffe bwe yali amaze okufa, baamulangirira nti kyewaggula. Kyokka Wycliffe yali yafa, nga tebasobola kumubonereza. Wadde kyali kityo, abakulu b’eddiini abo baaziikulayo amagumba ge ne bagookya, evvu ne baliyiwa mu mugga oguyitibwa Swift. Naye abantu bangi baali baagala okusoma n’okutegeera Ekigambo kya Katonda era ekyo abakulu b’eddiini baali tebasobola kukiremesa. Mu byasa ebyaddirira, waliwo abantu bangi mu Bulaaya ne mu bitundu by’ensi ebirala abaakola obutaweera okulaba nti Bayibuli evvuunulwa mu nnimi ezoogerwa abantu aba bulijjo.

“AKUYIGIRIZA OSOBOLE OKUGANYULWA”

13. Tuli bakakafu ku ki, era ekyo kinyweza kitya okukkiriza kwaffe?

13 Bayibuli yaluŋŋamizibwa Katonda. Naye ekyo tekitegeeza nti n’abavvuunuzi ba Septuagint, enkyusa ya Wycliffe, enkyusa ya King James, oba ab’enkyusa endala nabo baaluŋŋamizibwa Katonda. Wadde kiri kityo, bwe tulowooza ku byafaayo by’enzivuunula ezo tukiraba nti, nga Yakuwa bwe yasuubiza, ekigambo kye kibeerawo emirembe gyonna. Ekyo kitukakasa nti n’ebintu ebirala byonna Yakuwa bye yasuubiza bijja kutuukirira.​—Yos. 23:14.

14. Bwe tulowooza ku ngeri Yakuwa gy’akuumyemu Bayibuli kituleetera kitya okwongera okumwagala?

14 Bwe tulowooza ku ngeri Yakuwa gy’azze akuumamu Ekigambo kye, kinyweza okukkiriza kwaffe era kituleetera okwongera okumwagala. * Lwaki Yakuwa yatuwa Ekigambo kye era n’asuubiza okukikuuma? Kiri kityo kubanga atwagala era ayagala okutuyigiriza tusobole okuganyulwa. (Soma Isaaya 48:17, 18.) Ekyo naffe kyanditukubirizza okwagala Yakuwa n’okukwata ebiragiro bye.​—1 Yok. 4:19; 5:3.

15. Kiki kye tujja okulaba mu kitundu ekiddako?

15 Okuva bwe kiri nti twagala nnyo Ekigambo kya Katonda, twagala okukiganyulwamu mu bujjuvu. Tusobola tutya okuganyulwa mu bujjuvu mu kusoma Bayibuli? Tuyinza tutya okuyamba abantu okussaayo omwoyo ku bubaka obuli mu Bayibuli nga tubuulira? Abo abayigiriza ku pulatifoomu bayinza batya okukakasa nti essira balissa ku Kigambo kya Katonda nga bayigiriza? Ebibuuzo ebyo bijja kuddibwamu mu kitundu ekiddako.

^ lup. 4 Laba Watchtower eya Noovemba 1, 2009, lup. 20.

^ lup. 5 Ebisoko by’Olungereza ebiwerako byaggibwa mu nkyusa eya King James. Ebimu ku byo bye bino: “okussa obwenyi ku ttaka,” “eddiba ery’oku mannyo,” ne “okufuka omutima.”​—Kubal. 22:31; Yob. 19:20; Zab. 62:8.

^ lup. 14 Laba akasanduuko “ Jjangu Weerabireko.