Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Yiga Okwefuga

Yiga Okwefuga

‘Ebyo ebiri mu kibala eky’omwoyo kwe kwefuga.’​BAG. 5:22, 23.

ENNYIMBA: 121, 36

1, 2. (a) Biki ebiva mu buteefuga? (b) Lwaki kikulu okwekenneenya ebikwata ku kwefuga?

OKWEFUGA y’emu ku ngeri eziri mu kibala ky’omwoyo omutukuvu. (Bag. 5:22, 23) Yakuwa ayoleka engeri eyo ku kigero ekituukiridde. Naye olw’okuba abantu tebatuukiridde, tekibanguyira kwefuga. Bingi ku bizibu abantu bye bafuna leero biva ku kuba nti tebeefuga. Obuteefuga kisobola okuleetera omuntu obutakolera bintu mu budde, obutakola bulungi mirimu, oba okukola obubi ku ssomero. Era kisobola okuviirako abantu okuvuma abalala, okutamiira, okwenyigira mu bikolwa eby’obukambwe, okugattululwa mu bufumbo, okugwa mu mabanja, okufuna emize emibi, okusibibwa mu kkomera, okufuna endwadde ez’obukaba, okufuna embuto ze bateeyagalidde, n’ebizibu ebirala bingi.​—Zab. 34:11-14.

2 Abantu abateefuga beereetera ebizibu era ne babireetera n’abalala. Leero abantu beeyongedde obuteefuga. Okunoonyereza okwakolebwa mu myaka gya 1940 kwalaga nti abantu bangi baali tebeefuga, kyokka okunoonyereza okwakolebwa gye buvuddeko awo kwalaga nti abantu beeyongeredde ddala okuba nga tebeefuga. Ekyo tekitwewuunyisa kubanga Bayibuli yagamba nti mu “nnaku ez’enkomerero” abantu bangi bandibadde “tebeefuga.”​—2 Tim. 3:1-3.

3. Lwaki tusaanidde okwefuga?

3 Lwaki kikulu okwefuga? Ka tulabeyo ensonga bbiri. Esooka, kirabiddwa nti abantu abeefuga tebatera kugwa mu mitawaana. Baba bakkakkamu, baba n’enkolagana ennungi n’abalala, tebatera kusunguwala, kweraliikirira, oba kwennyamira ng’abantu abateefuga. Ey’okubiri, abantu abeefuga beewala okugwa mu bikemo oba okukola ebintu ebitasaana ne kibayamba okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda. Ebyo ebyatuuka ku Adamu ne Kaawa biraga akabi akali mu buteefuga. (Lub. 3:6) Lowooza ne ku bizibu ebitali bimu bangi bye bafunye olw’obuteefuga.

4. Lwaki abo abazibuwalirwa okwefuga mu bintu ebimu tebasaanidde kuggwaamu maanyi?

4 Abantu abatatuukiridde tebasobola kwefuga mu ngeri etuukiridde. Yakuwa akimanyi nti ebiseera ebimu abaweereza be kibazibuwalira okwefuga era mwetegefu okubayamba okulwanyisa okwegomba okubi. (1 Bassek. 8:46-50) Yakuwa afuba okuyamba abo bonna abaagala okumuweereza naye nga bakisanga nga kizibu okwefuga mu bintu ebimu. Mu kitundu kino tugenda kulaba obukakafu obulaga nti Yakuwa yeefuga mu ngeri etuukiridde. Era tugenda kulaba bye tuyinza okuyigira ku bantu abamu aboogerwako mu Bayibuli abeefuga n’abateefuga. Ate era tugenda kulaba amagezi agasobola okutuyamba okuyiga okwefuga.

YAKUWA ASSAAWO EKYOKULABIRAKO

5, 6. Yakuwa akyolese atya nti yeefuga?

5 Yakuwa yeefuga mu ngeri etuukiridde kubanga by’akola byonna biba bituukiridde. (Ma. 32:4) Naye ffe tetutuukiridde. Wadde kiri kityo, okusobola okumanya obulungi engeri gye tuyinza okwolekamu okwefuga, tusaanidde okwetegereza engeri Yakuwa gy’ayoleseemu engeri eno era ne tumukoppa. Emu ku mbeera Yakuwa mwe yakyoleka nti yeefuga y’eruwa?

6 Lowooza ku ngeri Yakuwa gye yeefugamu nga Sitaani yeewaggudde. Yakuwa yalina okubaako ky’akolawo. Ebitonde eby’omu ggulu ebyesigwa eri Katonda biteekwa okuba nga byasunguwala nnyo olw’ekyo Sitaani kye yakola, era byalaba nga kya busiru. Oboolyawo naawe owulira bw’otyo bw’olowooza ku kubonaabona kwonna Sitaani kwe yatuleetera. Naye Yakuwa teyayanguyiriza kubaako ky’akolawo. Ensonga yazikwata mu ngeri entuufu ddala. Engeri Yakuwa gye yakwatamu embeera eyo eraga nti mwenkanya era nti alwawo okusunguwala. (Kuv. 34:6; Yob. 2:2-6) Lwaki tugamba tutyo? Yakuwa alese ekiseera okuyitawo kubanga tayagala muntu yenna kuzikirira, wabula ayagala “bonna beenenye.”​—2 Peet. 3:9.

7. Ekyokulabirako Yakuwa ky’ataddewo kituyigiriza ki?

7 Ekyokulabirako Yakuwa ky’ataddewo kiraga nti tusaanidde okulowooza nga tetunnayogera oba nga tetunnabaako kye tukola. Tetusaanidde kwanguyiriza kukola bintu. Bw’oba n’ekintu ekikulu ennyo ky’olina okusalawo, kiwe obudde obumala osobole okusalawo mu ngeri ey’amagezi. Saba Yakuwa akuwe amagezi osobole okwogera n’okukola ebintu ebisaana. (Zab. 141:3) Bw’obaako obusungu kyangu nnyo okwogera oba okukola ebintu ebitasaana. Bangi ku ffe tulina ebintu bye twayanguyiriza okwogera oba okukola naye oluvannyuma ne tubyejjusa.​—Nge. 14:29; 15:28; 19:2.

ABANTU BA KATONDA ABASSAAWO EBYOKULABIRAKO EBIRUNGI N’EBIBI

8. (a) Wa we tusobola okusanga ebyokulabirako by’abantu abaayoleka engeri ennungi? (b) Kiki ekyayamba Yusufu obutakkiriza kwegatta na muka Potifaali? (Laba ekifaananyi ku lupapula 3.)

8 Byakulabirako ki ebiri mu Bayibuli ebiraga nti kikulu nnyo okwefuga? Oyinza okuba ng’ojjukirayo abantu abawerako aboogerwako mu Bayibuli abeefuga nga boolekaganye nʼokugezesebwa okwʼamaanyi. Omu ku bo ye Yusufu, mutabani wa Yakobo. Yusufu yeefuga bwe yali ng’aweereza mu nnyumba yʼomusajja ayitibwa Potifaali eyali omukulu w’abakuumi ba Falaawo. Mukyala wa Potifaali yeegomba Yusufu olw’okuba Yusufu “yali yakula bulungi era ng’alabika bulungi.” Omukyala oyo yagezaako nnyo okusendasenda Yusufu yeegatte naye. Kiki ekyayamba Yusufu obutagwa mu kikemo ekyo? Tewali kubuusabuusa yafumiitiriza ku ebyo ebyandivuddemu singa yandyegasse n’omukyala oyo. Era bwe yalaba ng’embeera ebizze, yadduka. Yagamba nti: “Nnyinza ntya okukola ekibi ekyenkanidde awo ne nnyonoona mu maaso ga Katonda?”​—Lub. 39:6, 9; soma Engero 1:10.

9. Oyinza otya okweteekateeka osobole okuziyiza ebikemo?

9 Ekyokulabirako kya Yusufu kituyigiriza ki? Kituyigiriza nti oluusi kiba kitwetaagisa okudduka okusobola okwewala okugwa mu bikemo. Nga tebannayiga mazima, abamu ku baweereza ba Yakuwa baali bazibuwalirwa okwefuga. Ng’ekyokulabirako, abamu baali balya ekisukkiridde, nga banywa nnyo omwenge, nga banywa ssigala, nga bakozesa ebiragalalagala, nga beenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu, oba nga bakola ebintu ebirala ebibi. Abamu bayinza okusikirizibwa okuddamu okukola ebintu ng’ebyo n’oluvannyuma lw’okubatizibwa. Bw’okemebwa okumenya amateeka ga Yakuwa fumiitiriza ku bizibu ebiyinza okuvaamu singa olemererwa okwefuga. Oyinza n’okulowooza ku mbeera eziyinza okukuviirako okukemebwa n’olowooza ne ku ngeri gy’oyinza okuzeewalamu. (Zab. 26:4, 5; Nge. 22:3) Singa okemebwa, saba Yakuwa akuwe amagezi era akuyambe okwefuga.

10, 11. (a) Abavubuka bangi boolekagana na kizibu ki ku ssomero? (b) Kiki ekiyinza okuyamba abavubuka Abakristaayo obuteenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu?

10 Abavubuka bangi Abakristaayo boolekagana n’embeera nga Yusufu gye yayolekagana nayo. Lowooza ku Kim. Bangi ku bayizi banne baali beenyigira mu bikolwa eby’okwegatta, era buli luvannyuma lwa wiikendi baanyumyanga ku bikolwa byabwe ebyo. Bwe baabanga banyumya ku bintu ebyo ye Kim teyabanga na bya kunyumya. Agamba nti okuba ow’enjawulo oluusi kyamuleeteranga okuwulira nga tagya mu banne, era banne baali bamutwala ng’atalina magezi olw’okuba teyalina mulenzi. Naye Kim yali akimanyi nti kya magezi obutaba na mulenzi kubanga okwegomba okw’okwegatta kuba kwa maanyi nnyo mu myaka egy’obuvubuka. (2 Tim. 2:22) Bayizi banne baateranga okumubuuza obanga yali akyali mbeerera. Ekyo kyamuwanga akakisa okubannyonnyola ensonga lwaki yali teyeenyigira mu bikolwa eby’okwegatta. Tusiima nnyo abavubuka ng’abo abamaliridde okwewala ebikolwa eby’obugwenyufu era ne Yakuwa abasanyukira nnyo!

11 Bayibuli eyogera ku bantu abatali bamu abaalemererwa okwefuga ku bikwata ku kwegatta. Era eraga n’ebizibu ebiyinza okuvaamu singa omuntu alemererwa okwefuga ku bikwata ku kwegatta. Singa weesanga mu mbeera efaananako eya Kim, kikulu okufumiitiriza ku muvubuka atalina bumanyirivu ayogerwako mu Engero essuula 7. Ate era lowooza ku ekyo Amunoni kye yakola n’ebizibu ebyavaamu. (2 Sam. 13:1, 2, 10-15, 28-32) Abazadde basobola okuyamba abaana baabwe okuyiga okwefuga bwe kituuka ku by’omukwano. Ekyo bayinza okukikola nga boogera ku nsonga eyo mu kusinza kw’amaka era nga bakozesa ebyokulabirako ebyogeddwako waggulu.

12. (a) Yusufu yeefuga atya nga baganda be bazze gy’ali? (b) Ezimu ku mbeera mwe kitwetaagisiza okwefuga ze ziruwa?

12 Ate era waliwo n’embeera endala Yusufu mwe yakiragira nti yali yeefuga. Okusobola okumanya ekyo ekyali mu mitima gya baganda be, Yusufu yasooka n’alindako okwemanyisa gye bali bwe baali bagenze e Misiri okugula emmere. Bwe yawulira nga takyayinza kwezibiikiriza, yavaawoko n’agenda n’akaabira ebbali. (Lub. 43:30, 31; 45:1) Singa Mukristaayo munno oba omu ku b’eŋŋanda zo akola ekintu ekitali kya magezi, bwe weefuga nga Yusufu, kijja kukuyamba okwewala okwogera oba okukola ekintu ekitasaana. (Nge. 16:32; 17:27) Bw’oba olina ab’eŋŋanda zo abaagobebwa mu kibiina, okwefuga kujja kukuyamba okwewala okukolagana nabo ekiteetaagisa. Si kyangu kwefuga mu mbeera ng’ezo, naye bwe tukimanya nti tukoppa Yakuwa era nti tukola ekyo ky’ayagala, kijja kutuyamba okwefuga.

13. Ebyo bye tusoma ku Kabaka Dawudi bituyigiriza ki?

13 Kati ate lowooza ku Kabaka Dawudi. Wadde nga yalina obuyinza bungi, teyabukozesa kubonereza Sawulo ne Simeeyi bwe baamuyisa obubi. (1 Sam. 26:9-11; 2 Sam. 16:5-10) Kyokka ebiseera ebimu Dawudi yalemererwa okwefuga. Ekyo tukirabira ku ky’okuba nti yayenda ku Basuseba ne ku ngeri gye yeeyisaamu nga Nabbali amuyisizza bubi. (1 Sam. 25:10-13; 2 Sam. 11:2-4) Waliwo bye tuyinza okuyigira ku Dawudi. Ekisooka, abakadde mu kibiina basaanidde okuba abeegendereza baleme kukozesa bubi buyinza bwe balina. Eky’okubiri, tewali muntu atasobola kugwa mu kikemo.​—1 Kol. 10:12.

BY’OYINZA OKUKOLA

14. Kiki ekyatuuka ku Luigi, era lwaki tusaanidde okumukoppa?

14 Biki bye tuyinza okukola okusobola okwefuga? Lowooza ku mbeera eno. Emmotoka emu yatomera emmotoka y’ow’oluganda Luigi emabega. Wadde ng’omuvuzi w’emmotoka eyo ye yali mu nsobi, yatandika okuvuma Luigi. Luigi yasaba Yakuwa amuyambe okwefuga era n’agezaako okukkakkanya omuvuzi w’emmotoka eyo naye ng’omuvuzi w’emmotoka eyo agenda bugenzi mu maaso n’okumuvuma. Luigi yabaako by’awandiika ebikwata ku yinsuwa y’omusajja oyo era n’asimbula emmotoka n’agenda ng’omusajja oyo akyayomba. Nga wayise wiiki emu, Luigi bwe yali azzeeyo eri omukyala omu gwe yali abuulidde yakizuula nti omuvuzi w’emmotoka oli eyamuvuma ye yali bba w’omukyala oyo! Omusajja oyo yakwatibwa ensonyi olw’engeri gye yali yeeyisizzaamu era ne yeetonda. Yagamba Luigi nti agenda kwogera n’aba yinsuwa ye bamuliyirire. Omusajja oyo yawuliriza ebyo Luigi bye yali abuulira era n’abisiima. Luigi yakiraba nti yakola kya magezi okwefuga era nti singa yali teyeefuze ebyandivuddemu byandibadde bibi nnyo.​—Soma 2 Abakkolinso 6:3, 4.

Okwefuga oba obuteefuga kirina kye kikola ku buweereza bwaffe (Laba akatundu 14)

15, 16. Okwesomesa kiyinza kitya okukuyamba ggwe n’ab’omu maka go okuyiga okwefuga?

15 Okunyiikirira okwesomesa Bayibuli kisobola okuyamba Omukristaayo okuyiga okwefuga. Katonda yagamba Yoswa nti: “Ekitabo kino eky’Amateeka tekivanga ku mimwa gyo, era onookisomanga n’okifumiitirizangako emisana n’ekiro, osobole okukolera ku ebyo byonna ebikirimu; olwo lw’onootuuka ku buwanguzi era ne weeyisa mu ngeri ey’amagezi.” (Yos. 1:8) Okwesomesa kiyinza kitya okukuyamba okuyiga okwefuga?

16 Nga bwe tulabye, Ebyawandiikibwa biraga emiganyulo egiva mu kwefuga n’ebizibu ebiva mu buteefuga. Yakuwa alina ensonga lwaki yawandiisa ebintu ebyo mu Bayibuli. (Bar. 15:4) Nga kiba kya magezi okusoma ku bintu ebyo, okubifumiitirizaako, n’okubinoonyerezaako! Lowooza ku kye bikuyigiriza awamu n’ab’omu maka go. Saba Yakuwa akuyambe okukolera ku Kigambo kye. Bw’okiraba nti olina we weetaaga okulongoosaamu bwe kituuka ku kwefuga kikkirize. Kitegeezeeko Yakuwa mu kusaba era ofube okukola enkyukakyuka ezeetaagisa. (Yak. 1:5) Bw’onoonyereza mu bitabo ebikubibwa omuddu omwesigwa ojja kuzuulamu amagezi mangi agasobola okukuyamba.

17. Abazadde bayinza batya okuyamba abaana baabwe okuyiga okwefuga?

17 Oyinza otya okuyamba abaana bo okuyiga okwefuga? Abazadde bakimanyi nti abaana tebazaalibwa nga bamanyi okwefuga. Nga bwe kiba nga bayigiriza abaana baabwe okukulaakulanya engeri endala ennungi, abazadde basaanidde okubateerawo ekyokulabirako ekirungi mu kwefuga. (Bef. 6:4) N’olwekyo, bw’okiraba nti abaana bo kibazibuwalira okwefuga, kirungi okwebuuza obanga obateerawo ekyokulabirako ekirungi mu nsonga eyo. Bw’ofuba okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira, okubaawo mu nkuŋŋaana, n’okukubiriza okusinza kw’amaka obutayosa kirina kinene kye kijja okukola ku baana bo. Totya kugaana kuwa mwana wo bintu ebimu by’aba akusabye singa olaba nga si kya magezi kubimuwa! Ne Yakuwa yateerawo Adamu ne Kaawa ekkomo era ekyo kyandibayambye okuyiga okumussaamu ekitiibwa. Mu ngeri y’emu, abazadde bwe bakangavvula abaana baabwe era ne babateerawo ekyokulabirako ekirungi kisobola okuyamba abaana baabwe okuyiga okwefuga. Okuyamba abaana bo okwagala Katonda n’okugondera amateeka ge kye kintu ekisingayo obulungi ky’oyinza okubayamba okukola.​—Soma Engero 1:5, 7, 8.

18. Okuba n’emikwano emirungi kikuganyula kitya?

18 K’obe muzadde oba nedda, kikulu okulonda emikwano gyo n’amagezi. Londa emikwano eginaakuyamba okweteerawo ebiruubirirwa ebirungi n’okwewala emitawaana. (Nge. 13:20) Mikwano gyo bwe baba nga baagala nnyo Katonda bajja kukuyamba okuyiga okwefuga. Ate enneeyisa yo ennungi ejja kuganyula nnyo mikwano gyo. Bwe weefuga kikuyamba okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda awamu ne mikwano gyo.